Yesu Kristo—Obubaka Bwe n’Engeri gye Bukukwatako
“Nze nnajja zisobole okufuna obulamu era zibufune mu bujjuvu.”—YOKAANA 10:10.
YESU KRISTO yajja ku nsi okugaba, so si kufuna. Ng’ayitira mu buweereza bwe, yawa abantu ekirabo eky’omuwendo omungi ennyo—obubaka obwabikkula amazima agakwata ku Katonda n’ekigendererwa kye. Abo abakolera ku bubaka obwo basobola okubeera mu bulamu obulungi mu kiseera kino, ng’obukadde n’obukadde bw’Abakristaayo ab’amazima bwe bayinza okukiwaako obukakafu.a Naye ensonga enkulu ennyo eri mu bubaka Yesu bwe yabuulira y’eyo ekwata ku kirabo ekisingirayo ddala okuba eky’omuwendo—obulamu obutuukiridde bwe yawaayo ku lwaffe. Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kyesigamye ku ngeri gye tutwalamu ekintu kino ekikulu ennyo ekiri mu bubaka bwe.
Ekyo Katonda ne Kristo kye baawaayo Yesu yakimanya nti abalabe be baali ba kumutta era afiire mu bulumi obw’amaanyi. (Matayo 20:17-19) Kyokka, mu bigambo bye ebimanyiddwa obulungi ebisangibwa mu Yokaana 3:16, yagamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” Yesu era yagamba nti yajja “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Matayo 20:28) Lwaki yagamba nti yandiwaddeyo obulamu bwe mu kifo ky’okubutwala?
Olw’okwagala kwe okw’ensusso, Katonda yakola enteekateeka abantu bonna basobole okununulwa okuva mu kibi kye baasikira n’ebyo ebyavaamu—obutali butuukirivu n’okufa. Kino Katonda yakikola ng’atuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka ku nsi okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Yesu yakkiriza kyeyagalire, okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lwaffe. Enteekateeka eno, eyitibwa ekinunulo kye kirabo ekisinga byonna Katonda kye yawa abantu.b Kye kirabo ekisobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo.
Kye weetaaga okukola Ggwe ekinunulo okitwala nga kirabo? Ekyo kiri gy’oli okusalawo. Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba akafaananyi nga waliwo akuwa ekirabo ekisabikiddwa obulungi. Mu butuufu, ekirabo ekyo tekiba kikyo okuggyako ng’okisiimye era n’okitoola. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yateekawo ekirabo eky’ekinunulo, naye ekirabo kino tekiyinza kuba kikyo okuggyako ng’okisiimye era n’okitoola. Mu ngeri ki?
Yesu yagamba nti abo ‘abamukkiririzaamu’ bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Okukkiriza kuzingiramu engeri gye weeyisaamu. (Yakobo 2:26) Okukkiririza mu Yesu kitegeeza okukolera ku ebyo bye yayigiriza n’okukoppa ekyokulabirako kye. Okukola ekyo, oteekwa okumanya obulungi Yesu ne Kitaawe. Yesu yagamba, “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.
Emyaka nga 2,000 emabega, Yesu Kristo yabuulira obubaka obukyusizza obulamu bw’obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna. Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku bubaka obwo n’engeri ggwe n’abagalwa bo gye musobola okubuganyulwamu leero, n’emirembe gyonna? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba.
Ebitundu ebiddirira bijja kukusobozesa okweyongera okumanya ebikwata ku Yesu Kristo, omusajja eyabuulira obubaka obusobola okukyusa obulamu bwo emirembe gyonna.
[Obugambo obuli wansi]
a Si buli muntu eyeeyita Omukristaayo nti abeera mugoberezi wa Kristo ow’amazima. Abagoberezi ba Yesu ab’amazima beebo abakolera ku mazima Yesu ge yayigiriza agakwata ku Katonda n’ekigendererwa kye.—Matayo 7:21-23.
b Okumanya ebisingawo ku njigiriza ey’omu Byawandiikibwa ekwata ku kinunulo, laba essuula 5 erina omutwe, “Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi,” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.