Olina ky’Okola Okulaba Nti Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo Zizimba?
“Bwe mukuŋŋaana awamu, . . . ebintu byonna bikolebwenga olw’okuzimbagana.”—1 KOL. 14:26.
1. Okusinziira ku 1 Abakkolinso essuula 14, ekimu ku bigendererwa by’enkuŋŋaana z’Ekikristaayo kye kiruwa?
‘NG’OLUKUŊŊAANA luno lunzizizzaamu nnyo amaanyi!’ Wali oyogeddeko ebigambo ng’ebyo oluvannyuma lw’okubeerawo mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka? Awatali kubuusabuusa, wali obyogeddeko. Mu butuufu, enkuŋŋaana z’ekibiina zituzzaamu nnyo amaanyi. Naye ekyo tekyewuunyisa olw’okuba, nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ekimu ku bigendererwa by’enkuŋŋaana kwe kuzzaamu amaanyi abo bonna abazibaamu. Weetegereze engeri omutume Pawulo gy’alagamu ekigendererwa kino eky’enkuŋŋaana z’Ekikristaayo mu bbaluwa ye esooka eri Abakkolinso. Mu ssuula 14 akiraga enfunda n’enfunda nti buli kitundu ekiba mu nkuŋŋaana kisaanidde okukubirizibwa n’ekigendererwa ‘eky’okuzimba ekibiina.’—Soma 1 Abakkolinso 14:3, 12, 26.a
2. (a) Kiki ekisobozesa enkuŋŋaana z’ekibiina okuba nga zizimba? (b) Kibuuzo ki kye tugenda okwetegereza?
2 Tukimanyi bulungi nti omwoyo gwa Katonda gwe gusobozesa enkuŋŋaana okuba nga zizimba. Eno y’ensonga lwaki bwe tuba tutandika enkuŋŋaana zaffe tusaba Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, aziwe omukisa ng’ayitira mu mwoyo gwe omutukuvu. Wadde kiri kityo, tukimanyi nti buli omu mu kibiina alina ky’asobola okukola okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zizimba. Kati olwo bintu ki buli omu ku ffe by’ayinza okukola okulaba nti enkuŋŋaana z’ekibiina eza buli wiiki zizimba mu by’omwoyo era nti zizzaamu buli omu amaanyi?
3. Lwaki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo nkulu nnyo?
3 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tugenda kwetegereza ebintu ebimu abo abakubiriza enkuŋŋaana bye balina okulowoozaako. Era tugenda kulaba ekyo buli omu mu kibiina ky’asaanidde okukola okulaba nti enkuŋŋaana zizzaamu amaanyi abo bonna abazibaamu. Kikulu nnyo okwetegereza ensonga eno kubanga enkuŋŋaana zaffe ntukuvu. Mu butuufu, okubeerawo mu nkuŋŋaana n’okuzenyigiramu bintu bikulu nnyo mu kusinza kwaffe eri Yakuwa.—Zab. 26:12; 111:1; Is. 66:22, 23.
Olukuŋŋaana Olutuyamba Okuyiga Baibuli
4, 5. Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi kye kiruwa?
4 Ffenna twagala okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi okwa buli wiiki. N’olwekyo, okusobola okutegeera ekigendererwa ekikulu eky’olukuŋŋaana olwo, ka twejjukanye ezimu ku nkyukakyuka ezaakolebwa mu Omunaala gw’Omukuumi awamu n’ebitundu eby’okusoma.
5 Okutandikira ddala ne Omunaala gw’Omukuumi ogw’okusoma mu kibiina ogwa Jjanwali 15, 2008, waliwo ekintu ekyateekebwa ku ngulu ku ddiba lya magazini eno. Ekintu ekyo okimanyi? Tunula ku ngulu ku ddiba lya magazini eno. Wansi w’omunaala, waliwo Baibuli embikkule. Ekyo kiraga ensonga lwaki tuba n’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana olwo kwe kuyiga Baibuli nga tukozesa magazini eno. Yee, mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi olwa buli wiiki, Ekigambo kya Katonda kinnyonnyolwa, era nga bwe kyali mu kiseera kya Nekkemiya, ‘kiteekebwamu amakulu.’—Nek. 8:8; Is. 54:13.
6. (a) Nkyukakyuka ki eyakolebwa mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi? (b) Kiki kye tulina okujjukira bwe kituuka ku byawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma”?
