LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 6/15 lup. 20-24
  • Omuwanika Omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi Akamukiikirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuwanika Omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi Akamukiikirira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omuweereza wa Yakuwa mu Biseera by’Edda
  • Omuddu Omwesigwa Yeeyoleka
  • Omuddu Omwesigwa mu Kiseera Kino
  • Endowooza Ennuŋŋamu
  • “Omuddu” Omwesigwa era nga wa Magezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Okunywerera ku Kristo n’Omuddu We Omwesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • “Ddala Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Bagoberera Omwana gw’Endiga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 6/15 lup. 20-24

Omuwanika Omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi Akamukiikirira

“Ani muwanika omwesigwa era ow’amagezi, mukama we gw’alisigira abaweereza be okubawanga emmere ebamala mu kiseera ekituufu?”​—LUK. 12:42.

1, 2. Kibuuzo ki ekikulu Yesu kye yabuuza bwe yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma?

BWE yali ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma, Yesu yabuuza nti: “Ddala omuddu omwesigwa era ow’amagezi y’ani mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye okubawa emmere yaabwe mu kiseera ekituufu?” Bwe yamala okwogera ekyo n’agamba nti omuddu oyo yandisigiddwa ebintu bya Mukama we byonna olw’okuba omwesigwa.​—Mat. 24:45-47.

2 Emyezi mitono emabegako, Yesu yali yabuuza ekibuuzo kye kimu. (Soma Lukka 12:42-44.) Ku mulundi ogwo, omuddu oyo yamuyita “muwanika” ate “ab’omu nju” n’abayita “abaweereza be.” Omuwanika ye muntu addukanya eby’omu maka oba akulira abaweereza, naye ng’omuwanika oyo naye muweereza. Omuddu ono, oba omuwanika, y’ani, era agaba atya ‘emmere mu kiseera ekituufu’? Kikulu nnyo ffenna okutegeera obulungi omukutu ogukozesebwa okutuwa emmere ey’eby’omwoyo.

3. (a) Abakulembeze ba Kristendomu bannyonnyola batya Yesu bye yayogera ku ‘muddu’? (b) ‘Omuwanika,’ oba “omuddu,” y’ani, era “abaweereza,” oba “ab’omu nju” be baani?

3 Abakulembeze mu Kristendomu bagamba nti awo Yesu yali ayogera ku abo abalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu Kristendomu. Naye Yesu, nga ye “mukama” w’omuddu mu kyokulabirako ekyo, teyagamba nti wandibaddewo abaddu bangi nga basangibwa mu madiini ga Kristendomu ag’enjawulo, wabula yagamba nti wandibaddewo ‘omuwanika’ omu, oba “omuddu,” gwe yandisigidde ebintu bye byonna. Bwe kityo, nga magazini eno bw’etera okunnyonnyola, omuwanika kye ‘kisibo ekitono’ eky’abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta bonna awamu. Enjiri ya Lukka eraga nti Yesu yali yaakamala okwogera ku bagoberezi be bano. (Luk. 12:32) Ebigambo “abaweereza,” oba “ab’omu nju,” byogera ku bantu be bamu, naye nga biraga obuvunaanyizibwa bwe balina kinnoomu. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, Buli ali mu kibiina ky’omuddu ekyo yeenyigira mu kuteekateeka emmere egabibwa mu kiseera ekituufu? Eky’okuddamu kyeyoleka bulungi bwe twetegereza Ebyawandiikibwa.

Omuweereza wa Yakuwa mu Biseera by’Edda

4. Yakuwa yayitanga atya eggwanga lya Isiraeri ey’edda, era lwaki ekyo kikulu?

4 Abantu b’eggwanga lya Isiraeri ey’edda Yakuwa yaboogerangako ng’omuweereza. “Mmwe muli bajulirwa bange, bwayogera Mukama, n’omuweereza wange gwe nnalonda.” (Is. 43:10) Abantu b’eggwanga eryo bonna wamu baali batwalirwa ng’omuweereza. Kyokka kikulu okukijjukira nti bakabona n’Abaleevi be bokka abaalina obuvunaanyizibwa okuyigiriza eggwanga ebikwata ku Katonda.​—2 Byom. 35:3; Mal. 2:7.

