LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 9/15 lup. 25-29
  • Yakuwa ky’Akoze Okukununula Okitwala nga kya Muwendo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Yakuwa ky’Akoze Okukununula Okitwala nga kya Muwendo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ensonga Lwaki Twetaaga Okununulibwa
  • Yesu Yalina Kukola Ki Tusobole Okununulibwa?
  • Yakuwa Kyali Kimwetaagisa Ki Okusobola Okutununula?
  • Oyinza Otya Okulaga nti Okununulibwa Kintu kya Muwendo?
  • Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Yakuwa ky’Akoze Okununula Abantu Aboonoonyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ssaddaaka ez’Okutendereza Ezisanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Lwaki Katonda Yagamba Ibulayimu Okuwaayo Omwana We nga Ssaddaaka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 9/15 lup. 25-29

Yakuwa ky’Akoze Okukununula Okitwala nga kya Muwendo?

“Yakuwa Katonda wa Isiraeri atenderezebwe, kubanga asaasidde abantu be n’abanunula.”​—LUK. 1:68.

1, 2. Embeera embi gye tulimu oyinza kugigeraageranya ku ki, era bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

KUBA akafaananyi ng’oli ku kitanda mu ddwaliro. Mwenna nga bwe muli mu woodi mulina obulwadde bwe bumu era nga tebuuliko ddagala. Oddamu essuubi bw’owulira nti waliwo omusawo akola buli ekisoboka okubufunira eddagala, era oba oyagala nnyo okumanya buli ekifaayo. Lumu ogenda okuwulira nti eddagala lizuuliddwa, era nti omusawo atawanye nnyo okuzuula eddagala eryo. Muli wandiwulidde otya? Awatali kubuusabuusa, wandisiimye nnyo omusawo oyo olw’okutaasa obulamu bwo awamu n’obw’abalala.

2 Ekyokulabirako ekyo kiyinza okulabika ng’eky’okugereesa obugereesa, naye eyo ye mbeera ffenna mwe tuli. Mu butuufu embeera ya buli omu ku ffe embi n’okusinga ku eyo eyogeddwako waggulu. Twetaaga omuntu okutununula mu bwangu ddala. (Soma Abaruumi 7:24.) Okusobola okutununula, Yakuwa yayita mu bulumi bungi nnyo, era n’Omwana bw’atyo. Kati ka twetegereze ebibuuzo ebikulu bina. Lwaki twetaaga okununulibwa? Yesu yalina kukola ki tusobole okununulwa? Yakuwa yalina kukola ki okusobola okutununula? Tuyinza tutya okulaga nti Yakuwa by’akoze okutununula tubitwala nga bya muwendo?

Ensonga Lwaki Twetaaga Okununulibwa

3. Ekibi kifaananako kitya endwadde ekwata abantu era n’esaasaana mangu?

3 Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti emu ku ndwadde ezikyasinzeeyo okuba embi ye Sseseeba eyaliwo mu 1918 eyatta obukadde n’obukadde bw’abantu. Waliwo endwadde endala ez’akabi ennyo n’okusinga eyo. Wadde nga ziyinza obutakwata bantu bangi, abasinga ku abo bakwatibwa bafa.a Naye ate ekibi kya kabi kwenkana wa bwe kigeraageranyizibwa ku ndwadde ng’ezo? Lowooza ku bigambo bino ebiri mu Abaruumi 5:12: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” Okuba nti abantu bonna tebatuukiridde era boonoona kiraga nti ekibi kikwata abantu kikumi ku buli kikumi. (Soma Abaruumi 3:23.) Ate bameka abafa? Pawulo yagamba nti ekibi kireetera ‘abantu bonna’ okufa.

