LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 12/15 lup. 29-31
  • Baibuli Etuuka ku Kizinga Madagascar

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baibuli Etuuka ku Kizinga Madagascar
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Omulimu gw’Okuvvuunula Gutandika
  • Okugumira Obuzibu
  • Embeera Erongookamu ate n’Eyonooneka
  • Abantu b’Omu Madagascar Baagala Nnyo Baibuli
  • Lwali Luwulikika ng’Oluyimba Olulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Beewaayo Kyeyagalire—Mu Madagascar
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Yakuwa Katonda Ayogera eri Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 12/15 lup. 29-31

Baibuli Etuuka ku Kizinga Madagascar

EKIZINGA Madagascar kyesudde mayiro 250 okuva ku lubalama lwa Afirika olw’ebukiika ddyo. Kikwata ekifo kya kuna mu bunene mu nsi yonna. Abantu b’oku kizinga kino bamaze ebbanga ddene nga bamanyi erinnya lya Katonda, Yakuwa, olw’okuba enzivuunula za Baibuli mu Lumalagase ezibadde zikozesebwa okumala emyaka kati egisukka mu 170 zirimu erinnya eryo. Kyokka okusobola okuvvuunula Baibuli mu Lumalagase kyali kyetaagisa obugumiikiriza n’obumalirivu.

Kaweefube w’okuvvuunula Baibuli mu Lumalagase yatandikira ku kizinga Mauritius ekiri okumpi ne Madagascar. Mu 1813, Sir Robert Farquhar, gavana wa Mauritius eyali Omungereza, yawoma omutwe mu kuvvuunula ebitabo by’Enjiri mu Lumalagase. Oluvannyuma yasaba Radama I, eyali kabaka wa Madagascar akkirize abasomesa ab’ekibiina ekiyitibwa London Missionary Society (LMS) okujja ku kizinga Madagascar.

Nga 18 Agusito, 1818, abaminsani babiri enzaalwa za Wales, David Jones ne Thomas Bevan, abaali bavudde e Mauritius, baatuuka ku mwalo gwa Madagascar, Toamasina. Baakizuula nti abantu baayo baali baagala nnyo eddiini era nga balina obulombolombo bungi obwekuusa ku kusinza bajjajjaabwe abaafa. Olulimi abantu b’omu Madagascar lwe boogera lwasibuka mu nnimi za Asiya.

Jones ne Bevan baatandikawo akasomero era amangu ddala baggya bakyala baabwe n’abaana baabwe e Mauritius ne babaleeta e Toamasina. Eky’ennaku, bonna baakwatibwa omusujja era Jones yafiirwa mukyala we n’omwana we mu Ddesemba 1818. Mu myezi ebiri egyaddirira omusujja gwatta Bevan n’ab’omu maka ge bonna. David Jones ye yekka eyawonawo.

Jones teyakkiriza bizibu ebyo kumulemesa. Yali mumalirivu okuyamba abantu b’omu Madagascar okufuna Ekigambo kya Katonda. Yaddayo e Mauritius asooke amale okuwona obulungi, era oluvannyuma yatandika okuyiga Olumalagase, ekintu ekyali ekizibu ennyo. Mu bbanga ttono, yatandika okuvvuunula Enjiri ya Yokaana.

Mu Okitobba 1820, Jones yakomawo e Madagascar. Yatuukira mu kibuga ekikulu Antananarivo, era amangu ddala yatandikawo essomero ly’abaminsani eppya. Embeera tezaali nnyangu. Tewaaliwo bitabo, mbaawo za kuwandiikako, wadde entebe ez’okutuulako. Naye ebyasomesebwanga byali bya muganyulo, era n’abayizi bali baagala nnyo okuyiga.

Oluvannyuma lw’emyezi musanvu ng’akola yekka, Jones yeegattibwako omuminsani omupya ayitibwa David Griffiths, ng’ono ye yadda mu kifo kya Bevan. Abasajja bano bombi baakola butaweera okuvvuunula Baibuli mu Lumalagase.

Omulimu gw’Okuvvuunula Gutandika

Ng’emyaka gya 1820 gyakatandika, empandiika y’olulimi Olumalagase eyaliwo mu kiseera ekyo yali eyitibwa sorabe, era ng’ekozesa nnukuta za Luwalabu. Bantu batono nnyo abaali basobola okulusoma. Naye oluvannyuma abaminsani baasaba Kabaka Radama I n’abakkiriza okukozesa walifu y’Abaruumi mu kifo ky’ey’Oluwalabu.

