Semberera Katonda
Yakuwa Atwala Abantu Abawombeefu nga ba Muwendo
AMALALA, obuggya, n’okwagala obukulu, ze zimu ku ngeri ezeeyolekera ennyo mu bantu ababa basukkulumye ku balala mu nsi eno. Naye engeri ng’ezo zisobola okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda? Nedda! Yakuwa ayagala abo abamusinza babeere bawombeefu. Kino tukikakasiza ku ebyo ebiri mu Okubala essuula 12. Bino byaliwo Abaisiraeri bwe baali mu ddungu lya Sinaayi oluvannyuma lw’okununulibwa okuva e Misiri.
Miryamu ne Alooni, ‘baatandika okwogera obubi’ ku muto waabwe Musa. (Olunyiriri 1) Mu kifo ky’okwogera ne Musa, baamwogerako bubi, era oboolyawo baamwemulugunyaako n’eri abantu abalala abaali mu lusiisira. Miryamu asooka okwogerwako mu lunyiriri olwo, kirabika ye yatandiikiriza okwemulugunya kuno. Ensonga esooka eyabaleetera okwemulugunya kwe kuba nti Musa yali awasizza omukazi Omukuusi. Kyandiba nti Miryamu yafuna obuggya ng’alowooza nti omukyala ono ataali Muisiraeri bandimuwadde ekitiibwa okusinga ye?
Waliwo ensonga endala ezaabaleetera okwemulugunya. Miryamu ne Alooni baagambanga nti: “Mukama yayogera ne Musa yekka? Era teyayogera naffe?” (Olunyiriri 2) Kyandiba nti ekyabaleetera okwemulugunya kwe kwagala okufuna obuyinza n’ekitiibwa?
Okusinziira ku ebyo ebiri mu nnyiriri ezo, Musa tewali kye yaddamu abo abaali beemulugunya. Awatali kubuusabuusa, Musa yasirika era n’agumira ebyo byonna ebyali bimwogerwako. Eky’okuba nti Musa yagumiikiriza ebyo byonna, kyongera okukakasa ekyo Baibuli ky’emwogerako nti yali ‘musajja muwombeefu nnyo okusinga abantu bonna’ abaali ku nsi yonna.a (Olunyiriri 3) Musa kyali tekimwetaagisa kwewozaako. Yakuwa yali awulira ebyali bimwogerwako era yamulwanirira.
Yakuwa yakitwala nti abo abaali beemulugunyiza Musa baali beemulugunyiza ye kennyini. Gw’ate oba, ye yali alonze Musa. Katonda bwe yali ng’anenya abo abaali beemulugunya, yabajjukiza nti yali alina enkolagana ya njawulo nnyo ne Musa. Yagamba nti: ‘Ye njogera naye kamwa ku kamwa.’ Oluvannyuma Yakuwa yabuuza Miryamu ne Alooni nti “Kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku . . . Musa?” (Olunyiriri 8) Bwe baayogera obubi ku Musa, mazima ddala baali boogera bubi ku Katonda. Katonda yali agenda kubabonereza olw’obutamussaamu kitiibwa.
Miryamu, eyatandiikiriza okwemulugunya okwo, yakubwa ebigenge. Amangu ddala Alooni yeegayirira Musa asonyiwe Miryamu. Kiteeberezeemu, kati Miryamu yali yeetaaga obuyambi bwa Musa, oyo gwe yali ayogeddeko obubi. N’obuwombeefu, Musa yakola ekyo kye baali bamusabye. Ku mulundi gwe yasooka okwogera mu ssuula eno, Musa yeegayirira Yakuwa asonyiwe mwannyina. Miryamu yawonyezebwa ebigenge, naye yalina okugumira obuswavu obw’okusibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu.
Ebiri mu ssuula eno bituyamba okutegeera engeri Yakuwa z’asiima era n’ezo z’akyawa. Bwe tuba twagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, tulina okufuba ennyo okweggyamu amalala, obuggya, n’okwagala obukulu. Yakuwa ayagala nnyo abantu abawombeefu. Asuubiza nti: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:11; Yakobo 4:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Obuwombeefu ngeri nnungi nnyo esobozesa omuntu okugumira obutali bwenkanya era ne yeewala okwesasuza.