5. Yesu yalaga nti waali wagenda kubaawo nkyukakyuka ki ey’amaanyi?

5 Eggwanga lya Isiraeri ye muddu Yesu gwe yali ayogerako? Nedda. Kino tukimanyira ku bigambo Yesu bye yagamba Abayudaaya ab’omu kiseera kye: “Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Mat. 21:43) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yali agenda kuleetawo enkyukakyuka akozese eggwanga eriggya. Wadde kyali kityo, bwe kyandituuse ku by’okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, omulimu gw’omuddu ayogerwako mu kyokulabirako kya Yesu gwandibadde ‘ng’ogw’omuweereza’ wa Katonda mu Isiraeri ey’edda.

Omuddu Omwesigwa Yeeyoleka

6. Ggwanga ki eriggya eryatandikawo ku lunaku lwa Pentekoote 33 E.E., era lyalimu baani?

6 Eggwanga eriggya, “Isiraeri wa Katonda,” lirimu Abaisiraeri ab’omwoyo. (Bag. 6:16; Bar. 2:28, 29; 9:6) Lyatandikawo ku lunaku lwa Pentekoote 33 E.E., omwoyo gwa Katonda bwe gwafukibwa ku bantu. Okuva ku olwo, Abakristaayo bonna abaafukibwangako amafuta baafuukanga ba ggwanga eryo kati eryali likola ng’omuddu Mukama we gw’alonze. Buli omu mu ggwanga eryo yaweebwa obuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Naye buli omu yalina okwenyigira mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo egabibwa mu kiseera ekituufu? Ka tulabe engeri Ebyawandiikibwa gye biddamu ekibuuzo kino.

7. Mu kusooka abatume baalina mulimu ki omukulu, era oluvannyuma baayongerwako buvunaanyizibwa ki?

7 Yesu bwe yalonda abatume 12, omulimu omukulu gwe yabawa gwali gwa kugenda kubuulira mawulire amalungi mu bantu. (Soma Makko 3:13-15.) Omulimu guno gukwatagana bulungi n’amakulu g’ekigambo ky’Oluyonaani apostolos ekiva mu kigambo ekitegeeza “okutuma.” Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nga n’ekibiina Ekikristaayo kinaatera okutandikibwawo, abatume baatandika okukola ‘ng’abalabirizi.’​—Bik. 1:20-26.

8, 9. (a) Kiki abatume 12 kye baali basinga okutwala ng’ekikulu? (b) Baani abalala abaaweebwa obuvunaanyizibwa ne bakakasibwa akakiiko akafuzi?

8 Kati kiki abatume 12 kye baali basinga okutwala ng’ekikulu? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kyeyolekera mu ebyo ebyaliwo nga Pentekoote ewedde. Bwe wajjawo okwemulugunya ku ngabanya y’emmere mu bannamwandu, abatume 12 bakuŋŋaanya abayigirizwa ne babagamba nti: “Si kituufu ffe okuleka omulimu gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne tudda mu kugaba emmere.” (Soma Ebikolwa 6:1-6.) Abatume baalonda ab’oluganda abalala abaalina ebisaanyizo okukola “omulimu ogwo,” bo basobole okwemalira ku ‘mulimu gw’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.’ Enteekateeka eyo Yakuwa yagiwa omukisa, “ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okukula, omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera nnyo mu Yerusaalemi; era bakabona bangi ne bafuuka abakkiriza.” (Bik. 6:7) Bwe kityo, obuvunaanyizibwa obw’okuliisa abalala mu by’omwoyo bwali mu mikono gy’abatume.​—Bik. 2:42.

9 Bwe waayita ekiseera, n’abalala baawebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Nga bakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, ab’omu kibiina ky’e Antiyokiya baasindika Pawulo ne Balunabba okugenda okuweereza ng’abaminsani. Pawulo ne Balunabba nabo baafuuka batume, wadde nga baali tebabalirwa ku bali 12. (Bik. 13:1-3; 14:14; Bag. 1:19) Okulondebwa kwabwe kwakakasibwa ab’akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi. (Bag. 2:7-10) Nga waakayita ekiseera kitono, Pawulo yatandika okwenyigira mu kugaba emmere ey’eby’omwoyo bwe yawandiika ebbaluwa ye esooka eyaluŋŋamizibwa.

10. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bonna beenyigiranga mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo? Nnyonnyola.

10 Naye Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta beenyigiranga mu kulabirira omulimu gw’okubuulira n’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo? Nedda. Omutume Pawulo agamba nti: “Bonna batume? Bonna bannabbi? Bonna bayigiriza? Bonna bakola ebyamagero?” (1 Kol. 12:29) Wadde ng’Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna baakolanga omulimu gw’okubuulira, abasajja munaana bokka be baakozesebwa okuwandiika ebitabo 27 eby’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani.

