LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 7/15 lup. 3-7
  • Ebintu Ebijja Okwanikibwa ku Lunaku lwa Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebintu Ebijja Okwanikibwa ku Lunaku lwa Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Eggulu n’Ensi Ebirivaawo
  • ‘Ebintu Ebirisaanuuka’
  • ‘Ensi ne Byonna Ebikolebwamu Biryanikibwa’
  • “Eggulu Eriggya n’Ensi Empya”
  • Weetegekere Olunaku lwa Yakuwa
  • Weesige Katonda ow’Obulokozi
  • Lowoozanga ku Lunaku lwa Yakuwa
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 7/15 lup. 3-7

Ebintu Ebijja Okwanikibwa ku Lunaku lwa Yakuwa

‘Olunaku lwa Yakuwa lulijja ng’omubbi, era ensi ne byonna ebikolebwamu biryanikibwa.’​—2 PEET. 3:10.

1, 2. (a) Enteekateeka eno ey’ebintu eneekoma etya? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

ENTEEKATEEKA eno ey’ebintu ezimbiddwa ku ndowooza ey’obulimba egamba nti abantu basobola okwefuga bokka awatali bulagirizi bwa Yakuwa. (Zab. 2:2, 3) Ekintu kyonna ekizimbibwa ku bulimba kisobola okubeerawo emirembe gyonna? N’akatono! Kyokka, tetusaanidde kulowooza nti ensi ya Sitaani ejja kwezikiriza yokka, wabula Katonda y’ajja okugizikiriza mu kiseera kye ekigereke era mu ngeri ye. Ekyo Katonda ky’anaakola ensi eno embi kijja kwoleka bulungi obwenkanya bwe n’okwagala kwe.​—Zab. 92:7; Nge. 2:21, 22.

2 Peetero yawandiika nti: “Olunaku lwa Yakuwa lulijja ng’omubbi, eggulu lwe lirivaawo amangu n’okuwuuma okw’amaanyi, ebintu byonna lwe birisaanuuka olw’ebbugumu eringi, ensi ne byonna ebikolebwamu ne byanikibwa.” (2 Peet. 3:10) “Eggulu” ‘n’ensi’ ebyogerwako wano bye biruwa? ‘Bintu’ ki ebirisaanuuka? Era Peetero yali ategeeza ki bwe yagamba nti ‘ensi ne byonna ebikolebwamu biryanikibwa’? Okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino kijja kutuyamba okweteekerateekera ebintu eby’entiisa ebijja okubaawo mu kiseera ekitali kya wala.

Eggulu n’Ensi Ebirivaawo

3. “Eggulu” eryogerwako mu 2 Peetero 3:10 lye liriwa, era lijja kuvaawo litya?

3 Ekigambo “eggulu” kitera okukozesebwa mu Baibuli mu ngeri ey’akabonero okutegeeza obufuzi obuba waggulu w’abantu. (Is. 14:13, 14; Kub. 21:1, 2) ‘Eggulu eririvaawo’ likiikirira obufuzi bw’abantu obufuga abantu batatya Katonda. Okuvaawo kwalyo mu ‘kuwuuma okw’amaanyi’ kiyinza okuba nga kiraga nti eggulu lino lijja kuzikirizibwa mu bwangu obw’ekitalo.

4. “Ensi” ekiikirira ki, era erizikirizibwa etya?

4 “Ensi” ekiikirira abantu abeeyawudde ku Katonda. Ensi ng’eyo yaliwoko mu kiseera kya Nuuwa era Katonda yalagira ezikirizibwe n’Amataba. “Olw’ekigambo kye kimu, eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro era bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.” (2 Peet. 3:7) Wadde ng’Amataba gaazikiriza abantu bonna abatatya Katonda mu kiseera kye kimu, okuzikiriza okugenda okubaawo mu “kibonyoobonyo ekinene” kujja kubaawo mu mitendera. (Kub. 7:14) Mu kitundu ekisooka eky’ekibonyoobonyo ekyo, Katonda ajja kuleetera abafuzi b’ensi eno okuzikiriza “Babulooni Ekinene,” bw’atyo akirage nti tayagalira ddala bikolwa bya malaaya oyo. (Kub. 17:5, 16; 18:8) Oluvannyuma mu lutalo Kalumagedoni, nga kino kye kitundu ekisembayo eky’ekibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kumalirawo ddala ensi ya Sitaani.​—Kub. 16:14, 16; 19:19-21.