Omulimu gw’okuvvuunula gwatandika nga Ssebutemba 10, 1823. Jones yatandika n’ekitabo ky’Olubereberye n’ekya Matayo, ate Griffiths yatandika n’eky’Okuva n’ekya Lukka. Abasajja abo bombi baali bamalirivu nnyo. Ng’oggyeko okukola omulimu guno ogw’okuvvuunula, baasomesanga buli ku makya n’olweggulo. Ate era baakulemberanga okusinza mu kkanisa mu nnimi ssatu ez’enjawulo. Kyokka omulimu gw’okuvvuunula gwe baasinganga okwemalirako.

Nga bayambibwako abayizi 12, abaminsani abo ababiri bavvuunula Ebyawandiikibwa by’Oluyonaani byonna awamu n’ebitabo by’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya bingi mu myezi 18 gyokka. Mu mwaka ogwaddako, Baibuli yonna yali ewedde okuvvuunulwa. Awatali kubuusabuusa mwalimu ebyali byetaaga okulongoosa n’okutereeza. Bwe kityo, abakugu mu nnimi, David Johns ne Joseph Freeman, baasindikibwa okuva e Bungereza basobole okuyamba.

Okugumira Obuzibu

Baibuli y’Olumalagase bwe yaggwa okuvvuunulwa, ekibiina kya LMS kyasindika Charles Hovenden e Madagascar okuzimba ekyuma ekikuba ebitabo, era yatuukayo nga Noovemba 21, 1826. Kyokka yakwatibwa omusujja n’afa nga tannamalayo na mwezi, bwe kityo tewaali asobola kutwala mulimu ogwo mu maaso. Omwaka ogwaddako, munnabizineesi James Cameron eyava e Scotland yasobola okuzimba ekyuma ekyo ng’akozesa akatabo akaalimu obulagirizi obukwata ku kyuma ekyo. Oluvannyuma lw’okufuba ennyo, Cameron yasobola okukuba mu kyapa ekitundu ky’essuula 1 ey’ekitabo ky’Olubereberye nga Ddesemba 4, 1827.a

Waagwawo ekizibu ekirala oluvannyuma lw’okufa kwa Kabaka Radama I nga Jjulaayi 27, 1828, eyali awagira ennyo omulimu gw’okuvvuunula Baibuli. David Jones yali yamwogerako bw’ati: “Kabaka Radama wa kisa nnyo era muntu wa bantu. Awagira nnyo eby’enjigiriza, era okugunjula abantu be akitwala nga kya muwendo okusinga Zzaabu ne Ffeeza.” Kyokka mukyala we Ranavalona eyamuddira mu bigere yakiragirawo nti teyali mwetegefu kuwagira mulimu ogwo nga bba.

Kwiini Ranavalona bwe yali yaakatuuzibwa ku ntebe, omugenyi omu eyali avudde e Bungereza yasaba okwogerako naye ku bikwata ku kuvvuunula Baibuli, naye kwiini yagaana. Olulala abaminsani bwe baagamba kwiini nti baali bakyalina ebintu bingi eby’okuyigiriza abantu, omwali Oluyonaani n’Olwebbulaniya, yaddamu nti: “Eky’okuyigiriza Oluyonaani n’Olwebbulaniya si kikulu, wabula njagala kumanya obanga musobola okuyigiriza abantu bange ebintu eby’omugaso, gamba ng’okukola sabbuuni.” Cameron bwe yakiraba nti baali bayinza okugobebwa nga Baibuli y’Olumalagase tennaggwa kuvvuunulwa, yasaba aweebwe wiiki emu alowooze ku kwiini kye yali amugambye.

Mu wiiki eyaddako, Cameron yakwasa ababaka ba kwiini emiti ebiri egya sabbuuni gwe yali akoze. Kino awamu n’ebintu ebirala abaminsani bye baakola byasanyusa kwiini, era baasobola okukuba mu kyapa kumpi Baibuli yonna, ne wasigalayo ebitabo bitono eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya.

