Engeri Ekinunulo Gye Kitulokolamu
“Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.”—YOK. 3:36.
1, 2. Emu ku nsonga lwaki Zion’s Watch Tower yatandika okufulumizibwa y’eruwa?
MAGAZINI ya Watchtower eyafulumizibwa mu Okitobba 1879 yagamba nti: “Teri muntu asoma Baibuli n’obwegendereza atayinza kulaba miganyulo egiri mu kufa kwa Kristo.” Magazini eyo yafundikira ng’egamba nti: “Tuteekwa okwewala ekintu kyonna ekiyinza okulaga nti okufa kwa Kristo si ye ssaddaaka etutabaganya ne Katonda.”—Soma 1 Yokaana 2:1, 2.
2 Emu ku nsonga lwaki Zion’s Watch Tower yatandika okufulumizibwa mu Jjulaayi 1879, kwe kuwagira ekyo Baibuli ky’eyigiriza ku kinunulo. Ebyo ebyafulumira mu magazini eyo yali ‘mmere mu kiseera ekituufu,’ okuva bwe kiri nti ng’emyaka gya 1800 ginaatera okuggwako, waaliwo bangi abaali beeyita Abakristaayo abaatandika okubuusabuusa engeri okufa kwa Yesu gye kuyinza okuba ekinunulo olw’ebibi byaffe. (Mat. 24:45) Mu kiseera ekyo, bangi baali batwaliriziddwa enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa, wabula byajja bifuukafuuka. Enjigiriza eyo ekontana n’eky’okuba nti omuntu yayonoona era n’afiirwa obulamu obutuukiridde. Abo abawagira enjigiriza eyo bagamba nti embeera y’omuntu egenda erongooka mpolampola era nti teyeetaaga kinunulo. Eyo y’ensonga lwaki ebigambo bya Pawulo bino eri Timoseewo byali bituukirawo: “Kuuma kye wateresebwa nga weewala ebigambo ebitaliimu ebityoboola ebintu ebitukuvu, era nga weewala n’endowooza ezikontana, mu bukyamu ze bayita ‘okumanya.’ Abamu olw’okweraga nti balina okumanya ng’okwo, bavudde mu kukkiriza.”—1 Tim. 6:20, 21.
3. Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
3 Awatali kubuusabuusa oteekwa okuba ng’oli mumalirivu ‘obutava mu kukkiriza.’ Kyokka okusobola okusigala ng’oli munywevu mu kukkiriza, kikulu okwebuuza ebibuuzo bino: Lwaki nneetaaga ekinunulo? Yakuwa ne Yesu beefiiriza ki okusobola okuwaayo ekinunulo? Nnyinza ntya okuganyulwa mu nteekateeka eno ey’omuwendo esobola okunnyamba okuwona obusungu bwa Katonda?
Tusobola Okuwona Obusungu bwa Katonda
4, 5. Kiki ekiraga nti obusungu bwa Katonda bwolekezeddwa eri enteekateeka eno ey’ebintu embi?
4 Baibuli awamu n’ebyafaayo by’omuntu biraga nti okuva Adamu lwe yayonoona, obusungu bwa Katonda ‘buzze bwolekezebwa’ ku lulyo lw’omuntu. (Yok. 3:36) Kino kyeyolekera mu ky’okuba nti buli muntu yenna afa. Obufuzi bwa Sitaani bulemereddwa okuggya abantu mu bizibu, era tewali gavumenti n’emu esobodde kukola ku byetaago by’abantu baayo bonna. (1 Yok. 5:19) Bwe kityo abantu beeyongera kubonaabona olw’entalo, obumenyi bw’amateeka, n’obwavu.
5 Kyeyolese bulungi nti Yakuwa tawagira nteekateeka eno ey’ebintu embi. Pawulo yagamba nti “obusungu bwa Katonda okuva mu ggulu bwolekezebwa eri abo abatatya Katonda.” (Bar. 1:18-20) N’olwekyo, abo abeenyigira mu bikolwa ebibi naye ne bagaana okwenenya tebajja kusimattuka ebyo ebinaava mu nneeyisa yaabwe embi. Leero, obusungu bwa Katonda bulangirirwa mu bubaka bw’omusango obufukibwa ng’ebibonyoobonyo ku nsi ya Sitaani, era obubaka obwo busangibwa mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Baibuli.—Kub. 16:1.
6, 7. Mulimu ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe bawomyemu omutwe, era mukisa ki abo abali mu nsi ya Sitaani gwe bakyalina?