4. Yakuwa ayagala abantu babeerewo kumala bbanga ki, era kino kyawukana kitya ku ndowooza y’abantu bangi leero?

4 Abantu bangi leero ekibi n’okufa babitwala ng’ebintu ebya bulijjo. Kye batya ye muntu okufa nga bakyalina endasi, naye okufa obukadde bakitwala nga kya mu “butonde.” Kyangu abantu okutunuulira ebintu mu ngeri ey’enjawulo ennyo ku y’Omutonzi waffe. Ekiseera kye tumala nga tuli balamu kitono nnyo nnyo bw’obugeraageranya ku ekyo kye yali atwagaliza. Mu butuufu, tewali muntu yali awangadde n’aweza ekyo Yakuwa ky’alaba ‘ng’olunaku olumu.’ (2 Peet. 3:8) Eno ye nsonga lwaki Baibuli egamba nti obulamu bwaffe bumalawo kiseera buseera ng’omuddo, oba nti bwa luwunguko ng’omukka gwe tussa. (Zab. 39:5; 1 Peet. 1:24) Kino naffe twetaaga okukitegeera. Lwaki? Kubanga okukimanya nti “obulwadde” obutuluma bwa kabi nnyo kituyamba okukiraba nti “eddagala” eribujjanjaba lya muwendo nnyo. Eddagala lino kwe kununulibwa kwaffe.

5. Ekibi kyatufiiriza ki?

5 Okusobola okutegeera obubi bw’ekibi n’ebizibu bye kituleetera, tulina okusooka okutegeera ebintu bye kyatufiiriza. Kino kiyinza obutatubeerera kyangu olw’ensonga nti ebintu bye twafiirwa n’okubimanya tetubimanyi. Adamu ne Kaawa mu kusooka baalina obulamu obutuukiridde. Baali batuukiridde mu birowoozo ne mu mubiri, nga basobola bulungi okufuga ebirowoozo byabwe, enneewulira zaabwe n’ebikolwa byabwe. N’olwekyo baali basobola okukulaakulanya engeri ez’omuwendo ze baali beetaaga mu kuweereza Yakuwa Katonda. Naye ekirabo ekyo eky’obulamu obutuukiridde eky’omuwendo bwe kityo baakisambajja. Mu kusalawo okujeemera Yakuwa baafiirwa obulamu bwe yali abategekedde era ne babufiiriza ne bazzukulu baabwe. (Lub. 3:16- 19) Ng’oggyeko ekyo, beereetera “obulwadde” obw’akabi bwe twogeddeko waggulu era naffe ne babutusiiga. Mazima ddala kyali kigwana Yakuwa okubasalira omusango. Naye ffe atuwadde essuubi ery’okununulibwa.​—Zab. 103:10.

Yesu Yalina Kukola Ki Tusobole Okununulibwa?

6, 7. (a) Yakuwa yakiraga atya nti okutununula kyandizingiddemu okwefiiriza n’okuyita mu bulumi obw’amaanyi? (b) Tuyigira ki ku ssaddaaka ezaaweebwayo Abbeeri n’abasajja abalala abeesigwa ng’Amateeka tegannajja?

6 Yakuwa yali akimanyi nti okununula bazzukulu ba Adamu ne Kaawa kyandyetaagisizza okwefiiriza n’okuyita mu bulumi obw’amaanyi. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 butuwa ekifaananyi ku ekyo ekyandyetaagisizza tusobole okununulibwa. Yakuwa yanditaddewo “ezzadde,” oba omununuzi, eryandizikirizza Sitaani. Kyokka mu kukola kino, omununuzi oyo yandiyise mu kubonaabona ng’afuna ekiwundu ku kisinziiro mu ngeri ey’akabonero. Kino kiraga nti wandibaddewo okuyita mu bulumi obw’amaanyi, naye nga kitegeeza ki? Kiki Omulonde wa Yakuwa kye yandiyiseemu?

7 Okusobola okununula olulyo ly’omuntu okuva mu kibi, omununuzi yandibadde alina okuwaayo omutango oguggyawo ekibi, enkolagana y’abantu ne Katonda esobole okuddawo. Ekyo kyandizingiddemu ki? Kyeyoleka kuviira ddala mabega nti kyandyetaagisizza okuwaayo ssaddaaka. Abbeeri, ng’ono ye muntu omwesigwa eyasooka, bwe yawaayo ensolo nga ssaddaaka Yakuwa yamusiima. Oluvannyuma n’abasajja abaali batya Katonda nga Nuuwa, Ibulayimu, Yakobo, ne Yobu baawangayo ensolo nga ssaddaaka ne zisiimibwa Katonda. (Lub. 4:4; 8:20, 21; 22:13; 31:54; Yob. 1:5) Nga wayiseewo ebyasa ebiwerako, Amateeka ga Musa gaalaga nti okuwaayo ssaddaaka kyali kikulu nnyo.

