LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 5/15 lup. 21
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • Tebaatuukiriza Ekyo Kye Beeyama
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Musa ne Alooni Booleka Obuvumu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Musa Akuba ku Lwazi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Musa ne Alooni Balaba Falaawo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 5/15 lup. 21

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Okuva bwe kiri nti Yakuwa agaana abantu okusinza ebifaananyi, lwaki teyabonereza Alooni olw’okukola ennyana eya zzaabu?

Alooni bwe yakola ennyana eya zzaabu, nga bwe kiragibwa mu Okuva essuula 32, yamenya etteeka lya Katonda erikwata ku kusinza ebifaananyi. (Kuv. 20:3-5) N’ekyavaamu, ‘Yakuwa yasunguwalira nnyo Alooni n’ayagala n’okumuzikiriza: naye Musa n’asabira Alooni mu biro ebyo.’ (Ma. 9:19, 20) Kyandiba nti okusaba kw’omusajja omutuukirivu Musa kwalina “amaanyi mangi” Alooni n’asobola okusonyiyibwa? (Yak. 5:16) Yee. Kirabika nti Yakuwa yaddamu okusaba kwa Musa n’atabonereza Alooni. Era waliwo ne nsonga endala nga biri.

Emu ku nsonga ezo kwe kuba nti Alooni yali ayolese obwesigwa okumala ebbanga ddene. Yakuwa bwe yalagira musa okugenda eri Falaawo era n’okuggya Abaisiraeri mu Misiri, Yakuwa yalonda Alooni okugenda ne Musa akole ng’omwogezi we. (Kuv. 4:10-16) Abasajja bano bombi baali bawulize ne bagenda enfunda n’enfunda mu maaso ga Falaawo, kabaka wa Misiri, omusajja eyali omukakanyavu ennyo. Bwe yali akyali mu Misiri, Alooni yakyoleka nti yali musajja mwesigwa, era nti yali mumalirivu okuweereza Yakuwa.​—Kuv. 4:21.

Ate era lowooza ku ebyo ebyaliwo nga Alooni tannakola nnyana eya zzaabu. Musa yamala ennaku 40 ku Lusozi Sinaayi. “Abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi,” baasendasenda Alooni okubakolera ekifaananyi. Alooni yakkiriza kye baamugamba era n’abakolera ennyana eya zzaabu. (Kuv. 32:1-6) Kyokka engeri Alooni gye yeeyisaamu oluvannyuma, yalaga nti yali tawagira kikolwa ekyo eky’okusinza ebifaananyi. Kirabika okupikirizibwa kwe kwamuleetera okwekkiriranya. Ng’ekyokulabirako, Musa bwe yajja okusalawo eky’enkomeredde ku nsonga y’okusinza ebifaananyi, abaana ba Leevi​—nga mw’otwalidde ne Alooni​—badda ku ludda lwa Yakuwa. Abasajja ng’enkumi ssatu abaali bawomye omutwe mu kikolwa ekyo eky’okusinza ebifaananyi battibwa.​—Kuv. 32:25-29.

Oluvannyuma Musa yagamba abantu nti: “Mwayonoonye ekyonoono ekinene.” (Kuv. 32:30) N’olwekyo, Alooni si ye yekka eyaliko omusango olw’ekikolwa ekyo eky’obujeemu. Alooni n’abantu abalala baaganyulwa mu kisa kya Yakuwa.

Oluvannyuma lw’ebyo byonna ebyaliwo ebikwata ku kusinza ennyana eya zzaabu, Yakuwa yalagira Alooni afuulibwe kabona asinga obukulu. Katonda yagamba Musa nti: “Oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n’omufukako amafuta, n’omutukuza, ampeerereze mu bwakabona.” (Kuv. 40:12, 13) Tewali kubuusabuusa nti, Yakuwa yasonyiwa Alooni olw’obunafu bwe. Alooni yali musajja awagira okusinza okw’amazima so si musinza wa bifaananyi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share