Funa Essanyu mu Kirabo ky’Okuba Obwannamunigina
“BWE batyo baafumbiriganwa era ne baba basanyufu okuva olwo.” Ebitabo by’engero z’abaana bingi ebiwandiikibwa bitera okukomekkerezebwa n’ebigambo ng’ebyo. Firimu nnyingi n’ebitabo ebikwata ku mukwano nabyo biwa ekifaananyi kye kimu—nti obufumbo buleeta essanyu ery’olubeerera! Okugatta ku ebyo, mu bitundu bingi eby’ensi, abantu bapikirizibwa okuyingira obufumbo nga bakyali bavubuka. Ng’akyali mu myaka gye egya 20, Debby yagamba nti: “Abantu bakuleetera okulowooza nti ekiruubirirwa kyokka omuwala ky’alina okuba nakyo kwe kufumbirwa. Baba ng’abagamba nti okusobola okufuna essanyu mu bulamu olina kufumbirwa.”
Omuntu afaayo ku by’omwoyo tatunuulira bintu mu ngeri eyo. Wadde nga mu Isiraeri buli omu yali asuubirwa okuyingira obufumbo, Baibuli eyogera ku basajja n’abakazi abaasigala obwannamunigina, ate nga baalina obulamu obw’essanyu. Leero, Abakristaayo abamu basalawo ne basigala bwa nnamunigina, ate abalala mbeera y’ebaleetera okuba obwannamunigina. Ka kibe nga kivudde ku ki okuba obwannamunigina, kye twagala okwetegereza kiri nti: Omukristaayo ayinza atya okuganyulwa mu kuba obwannamunigina?
Yesu teyawasa, nga kino kitegeerekeka olw’omulimu omukulu gwe yali aweereddwa okukola. Yagamba abayigirizwa be nti n’abamu ku bagoberezi be bandisazeewo ‘okusigala nga si bafumbo.’ (Mat. 19:10-12) Bw’atyo Yesu yakiraga nti bwe tuba ab’okuganyulwa mu kuba obwannamunigina, tulina okukikkiriza mu mitima gyaffe nti obwo bwe bulamu bwe tugenda okubeeramu.
Ebigambo bya Yesu ebyo bikwata ku abo bokka abasalawo okusigala nga bali bwa nnamunigina obulamu bwabwe bwonna basobole okuweereza Katonda? (1 Kol. 7:34, 35) Nedda. Lowooza ku Mukristaayo eyandyagadde okuyingira obufumbo naye nga tannafuna muntu gw’ayagala. Ana, mwannyinaffe ali obwa nnamunigina atemera mu 30, agamba nti: “Emabegako, waliwo mukozi munnange atali Mujulirwa eyansaba mmufumbirwe. Muli nnawulira nga nsikiriziddwa, naye ekyo nnakiggya mangu mu birowoozo kubanga njagala kufumbirwa muntu anannyamba okweyongera okuweereza Yakuwa.”
Okufaananako Ana, okwagala okufumbirwa “mu Mukama waffe” kiyambye bannyinaffe bangi okwewala okufumbirwa abantu abatali bakkiriza.a (1 Kol. 7:39; 2 Kol. 6:14) Nga bakolera ku kiragiro kya Katonda ekyo, basalawo okusigala nga bali bwa nnamunigina okutuusa nga bafunye omuntu omutuufu. Kiki ekinaabayamba okuba abanywevu?
Lowooza ku Miganyulo Egirimu
Okusobola okuba omunywevu ng’embeera gy’olimu si gye wandyagadde kisinziira nnyo ku ndowooza yo. Mwannyinaffe Carmen ali obwannamunigina ng’atemera mu 40 agamba nti: “Ndowooza ku birungi bye nnina, ebyo bye sirina sibirowoozaako.” Kyo kituufu nti oluusi omuntu afuna ekiwuubaalo oba ayinza okwetamwa. Naye okukijjukira nti waliwo ab’oluganda abalala bangi mu nsi aboolekagana n’embeera ng’eyaffe kituyamba okuguma. Yakuwa ayambye bangi abali obwannamunigina okwaŋŋanga ebizibu n’okufuna essanyu mu bulamu.—1 Peet. 5:9, 10.
Abakristaayo bangi bakizudde nti waliwo emiganyulo egiri mu kuba obwannamunigina. Ester ali obwannamunigina ng’atemera mu 30 agamba nti: “Nze ndowooza nti okuba omusanyufu kiva mu kumanya ebirungi ebiri mu mbeera yonna gy’obaamu.” Carmen agattako nti: “Nkimanyi nti Yakuwa tayinza kunnyima kintu kirungi kyonna nga nkulembezza Obwakabaka, ka mbe mufumbo oba nedda.” (Zab. 84:11) “Wadde ng’ebintu ebimu mu bulamu bwange tebigenze nga bwe nnali nsuubira, ndi musanyufu era nja kweyongera okuba omusanyufu.”
