LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 4/1 lup. 19
  • Yesu Ye Mikayiri, Malayika Omukulu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Ye Mikayiri, Malayika Omukulu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Mikayiri Malayika Omukulu y’Ani?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/1 lup. 19

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Yesu Ye Mikayiri, Malayika Omukulu?

▪ Eky’okuddamu kiri nti Yee. Mu mawanga mangi abantu bayitibwa amannya agasoba mu limu. Era bwe kityo bwe kiri ne ku bantu aboogerwako mu Baibuli. Okugeza, Yakobo era ayitibwa Isiraeri. (Olubereberye 35:10) Omutume Peetero yalina amannya ataano ag’enjawulo​—Simyoni, Simooni, Peetero, Keefa, ne Simooni Peetero. (Matayo 10:2; 16:16; Yokaana 1:42; Ebikolwa 15:7, 14) Tukakasiza ku ki nti Mikayiri lye linnya lya Yesu eddala? Weetegereze obukakafu buno obuli mu Byawandiikibwa.

Ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi ekiyitibwa Mikayiri kyogerwako emirundi etaano mu Baibuli. Mu kitabo kya Danyeri lirabikamu emirundi esatu. Mu Danyeri 10:13, 21, tusoma nti Mikayiri, ayitibwa “omu ku balangira abakulu” era “omulangira wammwe,” yanunula malayika eyali atumiddwa okubaako obuvunaanyizibwa bw’atuukiriza. Ne mu Danyeri 12:1, tusoma nti mu kiseera eky’enkomerero, ‘Mikayiri aliyimirira, omulangira omukulu ayimirira ku lw’abaana b’abantu bo.’

Era Okubikkulirwa 12:7 walaga nga “Mikayiri ne bamalayika be” balwana olutalo olukulu olwaviirako Sitaani Omulyolyomi ne bamalayika be ababi okugobebwa mu ggulu.

Weetegereze nti mu buli kimu ku byawandiikibwa ebyo ebiragiddwa waggulu, Mikayiri ayogerwako nga malayika omulwanyi alwanirira abantu ba Katonda era abakuuma. Era ayogerwako ng’alwanyisa Sitaani, omulabe wa Yakuwa lukulwe.

Yuda olunyiriri 9 luyita Mikayiri “malayika omukulu.” Baibuli eraga nti waliwo malayika omu yekka ayitibwa “malayika omukulu.” 1 Abassessaloniika 4:16, kye kyawandiikibwa kyokka ekyogera ku malayika omukulu. Mu kyawandiikibwa ekyo, Pawulo ayogera ku Yesu eyazuukizibwa ng’agamba nti: “Mukama waffe [Yesu] yennyini alikka okuva mu ggulu ng’ayogera n’obuyinza, n’eddoboozi lya malayika omukulu, n’ekkondeere lya Katonda.” N’olwekyo, mu kyawandiikibwa ekyo, Yesu Kristo kennyini y’ayogerwako nga malayika omukulu, oba omukulu wa bamalayika.

Okusinziira ku ebyo bye tulabye waggulu, tuwunzike tutya? Yesu Kristo ye Mikayiri, malayika omukulu. Amannya gombi​—Mikayiri (eritegeeza “Ani Alinga Katonda?”) ne Yesu (eritegeeza “Yakuwa Bwe Bulokozi”)​—gassa essira ku kifo kye ng’oyo awomye omutwe mu kulwanirira obufuzi bwa Katonda obw’obutonde bwonna. Abafiripi 2:9 lugamba nti: “Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.”

Kikulu okukimanya nti okuzaalibwa kwa Yesu ku nsi, si ye yali entandikwa y’obulamu bwe. Nga Yesu tannazaalibwa, malayika yajja eri Maliyamu n’amugamba nti omwoyo omutukuvu gwandimusobozesezza okufuna olubuto n’azaala omwana n’amutuuma erinnya Yesu. (Lukka 1:31) Bwe yali ku nsi, Yesu yayogeranga ku bulamu bwe obw’omu ggulu.​—Yokaana 3:13; 8:23, 58.

N’olwekyo, Yesu nga tannajja ku nsi ye yali Mikayiri, malayika omukulu. Oluvannyuma lw’okuzuukira era n’okuddayo mu ggulu, Yesu yaddamu okuweereza nga Mikayiri, malayika omukulu, “Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.”​—Abafiripi 2:11.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share