6 Okuva bwe kiri nti Baibuli kye kitabo ekikulu kye tukozesa, waliwo enkyukakyuka eyakolebwa mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ebyawandiikibwa ebiwerako ebiri mu bitundu eby’okusoma biriko ekigambo “soma.” Ffenna tukubirizibwa okugoberera mu Baibuli zaffe ng’ebyawandiikibwa bino bisomebwa mu lukuŋŋaana. (Bik. 17:11) Lwaki? Bwe tusoma obubaka obuva eri Katonda mu Baibuli zaffe, tukwatibwako nnyo. (Beb. 4:12) N’olwekyo, ng’ebyawandiikibwa ebyo tebinnaba kusomebwa, oyo akubiriza olukuŋŋaana asaanidde okukakasa nti bonna batuuseeyo, basobole okugoberera ng’ebyawandiikibwa ebyo bisomebwa.
Tufuna Ebiseera Ebimala Okwoleka Okukkiriza Kwaffe
7. Kakisa ki ke tufuna mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi?
7 Enkyukakyuka endala eyakolebwa kwe kukendeeza ku buwanvu bw’ebitundu eby’okusoma ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi. Kati ebitundu ebyo bimpiko okusinga bwe byali. N’olwekyo, kati mu lukuŋŋaana luno tukozesa ebiseera bitono nga tusoma obutundu ne tusobola okuba n’ebiseera ebimala okubaako ne bye tuddamu. Kati bangi mu kibiina bafuna akakisa okwoleka okukkiriza kwabwe nga baddamu ebibuuzo, nga balaga engeri ebyawandiikibwa gye bitukwatako, oba nga bawaayo ekyokulabirako mu bumpimpi ekiraga ensonga lwaki kikulu okukolera ku misingi gya Baibuli. Ebifaananyi ebiri mu bitundu ebyo nabyo bisaanidde okukubaganyizibwako ebirowoozo. —Soma Zabbuli 22:22; 35:18; 40:9.
8, 9. Oyo akubiriza olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi alina buvunaanyizibwa ki?
8 Kyokka ekiseera ekyo okusobola okukiganyulwamu, buli abaako ky’addamu asaanidde okukyogera mu bumpimpi era n’oyo akubiriza olukuŋŋaana alina okwewala okwongereza ku buli nsonga mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Kati olwo kiki ekiyinza okuyamba oyo akubiriza olukuŋŋaana okulaba wa w’asaanidde okwongerezaako kisobozese olukuŋŋaana okuzimba bonna mu kibiina?
9 Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku kyokulabirako kino. Olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi olukubirizibwa obulungi luyinza okugeraageranyizibwa ku kisaaganda ky’ebimuli ekirabika obulungi. Ng’ekisaaganda bwe kibaamu ebimuli eby’enjawulo, n’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi lubaamu eby’okuddamu eby’enjawulo. Era ng’ebimuli ebiri mu kisaaganda bwe byawukana mu buwanvu ne mu langi, bwe kityo n’ebyo ebiddibwamu mu nkuŋŋaana byawukana mu buwanvu ne mu ngeri gye byogerwamu. Kati olwo oyo akubiriza olukuŋŋaana alina buvunaanyizibwa ki? Ebyo byayongerezaako bibanga obumuli obutonotono obutobekebwa mu kisaaganda ky’ebimuli. Obumuli obwo tebuba bungi nnyo; naye buleetera ekisaaganda ekyo okwongera okulabika obulungi. Mu ngeri y’emu, oyo akubiriza olukuŋŋaana asaanidde okukijjukira nti obuvunaanyizibwa bwe kwe kwongerezaako akatono ku ebyo abalala mu kibiina bye baba bazzeemu, so si kwefuga lukuŋŋaana. Yee, eby’okuddamu eby’enjawulo ebiweebwa mu nkuŋŋaana n’ebigambo ebitonotono oyo alukubiriza by’ayongerezaako bwe bigattibwa awamu bikola ekisaaganda ky’ebigambo ebizzaamu amaanyi abo bonna ababaawo.
