LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 8/15 lup. 8-12
  • Engeri Yesu gy’Ayoleka Obutuukirivu bwa Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Yesu gy’Ayoleka Obutuukirivu bwa Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obutuukirivu bw’Obufuzi bwa Katonda Bubuusibwabuusibwa
  • Okubatizibwa kwa Yesu Kulina Makulu Ki?
  • Yasigala nga Mwesigwa Okutuukira Ddala Okufa
  • Okufa kwa Yesu Kwatuukiriza Ki?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 8/15 lup. 8-12

Engeri Yesu gy’Ayoleka Obutuukirivu bwa Katonda

“Katonda [yateekawo Yesu] ng’ekiweebwayo eky’okuzzaawo emirembe ne Katonda okuyitira mu kukkiririza mu musaayi gwe. Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu.”​—BAR. 3:25.

1, 2. (a) Baibuli eyogera ki ku mbeera abantu gye balimu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

EBYO Baibuli by’eyogera ku bujeemu obwaliwo mu lusuku Adeni bimanyiddwa bulungi. Ffenna tukosebwa olw’ebyo ebyava mu kibi kya Adamu, nga bwe kiragibwa mu bigambo bino: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Bar. 5:12) Ne bwe tufuba tutya okukola ekituufu, ffenna tusobya ne kiba nti twetaaga Katonda okutusonyiwa. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola naye ekibi kye saagala kukola kye nkola. Nze nga ndi muntu munaku!”​—Bar. 7:19, 24.

2 Okuva bwe kiri nti ffenna tuzaalibwa n’ekibi ekisikire, tusaanidde okwebuuza: Kyasoboka kitya Yesu ow’e Nazaaleesi okuzaalibwa nga talina kibi kisikire, era lwaki yabatizibwa? Engeri Yesu gye yeeyisaamu yayoleka etya obutuukirivu bwa Yakuwa? N’ekisinga obukulu, okufa kwa Kristo kwatuukiriza ki?

Obutuukirivu bw’Obufuzi bwa Katonda Bubuusibwabuusibwa

3. Sitaani yalimba atya Kaawa?

3 Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baagaana obufuzi bwa Katonda era ne basalawo okufugibwa “omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani.” (Kub. 12:9) Weetegereze engeri kino gye kyajjamu. Sitaani yaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa Katonda afuga mu ngeri ya butuukirivu. Kino yakikola ng’abuuza Kaawa nti: “Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Kaawa yaddamu ng’amubuulira etteeka Katonda lye yali abawadde eryali libagaana okukwata ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, ekyandibaviiriddemu okufa. N’ekyaddirira, Sitaani yawaayiriza Katonda nti mulimba. Omulyolyomi yagamba nti: “Okufa temulifa.” Yalimba Kaawa n’amuleetera okukkiriza nti Katonda yalina ekintu ekirungi kye yali abakwese, era nti bwe yandiridde ku kibala yandibadde nga Katonda nga yeemalirira.​—Lub. 3:1-5.

4. Abantu bajja batya okufugibwa Sitaani?

4 Mu kwogera ebyo byonna, Sitaani yakiraga nti abantu bandibadde basanyufu bwe bandivudde ku Katonda ne beefuga bokka. Mu kifo ky’okulaga nti obufuzi bwa Katonda bwa butuukirivu, Adamu yawuliriza mukazi we era n’amwegattako mu kulya ekibala Katonda kye yali abagaanye. Bw’atyo Adamu yafiirwa enkolagana ennungi gye yalina ne Yakuwa era n’atuteeka wansi w’ekikoligo ky’ekibi n’okufa. Era ekyo kyaleetera abantu okufugibwa Sitaani, “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno.”​—2 Kol. 4:4; Bar. 7:14.

5. (a) Yakuwa yalaga atya nti ekigambo kye bulijjo kituukirira? (b) Ssuubi ki Katonda lye yawa bazzukulu ba Adamu ne Kaawa?