Omuddu Omwesigwa mu Kiseera Kino

11. ‘Bintu’ ki omuddu bye yasigirwa?

11 Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:45 biraga bulungi nti wandibaddewo ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi mu kiseera eky’enkomerero. Mu Okubikkulirwa 12:17, ab’ekibiina ekyo bayitibwa ab’Ezzadde ly’omukazi “abaasigalawo.” Bonna wamu ng’ekibiina ky’ab’ensigalira baasigirwa ebintu bya Kristo byonna ebiri wano ku nsi. “Ebintu” omuwanika omwesigwa Mukama we bye yamusigira okulabirira bitwaliramu abantu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, n’ebintu byonna ebikozesebwa mu kutumbula omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi.

12, 13. Omukristaayo ategeera atya nti alina essuubi ery’okugenda mu ggulu?

12 Omukristaayo ategeera atya nti alina essuubi ery’okugenda mu ggulu, era nti ali omu ku b’ensigalira ya Isiraeri ow’omwoyo? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo omutume Pawulo bye yayogera eri banne bwe baalina essuubi ery’okugenda mu ggulu: “Bonna abakulemberwa omwoyo gwa Katonda baana ba Katonda. Kubanga temwaweebwa mwoyo gwa buddu oguddamu okuleeta okutya, naye mwaweebwa omwoyo ogw’okubafuula abaana, era olw’omwoyo ogwo twogerera waggulu nti, ‘Abba, Kitaffe!’ Omwoyo gwennyini guwa obujulirwa n’omwoyo gwaffe nti tuli baana ba Katonda. Kale okuva bwe tuli abaana, era tuli basika: ddala tuli basika ba Katonda, era nga tusikira wamu ne Kristo; bwe tubonaabonera awamu naye era tujja kugulumizibwa wamu naye.”​—Bar. 8:14-17.

13 Mu bimpimpi, omwoyo gwa Katonda gumanyisa abantu abo nti bafukiddwako amafuta era nti ‘bayitiddwa’ okugenda mu ggulu. (Beb. 3:1) Katonda yennyini y’abayita, era nabo bakkiriza okufuuka abaana be awatali kulonzalonza, kubuusabuusa oba kutya. (Soma 1 Yokaana 2:20, 21.) N’olwekyo si be beesalirawo okuba n’essuubi eryo, wabula Yakuwa y’abassaako akabonero, oba omwoyo omutukuvu.​—2 Kol. 1:21, 22; 1 Peet. 1:3, 4.

Endowooza Ennuŋŋamu

14. Abaafukibwako amafuta batwala batya okuyitibwa kwabwe?

14 Abaafukibwako amafuta basaanidde kutwala batya okuyitibwa kwabwe okugenda mu ggulu? Balina okukijjukira nti wadde ng’okuyitibwa okwo nkizo ya maanyi ddala, eyo eba ntandikwa butandikwa. Okusobola okufuna empeera eyo, balina okusigala nga beesigwa okutuusiza ddala okufa. Balaga obuwombeefu ng’obwa Pawulo eyagamba nti: “Ab’oluganda, seetwala ng’amaze okugifuna; naye waliwo ekintu kimu kye nkola: Nneerabira ebintu eby’emabega ne nduubirira eby’omu maaso, nga nfuba okutuuka ku kiruubirirwa eky’okufuna empeera ey’okuyitibwa okw’omu ggulu, Katonda gy’agaba okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 3:13, 14) Ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta balina okufuba ‘okweyisa mu ngeri esaanira abo abaayitibwa, nga balaga obuwombeefu,’ era nga kino bakikola ‘n’okutya n’okukankana.’​—Bef. 4:1, 2; Baf. 2:12; 1 Bas. 2:12.

15. Abakristaayo abalala banditunuulidde batya abo abalya ku bubonero ku Kijjukizo, era abaafukibwako amafuta beetwala batya?

15 Ate bo Abakristaayo abalala banditunuulidde batya omuntu agamba nti afukiddwako amafuta era n’atandika okulya ku bubonero ku mukolo gw’Ekijjukizo? Tebasaanidde kweyingiza mu nsonga eyo kubanga eri wakati we ne Yakuwa. (Bar. 14:12) Kyokka Abakristaayo abaafukibwako abatuufu tebakitwala nti balina okuweebwa ekitiibwa eky’enjawulo. Eky’okuba nti baafukibwako amafuta tekitegeeza nti baba n’okutegeera okw’enjawulo okusinga okw’abo abali mu ‘kibiina ekinene’ abalina obumanyirivu. (Kub. 7:9) Tebalowooza nti bafuna omwoyo omutukuvu okusinga bannaabwe ‘ab’endiga endala’ era tebasuubira kuyisibwa mu ngeri ya njawulo. (Yok. 10:16) Eky’okuba nti balya ku bubonero tekibaleetera kulowooza nti bali waggulu ku bakadde mu kibiina.