8. Kabona omukulu yakolanga ki ku Lunaku olw’Okutangiririrako Ebibi?

8 Okusinziira ku Mateeka, ezimu ku ssaddaaka ezaali zisinga obukulu zeezo ezaaweebwangayo ku Lunaku olw’Okutangiririrako Ebibi. Ku lunaku olwo, kabona omukulu yakolanga ebintu bingi ebyalina amakulu ag’akabonero. Yawangayo ssaddaaka eri Yakuwa okutangirira ebibi​—okusooka ebya bakabona, n’oluvannyuma eby’abo abataali bakabona. Kabona omukulu yayingiranga Awasinga Obutukuvu mu weema oba mu yeekaalu, nga kino ye yekka eyakkirizibwanga okukikola era ng’akikola ku lunaku olwo lwokka. Ng’ali eyo, yamansiranga omusaayi gwa ssaddaaka mu maaso ga ssanduuko y’endagaano. Waggulu w’essanduuko eyo oluusi wabangawo ekire ekimasamasa, nga kiraga nti Yakuwa ali wamu n’abantu be.​—Kuv. 25:22; Leev. 16:1-30.

9. (a) Ku Lunaku olw’Okutangiririrako Ebibi, kabona omukulu yali akiikirira ani, era ssaddaaka ze yawangayo zaali zikiikirira ki? (b) Kabona omukulu okuyingira Awasinga Obutukuvu kyali kisonga ku ki?

9 Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okunnyonnyola amakulu agali mu ebyo kabona bye yakolanga. Yakiraga nti kabona omukulu yali akiikirira Masiya, Yesu Kristo, ate ng’okuwaayo ssaddaaka kwo kwali kukiikirira okufa kwa Kristo nga ssaddaaka. (Beb. 9:11-14) Ssaddaaka eyo eyali etuukiridde yandibadde mutango gwa bantu ba mirundi ebiri​—144,000 abandifukiddwako amafuta era abandifuuse ba kabona, ‘n’ab’endiga endala.’ (Yok. 10:16) Kabona omukulu okuyingira Awasinga Obutukuvu kyali kisonga ku kugenda kwa Yesu mu ggulu okuwaayo omuwendo gwa ssaddaaka y’ekinunulo mu maaso ga Yakuwa Katonda.​—Beb. 9:24, 25.

10. Obunnabbi bwa Baibuli bwayogera ki ku Masiya?

10 Awatali kubuusabuusa, okununula bazzukulu ba Adamu ne Kaawa kyali kizingiramu okwefiiriza okw’amaanyi n’okubonaabona. Masiya yandiwaddeyo obulamu bwe! Kino bannabbi bakyogerako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Danyeri yagamba nti “Masiya Omukulembeze” yali wa ‘kuttibwa’ okusobola “okutangirira ebibi.” (Dan. 9:24-26, NW) Isaaya yalagula nti okusobola okumalawo ebibi by’abantu, Masiya yandyegaaniddwa, n’ayigganyizibwa, era n’attibwa, oba n’afumitibwa.​—Is. 53:4, 5, 7.

11. Omwana wa Yakuwa yalaga atya nti yali mwetegefu okuwaayo obulamu bwe tusobole okununulibwa?

11 Nga tannajja ku nsi, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yali amanyi bye yandiyiseemu tusobole okununulibwa. Yandibonyaabonyezeddwa nnyo era oluvannyuma n’attibwa. Kitaawe bwe yamutegeeza ebintu ebyo, tekyamumalaamu maanyi wadde okumuleetera okujeema? Mu kifo ky’ekyo, yakkiriza okukola byonna Kitaawe bye yamulagira. (Is. 50:4-6) Ne bwe yali ku nsi, Yesu yali muwulize era yakola byonna Kitaawe bye yali ayagala. Lwaki? Eky’okuddamu kyeyolekera mu bigambo bye bino: “Njagala Kitange.” N’ekirala yagamba nti: “Tewali n’omu alina kwagala nga kuno, omuntu okuwaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.” (Yok. 14:31; 15:13) N’olwekyo okununulibwa kwaffe kwesigama nnyo ku kwagala okungi Omwana wa Yakuwa kw’alina. Wadde nga yalina okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde, yali musanyufu okukikola tusobole okununulibwa.