5 Okuva bwe kiri nti ekigambo kye bulijjo kituukirira, Yakuwa yasalira Adamu ne Kaawa omusango ogw’okufa. (Lub. 3:16-19) Naye ekyo kyali kitegeeza nti ekigendererwa kya Katonda kyali kigudde butaka? N’akatono! Bwe yali asalira Adamu ne Kaawa omusango, Yakuwa bye yayogera byalaga nti bazzukulu baabwe bandibadde n’essuubi. Ekyo yakikola ng’ayogera ku kigendererwa kye eky’okuteekawo “ezzadde” Sitaani lye yandibetense ekisinziiro. Kyokka, ekisinziiro ky’Ezzadde eryasuubizibwa kyandiwonye era oluvannyuma nalyo ‘lyandibetense omutwe gwa Sitaani.’ (Lub. 3:15) Baibuli ennyonnyola ensonga eno ng’eyogera bw’eti ku Yesu Kristo: “Omwana wa Katonda yalabisibwa asobole okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yok. 3:8) Kati olwo engeri Yesu gye yeeyisaamu era n’okufa kwe byayoleka bitya obutuukirivu bwa Katonda?

Okubatizibwa kwa Yesu Kulina Makulu Ki?

6. Tukimanyira ku ki nti Yesu teyasikira kibi kya Adamu?

6 Okusobola okuba nga Adamu bwe yali nga tannayonoona, Yesu yalina okusooka okukula afuuke omusajja. (Bar. 5:14; 1 Kol. 15:45) Kino kitegeeza nti Yesu yalina okuzaalibwa ng’atuukiridde. Ekyo kyasoboka kitya? Bwe yali ayogera ne maama wa Yesu, Maliyamu, Malayika Gabulyeri yagamba nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako, era amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubaako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.” (Luk. 1:35) Yesu bwe yali akyali muto, kirabika Maliyamu yamubuulirako ebikwata ku ngeri gye yazaalibwamu. Eyo ye nsonga lwaki, lumu Maliyamu ne bba Yusufu, bwe baamusanga mu yeekaalu ya Katonda, Yesu yabagamba nti: “Temumanyi nti nteekwa okubeera mu nnyumba ya Kitange?” (Luk. 2:49) Kya lwatu nti okuviira ddala mu buto, Yesu yali akimanyi nti yali Mwana wa Katonda. N’olwekyo, okwoleka obutuukirivu bwa Katonda kyali kintu kikulu nnyo gy’ali.

7. Bintu ki eby’omuwendo Yesu bye yalina?

7 Yesu yakiraga nti yali afaayo nnyo ku bintu eby’omwoyo ng’agenda mu nkuŋŋaana obutayosa okusinza. Olw’okuba yalina obwongo obutuukiridde, ateekwa okuba nga yategeeranga byonna bye yawuliranga ne bye yasomanga mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. (Luk. 4:16) Era yalina n’ekintu ekirala eky’omuwendo​—omubiri ogutuukiridde gwe yandiwaddeyo nga ssaddaaka ku lw’abantu. Mu kiseera we yabatirizibwa, Yesu yali asaba era ayinza okuba nga yali afumiitiriza ku bigamba eby’obunnabbi ebiri mu Zabbuli 40:6-8.​—Luk. 3:21; soma Abebbulaniya 10:5-10.a

8. Lwaki Yokaana Omubatiza yali agezaako okuziyiza Yesu okubatizibwa?

8 Mu kusooka Yokaana Omubatiza yagezaako okuziyiza Yesu okubatizibwa. Lwaki? Olw’okuba Yokaana okubatiza Abayudaaya kaali kabonero akalaga nti baali beenenyezza ebibi bye baakola nga bali wansi w’Amateeka. Ng’omu ku be ŋŋanda za Yesu, Yokaana yali akimanyi bulungi nti Yesu yali mutuukirivu era nti kyali tekimwetaagisa kwenenya. Kyokka Yesu yagamba Yokaana nti kyali kimwetaagisa okubatizibwa. Yesu yannyonnyola nti: “Kitugwanira okukola eby’obutuukirivu byonna mu ngeri eno.”​—Mat. 3:15.

