LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 12/15 lup. 20-24
  • Masiya! Katonda mw’Ayitira Okuleeta Obulokozi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Masiya! Katonda mw’Ayitira Okuleeta Obulokozi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Ekyama Ekitukuvu” Ekikwata ku Masiya Kyabikkulwa Mpolampola
  • Ebiraga nti Yesu Ye Masiya
  • Okuwuliriza Masiya
  • Ensonga Lwaki Masiya Yalina Okufa
  • Okumaliriza Omulimu Gwe nga Masiya
  • Ozudde Masiya?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Baalindirira Okujja kwa Masiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yesu Kristo Ekisumuluzo ky’Okumanya Okukwata ku Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 12/15 lup. 20-24

Masiya! Katonda mw’Ayitira Okuleeta Obulokozi

“Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.”​—1 KOL. 15:22.

1, 2. (a) Andereya ne Firipo baakola ki bwe baasanga Yesu? (b) Lwaki tugamba nti obukakafu bwe tulina nti Yesu ye Masiya bungi okusinga obwo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baalina?

NGA mukakafu nti Yesu ow’e Nazaaleesi y’Oyo Katonda gwe yafukako amafuta, Andereya yagamba muganda we Peetero nti: “Tuzudde Masiya.” Firipo naye bwe yakitegeera yagenda eri mukwano gwe Nassanayiri n’amugamba nti: “Tusanze Yesu omwana wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa gwe yawandiikako mu Mateeka era ne Bannabbi gwe baawandiikako.”​—Yok. 1:40, 41, 45.

2 Naawe oli mukakafu nti Yesu ye Masiya, “Omubaka Omukulu ow’obulokozi” eyalondebwa Yakuwa? (Beb. 2:10) Leero, obukakafu bwe tulina nti Yesu ye Masiya bungi okusinga obwo abagoberezi be ab’omu kyasa ekyasooka bwe baalina. Ebyogerwa ku Yesu mu Byawandiikibwa okuva lwe yazaalibwa okutuusa lwe yazuukizibwa biwa obukakafu nti ye yali Kristo. (Soma Yokaana 20:30, 31.) Baibuli eraga nti Yesu yandyeyongedde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga Masiya ng’azzeeyo mu ggulu. (Yok. 640; soma 1 Abakkolinso 15:22.) Ng’osinziira ku by’oyize mu Baibuli, naawe osobola okugamba nti ‘ozudde Masiya.’ Naye sooka weetegereze ebyo ebyayamba abayigirizwa mu kyasa ekyasooka okutegeera nti baali bazudde Masiya.

“Ekyama Ekitukuvu” Ekikwata ku Masiya Kyabikkulwa Mpolampola

3, 4. (a) Abayigirizwa b’omu kyasa ekyasooka baasobola batya ‘okuzuula Masiya’? (b) Lwaki obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya bwatuukirizibwa ku Yesu yekka?

3 Abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baamanya batya nti ddala Yesu ye yali Masiya? Okuyitira mu bannabbi, Yakuwa yajja ayogera ku bintu ebyandiyambye abantu okumanya Masiya eyasuubizibwa. Kino omwekenneenya wa Baibuli omu yakigeraageranya ku kupanga ekibumbe ekitemeddwatemeddwamu. Kuba akafaananyi ng’abasajja bangi abatamanyiganye basisinkanye, era nga buli omu aleese akatundu k’ekibumbe. Singa obutundu buno bugattibwagattibwa ne buvaamu ekibumbe ekiramba, tewaba kubuusabuusa nti waliwo eyatemaatemamu ekibumbe ekyo, obutundu bwakyo n’abukwasa abasajja abo. Okufaananako obutundutundu obwo obukola ekibumbe, buli bunnabbi obukwata ku Masiya bulina ekintu ekikulu kye butubuulira ku Masiya.

