Yesu Kristo—Obubaka Bwe Bwakwata Butya ku Bantu?
“Mu butuufu, obukakafu obusingirayo ddala obuliwo obulaga nti Yesu ow’e Kaperunawumu yali musajja wa magezi, kwe kuba nti bye yakola bikyeyongera okukwata ku bulamu bw’abantu leero.”a—OMUWANDIISI GREGG EASTERBROOK.
EBIGAMBO birina amaanyi. Ebigambo eby’amagezi ebirondeddwa obulungi bisobola okukwata ku mitima gy’abantu, okubawa essuubi, n’okukyusa obulamu bwabwe. Tewali muntu yenna eyali ayogedde ebigambo ebirina amaanyi nga Yesu Kristo bye yayogera. Omu ku abo abaawuliriza Yesu ng’awa okwogera okumanyiddwa ennyo oluvannyuma yawandiika nti: “Yesu bwe yamala okwogera ebyo, ekibiina ky’abantu ne kiwuniikirira olw’engeri gy’ayigirizaamu.”—Matayo 7:28.
N’okutuusiza ddala leero, ebigambo bya Yesu bimanyiddwa abantu bangi okwetooloola ensi yonna. Lowooza ku bimu ku bigambo bino eby’amakulu ennyo gye tuli bye yayogera.
“Temusobola kubeera baddu ba Katonda na ba Byabugagga.”—Matayo 6:24.
“Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.”—Matayo 7:12.
“Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”—Matayo 22:21.
“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.
Naye Yesu yakola ekisingawo ku kwogera obwogezi ebigambo eby’amakulu. Obubaka bwe yabuulira bw’alina amaanyi kubanga bwasobozesa abantu okumanya amazima agakwata ku Katonda, engeri y’okuzuula ekigendererwa mu bulamu, era bwalaga ekyo ekijja okumalawo okubonaabona kwonna, nga kino bwe Bwakabaka bwa Katonda. Nga twekenneenya obubaka buno mu bitundu ebiddako, tujja kulaba ensonga lwaki obubaka Yesu bwe yabuulira bweyongera okukwata ku ‘bulamu bw’obukadde n’obukadde bw’abantu.’
[Obugambo obuli wansi]