“Ka Bulijjo Tuweeyo eri Katonda Ssaddaaka ez’Okutendereza”
10. Abakristaayo abaasooka baatwalanga batya enkuŋŋaana z’ekibiina?
10 Ebyo Pawulo by’ayogera ku nkuŋŋaana z’Ekikristaayo ebiri mu 1 Abakkolinso 14:26-33 bituyamba okutegeera engeri enkuŋŋaana ezo gye zaakubirizibwangamu mu kyasa ekyasooka. Ng’ayogera ku nnyiriri zino, omwekenneenya wa Baibuli omu agamba nti: “Ekintu ekimu ekimanyiddwa ku nkuŋŋaana z’Ekkanisa eyasooka kiri nti kumpi buli omu eyazibangamu yali akimanyi nti alina enkizo n’obuvunaanyizibwa okubaako ky’ayogera. Omuntu yajjanga ng’alina ekigendererwa eky’okubaako ky’ayogera, so si kuwuliriza buwuliriza.” Mu butuufu, Abakristaayo abaasooka enkuŋŋaana z’ekibiina baazitwalanga ng’akakisa ke baafunanga okwoleka okukkiriza kwabwe.—Bar. 10:10.
11. (a) Kiki ekireetera enkuŋŋaana zaffe okuba nga zizimba, era lwaki? (b) Biki ebinaatuyamba okulongoosa mu ebyo bye tuddamu mu nkuŋŋaana? (Laba obugambo bwa wansi.)
11 Bwe twoleka okukkiriza kwaffe okuyitira mu ebyo bye tuddamu nga tuli mu nkuŋŋaana, kirina kinene kye kikola mu ‘kuzimba ekibiina.’ Mu butuufu, ne bwe tuba nga tumaze emyaka mingi nga tujja mu nkuŋŋaana, ebyo baganda baffe ne bannyinnaffe bye baddamu biba bikyatuzimba. Tukwatibwako nnyo bwe tuwulira nga nnamukadde omwesigwa aliko ky’azzeemu; ng’omukadde ayogedde ku kintu kye tulina okukolako; oba ng’omwana omuto aliko ky’azzeemu ekiraga nti ayagala Yakuwa. Kya lwatu nti singa buli omu ku ffe abaako ky’addamu, ekyo kireetera enkuŋŋaana z’Ekikristaayo okuba nga zizimba.b
12. (a) Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Musa n’ekya Yeremiya? (b) Okusaba kuyinza kutya okutuyamba nga tulina kye twagala okuddamu mu nkuŋŋaana?
12 Kyokka eri abo abalina ensonyi, kiyinza okubabeerera ekizibu okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana. Bw’oba ng’olina ensonyi, osaanidde okukijjukira nti si gwe wekka alina obuzibu obwo. Mu butuufu, n’abaweereza ba Katonda abeesigwa nga Musa ne Yeremiya nabo baakisanga nga kizibu okwogera mu lujjudde. (Kuv. 4:10; Yer. 1:6) Naye nga Yakuwa bwe yayamba abaweereza be abo okumutendereza mu lujjudde, naawe ajja kukuyamba okuwaayo ssaddaaka ez’okumutendereza. (Soma Abebbulaniya 13:15.) Kati olwo oyinza kukola ki Yakuwa okusobola okukuyamba okuvvuunuka obuzibu bw’okutya okubaako ky’oddamu? Ekisooka, weetegekere bulungi enkuŋŋaana. Bw’oba tonnagenda mu nkuŋŋaana, saba Yakuwa akuwe obuvumu osobole okubaako ky’oddamu. (Baf. 4:6) Ekyo ky’oba osaba kiba ‘kituukagana n’ebyo by’ayagala,’ bwe kityo osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwo.—1 Yok. 5:14; Nge. 15:29.
Enkuŋŋaana Ezirina Ekigendererwa ‘eky’Okuzimba, Okuzzaamu Amaanyi, n’Okubudaabuda’
13. (a) Enkuŋŋaana zaffe zisaanidde kuganyula zitya abo abazibaamu? (b) Kibuuzo ki abakadde kye basaanidde okulowoozaako?
13 Pawulo akiraga nti ekigendererwa ekikulu eky’enkuŋŋaana z’ekibiina kwe ‘kuzimba, okuzzaamu amaanyi, n’okubudaabuda’ abo abazibaamu.c (1 Kol. 14:3) Abakadde bayinza kukola ki okulaba nti ebitundu bye bakubiriza mu nkuŋŋaana bizimba era bibudaabuda baganda baabwe ne bannyinaabwe? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegereze olukuŋŋaana Yesu lwe yakubiriza oluvannyuma lw’okuzuukira kwe.
