Kiki Omwana Wo ky’Anaayogera?
ABAZADDE: Mu magazini ya Jjanwali 15, 2010, olupapula 16-20, twabakkubiriza okwegezangamu n’abaana bammwe. Ekitundu kino kitegekeddwa okubayamba okuteekateeka abaana bammwe okusobola okwaŋŋanga embeera enzibu ze basanga ku ssomero. Muyinza okukozesa ebimu ku biri mu kitundu kino okwegezaamu mu kawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka.
ABAANA Abajulirwa ba Yakuwa boolekagana n’okusoomoozebwa okutali kumu. Bayizi bannaabwe batera okubabuuza ensonga lwaki tebeenyigira mu bintu gamba ng’okukubira bendera saluti, n’okukuza amazaalibwa. Omwana wo bw’abuuzibwa ebibuuzo ku nsonga ng’ezo, kiki ky’anaayogera?
Abaana abamu Abakristaayo bagamba bugambi nti: “Ekyo sisobola ku kikola. Kikontana n’eddiini yange.” Abaana ng’abo balina okusiimibwa olw’okwoleka obuvumu ng’obwo. Ekyo kiyinza okuleetera bayizi bannaabwe obuteeyongera kubabuuza. Kyokka, Baibuli etukubiriza okuba ‘abeetegefu okuddamu buli muntu atubuuza ebikwata’ ku nzikiriza yaffe. (1 Peet. 3:15) Kino kisingawo ku kugamba obugambi nti, “Ekyo sisobola ku kikola.” Ne bwe kiba nti abamu tebakkiriziganya naffe, abalala bayinza okwagala okumanya ensonga lwaki tugaana okukola ebintu ebimu.
Abavubuka Abajulirwa bangi oluusi baddamu bayizi bannaabwe nga bakozesa ebyo ebiri mu bitabo nga Learn From the Great Teacher. Ebyokulabirako bino bibayamba okulaba ensonga lwaki abaana Abajulirwa bagaana okwenyigira mu bintu ebimu. Abaana abamu bawuliriza engero za Baibuli, era bangi bakkirizza okutandika okuyiga Baibuli. Ate abalala kiyinza okubazibuwalira okuwuliriza olugero lwa Baibuli okumala ekiseera ekiwanvu. Abaana abamu bayinza obutategeera bintu ebimu ebiri mu Baibuli singa biba tebinnyonnyoddwa mu bulambulukufu. Mukwano gwe bwe yamuyita okugenda ku kabaga k’amazaalibwa ge, omuwala ow’emyaka 11 ayitibwa Minhee yagamba mukwano gwe nti: “Baibuli tetulagira kukuza mazaalibwa. Omusajja ayogerwako mu Baibuli ayitibwa Yokaana Omubatiza, yattibwa ku kabaga k’amazaalibwa.” Minhee agamba nti mukwano gwe teyategeera ebyo bye yamugamba.
Oluusi kiba kirungi okulaga omuyizi ekifaananyi oba olugero oluli mu bitabo byaffe. Ate kiri kitya singa abakulira essomero tebakkiriza baana kukozesa bitabo bya ddiini ku ssomero? Abaana baffe basobola okuwa obulungi obujulirwa ne bwe baba nga tebalina kitabo kyonna? Oyinza otya okuyamba abaana bo okuddamu abo ababa bababuuzizza ebibuuzo?
Mwegezeemu Nabo
Okwegezaamu awaka, ng’abazadde bazannya ekifo ky’abaana abali ku ssomero, kisobola okuyamba abaana. Abaana bwe bafuba okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yaabwe, kiba kirungi abazadde okubasiima n’okubayamba okulaba wa we bayinza okulongoosaamu. Ng’ekyokulabirako, bakubirize okukozesa ebigambo bayizi bannaabwe bye basobola okutegeera. Omulenzi ow’emyaka omwenda ayitibwa Joshua agamba nti bayizi banne baali tebategeera bigambo gamba nga “omuntu ow’omunda.” Bwe kityo yalina okukozesa ebigambo ebyangu okutegeera ng’ayogera nabo.—1 Kol. 14:9.
Abaana abamu ababuuza ebibuuzo tebaagala kubannyonnyola kumala kiseera kiwanvu. Naye singa abaana Abajulirwa bakubaganya nabo ebirowoozo, bayinza okubasikiriza okwagala okumanya ebisingawo. Omuwala ow’emyaka ekkumi ayitibwa Haneul agamba nti, “Bayizi bannange baagala nnyo okukubaganya ebirowoozo mu kifo ky’okubannyonnyola obunnyonnyozi.” Okusobola okukubaganya ebirowoozo ne bayizi banno, kozesa ebibuuzo, era owulirize n’obwegendereza nga baliko kye baddamu.
Ebyokulabirako bino wammanga biraga engeri abaana Abakristaayo gye bayinza okukubaganyaamu ebirowoozo ne bayizi bannaabwe. Tekyetaagisa baana bo kukwata bukusu bigambo bino, kubanga abaana be baba bagenda okubuulira tebafaanagana, era buli omu alina okuddibwamu okusinziira ku mbeera eba eriwo. N’olwekyo, omwana Omujulirwa asaanidde okufuba okutegeera ekinyusi ekiri mu bigambo bino, abiteeke mu bigambo bye, oluvannyuma abituukanye n’embeera oba ne muyizi munne aba amubuuzizza ekibuuzo. Bw’oba olina abaana abasoma, weegezeemu nabo nga mukozesa ebigambo bino wammanga.
Okutendeka abaana kyetaagisa ebiseera n’okufuba ennyo. Abazadde Abakristaayo basaanidde okuyamba abaana baabwe okutegeera emisingi gya Baibuli n’okugitambulirako.—Ma. 6:7; 2 Tim. 3:14.
Mu kawungeezi kammwe ak’Okusinza kw’Amaka akanaddako, mugezeeko okwegezaamu n’abaana bammwe nga mukozesa ebigambo ebiri mu kasanduuko. Mulabe engeri gye muyinza okubikozesaamu okubayamba. Mukijjukire nti ekigendererwa si kukwata bukusu bigambo bino. Muyinza okulondayo embeera emu ne mugyegezaamu enfunda n’enfunda nga mukozesa ebigambo eby’enjawulo era nga mulaba engeri abaana bammwe gye babaddamu. Mubayambe okuyiga okukubaganya ebirowoozo n’okuddamu mu ngeri ey’amagezi. Mpolampola mujja kusobola okuyamba abaana bammwe okuyiga engeri gye bayinza okuddamu bayizi bannaabwe, baliraanwa, awamu n’abasomesa baabwe ababa bababuuzizza ebikwata ku nzikiriza yaabwe.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4, 5]
OKUKUZA AMAZAALIBWA
Mary: John. Nandyagadde obeewo ku kabaga k’amazaalibwa gange.
John: Weebale nnyo okundowoozaako, Mary. Naye ka nkubuuze, lwaki oyagala okukuza amazaalibwa go?
Mary: Okukuza amazaalibwa gange! Ky’ogamba ggwe tokuza gago?
John: Nze agange sigakuza.
Mary: Lwaki? Bazadde bange baasanyuka okulaba nga nzaaliddwa.
John: N’abange balinga ababo. Nabo baasanyuka bwe nnazaalibwa. Naye sirowooza nti ekyo kyandindeetedde okukuza amazaalibwa gange buli mwaka. Bangi ku lunaku lw’amazaalibwa gaabwe baba balowooza nti be bantu abasinga okuba aba waggulu. Naye Katonda si y’asingayo okuba owa waggulu? Era tetusaanidde kumwebaza olw’okutuwa obulamu?
Mary: Ky’ogamba nti sisaanidde kukuza mazaalibwa gange?
John: Ekyo kiri gy’oli. Naye lowooza ku kino. Wadde ng’abantu bangi baagala nnyo okuweebwa ebirabo ku lunaku lw’amazaalibwa gaabwe, Baibuli egamba nti okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa. Mu kifo ky’okwerowoozaako ffekka nga tukuza amazaalibwa gaffe, tekyandibadde kirungi okwebaza Katonda, okulowooza ku balala, n’okubakolera ebirungi?
Mary: Ekyo mbadde sikirowoozangako. Ky’ogamba gwe bazadde bo tebakuwa birabo?
John: Babimpa. Naye tebalinda kubimpa ku lunaku lwe nnazaalibwako. Bazadde bange bampa ebirabo buli lwe baba baagadde. Naye ka nkubuuze Mary, wandyagadde okumanya engeri amazaalibwa gye gaatandikamu okukuzibwa?
Mary: Nnandyagadde okumanya, mbuulira?
John: Kale, enkya nja kukunnyumiza ebikwata ku kabaga k’amazaalibwa akaaliwo edda ennyo.
OKUYIMBA OLUYIMBA LW’EGGWANGA
Sophie: Kim, lwaki toyimba luyimba lwa ggwanga?
Kim: Ekibuuzo kyo kirungi, Sophie. Naye nange ka nkubuuze, lwaki ggwe oluyimba?
Sophie: Nduyimba lwa kuba njagala nnyo ensi yange.
Kim: Nange ndi musanyufu okubeera mu nsi eno, naye sirowooza nti waliwo ensi esukkulumye ku ndala.
Sophie: Nze ndowooza nti ensi yange esukkulumye ku ndala.
Kim: Njagala nnyo okutunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira. Baibuli egamba nti Katonda tasosola. Abantu bonna abaagala ka babe ba ggwanga ki. Eyo ye nsonga lwaki siyimba luyimba lwa ggwanga.
Sophie: Awo oba oyitirizza naawe!
Kim: Nedda, si nze nzekka atunuulira ebintu mu ngeri eyo. Baibuli eyogera ku bavubuka abaalina endowooza ng’eyo. Baalagirwa okusinza ekifaananyi naye ne bagaana, wadde ng’ekyo kyali kiyinza okubaviirako okuttibwa.
Sophie: Ee! Ekyo nga sikuwulirangako.
Kim: Nja kukubuulira ebisingawo mu kiseera ky’ekyemisana.
OKULONDA ABAKULEMBEZE B’ABAYIZI
Mike: Tim, olowooza ani asaanidde okufuuka moneta waffe?
Tim: Nze sirina n’omu gwe mpagira.
Mike: Lwaki?
Tim: Nze nnina omukulembeze asinga abakulembeze bonna. Ng’Omukristaayo, nneeyama okugoberera Yesu. N’olwekyo, sisobola kulonda mukulembeze mulala. Naye omanyi ensonga lwaki ntwala Yesu okuba Omukulembeze asingayo obulungi?
Mike: Simanyi, naye seetaaga kumanya.
Tim: Tewali mutawaana, bw’oliba oyagala okumanya, ndi mwetegefu okukubuulira.
[Ekifaananyi ]
“John. Nandyagadde obeewo ku kabaga k’amazaalibwa gange”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
“Lwaki toyimba luyimba lwa ggwanga?”