9. Okubatizibwa kwa Yesu kwalina makulu ki?

9 Ng’omuntu atuukiridde, Yesu yali akyayinza okulowooza nti, okufaananako Adamu, yalina obusobozi bw’okuzaala abaana abatuukiridde. Kyokka ekyo Yesu teyakirowoozanako okuva bwe kiri nti ekyo si kye kyali ekigendererwa kya Yakuwa. Katonda yali atumye Yesu ku nsi okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa ng’Ezzadde eryasuubizibwa, oba Masiya. Kino kyali kizingiramu Yesu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde nga ssaddaaka. (Soma Isaaya 53:5, 6, 12.) Kya lwatu nti okubatizibwa kwa Yesu tekwalina makulu ge gamu ng’okwaffe. Okubatizibwa kwe kwali tekuzingiramu kwewaayo eri Yakuwa, okuva bwe kiri nti Yesu yali yazaalibwa mu ggwanga lya Isiraeri eryali lyamala edda okwewaayo eri Katonda. Mu kifo ky’ekyo, okubatizibwa kwa Yesu kaali kabonero akalaga nti yali yeeyanjudde eri Katonda okukola by’ayagala nga bwe kyalagulwa mu Byawandiikibwa ebikwata ku Masiya.

10. Yesu okukola Katonda by’ayagala nga Masiya kyali kizingiramu ki, era ekyo Yesu yakitwala atya?

10 Yakuwa yali ayagala Yesu abuulire amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, afuule abantu abayigirizwa, era nabo abatendeke okwenyigira mu mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa. Yesu okweyanjula eri Katonda kyali kizingiramu okuba omwetegefu okugumira okuyigganyizibwa n’okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe asobole okulaga nti awagira obufuzi bwa Yakuwa Katonda obw’obutuukirivu. Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu, kyamusanyusa nnyo okukola Katonda by’ayagala era yali mwetegefu okuwaayo omubiri gwe nga ssaddaaka. (Yok. 14:31) Era kyamusanyusa nnyo okukimanya nti omuwendo gw’obulamu bwe obutuukiridde gwandiweereddwayo eri Katonda ng’ekinunulo okusobola okutuggya mu buddu bw’ekibi n’okufa. Ddala Katonda yasiima Yesu olw’okweyanjula gy’ali okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi? Awatali kubuusabuusa yamusiima!

11. Yakuwa yakiraga atya nti asiima Yesu nga Masiya eyasuubizibwa, oba Kristo?

11 Abawandiisi b’Enjiri bonna abana baawandiika ebigambo Yakuwa Katonda bye yayogera ng’asiima Yesu bwe yali yakava mu mazzi g’Omugga Yoludaani. Yokaana Omubatiza yagamba nti: “Nnalaba omwoyo nga gukka ng’ejjiba okuva mu ggulu, ne [gusigala ku Yesu] . . . Ekyo nnakiraba, era mpadde obujulirwa nti ono ye Mwana wa Katonda.” (Yok. 1:32-34) Mu kiseera ekyo Yakuwa yagamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.”​—Mat. 3:17; Mak. 1:11; Luk. 3:22.

Yasigala nga Mwesigwa Okutuukira Ddala Okufa

12. Yesu yakola ki mu myaka esatu n’ekitundu oluvannyuma lw’okubatizibwa kwe?

12 Mu myaka esatu n’ekitundu egyaddirira, Yesu yeemalira ku mulimu gw’okuyigiriza abantu ebikwata ku Kitaawe ne ku bufuzi bwa Katonda obw’obutuukirivu. Okutambula buli wamu ku bigere mu Nsi Ensuubize kyamukooya nnyo, naye ekyo tekyamulemesa kuwa bujulirwa mu bujjuvu ku mazima. (Yok. 4:6, 34; 18:37) Yesu yayigiriza abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Okuwonya abalwadde mu ngeri ey’ekyamagero, okuliisa abantu abaali balumwa enjala, n’okuzuukiza abafu, kyalaga ebyo Obwakabaka bye bujja okukolera abantu.​—Mat. 11:4, 5.