‘Ebintu Ebirisaanuuka’

5. Ebintu ebyogerwako bizingiramu ki?

5 ‘Bintu’ ki ‘ebirisaanuuka’? “Ebintu” Peetero bye yayogerako bye bintu ebireetera abantu abatatya Katonda okuba n’engeri, endowooza, enneeyisa, era n’ebiruubirirwa ebibi. Mu ‘bintu’ ebyo mwe muli ‘omwoyo gw’ensi’ ‘ogukolera mu baana ab’obujeemu.’ (1 Kol. 2:12; soma Abeefeso 2:1-3.) Omwoyo ogwo, oba “empewo,” gubunye mu nsi ya Sitaani. Gukubiriza abantu okulowooza, okwogera, n’okweyisa mu ngeri eyoleka endowooza ya Sitaani, “omufuzi w’obuyinza obw’empewo” omubi era ow’amalala.

6. Omwoyo gw’ensi gweyoleka gutya?

6 Ka babe nga bakimanyi oba nedda, abo abakulemberwa omwoyo gw’ensi bakkiriza ebirowoozo byabwe n’emitima gyabwe okwonoonebwa Sitaani, ekyo ne kibaleetera okwoleka endowooza ye. N’ekivaamu, batandika okukola ebintu nga bwe baagala, nga tebafuddeeyo ku ebyo Katonda by’ayagala. Baba n’amalala era baba beerowoozaako bokka. Baba tebagondera ba buyinza, era bagoberera “okwegomba kw’omubiri, [n’]okwegomba kw’amaaso.”​—Soma 1 Yokaana 2:15-17.a

7. Lwaki tulina ‘okukuuma omutima gwaffe’?

7 N’olwekyo, nga kikulu nnyo ‘okukuuma omutima gwaffe’ nga tulonda emikwano, ebintu bye tusoma, eby’okwesanyusaamu, era n’ebintu bye tulaba ku Internet! (Nge. 4:23) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.” (Bak. 2:8) Ebigambo ebyo bya makulu nnyo gye tuli leero naddala ng’olunaku lwa Yakuwa lweyongera okusembera, kubanga “ebbugumu” eringi ery’olunaku olwo lirisaanuusa “ebintu” byonna ebiri mu nteekateeka ya Sitaani, kiryoke kyeyoleke nti ebintu ebyo tebisobola kugumira muliro. Kino kitujjukiza ebigambo ebiri mu Malaki 4:1 awagamba nti: “Olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala.”

‘Ensi ne Byonna Ebikolebwamu Biryanikibwa’

8. Ensi n’ebintu ebikolebwamu ‘biryanikibwa’ bitya?

8 Peetero yali ategeeza ki bwe yagamba nti ‘ensi ne byonna ebikolebwamu biryanikibwa’? Yali ategeeza nti mu kibonyoobonyo ekinene, Yakuwa ajja kwanika ensi ya Sitaani, kyeyoleke lwatu nti ensi eyo mulabe We awamu n’Obwakabaka Bwe era nti esaanidde okuzikirizibwa. Nga bwogera ku kiseera ekyo, obunnabbi obuli mu Isaaya 26:21 bugamba nti: “Mukama ajja ng’afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw’obutali butuukirivu bwabwe: n’ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo, so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.”

9. (a) Bintu ki bye tusaanidde okwewala, era lwaki? (b) Kiki kye tusaanidde okukulaakulanya, era lwaki?

9 Ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda mu maaso, abantu abakulemberwa omwoyo gw’ensi bajja kulagira ddala ekyo kye bali, era batuuke n’okuttiŋŋana. Mu butuufu, eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe ebicaase ennyo leero birabika biteekerateekera abantu ekiseera omukono gwa buli omu lwe “guliyimuka okukuba omukono gwa munne.” (Zek. 14:13) N’olwekyo, nga kikulu nnyo okwewala firimu, ebitabo, emizannyo gya kompyuta, n’ebintu ebirala ebiyinza okutuleetera okwoleka engeri Katonda z’akyawa, gamba ng’amalala n’okwagala ebikolwa eby’obukambwe! (2 Sam. 22:28; Zab. 11:5) Mu kifo ky’ekyo, ka tufube okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, kubanga engeri ezo zijja kutuyamba okugumira ebbugumu ery’akabonero ery’olunaku lwa Yakuwa.​—Bag. 5:22, 23.

“Eggulu Eriggya n’Ensi Empya”

10, 11. “Eggulu eriggya” kye ki; ate “ensi empya” kye ki?

