Engeri Y’okufuna Essanyu Mu Maka
Yigiriza Abaana Bo Empisa Ennungi
Maama omu ayitibwa Loida,a abeera mu Mexico, agamba: “Obupiira bugabibwa ku masomero, n’olwekyo abatiini balowooza nti okwetaba si kikyamu—kasita bakozesa akapiira.”
Maama omu ayitibwa Nobuko, abeera mu Japan, agamba: “Nnabuuza mutabani wange kye yandikoze singa ye ne mukwano gwe omuwala baba bali bokka. Yanziramu nti, ‘Simanyi.’”
OMWANA wo bwe yali nga yaakayiga okutambula, olina kye wakolawo okulaba nti takwata ku bintu ebiri mu nju ebiyinza okumuviirako obulabe bwonna? Oboolyawo wabikka ku soketi z’amasannyalaze, wamukweka ebintu ebyogi, n’ossa ne ku madaala ebiziyiza okugwa—nga byonna obikola olw’obutayagala mwana wo kutuusibwako bulabe.
Okukuuma omutiini si kyangu bw’okigeraageranya n’okukuuma omwana eyaakayiga okutambula. Kati olina ebintu eby’amaanyi ebikweraliikiriza, era oyinza okuba nga weebuuza ebibuuzo gamba nga: ‘Kyandiba nti mutabani wange alaba ebifaananyi eby’obugwenyufu?’ ‘Kyandiba nti muwala wange yeekuba ebifaananyi ng’ali bwereere n’abiweereza abalala ku ssimu?’ N’ekibuuzo ekisingayo okweraliikiriza kiri nti, ‘Kyandiba nti omwana wange omutiini yeenyigira mu bikolwa eby’okwetaba?’
Okukugira Okutayamba
Abazadde abamu bagezaako nnyo okulondoola buli kimu abaana baabwe abatiini kye bakola. Naye oluvannyuma, abazadde bangi bakizuula nti okulondoola ng’okwo kuleetera buleetezi baana baabwe kukweka bikolwa bye baba batayagala bakole.
Kyeyoleka kaati nti, okukugira ennyo abatiini si kye kijja okuyamba abazadde okubakuuma. Olw’okuba Yakuwa Katonda si bw’atyo bw’akola ng’ayagala ebitonde bye okumugondera, tekiba kirungi ggwe ng’omuzadde okukola bw’otyo. (Ekyamateeka 30:19) Kati olwo oyinza otya okuyamba abaana bo abatiini okumanya engeri gye bayinza okweyisaamu obulungi?—Engero 27:11.
Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kuba nti okubaganya ebirowoozo n’abaana bo obutayosa era kirungi okutandika okukikola nga bakyali bato.b (Engero 22:6) Bwe bayingira emyaka gya kabuvubuka, weeyongere okwogera nabo. Ng’omuzadde, ggwe asaanidde okuwoma omutwe mu kuwa abaana bo abatiini obubaka obwesigika. Omuwala ayitibwa Alicia abeera mu Bungereza agamba nti, “Abantu bangi balowooza nti mu kifo ky’okwebuuza ku bazadde baffe ku bikwata ku by’okwetaba, twandyebuuzizza ku mikwano gyaffe, naye ekyo si kituufu. Kitusanyusa nnyo bazadde baffe bwe baba nga be boogedde naffe ku nsonga eno. Bazadde baffe tubeesiga.”
Ensonga Lwaki Beetaaga Empisa Ennungi
Abaana bwe bagenda bakula, beetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku by’okwetaba. Ate era ‘obusobozi bwabwe obw’okutegeera bwetaaga okutendekebwa basobole okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ (Abebbulaniya 5:14) Mu bufunze, beetaaga emitindo gy’empisa egikwata ku by’okwetaba egyesigamiziddwa ku kukkiriza okunywevu ssaako n’okweyisa mu ngeri etuukagana n’emitindo egyo. Oyinza otya okuyigiriza omwana wo omutiini empisa ennungi?
Sooka olowooze ku mitindo gy’empisa gy’ogoberera. Okugeza, oyinza okuba ng’okkiriza nti obukaba—okwetaba wakati w’abantu abatali bafumbo—kikyamu. (1 Abassessaloniika 4:3) Oboolyawo abaana bo bamanyi ekyo ky’okkiririzaamu; bayinza okuba nga basobola n’okujuliza Ebyawandiikibwa ebiwagira ebyo by’okkiririzaamu. Singa baba babuuziddwa, bayinza obutalonzalonza kuddamu nti okwetaba nga tonnayingira bufumbo kikyamu.
Naye waliwo ekirala ekyetaagisa. Ekitabo ekiyitibwa Sex Smart kiraga nti abavubuka abamu bayinza okumala gakkiriziganya ne bazadde baabwe ku mitindo egikwata ku by’okwetaba. Kigamba nti: “Baba tebeekakasa kiki kye bayinza kukola. Bwe batuuka mu mbeera gye babadde batasuubira era nga beetaaga okusalawo mu ngeri ey’amagezi, beesanga nga tebamanyi kya kukola era nga bali mu buzibu obw’amaanyi.” Ekyo kiraga bulungi ensonga lwaki beetaaga emitindo gy’empisa. Oyinza otya okuyigiriza omwana wo omutiini emitindo egyo?
Bannyonnyole bulungi emitindo gyo egy’empisa. Okikkiriza nti okwetaba kulina kuba kwa bafumbo bokka? Bwe kiba bwe kityo, omwana wo omutiini munnyonnyole era kikole enfunda n’enfunda. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Beyond the Big Talk, okunoonyereza kulaga nti “mu maka omuli abazadde abannyonnyodde obulungi abaana baabwe nti tebaagala beenyigire mu bikolwa eby’okwetaba, abatiini ng’abo batera okulwawo okutandika okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo.”
Nga bwe kyayogeddwako, kyo kituufu nti okubategeeza obutegeeza emitindo gy’ogoberera tekitegeeza nti mutabani wo oba muwala wo ajja kusalawo okugigoberera. Kyokka, amaka bwe gaba n’emitindo gy’empisa gye gagoberera kiwa abaana omusingi kwe basobola okuzimbira egyabwe. Ate era okunoonyereza kulaga nti oluvannyuma abavubuka bangi batandika okugoberera emitindo gy’empisa egy’abazadde baabwe wadde nga mu kusooka tebaagigoberera nga bakyali batiini.
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Kozesa ekyo ekibadde mu mawulire okutandika okukubaganya ebirowoozo n’omwana wo omutiini era omutegeeze emitindo gy’empisa gy’ogoberera. Okugeza, singa amawulire gabaamu ekikolobero ekikwata ku by’okwetaba, oyinza okugamba nti: “Kimpisa bubi nnyo okulaba ng’abasajja abamu bakwata abakazi. Gwe olowooza kiki ekibaleetera okukola ebintu ng’ebyo?”
Babuulire amazima gonna agakwata ku by’okwetaba. Kikulu nnyo okulabula abaana bo. (1 Abakkolinso 6:18; Yakobo 1:14, 15) Wadde kiri kityo, okusingira ddala Bayibuli eyogera ku kwetaba ng’ekirabo ekiva eri Katonda so si ng’akatego ka Sitaani. (Engero 5:18, 19; Oluyimba 1:2) Okubuulira abaana bo abatiini ebyo byokka ebikwata ku kabi akali mu by’okwetaba, kiyinza okubaleetera okuba n’endowooza etali ntuufu era etali ya mu byawandiikibwa ekwata ku nsonga eyo. Omukyala ayitibwa Corrina, abeera mu Bufalansa agamba nti: “Bazadde bange bassanga nnyo essira ku kabi akali mu by’okwetaba, era ekyo kyandeetera okuba n’endowooza egudde olubege ku bikwata ku by’okwetaba.”
Kakasa nti abaana bo bafuna amazima gonna agakwata ku by’okwetaba. Maama omu ayitibwa Nadia abeera mu Mexico agamba nti: “Kye ntera okugamba abaana bange abatiini kiri nti, kya mu butonde era kirungi okwetaba era nti Yakuwa Katonda yassaawo enteekateeka eyo abantu basobole okuba abasanyufu. Naye kusaanidde kubaawo wakati w’abafumbo bokka. Ekirabo ekyo kiyinza okutuleetera essanyu oba ennaku okusinziira ku ngeri gye tuba tukikozesezzaamu.”
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bw’onooba ozzeemu okwogerako n’omwana wo omutiini ku bikwata ku by’okwetaba, yogera ne ku birungi ebikulimu. Totya kwogera ku kwetaba ng’ekirabo ekiva eri Katonda ekijja okumuleetera essanyu mu biseera eby’omu maaso bw’anaaba awasizza oba nga afumbiddwa. Mulage nti omulinamu obwesige nti ajja kusobola okugoberera emitindo gya Katonda okutuusa lw’aliyingira obufumbo.
Yamba omwana wo omutiini okumanya ebiyinza okuva mu kusalawo kwe. Abatiini okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi mu buli mbeera ya bulamu bwabwe, beetaaga okumanya ebirungi n’ebibi ebiyinza okuva mu kusalawo kwe baba bakoze. Tolowooza nti okutegeera obutegeezi ekituufu n’ekikyamu kiba kimala. Omukyala Omukristaayo ayitibwa Emma abeera mu Australia agamba nti, “Bwe ndowooza ku nsobi ze nnakola nga nkyali muvubuka, nnyinza okugamba nti okutegeera obutegeezi emitindo gya Katonda tekitegeeza nti okkiriziganya nagyo. Okutegeera ebirungi ebiva mu kugoberera emitindo egyo n’ebibi ebiva mu kugyesamba kikulu nnyo.”
Bayibuli esobola okubayamba, kubanga ebiragiro ebisinga obungi ebigirimu biraga n’akabi akayinza okuva mu butabigoberera. Ng’ekyokulabirako, Engero 5:8, 9 wakubiriza abavubuka okwewala obukaba ‘balemenga okuwa abalala ekitiibwa kyabwe.’ Ng’ennyiriri ezo bwe zikiraga, abo abeenyigira mu bikolwa eby’okwetaba nga tebannayingira bufumbo boonoona enkolagana yaabwe ne Katonda, boonooneka mu mpisa, era banyoomebwa. Ekyo kireetera omuntu alina engeri ennungi eyandyagadde okubawasa oba okubafumbirwa obutasikirizibwa gye bali. Okufumiitiriza ku kabi akayinza okuva mu kumenya amateeka ga Katonda kisobola okuyamba abatiini okuba abamalirivu okugagondera.c
GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Kozesa ebyokulabirako okuyamba omwana wo omutiini okulaba emiganyulo egiri mu kugoberera emitindo gya Katonda. Okugeza, oyinza okugamba nti: “Omuliro ogukozesebwa mu kufumba mulungi, naye ate omuliro oguba gukutte ekibira mubi. Njawulo ki eriwo wakati w’omuliro ogufumba n’omuliro oguba gukutte ekibira? Ekyo ky’ozzeemu kikwatagana kitya n’emitindo egikwata ku by’okwetaba Katonda gy’ataddewo?” Kozesa ebyo ebiri mu Engero 5:3-14 okuyamba omwana wo omutiini okutegeera akabi akayinza okuva mu bukaba.
Takao, ow’emyaka 18 abeera mu Japan, agamba nti, “Nkimanyi nti nsaanidde okukola ekituufu, naye si kyangu kufuga kwegomba kw’omubiri.” Abavubuka abalina enneewulira ng’eyo tebasaanidde kuggwamu maanyi kubanga si be bokka abayita mu mbeera eyo. N’omutume Pawulo—eyali Omukristaayo omwesigwa—yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.”—Abaruumi 7:21.
Kikulu nnyo abatiini okukitegeera nti kirungi okufuba okufuga okwegomba kw’omubiri. Okufuba ng’okwo kuyinza okubaleetera okufumiitiriza ku ekyo kye bandyagadde okubeera. Kusobola okubayamba okufumiitiriza ku kibuuzo kino, ‘Njagala okufuga obulamu bwange mmanyibwe ng’omuntu alina engeri ennungi era omwesigwa, oba njagala kubeera muntu amanyiddwa ng’omugoberezi—omuntu agoberera obugoberezi okwegomba kw’omubiri gwe?’ Okubeera n’emitindo emirungi egikwata ku mpisa kijja kuyamba omwana wo omutiini okusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’addamu ekibuuzo ekyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa.
b Bw’oba nga wandyagadde okufuna amagezi ku ngeri y’okutandikamu okwogera n’abaana bo ku bikwata ku by’okwetaba n’okumanya ebyo by’osaanidde okubagamba okusinziira ku myaka gyabwe, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2011, olupapula 30-32.
c Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe “Abavubuka Bye Babuuza . . . Okwetaba Kunaanyweza Omukwano Gwaffe?” ekiri mu magazini ya Awake! eya Apuli 2010 ekubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
WEEBUUZE . . .
▪ Biki ebiraga nti omwana wange omutiini alina emitindo gy’empisa gy’agoberera?
▪ Bwe mba njogera n’omwana wange omutiini ku bikwata ku by’okwetaba, okusingira ddala okwetaba nkwogerako ng’ekirabo ekiva eri Katonda oba ng’akatego ka Sitaani?
[Akasanduuko akali ku lupapula 20]
Bayibuli ya Muganyulo Ekiseera Kyonna
Ekitabo ekiyitibwa Parenting Teens With Love and Logic kigamba nti, ‘Obulagirizi obukwata ku by’okwetaba obuli mu Bayibuli bwa muganyulo ekiseera kyonna. Mu kiseera kino abatiini bangi boolekagana n’ebizibu ebiva mu kwenyigira mu by’okwetaba nga bakyali bato, embuto ze bateeyagalidde, siriimu n’endwadde endala ez’obukaba, so ng’ate amagezi Bayibuli g’ewa obuteetaba okutuusa ng’omuntu ayingidde obufumbo ga muganyulo nnyo era gakola.’