Yakuwa Kyali Kimwetaagisa Ki Okusobola Okutununula?

12. Okuwaayo ekinunulo yali nteekateeka y’ani, era lwaki yakiwaayo?

12 Yakuwa ye yakola enteekateeka y’okuwaayo ssaddaaka y’ekinunulo so si Yesu. Omutume Pawulo yalaga nti ekyoto ky’omu yeekaalu ssaddaaka kwe zaaweerwangayo kyali kikiikirira Yakuwa by’ayagala. (Beb. 10:10) N’olwekyo, Yakuwa y’atununula ng’ayitira mu ssaddaaka ya Kristo. (Luk. 1:68) Ekyo kiraga ekigendererwa kye ekituukiridde n’okwagala okw’ekitalo kw’alina eri abantu.​—Soma Yokaana 3:16.

13, 14. Ekyokulabirako kya Ibulayimu kituyamba kitya okusiima ebyo Yakuwa by’akoze okutununula?

13 Yakuwa yalina kugumira ki okusobola okutulaga okwagala mu ngeri eyo? Kino si kyangu kukitegeera. Kyokka Ebyawandiikibwa byogera ku kintu ekisobola okutuyamba okutegeera obulungi ensonga eno. Lumu Yakuwa yasaba Ibulayimu okukola ekintu ekyali eky’obulumi ennyo​—okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Kya lwatu nti Ibulayimu yali ayagala nnyo mutabani we. Era Yakuwa yamugamba nti waayo Isaaka ‘omwana wo omu yekka gw’oyagala ennyo.’ (Lub. 22:2) Kyokka Ibulayimu yakiraba nti wadde nga yali ayagala nnyo omwana we, okukola Yakuwa ky’ayagala kye kyali kisinga obukulu. Bw’atyo yakkiriza okukola Yakuwa kye yali amusabye. Naye Yakuwa teyaleka Ibulayimu kukola kintu Ye kennyini kye yali ateekateeka okukola. Yasindika malayika n’ayimiriza Ibulayimu nga tannasaddaaka mutabani we. Ibulayimu yali mumalirivu okugondera Katonda, wakati mu kugezesebwa okw’amaanyi, era ng’essuubi lyokka ly’asigazizza lyali lya kuddamu kulaba mutabani we ng’azuukiziddwa. Yali mukakafu nti Katonda yali ajja kumuzuukiza. Mu butuufu Pawulo yagamba nti eri Ibulayimu, Isaaka yazuukira “mu ngeri eky’akabonero.”​—Beb. 11:19.

14 Fumiitiriza ku bulumi Ibulayimu bwe yalimu ng’ateekateeka okussaddaaka mutabani we? Kino kituwa ekifaananyi ku ekyo Yakuwa kye yayitamu bwe yawaayo nga ssaddaaka oyo gwe yayita ‘Omwana we omwagalwa.’ (Mat. 3:17) Ate jjukira nti obulumi Yakuwa bwe yayitamu bwali busingako kubanga Ye yali amaze ne mutabani we emyaka butabalika. Omwana oyo yabanga mu ssanyu ng’ali ne Kitaawe “ng’omukozi we omukugu” era Omwogezi we, oba “Kigambo.” (Nge. 8:22, 30, 31, NW; Yok. 1:1) Tetusobola kutegeerera ddala bulumi Yakuwa bwe yayitamu ng’Omwana we abonyaabonyezebwa, avumibwa, era ng’attibwa ng’omumenyi w’amateeka. Ddala Yakuwa yayita mu bulumi bwa maanyi nnyo okutununula! Kati olwo tuyinza tutya okulaga nti okununulibwa kwaffe tukutwala nga kwa muwendo nnyo?

Oyinza Otya Okulaga nti Okununulibwa Kintu kya Muwendo?