14. (a) Biki ebyaliwo ng’olukuŋŋaana Yesu lwe yategeka terunnabaawo? (b) Lwaki abatume bateekwa okuba nga baafuna obuweerero ‘Yesu bwe yabatuukirira n’ayogera nabo’?
14 Sooka olowooze ku ebyo ebyaliwo ng’olukuŋŋaana olwo terunnabaawo. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, abatume “ba[a]mwabulira ne badduka,” era nga bwe kyali kyalagulwa, ‘baasaasaana buli omu n’adda ewuwe.’ (Mak. 14:50; Yok. 16:32) Bwe yamala okuzuukira, Yesu yayita abatume be abaali baweddemu amaanyi okubaawo mu lukuŋŋaana olw’enjawulo.d “Abayigirizwa ekkumi n’omu [ba]agenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yali ow’okubasisinkana.” Bwe baatuukayo, ‘Yesu yabatuukirira n’ayogera nabo.’ (Mat. 28:10, 16, 18) Lowooza ku buweerero abatume abo bwe baafuna Yesu bwe yabatuukirira n’ayogera nabo! Biki Yesu bye yayogerako?
15. (a) Biki Yesu bye yayogerako, naye kiki ky’ataakola? (b) Olukuŋŋaana olwo lwakwata lutya ku batume?
15 Yesu yatandika okwogera kwe ng’alangirira nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna.” Oluvannyuma yabawa omulimu ng’agamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” Yamaliriza ng’abakakasa nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna.” (Mat. 28:18-20) Naye weetegerezza ekintu Yesu ky’ataakola? Teyanenya bayigirizwa be; era teyakozesa kakisa ako kwogera ku bunafu bwe baali boolese, ekyandibaleetedde okwongera okuwulira nti baali bakoze ensobi ey’amaanyi. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yabakwasa omulimu ogw’amaanyi ekyalaga nti ye awamu ne Kitaawe baali bakyabaagala. Abatume abo baakwatibwako batya? Olukuŋŋaana olwo lwabazimba, lwabazzaamu amaanyi, era lwababudaabuda ne kiba nti oluvannyuma lw’ekiseera, baddamu “okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi.”—Bik. 5:42.
16. Leero abakadde bakoppa batya Yesu nga bakubiriza enkuŋŋaana?
16 Nga bakoppa Yesu, leero abakadde nabo enkuŋŋaana bazitwala ng’akakisa ke bafuna okukakasa bakkiriza bannaabwe nti Yakuwa abaagala nnyo. (Bar. 8:38, 39) Bwe kityo, abakadde bwe baba bakubiriza enkuŋŋaana, essira balissa ku ebyo baganda baabwe bye bakola obulungi, so si ku bunafu bwabwe. Tebabuusabuusa biruubirirwa bya baganda baabwe. Mu kifo ky’ekyo, ebyo bye boogera biraga nti batwala bakkiriza bannaabwe ng’abantu abaagala Yakuwa era abaagala okukola ekituufu. (1 Bas. 4:1, 9-12) Kya lwatu nti oluusi abakadde kiyinza okubeetaagisa okuyamba ekibiina kyonna okutwalira awamu okulaba wa we kyetaaga okulongoosaamu, naye bwe kiba nti waliwo abantu batono abeetaaga okutereeza, kiba kirungi abakadde ne boogera n’abo bokka abakwatibwako. (Bag. 6:1; 2 Tim. 2:24-26) Bwe baba boogera n’ekibiina kyonna, abakadde bafuba okwogera ku birungi ekibiina bye kikola. (Is. 32:2) Bafuba okwogera mu ngeri ezzaamu amaanyi era ezimba bonna ababaawo mu nkuŋŋaana.—Mat. 11:28; Bik. 15:32.
Enkuŋŋaana Zaffe Zitubudaabuda
17. (a) Lwaki kikulu nnyo okufuba okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zibudaabuda bonna abazibaamu? (b) Biki by’oyinza okukola okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zizimba? (Laba akasanduuko “Ebintu Kkumi by’Oyinza Okukola Okulaba nti Enkuŋŋaana Zikuzimba era nti Zizimba n’Abalala.”)