16-18. (a) Abaafukibwako amafuta bonna beenyigira mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo? Waayo ekyokulabirako. (b) Lwaki Akakiiko Akafuzi bwe kaba kasalawo ensonga tekalina kusooka kwebuuza ku buli eyafukibwako amafuta?

16 Abaafukibwako amafuta okwetooloola ensi yonna bakolera wamu mu kunnyonnyola ebintu ebipya mu Baibuli? Nedda. Wadde nga bonna awamu ng’ekibiina ky’omuddu balina obuvunaanyizibwa okuliisa ab’omu nju y’abagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, obuvunaanyizibwa bwe balina n’emirimu gye bakola bya njawulo. (Soma 1 Abakkolinso 12:14-18.) Nga bwe twalabye, abaafukibwako amafuta ab’omu kyasa ekyasooka bonna baakolanga omulimu gw’okubuulira. Naye batono nnyo ku bo abaakozesebwa mu kuwandiika ebitabo bya Baibuli ne mu kulabirira ekibiina Ekikristaayo.

17 Ng’ekyokulabirako: Ebyawandiikibwa bigamba nti “ekibiina” kikola ku misango egikolebwa ab’oluganda. (Mat. 18:17) Kyokka, abakadde be bokka abakola ku nsonga ezo nga bakiikirira ekibiina. Okusobola okusalawo ku nsonga ng’ezo, abakadde tebasooka kwebuuza ku buli omu mu kibiina. Bagoberera enkola ya teyokulase nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa; basalawo ku lw’ekibiina kyonna.

18 Mu ngeri y’emu, waliwo abasajja abaafukibwako amafuta batonotono abalina obuvunaanyizibwa obw’okukiikirira ekibiina ky’omuddu leero, abatuula ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Abasajja bano be balabirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’ogw’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo. Era nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, Akakiiko Akafuzi bwe kaba kasalawo ensonga yonna, tekasooka kwebuuza ku buli omu mu kibiina ky’omuddu. (Soma Ebikolwa 16:4, 5.) Kyokka Abajulirwa abaafukibwako amafuta bonna beenyigira mu mulimu gw’okukungula ogukolebwa leero. Abo abali mu kibiina ‘ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bonna bakolera wamu, naye nga buli omu alina omulimu gwa njawulo.​—1 Kol. 12:19-26.

19, 20. Ab’ekibiina ekinene batwala batya “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira?

19 Ebyo byonna bye tulabye byandikutte bitya ku b’ekibiina ekinene abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, abeeyongera obungi enkya n’eggulo? Olw’okuba be bamu ku bintu bya Kabaka, basanyufu okuwagira enteekateeka ezikolebwa Akakiiko Akafuzi akakiikirira “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” Ab’ekibiina ekinene era basiima emmere ey’eby’omwoyo eteekebwateekebwa Akakiiko Akafuzi. Naye wadde nga bassa ekitiibwa mu kibiina ky’omuddu, balina okwewala okugulumiza omuntu yenna agamba nti ali mu kibiina ekyo. Tewali Mukristaayo n’omu yafukibwako mwoyo gwa Katonda ayinza kwagala kugulumizibwa mu ngeri eyo.​—Bik. 10:25, 26; 14:14, 15.

20 Ka tube nga tuli ‘ba mu nju,’ ab’ensigalira y’abaafukibwako amafuta, oba nga tuli ba kibiina ekinene, ffenna tusaanidde okuba abamalirivu okuwagira omuwanika omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira. Era ffenna ka tufube ‘okuba obulindaala,’ tukuume obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero.​—Mat. 24:13, 42.

Ojjukira?

• “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” y’ani, era ab’omu nju be baani?

• Omuntu ategeera atya nti alina essuubi ery’okugenda mu ggulu?

• Ani alina obuvunaanyizibwa obw’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo?

• Omuntu eyafukibwako amafuta asaanidde kwetwala atya?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Leero, Akakiiko Akafuzi kakiikirira ekibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Waaliwo enteekateeka y’emu mu kyasa ekyasooka

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share