LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 4/1 lup. 6-7
  • Yesu Kye Yayigiriza ku Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Kye Yayigiriza ku Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • ‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Tusaanidde Okusaba Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/1 lup. 6-7

Yesu Kye Yayigiriza ku Katonda

“Oyo yekka amanyi obulungi Kitaawe ye Mwana. Naye Omwana ayagala okubuulira abalala ebikwata ku Kitaawe nabo basobole okumumanya.”​—LUKKA 10:22, CONTEMPORARY ENGLISH VERSION.

NGA tannaba kujja ku nsi ng’omuntu, Omwana wa Katonda omubereberye yamala emyaka mingi ng’ali wamu ne Kitaawe. (Abakkolosaayi 1:15) Bwe kityo, Omwana yasobola okumanya ebirowoozo bya Kitaawe, enneewulira, n’amakubo ge. Oluvannyuma Omwana ono bwe yajja ku nsi ng’omuntu Yesu, yali ayagala nnyo okuyigiriza amazima agakwata ku Kitaawe. Tusobola okuyiga ebintu bingi ebikwata ku Katonda nga tuwuliriza Omwana ono bye yayogera.

Erinnya lya Katonda Erinnya lya Katonda, Yakuwa, Yesu yalitwala nga kintu kikulu nnyo. Omwana ono omwagalwa yayagala abalala bamanye era bakozese erinnya lya Kitaawe. Erinnya lya Yesu litegeeza, “Yakuwa bwe Bulokozi.” Mu kiro ekyasembayo nga tannaba kuttibwa, Yesu yagamba Yakuwa mu kusaba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo.” (Yokaana 17:26) Tekyewuunyisa nti Yesu yakozesa erinnya lya Katonda era n’alimanyisa abalala. Awatali ekyo, abaali bamuwuliriza bandisobodde batya okutegeera amazima agakwata ku Yakuwa nga tebategedde linnya lye n’ekyo kye litegeeza?a

Okwagala kwa Katonda Okw’ensusso Lumu Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Kitange, . . . wanjagala ng’ensi tennabaawo.” (Yokaana 17:24) Olw’okuba Katonda yamulaga okwagala ng’akyali mu ggulu, Yesu bwe yajja ku nsi yafuba okutegeeza abalala okwagala okwo okweyolekera mu ngeri nnyingi ezisikiriza.

Yesu yalaga nti okwagala kwa Yakuwa kwa nsusso. Yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “ensi” tekitegeeza “nsi eno kwe tuli.” Nga bwe kikozeseddwa wano, kitegeeza bantu​—abantu bonna. Olw’okuba okwagala Katonda kw’alina eri abantu bonna kwa nsusso yawaayo Omwana we asingayo okuba ow’omuwendo kisobozese abantu abeesigwa okusumululwa okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Tetusobola kutegeerera ddala mu bujjuvu kwagala ng’okwo okungi ennyo.​—Abaruumi 8:38, 39.

Yesu yategeeza amazima agasingirayo ddala okuzaamu amaanyi: Yakuwa ayagala nnyo abasinza be kinnoomu. Yesu yayigiriza nti Yakuwa alinga omusumba atwala buli emu ku ndiga ze nga ya njawulo era nga ya muwendo nnyo. (Matayo 18:12-14) Yesu yagamba nti tewali n’emu ku nkazaluggya egwa ku ttaka nga Yakuwa tamanyi. Yayongera n’agamba nti: “Enviiri z’oku mitwe gyammwe zonna zibaliddwa.” (Matayo 10:29-31) Bwe kiba nti Yakuwa alina obusobozi okumanya nti emu ku nkazaluggya teriimu mu kisu, tasingawo nnyo okwetegereza n’okufaayo ku buli omu ku bantu be abamusinza? Bwe kiba nti Yakuwa asobola okumanya n’okubala buli luviiri oluli ku mitwe gyaffe, waliwo ekintu kyonna ekikwata ku bulamu bwaffe​—ebyetaago byaffe, engeri gye tukazana, era n’ebitweraliikiriza ky’atasobola kumanya?