6 Kino kitegeeza nti abantu tebakyasobola kwekutula ku bufuzi bwa Sitaani ne batabaganyizibwa ne Katonda? Nedda, abantu bakyalina omukisa okutabagana ne Yakuwa. Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ‘babaka mu kifo kya Kristo,’ era be bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira ogusobozesa abantu ‘okutabagana ne Katonda.’—2 Kol. 5:20, 21.
7 Omutume Pawulo yagamba nti Yesu “atuwonya obusungu obugenda okujja.” (1 Bas. 1:10) Yakuwa bw’anaayoleka obusungu bwe obwo, abantu aboonoonyi abateenenya bajja kuzikirizibwa emirembe n’emirembe. (2 Bas. 1:6-9) Baani abanaawonawo? Baibuli egamba nti: “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.” (Yok. 3:36) Yee, enteekateeka eno ey’ebintu bw’eriba ezikirizibwa, abo bonna abalisangibwa nga bakkiririza mu Yesu ne mu kinunulo bajja kuwona okuzikirizibwa ku lunaku lw’obusungu bwa Katonda.
Engeri Ekinunulo gye Kikolamu
8. (a) Nkizo ki ey’ekitalo Adamu ne Kaawa gye baali baweereddwa? (b) Yakuwa yalaga atya nti ye Katonda ow’obwenkanya?
8 Adamu ne Kaawa baatondebwa nga batuukiridde. Singa tebaajeemera Katonda, ensi yonna kati yandibaddemu abaana baabwe ne bazzukulu baabwe abasanyufu nga bali wamu nabo mu Lusuku lwa Katonda. Eky’ennaku, bazadde baffe abaasooka baamenya etteeka lya Katonda mu bugenderevu. N’ekyavaamu baasalirwa ogw’okufa era ne bagobebwa mu Lusuku lwa Katonda. Adamu ne Kaawa we baazaalira abaana, ekibi kyali kimaze okuyingira mu lulyo lw’omuntu, era baakaddiwa n’oluvannyuma ne bafa. Kino kiraga bulungi nti Yakuwa ky’ayogera kituukirira. Era kiraga nti ye Katonda ow’obwenkanya. Yakuwa yali yalabula Adamu nti okulya ku kibala kye yali abagaanye kyandibaviiriddeko okufa—era bwe kityo bwe kyali.
9, 10. (a) Lwaki bazzukulu ba Adamu bafa? (b) Tuyinza tutya okununulibwa okuva mu kufa okw’emirembe n’emirembe?
9 Nga bazzukulu ba Adamu, twasikira omubiri ogusobola okwonoona n’okufa. Adamu bwe yayonoona, naffe twafuuka boonoonyi wadde nga twali tetunnazaalibwa. N’olwekyo omusango gw’okufa ogwamusalirwa naffe gutuzingiramu. Singa Yakuwa yaggyawo okufa awatali kinunulo, yandibadde tanyweredde ku bye yayogera. Bwe kityo, Pawulo yayogera ku lwaffe ffenna bwe yagamba nti: “Tukimanyi nti Amateeka ga bya myoyo; nze ndi wa mubiri; nnatundibwa mu kibi. Nze nga ndi muntu munaku! Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?”—Bar. 7:14, 24.
10 Yakuwa Katonda ye yekka eyali asobola okukola enteekateeka kwe yandisinzidde okutusonyiwa ebibi n’okutununula okuva mu kufa okw’emirembe n’emirembe. Kino yakikola ng’asindika Omwana we omwagalwa okuva mu ggulu azaalibwe ng’omuntu atuukiridde, eyandibadde asobola okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lwaffe. Obutafaananako Adamu, Yesu yasigala ng’atuukiridde. Mu butuufu, “talina kibi kye yakola.” (1 Peet. 2:22) Bwe kityo, Yesu yalina obusobozi bw’okuzaala abaana abatuukiridde. Kyokka mu kifo ky’ekyo, yaleka abalabe ba Katonda okumutta asobole okununula bazzukulu ba Adamu aboonoonyi era kisobozese abo abamukkiririzaamu okufuna obulamu obutaggwawo. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Waliwo Katonda omu, era n’omutabaganya wa Katonda n’abantu ali omu, Kristo Yesu, eyeewaayo okuba ekinunulo ekituukirawo ku lwa bonna.”—1 Tim. 2:5, 6.
11. (a) Kyakulabirako ki ekiraga engeri ekinunulo gye kikolamu? (b) Baani abaganyulwa mu kinunulo?