4 Kyandisobose obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya okutuukirizibwa ku muntu omu mu butanwa? Omwekenneenya omu yagamba nti tekisoboka kuba nti obunnabbi bwonna obukwata ku Masiya bwatuukirizibwa ku Yesu mu butanwa. Bw’atyo yawunzika ng’agamba nti, “Mu byafaayo by’omuntu byonna, Yesu ye yekka gwe bwatuukirizibwako.”

5, 6. (a) “Ekyama ekitukuvu” ekyatandika okutuukirizibwa ku Yesu kye kiruwa? (b) Katonda yagenda alaga atya olunyiriri “ezzadde” mwe lyandivudde?

5 Obunnabbi obukwata ku Masiya kyali ‘kyama ekitukuvu’ ekirimu ebintu ebikulu ebikwata ku butonde bwonna. (Bak. 1:26, 27; Lub. 3:15) Mu kyama ekyo mwe mwali n’omusango ogwasalirwa Sitaani Omulyolyomi, “omusota ogw’edda,” eyaviirako abantu okwonoona n’okufa. (Kub. 12:9) Omusango ogwo gwanditeekeddwa gutya mu nkola? Yakuwa yalagula nti “ezzadde” eryandizaaliddwa “omukazi” lyandibetense Sitaani omutwe. “Ezzadde” eryasuubizibwa lyandibetense omutwe gw’omusota, ne lizikiriza oyo eyavaako obujeemu, okulwala, n’okufa. Kyokka, Katonda yandisoose kuleka Sitaani abetente ekisinziiro eky’akabonero ‘eky’ezzadde’ ly’omukazi.

6 Yakuwa yagenda alaga mpolampola oyo eyandibadde “ezzadde.” Katonda yalayirira Ibulayimu nti: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa.” (Lub. 22:18) Musa yalagula nti Oyo yandibadde ‘nnabbi’ asinga Musa obukulu. (Ma. 18:18, 19) Dawudi yakakasibwa, era ne bannabbi oluvannyuma ne bakiggumiza, nti Masiya yali wa kuva mu lunyiriri lwe era nti yandisikidde entebe ya Dawudi emirembe gyonna.​—2 Sam. 7:12, 16; Yer. 23:5, 6.

Ebiraga nti Yesu Ye Masiya

7. Mu ngeri ki Yesu gye yazaalibwa “omukazi” wa Katonda?

7 Katonda yatuma Omwana we omubereberye w’ebitonde byonna abeere “ezzadde” eryasuubizibwa, ng’ava mu kibiina kye eky’omu ggulu eky’ebitonde eby’omwoyo, ky’atwala nga mukazi we. Kino kyali kyetaagisa Omwana wa Katonda oyo eyazaalibwa omu yekka ‘okweggyako ekitiibwa’ eky’obulamu obw’omu ggulu, azaalibwe ng’omuntu atuukiridde. (Baf. 2:5-7; Yok. 1:14) Okuba nti Maliyamu ‘yaliko’ omwoyo omutukuvu kyalaga nti eyandizaaliddwa ‘yandiyitiddwa Mwana wa Katonda.’​—Luk. 1:35.

8. Yesu yatuukiriza atya obunnabbi obukwata ku Masiya bwe yabatizibwa?

8 Obunnabbi obukwata ku Masiya bwalaga ekifo n’ekiseera Yesu we yandirabikidde. Yesu yazaalibwa Besirekemu nga bwe kyalagulwa. (Mi. 5:2) Abayudaaya mu kyasa ekyasooka baalina bingi bye basuubira mu Masiya. Olw’okuba mu kiseera ekyo baali bamusuubira, abamu bwe baalaba Yokaana Omubatiza beebuuza: “Yandiba nga ye Kristo?” Naye Yokaana yabaddamu nti: “Ansinga obuyinza ajja.” (Luk. 3:15, 16) Bwe yabatizibwa Yokaana ku myaka 30 mu 29 E.E., Yesu yeeyanjula nga Masiya mu kiseera kyennyini ekituufu. (Dan. 9:25) Oluvannyuma yatandika obuweereza bwe n’agamba nti: “Ekiseera ekigereke kituuse, era obwakabaka bwa Katonda busembedde.”​—Mak. 1:14, 15.

