Yesu Kye Yayigiriza ku Bimukwatako
“Yesu yali amanyi bulungi ekyo ye kennyini kye yali, wa gye yava, lwaki yajja ku nsi, era n’ebyandimutuuseeko mu biseera eby’omu maaso.”—OMUWANDIISI HERBERT LOCKYER.
NGA tetunnaba kukkiriza na kussa bwesige mu ebyo Yesu bye yayigiriza, waliwo bye twetaaga okumuyigako. Ddala Yesu yali ani? Yava wa? Yalina kigendererwa ki mu bulamu? Tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bwe twetegereza ebyo Yesu kennyini bye yayogera ebiri mu Njiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana.
Yaliwo nga tannaba kuzaalibwa ku nsi Olumu Yesu yagamba nti: “Ibulayimu nga tannabaawo, nze nnaliwo.” (Yokaana 8:58) Ibulayimu yaliwo emyaka nga 2,000 nga Yesu tannazaalibwa ku nsi. Kyokka, ye Yesu yaliwo nga ne Ibulayimu tannazaalibwa. Kati olwo, Yesu yali abeera wa? Yakiraga nti: ‘Yava mu ggulu.’—Yokaana 6:38.
Mwana wa Katonda Yakuwa alina abaana bangi ab’omwoyo. Kyokka ye Yesu, wa njawulo. Yeeyogerako nga ‘Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka.’ (Yokaana 3:18) Ebigambo ebyo bitegeeza nti Yesu ye yekka Katonda gwe yeetondera kennyini. Ebintu ebirala byonna Katonda yabitonda ng’ayitira mu Mwana eyazaalibwa omu yekka.—Abakkolosaayi 1:16.
“Omwana w’Omuntu” Bino bye bigambo Yesu bye yasinga okukozesa nga yeeyogerako. (Matayo 8:20) Mu ngeri eyo yakiraga nti teyali malayika eyeyambazizza omubiri oba eyali abbulukukidde mu bulamu obulala. Wabula, yali muntu yennyini. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Katonda yakyusa obulamu bw’Omwana we eyali abeera mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lw’omuwala embeerera ayitibwa Maliyamu. N’ekyavaamu, Yesu yazaalibwa nga muntu atuukiridde, era ataalina kibi.—Matayo 1:18; Lukka 1:35; Yokaana 8:46.
Masiya eyasuubizibwa Omukazi Omusamaliya yagamba Yesu nti: “Nkimanyi nti Masiya . . . ajja.” Yesu n’amuddamu nti: “Ye nze ayogera naawe.” (Yokaana 4:25, 26) Ebigambo “Masiya,” ne “Kristo,” bitegeeza “Eyafukibwako Amafuta.” Yesu yafukibwako amafuta, oba yalondebwa Katonda n’aweebwa ekifo eky’enjawulo okusobola okutuukiriza ebigendererwa bya Katonda.
Ensonga enkulu eyamuleeta Lumu Yesu yagamba: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda . . . kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Lukka 4:43) Wadde nga yakolera abantu abaali mu bwetaavu ebintu ebirungi bingi, okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda kye kintu ekikulu kye yakulembezanga mu bulamu bwe. Bye yayigiriza ku Bwakabaka obwo bijja kwogerwako mu kimu ku bitundu ebiddako.
Kya lwatu, Yesu teyali muntu wa bulijjo.a Nga bwe tujja okulaba, obulamu bwe yalimu ng’ali mu ggulu bwaleetera ebyo bye yayogera ng’ali wano ku nsi okuba eby’amakulu. N’olwekyo, tekyanditwewuunyisizza okulaba nti obubaka bwe bulina kinene nnyo kye bwakola ku bulamu bw’obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku Yesu n’ekifo ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda, laba essuula 4 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.