13. Yesu yayigiriza ki ku kusaba?

13 Mu kifo ky’okwegulumiza olw’engeri gye yayigirizaamu n’olw’ebyamagero bye yakola, Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi ng’alaga nti Yakuwa ye yamusobozesa okukola ebintu ebyo byonna. (Yok. 5:19; 11:41-44) Yesu era yalaga ebintu ebikulu bye tusaanidde okuteeka mu ssaala zaffe. Mu ssaala zaffe tusaanidde okusaba erinnya lya Katonda, Yakuwa, “litukuzibwe” era nti obufuzi bwa Katonda obw’obutuukirivu buggyewo obufuzi bwa Sitaani obubi olwo Katonda ‘by’ayagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ (Mat. 6:9, 10) Ate era Yesu yatukubiriza okukolera ku kusaba ng’okwo nga ‘tusooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’​—Mat. 6:33.

14. Wadde nga Yesu yali atuukiridde, lwaki kyali kimwetaagisa okufuba okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe yalina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda?

14 Ekiseera ky’okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka bwe kyasembera, Yesu yeeyongera okukitegeera nti yalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. Ekigendererwa kya Kitaawe era n’okutukuzibwa kw’erinnya Lye byali byesigamye ku kuba nti Yesu agumira okugezesebwa n’okuttibwa mu ngeri ey’obukambwe. Ng’ebula ennaku ttaano attibwe, Yesu yasaba ng’agamba nti: “Kaakano ndi mweraliikirivu nnyo, era njogere ki? Kitange, ndokola okuva mu kaseera kano. Naye nnina okwolekagana n’akaseera kano.” Oluvannyuma lw’okwoleka enneewulira ye ng’omuntu, Yesu yateeka ebirowoozo bye ku kintu ekisinga obukulu era n’asaba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Amangu ago Yakuwa yaddamu ng’agamba nti: “Nnaligulumiza era nja kuligulumiza nate.” (Yok. 12:27, 28) Yee, Yesu yali mwetegefu okwolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi ennyo omuntu omulala yenna kwatafunangako. Kyokka okuwulira ebigambo ebyo Kitaawe ow’omu ggulu bye yayogera kyayongera okumugumya nti yandisobodde okugulumiza obufuzi bwa Kitaawe era akirage nti Yakuwa y’agwanidde okufuga. Era bw’atyo yasobola okukikola!

Okufa kwa Yesu Kwatuukiriza Ki?

15. Bwe yali anaatera okufa, lwaki Yesu yagamba nti: “Kiwedde”?

15 Bwe yali ku muti ogw’okubonaabona ng’anaatera okufa, Yesu yagamba nti: “Kiwedde!” (Yok. 19:30) Waliwo ebintu bingi Katonda bye yasobozesa Yesu okutuukiriza mu myaka esatu n’ekitundu gye yamala mu buweereza bwe ku nsi okuva lwe yabatizibwa okutuusa lwe yattibwa. Yesu bwe yafa, ensi yakkankana era ebyaliwo byaleetera omukulu w’ekibinja ky’abasirikale Abaruumi okugamba nti: “Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.” (Mat. 27:54) Kirabika omusirikale oyo yali alabye abantu nga basekerera Yesu olw’okugamba nti yali Mwana wa Katonda. Wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo, Yesu yakuuma obugolokofu bwe bw’atyo n’akiraga nti Sitaani mulimba nnyo. Ng’ayogera ku baweereza ba Katonda abeesigwa, Sitaani yagamba nti: “Omuntu ajja kuwaayo byonna by’alina okuwonya obulamu bwe.” (Yob. 2:4, Complete Jewish Bible) Mu kukuuma obwesigwa bwe, Yesu yakiraga nti Adamu ne Kaawa nabo bandisobodde okusigala nga beesigwa mu kugezesebwa kwabwe okutaali kwa maanyi. N’ekisinga byonna, obulamu bwa Yesu era n’okufa kwe byalaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga era nti obufuzi Bwe bwa butuukirivu. (Soma Engero 27:11.) Okufa kwa Yesu kulina ekintu ekirala kye kwatuukiriza? Yee!