9. Wadde nga waaliwo bye batamanyi, abayigirizwa ba Yesu baali bakakafu ku ki?

9 Kyokka, abantu baalina okukyusa mu bye baali basuubira. Baali batuufu okutendereza Yesu nga Kabaka, naye baali tebamanyi nti yali wa kufuga mu kiseera kya mu maaso ate ng’afugira mu ggulu. (Yok. 12:12-16; 16:12, 13; Bik. 2:32-36) Wadde kyali kityo, Yesu bwe yabuuza nti, “Mmwe mugamba nti nze ani?” Peetero yaddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” (Mat. 16:13-16) Peetero era yaddamu mu ngeri y’emu bangi bwe beesittala ne baabulira Yesu olw’ebyo bye yali ayigirizza.​—Soma Yokaana 6:68, 69.

Okuwuliriza Masiya

10. Lwaki Yakuwa yalaga nti kikulu okuwuliriza Omwana we?

10 Bwe yali mu ggulu, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yali kitonde kya mwoyo eky’amaanyi. Bwe yajja ku nsi, Yesu yali ‘akiikiridde Kitaawe.’ (Yok. 16:27, 28) Yagamba nti: “Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma.” (Yok. 7:16) Mu kufuusibwa kwa Yesu, Yakuwa yalaga nti Yesu ye yali Masiya bwe yagamba nti: “Mumuwulirize.” (Luk. 9:35) Yee, kyali kikulu okuwuliriza, oba okugondera, Oyo eyalondebwa. Kino kyali kyetaagisa okuba n’okukkiriza n’okukola ebikolwa ebirungi​—nga byombi bikulu okusobola okusanyusa Katonda n’okufuna obulamu obutaggwawo.​—Yok. 3:16, 35, 36.

11, 12. (a) Lwaki Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baagaana okukkiriza Yesu nga Masiya? (b) Baani abakkiriza Yesu?

11 Wadde nga waaliwo obukakafu bungi obulaga nti Yesu ye Masiya, Abayudaaya abasinga obungi mu kyasa ekyasooka baagaana okumukkiriza. Lwaki? Kubanga baalina ebintu bo bye baali basuubira Masiya okukola, omwali n’okwenyigira mu by’obufuzi abanunule okuva mu ffugabbi ly’Abaruumi. (Soma Yokaana 12:34.) Bwe kityo baagaana okukkiriza Masiya eyatuukiriza obunnabbi obwali bugamba nti yandinyoomeddwa, yandyewaliddwa abantu, yandirabye ennaku, yandimanyidde obulwadde, era nti oluvannyuma yandittiddwa. (Is. 53:3, 5) N’abamu ku bayigirizwa ba Yesu abeesigwa baayisibwa bubi olw’okuba teyabanunula kuva mu bufuzi bwa Baruumi. Naye bo baamunyweererako, era oluvannyuma baategeera ekituufu.​—Luk. 24:21.

12 Ensonga endala lwaki abantu baagana okukkiriza Yesu nga Masiya yali nti ebintu ebimu bye yayigiriza byabazibuwalira okukkiriza. Okusobola okuyingira mu Bwakabaka, omuntu yalina ‘okulekera awo okwetwala yekka,’ ‘okulya’ omubiri gwa Yesu n’omusaayi gwe, ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,’ ‘n’obutaba wa nsi.’ (Mak. 8:34; Yok. 3:3; 6:53; 17:14, 16) Ebintu ng’ebyo abantu ab’amalala, abagagga, ne bannanfuusi baalaba nga bizibu okutuukiriza. Kyokka bo Abayudaaya abawombeefu bakkiriza Yesu nga Masiya, era n’Abasamaliya abamu baagamba nti: “Ddala omusajja ono ye mulokozi w’ensi.”​—Yok. 4:25, 26, 41, 42; 7:31.