Abaali Obwannamunigina mu Biseera bya Baibuli
Muwala wa Yefusa teyalina nteekateeka kusigala ng’ali bwa nnamunigina. Naye obweyamo kitaawe bwe yali akoze bwamuwaliriza okuweereza mu weema ey’okusisinkaniramu obulamu bwe bwonna okuva nga muvubuka. Tewali kubuusabuusa nti obuweereza buno bwe yali teyeetegekedde bwamuwaliriza okukyusa mu nteekateeka ze n’okwefiiriza ebintu bingi bye yali ayagala mu bulamu. Yamala emyezi ebiri ng’akungubaga olw’okuba yali tagenda kufumbirwa na kuzaala baana. Wadde kyali kityo, yakkiriza embeera eyo era yaweereza n’obumalirivu obulamu bwe bwonna. Abakazi b’omu Isiraeri baagendanga ne bamuzzaamu amaanyi buli mwaka olw’omwoyo ogw’okwefiiriza gwe yalaga.—Balam. 11:36-40.
Mu biseera bya Isaaya, kirabika abantu abamu abaali abalaawe tebaali basanyufu. Baibuli tewa nsonga lwaki abantu abo baalaayibwanga. Abantu ng’abo baliko enkizo ze baali batakkirizibwa kufuna mu ggwanga lya Isiraeri, era baali tebasobola kuwasa ne bazaala abaana. (Ma. 23:1) Wadde kyali kityo, Yakuwa yalaga nti afaayo ku nneewulira yaabwe, era yabasiima olw’okugondera endagaano ye n’omutima gwabwe gwonna. Yasuubiza okubawa ‘ekijjukizo n’erinnya eritaliggwawo’ mu nnyumba ye. Bwe kityo, abalaawe abo abeesigwa baaweebwa essuubi ery’okuba n’obulamu obutaggwawo mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu. Yakuwa yali tayinza kubeerabira n’akatono.—Is. 56:3-5.
Ate ye Yeremiya embeera ye yali ya njawulo. Katonda bwe yamala okumulonda okuweereza nga nnabbi yamugamba aleme kuwasa olw’embeera enzibu eyaliwo mu biseera ebyo n’olw’omulimu gwe yali agenda okukola. Yakuwa yamugamba nti: “Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab’obuwala mu kifo kino.” (Yer. 16:1-4) Baibuli tetubuulira ngeri Yeremiya gye yawuliramu ng’aweereddwa ekiragiro ekyo, wadde ng’eyogera nti yali musajja asanyukira ennyo ekigambo kya Yakuwa. (Yer. 15:16) Tewali kubuusabuusa nti oluvannyuma Yeremiya yalaba obulungi bw’okugondera ekiragiro ekyo nga Yerusaalemi kizingiziddwa okumala emyezi 18.—Kung. 4:4, 10.
Engeri gy’Oyinza Okukozesaamu Obulamu Bwo
Abantu bonna aboogeddwako waggulu baali bwa nnamunigina, naye baalina obuwagizi bwa Yakuwa era beemalira ku buweereza bwe. Naffe tujja kuba n’obulamu obw’amakulu bwe tunaakola kye kimu. Baibuli yalagula nti abakazi ababuulira amawulire amalungi bandibadde ggye ddene nnyo. (Zab. 68:11) Mu bo mwe muli bannyinaffe abali obwa nnamunigina nkumu, era obuweereza bwabwe buvuddemu ebibala bingi ne bafuna abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala ab’eby’omwoyo.—Mak. 10:29, 30; 1 Bas. 2:7, 8.
Loli amaze emyaka 14 mu buweereza ng’obwo agamba nti: “Okuweereza nga payoniya kinnyambye okuba n’obulamu obw’essanyu. Olw’okuba ndi bwa nnamunigina, nnina eby’okukola bingi nnyo, era ekyo kinnyamba obutawuubaala. Buli lunaku lwe mmalako mba mumativu olw’engeri obuweereza bwange gye buyambamu abantu. Kino kimpa essanyu lya nsusso.”
Bannyinaffe bangi bayize okwogera ennimi endala, ne bagaziyizza obuweereza bwabwe nga babuulira abantu aboogera ennimi engwira. Ana eyayogeddwako waggulu anyumirwa nnyo okubuulira abantu aboogera Olufalansa. Agamba nti: “Mu kibuga mwe mbeera mulimu abagwira bangi. Okuyiga olulimi bangi ku bo lwe boogera kinnyambye okugaziya obuweereza bwange n’okubufunamu essanyu.”
Olw’okuba abantu abali obwannamunigina oluusi baba n’obuvunaanyizibwa butono, abamu bakozesa akakisa ako ne bagenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Lidiana, mwannyinaffe ali obwa nnamunigina atemera mu 30 era ng’aweerezzaako mu nsi ezitali zimu, agamba nti: “Nkizudde nti gy’okoma okukola ennyo mu kuweereza Yakuwa, gy’okoma okufuna emikwano n’okuwulira nti abalala bakwagala. Nfunye emikwano mingi mu mawanga ag’enjawulo era ekyo kindeetedde essanyu lingi mu bulamu.”