11 Engeri ekinunulo gye kikolamu eyinza okugeraageranyizibwa ku bantu ababadde batereka ssente zaabwe mu banka naye ne zikumpanyizibwa, era ne kibaleetera okugwa mu mabanja. Bannannyini banka basibibwa mu kkomera. Ate kiri kitya eri abo abaaterekayo ssente zaabwe? Olw’okuba kati baba baavuwadde, baba tebakyalina ngeri yonna ya kweyimirizaawo okuggyako nga bafunye nnagagga ow’ekisa n’asalawo okuddukanya banka eyo era n’abaddiza ssente zaabwe, ekyo ne kibawonya amabanja. Mu ngeri y’emu, Yakuwa Katonda n’Omwana we omwagalwa baagula bazzukulu ba Adamu bwe batyo ne basasula ebbanja ery’ekibi okusinziira ku musaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Eyo ye nsonga lwaki Yokaana Omubatiza yayogera ku Yesu ng’agamba nti: “Laba Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!” (Yok. 1:29) Ensi y’abantu eggibwako ebibi ezingiramu abalamu n’abafu.
Beefiiriza Ki Okusobola Okuwaayo Ekinunulo
12, 13. Okuba nti Ibulayimu yali mwetegefu okuwaayo Isaaka kituyigiriza ki?
12 Tetusobola kutegeerera ddala ekyo Kitaffe ow’omu ggulu n’Omwana we omwagalwa kye beefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo. Naye Baibuli erimu ebyokulabirako ebisobola okutuyamba okufumiitiriza ku nsonga eno. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Ibulayimu gye yawuliramu ng’atambula olugendo olw’ennaku esatu okugenda e Moliya okukola Katonda kye yali amulagidde: “Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw’oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi ya Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsonzi lwe ndikugambako.”—Lub. 22:2-4.
13 Kya ddaaki Ibulayimu yatuuka mu kifo ekyali kimugambiddwa. Lowooza ku bulumi bwe yawulira ng’asiba Isaaka emikono n’amagulu era ng’amuteeka ku kyoto kye yali azimbye. Nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Ibulayimu okukwata akambe okutta omwana we! Ate lowooza ne ku ngeri Isaaka gye yawuliramu nga bamutadde ku kyoto, ng’alindirira okuttibwa mu bulumi obw’ekitalo. Mu kiseera ekyo kyennyini malayika wa Yakuwa yaziyiza Ibulayimu okutta omwana we. Ekyo Ibulayimu ne Isaaka kye baakola kituyamba okutegeera ekyo Yakuwa kye yeefiiriza ng’aleka abo Sitaani be yakozesa okutta Omwana we. Isaaka okugondera Ibulayimu kiraga nti Yesu yali mwetegefu okubonaabona n’okuttibwa ku lwaffe.—Beb. 11:17-19.
14. Kintu ki ekyaliwo mu bulamu bwa Yakobo ekisobola okutuyamba okutegeera ekyo Yakuwa kye yeefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo?
14 Ekyokulabirako ekirala ekituyamba okutegeera ekyo Yakuwa ne Yesu kye beefiiriza kye kintu ekyaliwo mu bulamu bwa Yakobo. Yusufu ye mwana Yakobo gwe yali asinga okwagala. Kyokka baganda ba Yusufu baamukwatirwa obuggya era ne bamukyawa. Wadde kyali kityo, Yusufu yali mwetegefu okutumibwa kitaawe okugenda okulaba embeera baganda be gye baalimu. We yamutumira, baganda be baali balunda ndiga za kitaabwe e Kebbulooni, ekifo ekyali kyesudde mayiro nga 60. Lowooza ku ngeri Yakobo gye yawuliramu nga batabani be bakomyewo nga balina ekyambalo kya Yusufu ekyali kijjudde omusaayi! Yagamba nti: “Kye kizibawo eky’omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa.” Kino kyanakuwaza nnyo Yakobo, era bw’atyo yakungubagira mutabani we Yusufu okumala ennaku nnyingi. (Lub. 37:33, 34) Kyo kituufu nti engeri Yakuwa gye yeeyisaamu nga waliwo embeera eba ezzeewo eyawukanako ku y’abantu abatatuukiridde. Wadde kiri kityo, okufumiitiriza ku ekyo Yakobo kye yayitamu kisobola okutuyamba okutegeera engeri Katonda gye yawuliramu ng’Omwana we abonyaabonyezebwa era ng’attibwa mu ngeri ey’obukambwe.
Engeri Ekinunulo gye Kituganyulamu
15, 16. (a) Yakuwa yakiraga atya nti yali akkirizza ekinunulo? (b) Ekinunulo kikuganyudde kitya?