10 Soma 2 Peetero 3:13. “Eggulu eriggya” bwe Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, obwateekebwawo mu 1914 ‘ng’ebiseera ebigereke eby’amawanga’ biweddeko. (Luk. 21:24) Gavumenti eno erimu Kristo Yesu n’abo b’agenda okufugira awamu nabo 144,000, ng’abasinga obungi ku bo baamala dda okuweebwa empeera yaabwe mu ggulu. Mu kitabo ky’Okubikkulirwa, abalonde bano boogerwako ‘ng’ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi Ekiggya, ekikka okuva mu ggulu ewa Katonda nga kitegekeddwa ng’omugole alungiyiziddwa olwa bba.’ (Kub. 21:1, 2, 22-24) Nga bwe kyali nti mu kibuga Yerusaalemi mwe mwali entebe ya kabaka wa Isiraeri, Yerusaalemi Ekiggya awamu n’Omugole waakyo Omusajja ye gavumenti y’enteekateeka y’ebintu empya. Ekibuga kino kijja ‘kukka okuva mu ggulu,’ mu ngeri nti kijja kuba kitutte obuyinza ku nsi.

11 “Ensi empya” kye kibiina ky’abantu ekipya abajja okubeera ku nsi abanaaba bamaze okwoleka obuwulize bwabwe eri Obwakabaka bwa Katonda. Olusuku olw’eby’omwoyo abantu ba Katonda lwe balimu leero kya ddaaki lujja kuba nga luli mu kifo kyalwo ekituufu mu ‘nsi’ erabika obulungi “egenda okujja.” (Beb. 2:5) Tuyinza kukola ki okusobola okuba mu abo abanaabeera mu nteekateeka y’ebintu empya?

Weetegekere Olunaku lwa Yakuwa

12. Lwaki okujja kw’olunaku lwa Yakuwa kujja kuba kwa ntiisa nnyo eri ensi?

12 Pawulo ne Peetero bombi baakiraga nti olunaku lwa Yakuwa lugenda kujja “ng’omubbi”​—nga terusuubirwa. (Soma 1 Abassessaloniika 5:1, 2.) Olunaku olwo bwe luligwaawo, n’Abakristaayo ab’amazima ababadde balulindirira bajja kwewuunya. (Mat. 24:44) Kyokka ate yo ensi ejja kufuna entiisa ey’amaanyi ennyo. Pawulo yawandiika nti: “[Abantu abeeyawudde ku Yakuwa] bwe baliba bagamba nti: ‘Mirembe n’obutebenkevu!’ olwo okuzikiriza okw’amangu ne kulyoka kubatuukako ng’okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto, era mu buli ngeri yonna tebaliwona.”​—1 Bas. 5:3.

13. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebigambo ebiryogerwa nti “Mirembe n’obutebenkevu!”?

13 Wadde nga dayimooni zijja kukubiriza abantu okugamba nti “Mirembe n’obutebenkevu!” ekyo tekijja kubuzaabuza baweereza ba Yakuwa. Pawulo yawandiika nti: “Temuli mu kizikiza ne kiba nti olunaku olwo lulibasangiriza nga bwe lwandisangirizza ababbi, kubanga mwenna muli baana ba kitangaala era baana ba misana.” (1 Bas. 5:4, 5) N’olwekyo, ka tusigale nga tuli mu kitangaala, nga tetulina kakwate konna na kizikiza kya nsi ya Sitaani. Peetero yawandiika nti: “Abaagalwa, okuva bwe mutegedde ebintu ebyo nga bukyali, mwekuume muleme kutwalirizibwa kwonoona kw’abantu abo abajeemu [abayigiriza ab’obulimba abali mu kibiina Ekikristaayo] ne muva we munyweredde.”​—2 Peet. 3:17.

14, 15. (a) Yakuwa atuwa atya ekitiibwa? (b) Bigambo ki ebyaluŋŋamizibwa bye tusaanidde okutwala nga bikulu nnyo?

14 Weetegereze nti Yakuwa tatugamba bugambi ‘kwekuuma.’ Naye, atuwa ekitiibwa ng’atutegeezaako nga “bukyali” ebimu ku bintu ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso.

15 Naye eky’ennaku kiri nti abamu tebassizzaayo mwoyo ku kulabula okutukubiriza okusigala nga tuli bulindaala. Bayinza n’okugamba nti, ‘Ebintu ebyo tubiwulidde okumala emyaka mingi.’ Kyokka abantu ng’abo basaanidde okukijjukira nti bwe boogera batyo, baba babuusabuusa kulabula kwa Yakuwa n’Omwana we, so si kwa muddu omwesigwa. Yakuwa yagamba nti: ‘Lulindirirenga.’ (Kaab. 2:3) Yesu naye yagamba nti: “Mubeere bulindaala, kubanga temumanyi lunaku Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Mat. 24:42) Ate era ne Peetero yawandiika nti: “Mube bantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda, nga mulindirira era nga mukuumira mu birowoozo byammwe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa!” (2 Peet. 3:11, 12) Omuddu omwesigwa awamu n’Akakiiko Akafuzi akamukiikirira tebagenda wadde n’omulundi n’ogumu kutwala bigambo ebyo ng’ebitali bya makulu!