16, 17. (a) Kyasoboka kitya abaweereza ba Yakuwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika okuba n’enkolagana ennungi naye? (b) Yakuwa yawa atya Omwana we empeera olw’obwesigwa bwe yalaga, era kiki Mukama waffe Yesu Kristo kye yeeyongera okukola?

16 Waliwo abaweereza ba Yakuwa bangi abaaliwo ku nsi nga Yesu tannajja. Baalina enkolagana ennungi ne Katonda era baawebwa essuubi ery’okuzuukira. (Is. 25:8; Dan. 12:13) Naye Katonda omutukuvu, Yakuwa, yasinziira ku ki okuwa abantu abo aboonoonyi emikisa egyo egy’ekitalo? Baibuli agamba nti: “Katonda [yateekawo Yesu Kristo] ng’ekiweebwayo eky’okuzzaawo emirembe ne Katonda okuyitira mu kukkiririza mu musaayi gwe. Kino Katonda yakikola asobole okulaga nti yali mutuukirivu mu kusonyiwa ebibi eby’emabega bwe yali ng’ayoleka obugumiikiriza, n’okwoleka obutuukirivu bwe mu kiseera kino, ng’omuntu akkiririza mu Yesu amuyita nti mutuukirivu.”​—Bar. 3:25, 26.b

17 Yakuwa yazuukiza Yesu n’amuwa ekifo ekya waggulu ennyo okusinga ekyo kye yalina nga tannajja ku nsi. Ng’ekitonde eky’omwoyo ekyagulumizibwa, Yesu kati alina obutafa. (Beb. 1:3) Nga Kabona Asinga Obukulu era Kabaka, Mukama waffe Yesu Kristo yeeyongera okuyamba abagoberezi be okwoleka obutuukirivu bwa Katonda. Era kitusanyusa nnyo okukimanya nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, ye Mugabi w’Empeera eri abo bonna abooleka obutuukirivu bwe era n’abo abamuweereza n’obwesigwa nga bakoppa Omwana we.​—Soma Zabbuli 34:3; Abebbulaniya 11:6.

18. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

18 Abantu abeesigwa okuviira ddala ku Abbeeri baalina enkolagana ennungi ne Yakuwa olw’okuba baali bakkiririza mu Zzadde eryasuubizibwa era baalirinamu obwesige. Yakuwa yali amanyi nti Omwana we yandikuumye obwesigwa era nti okufa kwe kwandiggiddewo ddala “ebibi by’ensi.” (Yok. 1:29) Okufa kwa Yesu era kuganyula n’abantu abaliwo leero. (Bar. 3:26) Kati olwo, ekinunulo kya Kristo kiyinza kukuganyula kitya? Ekyo kye kijja okwogerwako mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Wano omutume Pawulo ajuliza Zabbuli 40:6-8 okusinziira ku nkyusa ya Greek Septuagint, omusangibwa ebigambo “wanteekerateekera omubiri.” Ebigambo bino tebisangibwa mu nkyusa ez’edda ez’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya eziriwo kati.

b Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” olupapula 6 ne 7.

Wandizzeemu Otya?

• Obutuukirivu bw’obufuzi bwa Katonda bwabuusibwabuusibwa butya?

• Okubatizibwa kwa Yesu kwalina makulu ki?

• Okufa kwa Yesu kwatuukiriza ki?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Omanyi amakulu agaali mu kubatizibwa kwa Yesu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share