Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Waliwo essuubi lyonna nti omwana eyafa nga tannazaalibwa alizuukira?
Omukazi oluba okufuna olubuto ng’omwana atandika okuba omulamu. Yakuwa asobola okuzuukiza omuntu yenna ne bw’aba yafa tannatuuka kuzaalibwa, kubanga “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.” (Mak. 10:27) Kyokka Baibuli terina w’ekyogerera butereevu nti Yakuwa ajja kuzuukiza abaana abaafa nga tebannazaalibwa.—4/15, olupapula 12, 13.
• Kiki kye tuyigira ku nkuyege, akamyu, enzige, n’omunya?
Ebitonde bino ebina birina amagezi mangi nnyo. Bwe kityo biraga nti Katonda alina amagezi mangi nnyo. (Nge. 30:24-28)—4/15, olupapula 16-19.
• Mu mwaka 2009, kintu ekikulu Abajulirwa ba Yakuwa kye bajjukira ekyaliwo emyaka 100 emabega?
Mu 1909 ofiisi enkulu eya Watch Tower Bible and Tract Society, ekibiina ekikuba ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, yaggibwa e Pittsburgh mu Pennsylvania, n’ezzibwa e Brooklyn mu New York, gy’eri n’okutuusa kati.—5/1-E, olupapula 22-24.
• Okusinziira ku Baibuli, lwaki okusirikamu kirungi?
Baibuli eraga nti okusirikamu kiyamba mu kufumiitiriza, kiyinza okulaga okuwa abalala ekitiibwa era kiyinza okulaga amagezi n’okutegeera. (Zab. 37:7; 63:6; Nge. 11:12)—5/15, olupapula 3-5.
• Kintu ki John Wycliffe, William Tyndale, Robert Morrison, ne Adoniram Judson kye bafaanaganya?
Bonna baali baagala nnyo Ekigambo kya Katonda era baakivvuunula mu nnimi abantu aba bulijjo ze baali basobola okusoma. Wycliffe ne Tyndale baakivvuunula mu Lungereza, Morrison yakivvuunula mu Lukyayina, ne Judson yakuvvuunula mu Lubama (Myanmar).—6/1-E, olupapula 8-11.
• Bakabaka ba Yuda bameka abaalaga nti baagala nnyo ennyumba ya Katonda?
Ku bakabaka 19 abaafuga Yuda, abaalaga nti baagala nnyo ennyumba ya Katonda baali bana—Asa, Yekosofaati, Keezeekiya, ne Yosiya.—6/15, olupapula 7-11.
• Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna beenyigira mu kuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo?
Nedda. Abaafukibwako amafuta bonna bali mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi, naye abo abali ku Kakiiko Akafuzi bokka be balabirira omulimu gw’okuteekateeka emmere ey’eby’omwoyo.—6/15, olupapula 22-24.
• Lwaki ekyambalo kya Yesu eky’omunda abasirikale Abaruumi bakitwala nga kya muwendo?
Abasirikale abaaliwo nga Yesu attibwa baagaana okuyuzaamu ekyambalo kye okukigabana. Ebyambalo ebya bulijjo byatungibwanga mu bitundu by’engoye bibiri nga bigattiddwa n’ewuzi. Naye ekya Yesu kyali kya muwendo nnyo olw’okuba tekyaliko wekyagattirwa.—7/1-E, olupapula 22.
• Okukwata abantu mu ngeri eraga okwagala kyafuula kitya Yesu ow’enjawulo ennyo ku bakulembeze b’eddiini?
Mu kifo ky’okulaga abantu ba bulijjo okwagala, abakulembeze b’eddiini baabayisangamu amaaso. Ate era baali tebaagala Katonda. Kyokka Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe era yasaasiranga abantu. (Mat. 9:36) Yali wa kisa eri abantu era yali abalumirirwa.—7/15, olupapula 15.
• Bizibu ki abafumbo bye bayinza okufuna mu nkwata y’ensimbi, era kiki ekiyinza okubayamba okubivvuunuka?
Obutakkaanya mu nkwata y’ensimbi kitera okuva ku butesigaŋŋana, era omwami n’omukyala bombi baba baakulira mu mbeera za njawulo. Ebintu bina ebiyinza okubayamba: Okuyiga okwogera ku by’ensimbi mu bukkakkamu, okutwala ssente ze muyingiza nga zammwe mwembi, okukkiriziganya ku nfulumya yaazo, n’okusalawo buli omu ky’avunaanyizibwa okukola.—8/1-E, olupapula 10-12.