16. Ndowooza ki gye tusaanidde okwewala, era lwaki?

16 Mu butuufu, ‘omuddu omubi’ y’agamba nti Mukama waffe aluddeyo. (Mat. 24:48) Omuddu oyo omubi y’omu ku abo aboogerwako mu 2 Peetero 3:3, 4. Peetero yagamba nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma abasekerezi balijja,” era “nga bagoberera okwegomba kwabwe” bandisekeredde abo abafuba okukuumira olunaku lwa Yakuwa mu birowoozo byabwe. Mu kifo ky’okussa ebirowoozo byabwe ku bintu eby’Obwakabaka, abasekerezi ng’abo baba beerowoozaako bokka era baba bagoberera kwegomba kwabwe. N’olwekyo, tusaanidde okwewala endowooza ng’eyo embi! Mu kifo ky’ekyo, ka “obugumiikiriza bwa Mukama waffe [t]ubutwale ng’obulokozi” nga tunyiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa era ka twewale okumalira ebirowoozo byaffe ku biseera Yakuwa Katonda by’atadde mu buyinza bwe.​—2 Peet. 3:15; soma Ebikolwa 1:6, 7.

Weesige Katonda ow’Obulokozi

17. Abakristaayo abeesigwa baakolera batya ku kulabula kwa Yesu okukwata ku kudduka okuva mu Yerusaalemi, era lwaki?

17 Oluvannyuma lw’amagye g’Abaruumi okuzinda Yuda mu mwaka gwa 66 Embala Eno (E.E.), Abakristaayo abeesigwa baakolera ku kulabula kwa Yesu ne badduka okuva mu kibuga Yerusaalemi mu bwangu ddala. (Luk. 21:20-23) Lwaki baasalawo okukola ekyo? Tewali kubuusabuusa nti baali bakuumidde okulabula kwa Yesu mu birowoozo byabwe. Kyo kituufu nti baali basuubira okuyita mu mbeera enzibu, nga Kristo bwe yalagula, naye baali bakakafu nti Yakuwa tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa.​—Zab. 55:22.

18. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 21:25-28 bikwata bitya ku ngeri gy’otunuuliramu ekibonyoobonyo ekinene ekijja?

18 Naffe leero tusaanidde okussa obwesige bwaffe bwonna mu Yakuwa, kubanga ye yekka ajja okutununula mu kibonyoobonyo ekitabangawo mu byafaayo by’omuntu. Ng’ekibonyoobonyo ekinene kimaze okutandika, naye nga Yakuwa tannazikiriza kitundu ekisigadde eky’ensi eno embi, abantu bajja “[ku]zirika olw’okutya n’okweraliikirira ebintu ebigenda okutuuka ku nsi etuuliddwamu.” Kyokka mu kiseera ekyo ng’abalabe ba Katonda bali mu ntiisa ey’amaanyi, bo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa tebajja kuba mu kutya. Mu kifo ky’ekyo, bajja kusanyuka olw’okuba bajja kuba bakimanyi nti okununulibwa kwabwe kunaatera okutuuka.​—Soma Lukka 21:25-28.

19. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

19 Yee, ng’abo abafuba okusigala nga tebalina kakwate konna na nsi awamu ‘n’ebintu’ byayo, ebiseera byabwe eby’omu maaso birungi nnyo! Naye ng’ekitundu ekiddako bwe kiraga, bwe tuba twagala okufuna obulamu, tulina okukola ekisingawo ku kwewala obwewazi ebintu ebibi. Tulina okukulaakulanya engeri ezisanyusa Yakuwa era n’okukola ebintu by’asiima.​—2 Peet. 3:11.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku bintu omwoyo gw’ensi bye gukubiriza, laba akatabo Reasoning From the Scriptures, olupapula 389-393.

Osobola Okunnyonnyola?

• Bino wammanga bikiikirira ki?

‘Eggulu n’ensi’ ebiriwo leero

“Ebintu”

‘Eggulu eriggya n’ensi empya’

• Lwaki tusaanidde okussa obwesige bwaffe bwonna mu Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Oyinza otya ‘okukuuma omutima gwo’ n’osigala nga toli kitundu kya nsi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Tulaga tutya nti ‘tutwala obugumiikiriza bwa Mukama waffe ng’obulokozi’?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share