Kitaffe ow’omu ggulu Nga bwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, Yesu ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. Tekyewuunyisa nti, emirundi egisinga obungi Omwana ono omwagalwa yayogera ku Yakuwa nga “Kitaawe.” Mu butuufu, Yesu yayogera ku Yakuwa nga “Kitange” mu bigambo bye ebisooka okulagibwa mu Baibuli bye yayogerera mu Yeekaalu nga wa myaka 12. (Lukka 2:49) Ekigambo “Kitaffe” kirabikira mu Njiri emirundi nga 190. Emirundu egimu Yesu yayogera ku Yakuwa nga “Kitammwe,” “Kitaffe,” era “Kitange.” (Matayo 5:16; 6:9; 7:21) Yesu okwogera ku Yakuwa ng’akozesa ebigambo ebyo, yakiraga nti abantu abonoonyi era abatatuukiridde basobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.

Musaasizi era mwetegefu okusonyiwa Yesu yakimanya nti abantu abatatuukiridde beetaaga obusaasizi bwa Yakuwa. Mu lugero lwe olw’omwana omujaajaamya, Yesu yageerageranya Yakuwa ku taata omusaasizi era asonyiwa, ayaniriza mutabani we aba yeenenyezza. (Lukka 15:11-32) Ebigambo bya Yesu ebyo bitukakasa nti Yakuwa anoonya omuntu yenna aba yeenenyezza asobole okumulaga obusaasizi. Yakuwa mwetegefu okusonyiwa omwonoonyi aba yeenenyezza. Yesu yannyonnyola bw’ati: “Mbagamba nti, wabaawo essanyu lingi mu ggulu olw’omwonoonyi omu eyeenenya okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.” (Lukka 15:7) Ani atandyagadde kubeera mukwano gwa Katonda ng’oyo omusaasizi?

Awulira okusaba Yesu bwe yali mu ggulu nga tannaba kujja ku nsi, yakiraba nti Yakuwa ye “Awulira okusaba” era nti asanyukira essaala z’abasinza be abeesigwa. (Zabbuli 65:2) N’olwekyo, bwe yali mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yayigiriza abaali bamuwuliriza engeri y’okusaba n’ebyo bye baalina okusaba. Yabayigiriza nti, “temuddiŋŋananga bigambo.” Yakubiriza abaali bamuwuliriza okusaba Katonda by’ayagala “bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” Naffe tuyinza okusaba ebyo bye twetaaga buli lunaku, okusonyiyibwa ebibi byaffe, n’okutuyamba okuziyiza okukemebwa. (Matayo 6:5-13) Yesu yayigiriza nti ng’omuzadde bwe yandikoze, Yakuwa addamu essaala z’abaweereza be ng’abawa ebyo bye baba bamusabye mu kukkiriza.​—Matayo 7:7-11.

Ekituufu kiri nti, Yesu yayigiriza amazima agakwata ku Yakuwa n’ekyo kyali. Naye era waliwo n’ekirala ekikwata ku Yakuwa Yesu kye yayagalanga ennyo okuyigiriza abalala nga kino Yakuwa kyajja okukozesa okuleetawo enkyukakyuka ku nsi okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi n’abantu abagiriko. Mu butuufu, kino kye kyali omutwe omukulu ogw’okubuulira kwa Yesu.

[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya Yakuwa lirabika emirundi nga 7,000 mu biwandiiko bya Baibuli ebyasooka. Amakulu agakwataganyizibwa n’erinnya eryo ge gano: “Nja kubeera ekyo kye nnaabeera.” (Okuva. 3:14, NW) Katonda asobola okubeera ekyo kyonna ky’aba ayagadde okubeera okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. N’olwekyo erinnya lino litukakasa nti Katonda buli kiseera asigala nga wa mazima era buli ky’asuubiza ajja kukituukiriza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share