Baibuli eyogera ku Firipo omubuulizi w’enjiri eyalina abawala abana abataali bafumbo, abaayogeranga obunnabbi. (Bik. 21:8, 9) Bateekwa okuba nga nabo baali banyiikivu mu buweereza bwabwe nga kitaabwe. Kirabika baakozesanga ekirabo kyabwe ekyo eky’okwogera obunnabbi okuganyula Bakristaayo bannaabwe mu Kayisaliya. (1 Kol. 14:1, 3) Ne leero, bannyinaffe bangi abali obwannamunigina bazzaamu abalala amaanyi nga babeerawo mu nkuŋŋaana era nga bazenyigiramu.
Ku luuyi olulala, Baibuli eyogera bulungi ku Ludiya, omukyala Omukristaayo eyali mu Firipi eyasembezanga ennyo ab’oluganda. (Bik. 16:14, 15, 40) Ludiya—alabika nga yali bwa nnamunigina oba nnamwandu—yalina omwoyo omugabi, era bw’atyo yakyazanga nnyo abalabirizi abatambula, omwali Pawulo, Siira, ne Lukka. Ne leero, okulaga omwoyo ng’ogwo kivaamu emikisa mingi.
Oyinza Kukola Ki Okwagalibwa?
Ng’oggyeko okukola ebintu ebifuula obulamu bwaffe obw’amakulu, ffenna twagala okulagibwa ekisa n’okwagala. Kino abantu abali obwannamunigina bayinza batya okukituukako? Ekisooka, Yakuwa mwetegefu okutulaga okwagala, okutuzzaamu amaanyi era n’okutuwuliriza. Wadde nga Kabaka Dawudi ebiseera ebimu yawuliranga ‘ng’alekeddwa omu era ng’abonaabona,’ yali akimanyi nti asobola okusaba Yakuwa okumuyamba. (Zab. 25:16; 55:22) Yawandiika nti: ‘Kitange ne mmange ne bwe bandeka, Yakuwa asobola okunzijanjaba.’ (Zab. 27:10) Yakuwa ayagala nnyo abaweereza okumusemberera, bafuuke mikwano gye egy’oku lusegere.—Zab. 25:14; Yak. 2:23; 4:8.
Okugatta ku ekyo, mu luganda lwaffe olw’ensi yonna tusobola okufunamu bataata, bamaama, bannyinaffe ne baganda baffe bangi abatwagala. (Mat. 19:29; 1 Peet. 2:17) Abakristaayo bangi abali obwa nnamunigina bafuna essanyu mu kugoberera ekyokulabirako kya Doluka ‘eyayitirira mu kukola ebikolwa ebirungi ne mu kugabira abaavu.’ (Bik. 9:36, 39) Loli agamba nti: “Buli gye ŋŋenda, nfunayo ab’oluganda mu kibiina abanjagala era abasobola okumbudaabuda nga mpeddemu amaanyi. Okusobola okunyweza omukwano ogwo, nange nfuba okufaayo ku balala n’okubalaga okwagala. Mpeerezza mu bibiina eby’enjawulo munaana, era mu byonna nfunyeemu emikwano egya nnamaddala. Bangi ku bo tetwenkanya myaka—abamu bannamukadde ate abalala batiini.” Mu buli kibiina mubaamu abantu abeetaaga okulagibwa okwagala. Bwe tufaayo ku bantu ng’abo ne tubalaga okwagala, nabo kibaleetera okutwagala.—Luk. 6:38.
Katonda Tayinza Kwerabira
Baibuli eraga nti olw’ebiseera ebizibu bye tulimu, Abakristaayo bonna balina okubaako engeri gye beefiirizaamu. (1 Kol. 7:29-31) Abo abali obwannamunigina olw’okuba bagondera ekiragiro eky’okufumbirwa mu Mukama waffe mwokka bagwanidde okusiimibwamu ak’ensusso. (Mat. 19:12) Naye eky’okuba nti beefiiriza mu ngeri eyo tekitegeeza nti tebasobola kuba basanyufu mu bulamu.
Lidiana agamba nti: “Okuweereza Yakuwa n’okuba n’enkolagana ennungi naye binnyambye okuba omumativu mu bulamu. Abantu abamu abafumbo be mmanyi basanyufu ate abalala si basanyufu. Kino kindaga nti nsobola okuba omusanyufu, ne bwe mba nga sifumbiddwa.” Nga Yesu bwe yagamba, essanyu liva mu kugaba awamu n’okuweereza abalala, ekintu Abakristaayo bonna kye basobola okukola.—Yok. 13:14-17; Bik. 20:35.
Awatali kubuusabuusa, ekintu ekisingayo okutuwa essanyu kwe kumanya nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa olw’okuba twefiirizza tusobole okukola by’ayagala. Baibuli etukakasa nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.”—Beb. 6:10.
[Obugambo obuli wansi]
a Wadde nga wano twogera ku bannyinaffe, emisingi egyo gikwata ne ku baganda baffe.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 25]
“Ndowooza ku birungi bye nnina, ebyo bye sirina sibirowoozaako.”—Carmen
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Loli ne Lidiana bafuna essanyu mu kuweereza awali obwetaavu obusingako
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Katonda ayagala nnyo abaweereza be bonna okumusemberera