17 Ng’ensi ya Sitaani yeeyongera okuba embi, twetaaga okufuba okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zibudaabuda bonna abazibeeramu. (1 Bas. 5:11) Mwannyinaffe omu, awamu n’omwami we abaafuna okugezesebwa okw’amaanyi, agamba nti: “Okubeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka kyalinga okubeera mu mikono gya Yakuwa. Ebiseera bye twamalangayo nga tuli wamu ne baganda baffe ne bannyinnaffe Abakristaayo, twabanga ng’abatadde omugugu gwaffe ku Yakuwa, era ekyo kyatuyambanga okufuna obuweerero.” (Zab. 55:22) Ka abo bonna ababa mu nkuŋŋaana zaffe nabo bazzibwemu amaanyi era babudaabudibwe. Ekyo okusobola okuba bwe kityo, ffenna kitwetaagisa okufuba okulaba nti enkuŋŋaana zaffe zizimba.
[Obugambo obuli wansi]
a Obunnabbi bwalaga nti ebimu ku bintu ebyakolebwanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka byandikomye. Ng’ekyokulabirako, ‘tetukyayogera mu nnimi’ era ‘tetukyayogera bunnabbi.’ (1 Kol. 13:8; 14:5) Wadde kiri kityo, ebigambo bya Pawulo bituyamba okumanya engeri enkuŋŋaana z’Ekikristaayo gye zirina okukubirizibwamu leero.
b Okumanya ebyo by’osobola okukola okulongoosa mu by’oddamu mu nkuŋŋaana, laba Watchtower eya Ssebutemba 1, 2003, olupapula 19-22.
c Ng’eraga enjawulo eri wakati w’ebigambo ‘okuzzaamu amaanyi n’okubudaabuda,’ enkuluze eyitibwa Vine’s Expository Dictionary of Old and New Testament Words egamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okubudaabuda’ kirina amakulu ‘agasingawo ku kuzzaamu obuzza amaanyi.’—Geraageranya Yokaana 11:19.
d Guno guyinza okuba nga gwe mulundi Pawulo gwe yayogerako bwe yagamba nti Yesu “yalabikira ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano.”—1 Kol. 15:6.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo nkulu nnyo?
• Lwaki ebyo ebiddibwamu mu nkuŋŋaana biyamba mu ‘kuzimba ekibiina’?
• Kiki kye tuyigira ku lukuŋŋaana Yesu lwe yalina n’abagoberezi be?
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22, 23]
EBINTU KKUMI BY’OYINZA OKUKOLA OKULABA NTI ENKUŊŊAANA ZIKUZIMBA ERA NTI ZIZIMBA N’ABALALA
Tegeka nga bukyali. Bw’otegeka ebyo ebinaasomebwa mu nkuŋŋaana nga bukyali, kijja kukuyamba okussaayo omwoyo era ojja kuganyulwa nnyo.
Beerawo obutayosa. Okuva bwe kiri nti okubeerawo kwa buli muntu kutuzzaamu amaanyi, okubeerawo kwo kintu kikulu nnyo.
Tuuka nga bukyali. Singa otuula mu kifo kyo ng’olukuŋŋaana terunnatandika, kijja kukuyamba obutasubwa luyimba oluggulawo awamu n’essaala, ebintu ebikulu ennyo mu kusinza kwaffe.
Leeta ebitabo byonna eby’okukozesa. Leeta Baibuli n’ebitabo ebirala ebinaakozesebwa mu lukuŋŋaana kikuyambe okugoberera n’okutegeera obulungi ebyo ebinaayigirizibwa.
Weewale ebikuwugula. Ng’ekyokulabirako, tosoma bubaka bwa ku ssimu ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso, busome nga ziwedde. Mu ngeri eyo, oba okola ebintu mu kiseera kyabyo ekituufu.
Wenyigiremu. Abantu bangi bwe babaako bye baddamu mu nkuŋŋaana, bangi bazimbibwa era ne bazibwamu amaanyi.
Ddamu mu bumpimpi. Kino kisobozesa abantu abawerako okubaako bye baddamu.
Tuukiriza obuvunaanyizibwa bwo. Bw’oba n’emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda oba bw’oba n’ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, tegeka bulungi, weegezeemu nga bukyali, era fuba okubeerawo.
Siima abo abenyigira mu lukuŋŋaana. Siima abo ababadde n’ebitundu awamu n’abo abaliko bye bazzeemu mu lukuŋŋaana.
Nnyumyako n’abalala. Okubuuza ku balala awamu n’okunyumyako n’abo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, kiganyula abo ababaawo mu nkuŋŋaana era kibaleetera essanyu.