13. Yesu yabetentebwa atya ekisinziiro?

13 Yesu yalagula nti bakabona abakulu bandimusalidde ogw’okufa, Ab’amawanga bandimukomeredde, era nti yandizuukidde ku lunaku olw’okusatu. (Mat. 20:17-19) Bwe yakakasa ab’Olukiiko Olukulu nti ye yali “Kristo Omwana wa Katonda,” bo baakitwala ng’okuvvoola. (Mat. 26:63-66) Okusinziira ku Piraato, ‘Yesu teyakola kintu kyonna kyali kimugwanyiza kufa,’ naye olw’okuba Abayudaaya baali bamusibyeeko n’ogw’okujeemesa abantu, Piraato ‘yawaayo Yesu nga bwe baali baagala.’ (Luk. 23:13-15, 25) Mu ngeri eyo, ‘beegaana’ era beekobaana okutta “Omubaka Omukulu ow’Obulamu,” wadde nga waaliwo obujulizi bungi obulaga nti yali atumiddwa Katonda. (Bik. 3:13-15) Nga bwe kyalagulwa, Masiya ‘yasalibwako’ bwe yakomererwa ku muti ku lunaku lw’embaga y’Okuyitako mu 33 E.E. (Dan. 9:26, 27, NW; Bik. 2:22, 23) Okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe kwe kwali okubetentebwa “ekisinziiro” nga bwe kyalagulwa mu Olubereberye 3:15.

Ensonga Lwaki Masiya Yalina Okufa

14, 15. (a) Yakuwa yaleka Yesu okufa lwa nsonga ki ebbiri? (b) Yesu yakola ki ng’azuukiziddwa?

14 Waliwo ensonga bbiri enkulu lwaki Yakuwa yaleka Yesu okuttibwa. Esooka, Yesu okusigala nga mwesigwa okutuusa okufa kyagonjoola ensonga enkulu ekwata ku ‘kyama ekitukuvu.’ Yakiraga mu bujjuvu nti omuntu atuukiridde asobola “okwemalira ku Katonda” era n’awagira obufuzi Bwe, Sitaani ne bw’amugezesa kwenkana wa. (1 Tim. 3:16) Ey’okubiri, nga Yesu bwe yagamba, ‘Omwana w’omuntu yajja okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Mat. 20:28) “Ekinunulo [kino] ekituukirawo” kyaweebwayo ng’omutango olw’ekibi n’okufa ebyasikirwa bazzukulu ba Adamu, kisobozese abo bonna abakkiririza mu Yesu, oyo Katonda mw’ayitira okuleeta obulokozi, okufuna obulamu obutaggwawo.​—1 Tim. 2:5, 6.

15 Nga yaakamala ennaku ssatu mu ntaana, Kristo yazuukizibwa era yalabikira abayigirizwa be okumala ennaku 40, n’abakakasa nti yali mulamu era n’ayongera okubawa obulagirizi. (Bik. 1:3-5) Oluvannyuma yagenda mu ggulu n’awaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye eri Yakuwa era n’alinda ekiseera ky’okubeerawo kwe mu Bwakabaka bwa Masiya kituuke. Nga bw’alindirira, yalina eby’okukola bingi.

Okumaliriza Omulimu Gwe nga Masiya

16, 17. Nga masiya, Yesu akola ki ng’agenze mu ggulu.

16 Okuva lwe yazuukizibwa, Yesu abadde alabirira ekibiina Ekikristaayo era ng’akifuga nga Kabaka. (Bak. 1:13) Ng’ekiseera kituuse, yanditandise okukozesa obuyinza bwe nga Kabaka. Obunnabbi bwa Baibuli n’ebyo ebibaddewo mu nsi biraga nti ekiseera ky’okubeerawo kwe nga Kabaka ‘n’eky’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu’ byatandika mu 1914. (Mat. 24:3; Kub. 11:15) Amangu ddala yakulembera bamalayika abatukuvu okugoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu.​—Kub. 12:7-10.