15 Yakuwa Katonda yazuukiza Omwana we omwesigwa era n’amuwa omubiri ogw’omwoyo. (1 Peet. 3:18) Okumala ennaku 40, Yesu eyali azuukiziddwa yalabikira abayigirizwa be, n’anyweza okukkiriza kwabwe era n’abateekateeka okukola omulimu gw’okubuulira. Oluvannyuma yalinnya mu ggulu. Ng’ali eyo, yawaayo omuwendo gw’omusaayi gwe ogwayiibwa ku lw’abagoberezi be abakkiririza mu kinunulo kye. Yakuwa yakiraga nti yali akkirizza ekinunulo kya Kristo ng’akwasa Yesu obuvunaanyizibwa okufuka omwoyo omutukuvu ku bayigirizwa be abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E.—Bik. 2:33.
16 Abagoberezi ba Kristo bano abaafukibwako amafuta baatandikirawo okukubiriza abalala okudduka obusungu bwa Katonda nga babatizibwa mu linnya lya Yesu Kristo basobole okusonyiyibwa ebibi byabwe. (Soma Ebikolwa 2:38-40.) Okuviira ddala ku lunaku olwo n’okutuukira ddala mu kiseera kyaffe, obukadde n’obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna bayambiddwa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu. (Yok. 6:44) Kati ka twetegerezeeyo ebibuuzo ebirala bibiri: Waliwo omuntu yenna ku ffe eyaweebwa essuubi ery’obulamu obutaggwaawo olw’ebikolwa bye ebirungi? Oluvannyuma lw’okufuna essuubi lino ery’ekitalo, kisoboka okulifiirwa?
17. Wanditutte otya enkizo ey’okubeera mukwano gwa Katonda?
17 Ekirabo eky’ekinunulo mu butuufu tekitusaanira. Naye obukadde n’obukadde bw’abantu abakikkiririzaamu, basobodde okufuuka mikwano gya Katonda era balina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwe ku nsi emirembe gyonna. Kyokka eky’okufuuka mukwano gwa Yakuwa tekitegeeza nti omukwano ogwo tetusobola kugufiirwa. Okusobola okudduka olunaku olw’obusungu bwa Katonda olugenda okujja, tuteekwa okweyongera okukyoleka mu bulamu bwaffe nti tusiima “ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.”—Bar. 3:24; soma Abafiripi 2:12.
Weeyongere Okukkiririza mu Kinunulo
18. Okukkiririza mu kinunulo kizingiramu ki?
18 Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, Yokaana 3:36, kiraga nti okukkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo kizingiramu okumugondera. Tulaga nti tusiima ekinunulo nga tukolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza, nga mw’otwalidde n’ebyo bye yayigiriza ku mpisa. (Mak. 7:21-23) “Obusungu bwa Katonda” bugenda kujja ku abo bonna abakola ebintu ebibi naye ne bagaana okwenenya. Ebintu ebyo bizingiramu obwenzi, okusaaga okw’obuwemu, “n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri,” nga muno mwe muli n’okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu.—Bef. 5:3-6.
19. Tuyinza tutya okulaga nti tukkiririza mu kinunulo?
19 Tulaga nti tusiima ekinunulo nga tukola “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.” (2 Peet. 3:11) Tusaanidde okusabanga, okwesomesa Baibuli, okubeerangawo mu nkuŋŋaana, okusinza ng’amaka, era n’okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka obutayosa. Era ka tuleme ‘kwerabiranga kukola birungi n’okugabana ebintu n’abalala, kubanga ssaddaaka ng’ezo zisanyusa Katonda.’—Beb. 13:15, 16.
20. Mikisa ki abo bonna abakkiririza mu kinunulo gye bajja okufuna?
20 Yakuwa bw’anaaba ayoleka obusungu bwe eri enteekateeka eno ey’ebintu embi, nga kijja kuba kya ssanyu okuba nti tubadde tukyoleka nti tukkiririza mu kinunulo era nti tusiima enteekateeka eyo! Ne mu nsi ya Katonda empya, tujja kweyongera okwenyumiririza mu nteekateeka eyo ey’ekinunulo olw’okuba okuyitira mu yo tujja kuba tuwonyezeddwa obusungu bwa Katonda.—Soma Yokaana 3:16; Okubikkulirwa 7:9, 10, 13, 14.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki twetaaga ekinunulo?
• Yakuwa ne Yesu beefiiriza ki okusobola okuwaayo ekinunulo?
• Ekinunulo kituganyula kitya?
• Tukyoleka tutya nti tukkiririza mu kinunulo kya Yesu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Abantu bakyalina omukisa okutabagana ne Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Okufumiitiriza ku ebyo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bye baayitamu kituyamba okutegeera ekyo Yakuwa ne Yesu kye beefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo