Kaweefube ow’Enjawulo mu Bulgaria Avaamu Ebirungi
“Eby’okukungula bingi, naye abakozi batono. Kale, musabe Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.”—MAT. 9:37, 38.
NG’EBIGAMBO bya Yesu ebyo bituukana bulungi n’embeera ya Bulgaria, ensi ey’ensozi esangibwa mu bukiika ddyo bwa Bulaaya! Waliyo obwetaavu bw’amaanyi obw’ababuulizi okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu abasukka mu bukadde omusanvu abali mu nsi eyo. Bulgaria erimu ababuulizi nga 1,700, naye tebasobola kutuuka mu bitundu byayo byonna. N’olw’ensonga eyo, Akakiiko Akafuzi kaasaba Abajulirwa aboogera olulimi Olubuligaaliya abali mu nsi za Bulaaya ezitali zimu okugenda okwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo mu 2009. Kaweefube oyo yali wa kumala wiiki musanvu atuukire ddala ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Mubeera Bulindaala!” olwali lugenda okubeera mu Sofia, Agusito 14-16, 2009.
Bangi Bakkiriza Okugenda
Ab’oluganda abali ku ofiisi y’ettabi mu Sofia baali tebamanyi bantu bameka abandivudde e Bufalansa, Bugirimaani, Buyonaani, Italy, Poland, ne Spain okwenyigira mu kaweefube oyo. Okukola ekyo kyandibeetagisiza okwetambuza okugenda e Bulgaria, okufuna ssente ez’okweyimirizaawo, n’okukozesa ebiseera byabwe eby’okuwummula nga babuulira. Nga kyali kya ssanyu nnyo okulaba ng’abo abaasabanga okugenda beeyongeranga obungi buli wiiki, okutuusa lwe baawerera ddala 292! Olw’okuba bannakyewa abo baali bangi, kyali kisoboka okubasindika mu bibuga bya Bulgaria bisatu: Kazanlak, Sandanski, ne Silistra. Abalabirizi b’ebitundu baasaba bapayoniya awamu n’ababuulizi mu Bulgaria nabo beenyigire mu kaweefube oyo. N’ekyavaamu, bannakyewa 382 be beenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu mu bitundu ebyali bitatera kubuulirwamu.
Ab’oluganda mu bibiina ebiri okumpi n’ebitundu omwali mugenda okubuulirwa baasabibwa okukola ku by’ensula. Baapangisa amayumba era ne bakwata n’ebifo mu wooteeri eza ssente ensaamusaamu. Ab’oluganda bano baakola butaweera okuyamba bannakyewa okufuna aw’okusula era n’okukola ku byetaago byabwe. Mu bibuga byonna ebisatu, ebifo mwe baafuniranga enkuŋŋaana byapangisibwanga bupangisibwa. Enteekateeka zaakolebwa okufuna enkuŋŋaana z’ekibiina nga zikubirizibwa ab’oluganda abaali bazze. Mu bitundu bino omutaali Mujulirwa wadde n’omu abeerayo, kyabanga kya ssanyu okulaba ng’ababuulizi 50 bakuŋŋaanye okutendereza Yakuwa.
Ab’oluganda abaava mu nsi endala okugenda okwenyigira mu kaweefube baali banyiikivu nnyo. Mu kiseera ky’ekyeya, ebbugumu mu Bulgaria liba lingi nnyo era lituuka ku diguli 40. Kyokka, tewali kintu kyonna kyali kisobola kulemesa ba luganda bano abanyiikivu. Mu wiiki ssatu ezaasooka, ekibuga Silistra, ekiri ku lubalama lw’Omugga Danube ekirimu abantu abasukka mu 50,000, kyali kimaze okubuulirwamu. N’ekyavaamu, ab’oluganda baatandika okubuulira mu byalo ebiriraanyeewo, ne batuukira ddala e Tutrakan, ekiri mayiro 35 mu bugwanjuba bwa Silistra. Essaawa zaagendanga okuwera esatu n’ekitundu nga batandise okubuulira. Bwe baamalanga okulya eky’emisana, beeyongeranga okubuulira okutuusa ku ssaawa emu ey’ekiro oba n’okuyisaamu. Mu ngeri y’emu, olw’okuba bannakyewa abaasindikibwa mu Kazanlak ne Sandanski baali banyiikivu nnyo, baasobola n’okubuulira mu bibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo.
Biki Ebyavaamu?
Obujulirwa obw’amaanyi bwaweebwa mu wiiki ezo omusanvu. Nga bwe kyayogerwa mu biseera by’abatume, abantu b’omu bibuga ebyo baali basobola okugamba nti, ‘Mujjuzza ebibuga byaffe okuyigiriza kwammwe.’ (Bik. 5:28) Ab’oluganda abeenyigira mu kaweefube oyo, baagaba magazini nga 50,000 era batandika okuyigiriza Baibuli abantu 482. Eky’essanyu kiri nti Ssebutemba 1, 2009 yagenda okutuuka nga waliwo ekibiina ekitandikiddwawo mu Silistra, era kati e Kazanlak n’e Sandanski nayo waliyo ebibinja. Era kisanyusa okulaba ng’abantu abaawulira amawulire amalungi omulundi gwabwe ogusooka mu kaweefube ono, beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.
Mu wiiki eyasooka eya kaweefube oyo, mwannyinaffe aweereza nga payoniya ow’enjawulo eyava mu Spain yabuulira Karina, omukyala abeera mu Silistra eyali atunda empapula z’amawulire ku luguudo. Karina yayagala bye yawulira era n’agenda mu lukuŋŋaana. Yakkiriza okuyiga Baibuli. Olw’okuba omwami we takkiriza nti eriyo Katonda, omukyala oyo yasaba basomere Baibuli mu kifo ekirala. Bawala be babiri baamwegattako mu kuyiga Baibuli. Muwala we omukulu, Daniela, yasiima amazima ga Baibuli mu ngeri ey’enjawulo. Yasoma akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu wiiki emu yokka era n’atandikirawo okukolera ku ebyo Baibuli by’eyigiriza ku kukozesa ebifaananyi mu kusinza. Yatandika okubuulirako mikwano gye ku bintu bye yali asomye. Nga waakayita wiiki ssatu zokka okuva lwe yagenda mu lukuŋŋaana lwe olwasooka, yagamba mwannyinaffe eyali amuyigiriza Baibuli nti: “Muli mpulira nga ndi omu ku mmwe. Nkole ki nange okusobola okutandika okubuulira?” Daniela, maama we, ne muto we, kati beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.
Mu Kazanlak, ow’oluganda Omubuligaaliya ayitibwa Orlin, eyava e Italy okugenda okwenyigira mu kaweefube ono, bwe yali addayo gy’asula ng’ava mu buweereza bw’ennimiro, yabuulira abavubuka babiri abaali batudde mu kafo akawummulirwamu. Yabawa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’abasuubiza okuddayo enkeera. Bwe yaddayo, Orlin yatandika okusoma Baibuli ne Svetomir era n’addayo n’olunaku olwaddako. Mu nnaku mwenda, Orlin yasoma ne Svetomir emirundi munaana. Svetomir yagamba nti: “Ennaku biri emabega nga tetunnasisinkana, nnasaba Katonda annyambe okumumanya. Era nnamusuubiza nti bw’anannyamba okumumanya, nja kuwaayo obulamu bwange gy’ali.” Orlin bwe yaddayo e Italy, ab’oluganda mu kitundu beeyongera okusoma ne Svetomir, era kati yeeyongera okufuula amazima agage.
Abo Abeefiiriza Bafuna Emikisa Mingi
Abo abaakozesa ebiseera byabwe eby’okuwummula awamu ne ssente zaabwe okugenda mu nsi endala okubuulira amawulire amalungi, bawulira batya? Omukadde omu ali mu Spain yawandiika nti: “Kaweefube oyo yaleetera ab’oluganda mu Bulgaria ne Spain okuwulira nga bali bumu. Ab’oluganda abeenyigira mu kaweefube oyo baakwatibwako nnyo.” Omwami ne mukyala we abaava e Italy baagamba nti: “Guno gwe mwezi gwe tutagenda kwerabira mu bulamu bwaffe!” Baagattako nti: “Kaweefube oyo yakyusa obulamu bwaffe! Kati tuli bantu balala nnyo.” Abafumbo bano baatandika okulowooza ku ky’okugenda okubeerera ddala mu Bulgaria basobole okuweereza awali obwetaavu obusingako. Carina, mwannyinaffe ali obwa nnamunigina era ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo eyava mu Spain, y’omu ku abo abeenyigira mu kaweefube oyo mu kibuga Silistra. Oluvannyuma, yaleka omulimu gwe yalina mu Spain n’addayo e Bulgaria okuwagira ekibiina ekipya akyali kitandikiddwawo mu kibuga ekyo. Yali yeeterekerayo akasente akandimuyambye okweyimirizaawo okumala omwaka gumu ng’ali mu Bulgaria. Carina agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okulaba nti Yakuwa ansobozesezza okuweereza wano mu Bulgaria, era nsuubira nti nja kweyongera okubeerawo okumala ekiseera. Kati nnina abayizi ba Baibuli bataano, era basatu ku bo bajja mu nkuŋŋaana.”
Mwannyinaffe Omuyitale yali ayagala kwenyigira mu kaweefube ono, naye olw’okuba yali yakatandika okukola, yali tannafuna nnaku za kuwummula. Yasaba aweebwe omwezi gumu nga tasasulwa era yali mwetegefu okuleka omulimu gwe singa okusaba kwe kwaganibwa. Kyamwewuunyisa nnyo mukama we bwe yamugamba nti: “Tewali mutawaana, wabula kye nkusaba kiri kimu: Olina okumperezayo ka kaadi ng’otuuse e Bulgaria.” Mwannyinaffe oyo yawulira nga ddala Yakuwa azzeemu okusaba kwe.
Stanislava, mwannyinaffe omuto abeera mu kibuga kya Bulgaria ekiyitibwa Varna eyalina omulimu ogw’ekiseera kyonna era nga gumusasula bulungi, yasaba olukusa okuva ku mulimu asobole okwenyigira mu kaweefube mu Silistra. Bwe yalaba essanyu bapayoniya bangi abaali bazze okubuulira amawulire amalungi mu nsi ye lye baalina, yakaaba amaziga. Yatandika okulowooza ku ngeri gye yali akozesaamu obulamu bwe, nga yeemalidde ku mulimu gwe. Bwe yaddayo eka oluvannyuma lwa wiiki bbiri, yaleka omulimu gwe era n’atandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Kati awulira essanyu lingi olw’okujjukira Omutonzi we mu buvubuka bwe.—Mub. 12:1.
Ng’okuba n’eby’okukola ebingi mu buweereza bwa Yakuwa kivaamu emikisa mingi! Tewaliwo kintu kyonna ky’oyinza kukola kisinga kukozesa biseera byo n’amaanyi go mu mulimu omukulu ogw’okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi. Olina ky’oyinza okukola okusobola okugaziya ku buweereza bwo? Kyandiba nti waliwo ebitundu mu nsi yo omuli obwetaavu obusingako? Osobola okusengukira mu kimu ku bitundu ebyo? Oba oyinza okulowooza ku ky’okuyiga olulimi olulala osobole okuyamba abantu abali mu nsi yo abalina ennyonta ey’amazima ga Baibuli? Ka zibe nkyukakyuka ki z’olina okukola okusobola okugaziya ku buweereza bwo, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa emikisa.—Nge. 10:22.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Olunaku olw’Enjawulo
Bangi ku abo abaava mu nsi za Bulaaya okwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo mu Bulgaria baaliwo ku lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwali mu Sofia olwalina omutwe ogugamba nti “Mubeere Bulindaala!” Kyazzaamu nnyo amaanyi baganda baffe ne bannyinnaffe mu Bulgaria okubeerako awamu n’ab’oluganda okuva mu nsi ez’enjawulo. Ng’abo bonna 2,039 abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baasanyuka nnyo Ow’oluganda Geoffrey Jackson ali ku Kakiiko Akafuzi bwe yafulumya New World Translation of the Holy Scriptures ey’Olubuligaaliya! Bonna abaaliwo ku Lwokutaano olwo baalaga okusiima kwabwe nga bakuba mu ngalo okumala ekiseera. Bangi baakaaba n’amaziga olw’essanyu. Enzivvuunula eno eri mu lulimi olwangu okutegeera ejja kuyamba abantu b’omu Bulgaria abeesimbu okumanya Yakuwa.
[Mmaapu eri ku lupapula 30, 31]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
BULGARIA
SOFIA
Sandanski
Silistra
Kazanlak
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Obujulirwa obw’amaanyi bwaweebwa mu wiiki ezo omusanvu