17 Omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza Yesu gwe yatandika mu 29 E.E. gunaatera okukomekkerezebwa. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kulamula abalamu bonna. Ajja kugamba abo abalinga endiga era abakkiriza nti mu ye Yakuwa mw’ayitira okuleeta obulokozi ‘basikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.’ (Mat. 25:31-34, 41) Abo abagaana okukkiriza Yesu nga Kabaka bajja kuzikirizibwa bw’anaaduumira eggye ery’omu ggulu okumalawo obubi bwonna. Oluvannyuma Yesu ajja kusiba Sitaani ne badayimooni abasuule mu ‘bunnya.’​—Kub. 19:11-14; 20:1-3.

18, 19. Nga Masiya, bintu ki Yesu by’ajja okutuukiriza, era abantu abawulize banaafuna mikisa ki?

18 Mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kukiraga nti ye ‘Muwi w’Amagezi ow’Ekitalo, Katonda ow’Amaanyi, Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, era Omulangira ow’Emirembe.’ (Is. 9:6, 7, NW) Mu bufuzi bwe, abantu bajja kufuuka abatuukiridde, nga mu bo mwe mujja okuba n’abo abanaazuukizibwa. (Yok. 5:26-29) Masiya ajja kutwala abantu abawulize eri “ensulo ez’amazzi ag’obulamu,” basobole okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Soma Okubikkulirwa 7:16, 17.) Oluvannyuma lw’okugezesebwa okusembayo, abajeemu bonna, omuli Sitaani ne badayimooni, bajja ‘kusuulibwa mu nnyanja ey’omuliro,’ nga kuno kwe kubetentebwa kw’omutwe ‘gw’omusota.’​—Kub. 20:10.

19 Nga Yesu atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga Masiya mu ngeri ey’ekitalo! Ensi empya ejja kubaamu abantu abalokoleddwa, era abajja okunyumirwa obulamu obutuukiridde emirembe gyonna. Erinnya lya Yakuwa ettukuvu lijja kuba liggiddwako ekivume, era kijja kuba kyeyolese bulungi nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Ng’abo bonna abagondera Oyo Katonda gwe yafukako amafuta bajja kufuna emikisa egy’ekitalo!

Ozudde Masiya?

20, 21. Nsonga ki ezikuleetera okubuulira abalala ebikwata ku Masiya?

20 Okuva mu 1914 tubadde mu kiseera eky’okubeerawo kwa Kristo. Wadde ng’okubeerawo kwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda tekulabibwa bantu, kutegeererwa ku bunnabbi obutuukirizibwa. (Kub. 6:2-8) Naye okufaananako Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka, abantu abasinga obungi leero tebafaayo ku bukakafu obulaga okubeerawo kwa Masiya. Nabo baagala masiya nga munnabyabufuzi oba waakiri oyo ayitira mu bufuzi bw’abantu. Naye ggwe tewasanyuka nnyo bwe wakimanya nti Yesu kati afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda? Yee, okufaananako abayigirizwa ab’omu kyasa ekyasooka, wasikirizibwa okwogera nti: “Tuzudde Masiya.”

21 Leero, bw’oba obuulira amazima, oyogera ku kifo kya Yesu nga Masiya? Okukola ekyo kijja kukuyamba okwongera okusiima ebyo by’akukoledde, by’akola kati era n’ebyo by’anaakola mu biseera by’omu maaso. Okufaananako Andereya ne Firipo naawe oteekwa okuba ng’ab’eŋŋanda zo n’emikwano gyo wababuulirako ebikwata ku Masiya. Lwaki toddamu kubabuulira era n’obalaga nti Yesu Kristo ddala ye Masiya eyasuubizibwa, Katonda mw’ayitira okuleeta obulokozi?

Osobola Okunnyonnyola?

• Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baasobola batya okutegeera Masiya?

• Ensonga ebbiri lwaki Yesu yalina okufa ze ziruwa?

• Kiki Yesu ky’ajja okukola nga Masiya?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Abantu b’omu kyasa ekyasooka baamanya batya nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Bw’oba obuulira abalala, oyogera ku kifo kya Yesu nga Masiya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share