Embeera Erongookamu ate n’Eyonooneka

Wadde nga mu kusooka kwiini yali tayagala mulimu gw’abaminsani, ekiragiro kye yayisa mu Maayi 1831 kyali kyewuunyisa nnyo. Yakkiriza abantu be okubatizibwa bafuuke Abakristaayo! Kyokka waayita ekiseera kitono ne yeekyusa. Ekitabo ekiyitibwa A History of Madagascar kigamba nti: “Abantu okubatizibwa abangi kyaleetera abakungu ba kwiini abamu okweraliikirira, ne bamatiza kwiini nti okukkiriza abantu okubatizibwa kyali nga kubawaayo kuweereza Bungereza.” Bwe kityo, ku nkomerero y’omwaka 1831, nga waakayita emyezi mukaaga gyokka, kwiini yayisa ekiragiro ekigaana abantu okubatizibwa.

Ekya kwiini okwekyusa, n’eky’okuba nti abakungu mu gavumenti baali beeyongedde okulwanirira ennyo eby’obuwangwa kyakubiriza abaminsani okukola obutaweera ne bamaliriza okukuba Baibuli mu kyapa. Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byali byafulumizibwa dda, era ng’abantu bangi babirina. Kyokka wajjawo obuzibu obulala nga Maaki 1, 1835, Kwiini Ranavalona bwe yawera Obukristaayo era n’alagira nti ebitabo by’Ekikristaayo byonna biweebweyo eri ab’obuyinza.

Okusinziira ku kiragiro kya kwiini ekyo, abantu b’omu Madagascar baali tebakyakkirizibwa kuyamba mu kukuba bitabo. Olw’okuba abaminsani baali basigadde batono, omulimu gwakolebwanga emisana n’ekiro okutuusa Baibuli lwe yafulumizibwa mu Jjuuni 1835. Yee, kyaddaaki Baibuli y’Olumalagase yafuluma!

Mu kiseera ekyo eky’okuwerebwa, Baibuli zaagabibwa mangu mu bantu, n’endala 70 ne ziziikibwa mu takka zireme kusaanyizibwawo. Kino kyali kya magezi kubanga omwaka gwagenda okuwera nga wasigadde abaminsani babiri bokka ku kizinga ekyo. Naye ekigambo kya Katonda kyeyongera okusaasaana ku Kizinga Madagascar.

Abantu b’Omu Madagascar Baagala Nnyo Baibuli

Ng’abantu b’omu Madagascar baasanyuka nnyo okufuna Baibuli mu lulimi lwabwe! Wadde ng’enkyusa eyo erimu ebintu ebikyamu era nga n’olulimi mw’eri lukadde nnyo, abantu abasinga bagirina mu maka gaabwe era batera okugisoma. Erimu erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Byawandiikibwa by’Olwebbulaniya byonna. Mu Baibuli ezaasooka okukubibwa, erinnya lya Katonda lisangibwa ne mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. N’olwekyo, abantu b’omu Madagascar abasinga bamanyi erinnya lya Katonda.

Bwe yalaba engeri abantu b’omu Madagascar gye baasanyukamu ng’Ebyawandiikibwa by’Oluyonaani bikubiddwa mu kyapa, Mw. Baker eyali akola ku kyuma ekyo yagamba nti: “Siringa alagula, naye sirowooza nti ekigambo kya Katonda kirisaanyizibwawo mu ggwanga lino!” Ebigambo bye ebyo byatuukirira. Omusujja, obuzibu bw’okuyiga olulimi, n’ebiragiro bya kwiini ebikakali tebyalemesa kigambo kya Katonda kumanyibwa mu Madagascar.

Mu kiseera kino ebintu byeyongedde okulongooka. Bitya? Mu 2008, New World Translation ey’Olumalagase yafulumizibwa. Enkyusa eno ddala yali yeetaagisa olw’okuba ekozesa olulimi olwangu okutegeera. N’olwekyo Ekigambo kya Katonda kyeyongedde okusimba amakanda ku Kizinga Madagascar.​—Is. 40:8.

[Obugambo obuli wansi]

a Amateeka Ekkumi n’Essaala ya Mukama Waffe ebyafulumira e Mauritius mu Apuli oba Maayi 1826, bye bitundu bya Baibuli ebyasooka okukubibwa mu kyapa mu Lumalagase. Kyokka ab’omu maka ga Kabaka Radama n’abakungu abamu mu gavumenti be bokka abaafunako kopi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

“New World Translation” ey’Olumalagase ewa ekitiibwa erinnya lya Katonda, Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share