15. Yesu yamaliriza ddi okuwaayo omutango, era ekyo kyavaamu mikisa ki?

15 Yesu yamaliriza okuwaayo omutango bwe yazuukizibwa n’addayo mu ggulu era n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Kitaawe. Ekyo kyavaamu emikisa mingi nnyo. Kati ebibi by’abantu byali bisobola okusonyiyirwa ddala, okusooka ebya baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta, n’oluvannyuma “eby’ensi yonna.” Olwa ssaddaaka eyo, abantu bonna leero abeenenya ebibi byabwe mu bwesimbu era ne bafuuka abagoberezi ba Kristo ab’amazima basobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda. (1 Yok. 2:2) Kino kikukwatako kitya?

16. Waayo ekyokulabirako ekiraga lwaki twandisiimye nnyo Yakuwa olw’okukola enteekateeka okutununula?

16 Ka tuddeyo ku kyokulabirako kye twalabye ku ntandikwa. Kuba akafaananyi ng’omusawo eyazudde eddagala ly’obulwadde obwo azze mu woodi mwe muli n’agamba nti: Buli mulwadde anakkiriza okujjanjabibwa era n’akozesa eddagala nga bw’anaalagirwa ajja kuwona. Singa balwadde banno bagaana ebiragiro by’omusawo oyo nga bagamba nti eddagala lye lijja kubatawaanya okukozesa oba nti kizibu okulikozesa nga bw’ayagala, oyinza okukkiriziganya nabo ng’olina obukakafu nti eddagala lye likola? Nedda! Omwebaza era n’omusiima olw’okubazuulira eddagala, era ogoberera ebiragiro bye n’obwegendereza, oboolyawo n’obuulirako n’abalala ku ky’osazeewo. Ffe tusaanidde okusiima n’okusinga awo, nga buli omu alaga Yakuwa nti atwala ng’eky’omuwendo okununulibwa kwe okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo ky’Omwana we.​—Soma Abaruumi 6:17, 18.

17. Oyinza otya okulaga okusiima olw’ebyo Yakuwa by’akoze okukununula?

17 Bwe tuba nga ddala tusiima ebyo Yakuwa n’Omwana we bye bakoze okusobola okutununula, tujja kukiraga. (1 Yok. 5:3) Tujja kufuba okwewala ebintu ebituleetera okukola ebibi. Tujja kwewala okukola ebibi mu bugenderevu, ekintu ekiyinza okutuviirako okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri. Bwe tutakola tutyo tuba ng’abagamba nti ekinunulo tetukirabamu mugaso. Tulina okulaga okusiima nga tufuba okusigala nga tuli bayonjo mu maaso ga Katonda. (2 Peet. 3:14) Era tulaga okusiima nga tubuulirako abalala ku ssuubi lyaffe ery’okununulibwa, nabo basobole okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa era babe n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. (1 Tim. 4:16) Yee, Yakuwa n’Omwana bagwanira buli kintu kyonna kye tuyinza okukola okubatendereza! (Mak. 12:28-30) Lowooza ku kino! Ekiseera kinaatera okutuuka tube nga tetukyafugibwa kibi. Tujja kuba n’obulamu Katonda bw’atwagaliza, obutuukiridde, obutaggwawo​—byonna bijja kusoboka olw’ebyo Yakuwa by’akoze okutununula!​—Bar. 8:21.

[Obugambo obuli wansi]

a Kigambibwa nti Sseseeba we yaggira yakwata abantu abaali wakati w’ebintu 20 ne 50 ku buli kikumi. Kiteeberezebwa nti ku abo abaakwatibwa obulwadde buno, abantu abali wakati w’ebitundu 1 ne 10 ku buli kikumi baafa. Ate bwo obulwadde bw’Ebola tebutera kukwata bantu, naye buli lwe bugwa mu kitundu butta abantu kumpi ebitundu 90 ku buli kikumi ku be buba bukutte.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki weetaaga okununulibwa mu bwangu?

• Yesu okwewaayo okutufiirira kikukwatako kitya?

• Owulira otya olw’ekinunulo Yakuwa kye yatuteerawo?

• Okuba nti Yakuwa yatuteerawo ekinunulo kikukubiriza kukola ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Ku Lunaku olw’Okutangiririrako Ebibi, kabona omukulu mu Isiraeri yakiikiriranga Masiya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Ibulayimu okukkiriza okuwaayo omwana we kituyigiriza bingi ku ssaddaaka ey’omuwendo Yakuwa gye yawaayo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza