LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 3/15 lup. 12-16
  • Ng’Enkomerero bw’Esembera, Weesige Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ng’Enkomerero bw’Esembera, Weesige Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weesige Katonda ng’Okemebwa Okukola Ebintu Ebibi
  • Weesige Katonda ng’Abantu b’Obuulira Tebeefiirayo oba nga Bakuziyiza
  • Weesige Katonda nga Waliwo Ebikweraliikiriza
  • Ka “Emirembe gya Katonda” Gikuume Omutima Gwo
  • Obwesige Bwetaagisa Okusobola Okuba n’Obulamu obw’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Osobola Okwesiga Bakkiriza Banno
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Weesige Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Weesigire Ddala Yakuwa mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 3/15 lup. 12-16

Ng’Enkomerero bw’Esembera, Weesige Yakuwa

“Mwesigenga Mukama ennaku zonna.”​—IS. 26:4.

1. Njawulo ki eri wakati w’abaweereza ba Katonda n’abantu abalala?

LEERO, abantu abasinga obungi bawulira nga tebakyalina muntu yenna oba kintu kyonna kye basobola kwesiga. Kino kiyinza okuba nga kivudde ku kuba nti emirundi mingi bayisiddwa bubi oba tebafunye ebyo bye babadde basuubira. Nga abaweereza ba Yakuwa ba njawulo nnyo! Olw’okuba balina amagezi agava eri Katonda, bakimanyi nti si kya magezi kussa bwesige bwabwe mu nsi ne mu “balangira” baayo. (Zab. 146:3) Mu kifo ky’ekyo, obwesige bwabwe bwonna babutadde mu Yakuwa, nga bakimanyi bulungi nti abaagala nnyo era nti bulijjo atuukiriza Ekigambo kye.​—Bar. 3:4; 8:38, 39.

2. Yoswa yakiraga atya nti Katonda yeesigika?

2 Yoswa yakiraga nti Katonda yeesigika. Bwe yali anaatera okufa, yagamba Baisiraeri banne nti: “Nammwe mumanyi mu mitima gyammwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna [bituukiridde].”​—Yos. 23:14.

3. Erinnya lya Katonda lituyigiriza ki ku Katonda?

3 Wadde nga Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye olw’okuba ayagala nnyo abaweereza be, okusingira ddala abituukiriza ku lw’erinnya lye. (Kuv. 3:14; 1 Sam. 12:22) Ng’eyogera ku linnya lya Katonda, ennyanjula eri mu nkyusa ya Bayibuli eyitibwa The Emphasized Bible eya J. B. Rotherham, egamba nti erinnya lya Katonda litegeeza nti Katonda asobola okufuuka kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Erinnya lye liraga nti bw’ayogera ekintu aba ajja kukikola. Asobola okukola kyonna ky’ayagala ekiseera kyonna, mu kifo kyonna. Tewali kintu kyonna kiyinza kumulema. Bulijjo Katonda atuukana n’erinnya lye.

4. (a) Isaaya 26:4 watukubiriza kukola ki? (b) Biki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

4 Weebuuze: ‘Yakuwa mumanyi bulungi ne kiba nti nsobola okumwesigira ddala? Bwe ndowooza ku biseera eby’omu maaso, nneesiga Katonda nti ajja kusobola bulungi okunnyamba?’ Isaaya 26:4 wagamba nti: “Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi [o]lutaliggwaawo.” Kyo kituufu nti leero Katonda tatukuuma mu ngeri ya kyamagero nga bwe yakolanga mu biseera bya Bayibuli. Naye, okuva bw’ali “olwazi olutaliggwaawo,” tusaanidde okumwesiga “ennaku zonna.” Katonda waffe omwesigwa ayamba atya abaweereza be leero? Ka twetegerezeeyo engeri ssatu kino gy’akikolamu: Atuwa amaanyi okuziyiza ebikemo, atuyamba nga tubuulira abantu abateefiirayo oba abatuziyiza, era atuwa amaanyi okwolekagana n’ebintu ebitweraliikiriza. Nga twetegereza buli kimu ku bintu bino, fumiitiriza ku ngeri ebyo bye tugenda okulaba gye biyinza okukuyamba okwongera okwesiga Yakuwa.

Weesige Katonda ng’Okemebwa Okukola Ebintu Ebibi

5. Bwe kituuka ku kwesiga Katonda, kintu ki ekiyinza okutuzibuwalira?

5 Ku bikwata ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okuzzaawo Olusuku lwe ku nsi era n’eky’okuzuukiza abafu​—ebintu ffenna bye twesunga​—kiyinza okutwanguyira okumwesiga nti ajja kubituukiriza. Naye bwe kituuka ku bulagirizi bw’atuwa obukwata ku mpisa, kiyinza okutubeerera ekizibu okumwesiga n’okukkiriza nti okukolera ku bulagirizi obwo kya muganyulo era kivaamu essanyu. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Nge. 3:5, 6) Weetegereze nti ekyawandiikibwa kino kyogera ku “makubo” gaffe ne ku ‘lugendo’ lwaffe. Yee, mu bulamu bwaffe bwonna tulina okukyoleka nti twesiga Katonda, so si kukoma ku kukikkiriza bukkiriza nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Katonda nga tukemebwa?

6. Kiki ekinaatuyamba okweggyamu ebirowoozo ebibi?

6 Okusobola okwewala ebintu ebibi tulina okusooka okweggyamu ebirowoozo ebibi. (Soma Abaruumi 8:5; Abeefeso 2:3.) Kati olwo kiki ekiyinza okukuyamba okweggyamu ebirowoozo ebibi? Ebintu bino ebitaano bisobola okukuyamba: 1. Saba Katonda akuyambe. (Mat. 6:9, 13) 2. Fumiitiriza ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli eby’abo abaagondera Yakuwa n’abo abaamujeemera era olowooze ne ku ebyo ebyavaamu.a (1 Kol. 10:8-11) 3. Lowooza ku ngeri gy’onoowuliramu oluvannyuma lw’okukola ekibi era olowooze ne ku ngeri ab’oluganda gye banaawuliramu. 4. Lowooza ku ngeri Katonda gy’awuliramu ng’omu ku baweereza be akoze ekibi eky’amaanyi. (Soma Zabbuli 78:40, 41.) 5. Lowooza ku ssanyu Yakuwa ly’afuna bw’alaba omuweereza we nga yeewala ekintu ekibi era n’akola ekituufu, ka kibe nti abalala bamulaba oba tebamulaba. (Zab. 15:1, 2; Nge. 27:11) Naawe osobola okukyoleka nti weesiga Yakuwa.

Weesige Katonda ng’Abantu b’Obuulira Tebeefiirayo oba nga Bakuziyiza

7. Bigezo ki Yeremiya bye yayolekagana nabyo, era ebiseera ebimu yawuliranga atya?

7 Ab’oluganda bangi basanga obuzibu bwa maanyi mu bitundu bye babuuliramu. Nnabbi Yeremiya naye yasanga obuzibu bwa maanyi ng’abuulira​—naddala mu kiseera ng’obwakabaka bwa Yuda bunaatera okuzikirizibwa. Obwesige bwe yalina mu Yakuwa bwagezesebwanga buli lunaku kubanga yalina okulangirira obubaka bwa Katonda obw’omusango. Ekiseera kyatuuka n’omuwandiisi we, Baluki, n’atandika okwemulugunya. (Yer. 45:2, 3) Kino kyaleetera Yeremiya okuggwaamu amaanyi? Kyo kituufu nti ebiseera ebimu yawuliranga ng’aweddemu amaanyi. Lumu yatuuka n’okugamba nti: “Olunaku kwe nnazaalirwa lukolimirwe.” Yagattako nti: “N[n]aviira ki mu lubuto okulaba okutegana n’obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw’ensonyi?”​—Yer. 20:14, 15, 18.

8, 9. Nga bwe kiragibwa mu Yeremiya 17:7, 8 ne Zabbuli 1:1-3, kiki kye tulina okukola okusobola okweyongera okubala ebibala?

8 Wadde nga yagezesebwa nnyo, Yeremiya teyaggwaamu maanyi. Yeeyongera okwesiga Yakuwa. Bwe kityo, nnabbi ono omwesigwa yasobola okulaba obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Yeremiya 17:7, 8 awagamba nti: “Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye. Kubanga aliba ng’omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.”

9 Okufaananako omuti gw’ebibala “ogwasimbibwa awali amazzi” oba ogwasimbibwa ku ttaka erifukirirwa obulungi amazzi, Yeremiya ‘teyalekera awo kubala bibala.’ Teyakkiriza bantu abaali bamusekerera kumumalamu maanyi. Mu kifo ky’ekyo, yanywerera ku Yakuwa, Ensibuko ‘y’amazzi’ ag’obulamu era n’akola byonna bye yamulagira. (Soma Zabbuli 1:1-3; Yer. 20:9) Nga Yeremiya yateekawo ekyokulabirako ekirungi, naddala eri abo ababuulira mu bitundu ebitali byangu kubuuliramu! Bwe kiba ng’ekitundu mw’obuulira nakyo bwe kityo bwe kiri, weeyongere okwesiga Yakuwa, kubanga ajja kukuyamba okuba omugumiikiriza nga bwe weeyongera ‘okwatula mu lujjudde erinnya lye.’​—Beb. 13:15.

10. Bintu ki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba, era kiki kye tusaanidde okwebuuza?

10 Waliwo ebintu bingi Yakuwa by’atuwadde okusobola okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Mu bintu bino mwe muli Ekigambo kye, kati ekigenda kyeyongera okuvvuunulwa obulungi mu nnimi nnyingi. Atuwadde n’emmere nnyingi ey’eby’omwoyo okuyitira mu kibiina ky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Era atuwadde ne baganda baffe bangi abatuzzaamu amaanyi nga tugenze mu nkuŋŋaana zaffe entono n’ennene. Okozesa bulungi ebintu ebyo? Abo bonna ababikozesa obulungi ‘baliyimba ng’omutima gwabwe gusanyuse.’ Naye abo abagaana okuwuliriza Katonda ‘balikaaba ng’omutima gwabwe gunakuwadde era baliwowoggana omwoyo gwabwe nga gulumiddwa.’​—Is. 65:13, 14.

Weesige Katonda nga Waliwo Ebikweraliikiriza

11, 12. Ng’ebizibu ebiri mu nsi bigenda byeyongera, tusaanidde kukola ki?

11 Nga bwe kyalagulwa, leero abantu boolekagana n’ebizibu bingi. (Mat. 24:6-8; Kub. 12:12) Ebizibu ebigenda byeyongerayongera bireetedde abantu bangi okulowooza nti eby’obugagga, bannabyabufuzi, bannaddiini, sayansi awamu ne tekinologiya, bisobola okubawa obuddukiro. Kyokka tewali na kimu ku ebyo kisobola kuwa bantu bukuumi bwa nnamaddala. (Yer. 17:5, 6) Ku luuyi olulala, bo abaweereza ba Yakuwa balina obuddukiro obwa nnamaddala​—‘Olwazi olutaliggwaawo.’ (Is. 26:4) Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “[Yakuwa] lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Oyo kye kigo kyange ekiwanvu.” (Soma Zabbuli 62:6-9.) Olwazi olwo tuyinza tutya okulufuula ekiddukiro kyaffe?

12 Tunywerera ku Yakuwa nga tukolera ku magezi agali mu Kigambo kye, wadde ng’emirundi egisinga gaawukana ku magezi g’abantu. (Zab. 73:23, 24) Ng’ekyokulabirako, abo abagoberera amagezi g’abantu bayinza okukugamba nti: ‘Buno bwe bulamu bwokka bw’olina; bukozese mu bujjuvu.’ ‘Weefunire omulimu omulungi.’ ‘Weekolere ssente nnyingi nga bwe kisoboka.’ ‘Weegulire kino na kiri.’ ‘Nnyumirwa obulamu ng’ogenda buli wamu gy’oyagala.’ Kyokka go amagezi agava eri Katonda gali nti: “Abo abakozesa ensi babe ng’abo abatagikozesa mu bujjuvu; kubanga embeera y’ensi eno ekyukakyuka.” (1 Kol. 7:31) Ate era Yesu atukubiriza okukulembeza Obwakabaka, tusobole okweterekera “eby’obugagga mu ggulu,” gye bijja okukuumibwa obulungi.​—Mat. 6:19, 20.

13. Okusinziira ku 1 Yokaana 2:15-17, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

13 Engeri gy’otunuuliramu ‘ensi’ awamu ‘n’ebintu ebiri mu nsi’ eraga nti obwesige bwo bwonna obutadde mu Katonda? (1 Yok. 2:15-17) Eby’obugagga eby’omwoyo awamu n’enkizo ez’obuweereza obitwala nga bya muwendo okusinga ebintu ebiri mu nsi? (Baf. 3:8) Ofuba okuba ‘n’eriiso eriraba awamu’? (Mat. 6:22) Kya lwatu nti Katonda tayagala olagajjalire buvunaanyizibwa bwo, naddala singa oba olina amaka ag’okulabirira. (1 Tim. 5:8) Naye ayagala abaweereza be okumwesigira ddala​—so si okwesiga ensi ya Sitaani enaatera okuzikirizibwa.​—Beb. 13:5.

14-16. Ab’oluganda abamu baganyuddwa batya mu kuba ‘n’eriiso eriraba awamu’ n’okukulembeza Obwakabaka?

14 Lowooza ku Richard ne Ruth, abazadde abalina abaana abasatu. Richard agamba nti, “Muli nnali mpulira nga nsobola okugaziya ku buweereza bwange eri Yakuwa. Nnali nfuna ssente nnyingi naye nga muli mpulira Katonda nninga amuwa ebifikkidde. Oluvannyuma lw’okusaba n’okwetegereza ebyo ebyali bizingirwamu, nnatuula ne Ruth ne tusalawo ŋŋende eri mukama wange musabe anzikirize okukolanga ennaku nnya buli wiiki​—wadde nga mu kiseera ekyo ensi yaffe yali mu katuubagiro k’eby’enfuna. Mukama wange yakkiriza okusaba kwange, era omwezi ogwaddako, nnatandika okukola ennaku nnya zokka buli wiiki.” Kati Richard awulira atya?

15 Agamba nti, “Wadde ng’omusaala gwange gwakendeezebwako ebitundu 20 ku buli kikumi, nnasobola okufuna ennaku endala 50 mu mwaka okubeerako awamu n’ab’omu maka gange n’okuyigiriza abaana baffe. Kati ebiseera bye mmala mu kubuulira bikubisaamu emirundi ebiri ebyo bye nnamalanga, abayizi ba Bayibuli be nnina kati bakubisaamu emirundi esatu abo be nnalina, era kati nsobola bulungi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange mu kibiina. Era olw’okuba kati nnina ebiseera ebiwerako okubeerako awamu n’abaana baffe, ekyo kisobozesezza Ruth okukolako nga payoniya omuwagizi. Ndi mumalirivu okunywerera ku ekyo kye nnasalawo okukola.”

16 Roy ne mukyala we Petina, abakyabeera awamu ne muwala waabwe awaka, baasalawo okukendeeza ku biseera bye baali bamala ku mirimu gyabwe basobole okuweereza nga bapayoniya. Roy agamba nti, “Nze nkola ennaku ssatu buli wiiki ate ye Petina akola ennaku bbiri. Ate era twasalawo okuva mu nnyumba ennene mwe twali tusula ne tupangisa entonoko, etaali ya ssente nnyingi. Twali tuweereza nga bapayoniya nga tetunnazaala mutabani waffe ne muwala waffe, era twasigala tukyayagala okuweereza nga bapayoniya. N’olwekyo, abaana baffe bwe baakula, twaddamu okuweereza nga bapayoniya. Emikisa gye tufunye tetuyinza kugigeraageranya ku ssente zonna ze twandibadde tufuna.”

Ka “Emirembe gya Katonda” Gikuume Omutima Gwo

17. Wadde nga tewali n’omu ku ffe amanyi kijja kubaawo nkya, Ebyawandiikibwa bikubudaabuda bitya?

17 Tewali n’omu ku ffe amanyi kijja kubaawo nkya, kubanga “ebiseera n’ebigambo” ffenna bitugwira bugwizi. (Mub. 9:11) Naye, eky’okuba nti tetumanyi bya nkya tekisaanidde kutweraliikiriza nga bwe kyeraliikiriza abantu abalala abatalina nkolagana nnungi ne Katonda. (Mat. 6:34) Omutume Pawulo yagamba nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.”​—Baf. 4:6, 7.

18, 19. Katonda atubudaabuda atya? Waayo ekyokulabirako.

18 Ab’oluganda bangi abayise mu mbeera enzibu bakirabye nti Yakuwa abawadde emirembe mu mutima. Mwannyinaffe omu agamba nti, “Omusawo eyali agenda okunnongoosa yagezaako okuntiisatiisa nzikirize okuteekebwamu omusaayi. Bwe yali yaakandaba, ekimu ku bintu bye yasookerako okuŋŋamba kyali nti, ‘Biki bino by’ogamba nti tokkiriza kuteekebwamu musaayi?’ Nnasaba Yakuwa mu kasirise, era nnafuna emirembe mu mutima. Nnawulira nga muli ŋŋumye nga nninga olwazi. Wadde nga nnali munafu nnyo olw’okuba nnalina omusaayi mutono, nnasobola okukozesa Ebyawandiikibwa okumunnyonnyola ensonga lwaki nnali nsazeewo bwe ntyo.”

19 Oluusi Katonda atuzzaamu amaanyi ng’ayitira mu bakkiriza bannaffe oba ng’ayitira mu mmere ey’eby’omwoyo gye tufuna mu kiseera ekituufu. Oyinza okuba nga wali owuliddeko ng’ow’oluganda agamba nti: “Ekitundu kino kijjidde mu kiseera ekituufu!” Yee, ka tubeere mu mbeera ki, Yakuwa ajja kutulaga okwagala kwe singa tumwesiga. Kino kiri kityo kubanga tuli ‘ndiga’ ze, era asazeewo okutuyita erinnya lye.​—Zab. 100:3; Yok. 10:16; Bik. 15:14, 17.

20. Lwaki abaweereza ba Yakuwa bajja kukuumibwa ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa?

20 Ku “lunaku olw’obusungu bwa Katonda” olunaatera okutuuka ebintu byonna ensi ya Sitaani by’etaddemu obwesige bijja kusaanawo. Zaabu, ffeeza, n’eby’obugagga ebirala byonna tebijja kuwa muntu yenna bukuumi. (Zef. 1:18; Nge. 11:4) Ku lunaku olwo, obuddukiro bujja kuba mu ‘Lwazi lwaffe olutaliggwaawo’ mwokka. (Is. 26:4) N’olwekyo, ka tukyoleke nti obwesige bwaffe bwonna tubutadde mu Yakuwa nga tutambulira mu makubo ge ag’obutuukirivu, nga tulangirira obubaka bw’Obwakabaka bwe wadde ng’abantu tebeefiirayo oba nga batuziyiza, era nga tumukwasa byonna ebitweraliikiriza. Bwe tunaakola bwe tutyo, tewali kubuusabuusa nti tujja ‘kuba mu mirembe, era tujja kutereeranga nga tewali kabi ke tutya.’​—Nge. 1:33.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba akatabo “Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda” olupapula 102-106.

Osobola Okunnyonnyola?

Tuyinza tutya okulaga nti twesiga Katonda

• nga tukemebwa?

• ng’abantu be tubuulira tebeefiirayo oba nga batuziyiza?

• nga waliwo ebintu ebitweraliikiriza mu bulamu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Okunywerera ku mitindo gya Katonda kivaamu essanyu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

‘Yakuwa lwe Lwazi olutaliggwaawo’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share