LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 10/15 lup. 23-27
  • Weesige Yakuwa, “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weesige Yakuwa, “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwaŋŋanga Ebintu Ebituleetera Ennaku
  • Ebyokulabirako by’Abantu Katonda Be Yabudaabuda
  • Emikono gya Katonda Egitaggwaawo Gikuwanirira
  • “Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri Katonda gy’Atubudaabudamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Okubudaabuda Okwa Nnamaddala Kuyinza Kusangibwa Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Budaabuda Abo Abalina Ennaku
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 10/15 lup. 23-27

Weesige Yakuwa, “Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”

“Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.”​—2 KOL. 1:3.

1. Kintu ki abantu bonna kye beetaaga?

OKUVA lwe tuzaalibwa, tuba twetaaga okubudaabudibwa. Omwana omuwere akaaba bw’aba ayagala okubudaabudibwa. Oboolyawo ayinza okuba ng’ayagala kusitulibwa oba ng’enjala emuluma. N’abantu abakulu emirundi mingi nabo baba beetaaga okubudaabudibwa. Twetaaga okubudaabudibwa naddala bwe tuba mu mbeera enzibu.

2. Kiki ekiraga nti Yakuwa abudaabuda abo bonna abamwesiga?

2 Ab’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe basobola okugezaako okutubudaabuda. Naye tebasobola kutubudaabuda mu buli mbeera enzibu gye tuba twolekagana nayo. Katonda yekka y’asobola okutubudaabuda mu buli mbeera. Ekigambo kye kigamba nti: “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, . . . era anaawuliranga okukaaba kwabwe.” (Zab. 145:18, 19) Yee, “amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.” (Zab. 34:15) Naye Katonda bw’aba ow’okutuyamba n’okutubudaabuda, tulina okumwesiga. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, ekigo ekiwanvu mu biro eby’ennaku; n’abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.”​—Zab. 9:9, 10.

3. Yesu yakiraga atya nti Yakuwa ayagala nnyo abantu be?

3 Abaweereza ba Yakuwa ba muwendo nnyo gy’ali. Yesu yagamba nti: “Enkazaluggya ttaano tezigula ssente bbiri ez’omuwendo omutono ennyo? Naye tewali n’emu eyeerabirwa mu maaso ga Katonda. N’enviiri ez’oku mitwe gyammwe zonna zaabalibwa. Temutya; muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.” (Luk. 12:6, 7) Ng’ayitira mu nnabbi Yeremiya, Yakuwa yagamba abantu be ab’edda nti: “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo: kyenvudde nkuwalula n’ekisa.”​—Yer. 31:3.

4. Lwaki tusaanidde okukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa?

4 Okwesiga Yakuwa n’okuba n’okukkiriza nti ebisuubizo bye bijja kutuukirira kisobola okutubudaabuda mu biseera ebizibu. N’olwekyo, tusaanidde okwesiga Katonda nga Yoswa bwe yakola. Yagamba nti: “Tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.” (Yos. 23:14) Ate era, wadde nga mu kiseera kino tulina ebizibu bingi, “Katonda mwesigwa” era tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa.​—Soma 1 Abakkolinso 10:13.

5. Tusobola tutya okubudaabuda abalala?

5 Omutume Pawulo ayogera ku Yakuwa nga “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” “Okubudaabuda” kwe kuleetera omuntu abonaabona oba ali mu nnaku okufuna obuweerero. Kino omuntu akikola ng’afuba okuzzaamu amaanyi omuntu ali mu nnaku. Ekyo kyennyini Yakuwa ky’akola. (Soma 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Tewali kintu kyonna oba muntu yenna asobola kulemesa Kitaffe ow’omu ggulu okukola ekyo ky’aba ayagadde. Bwe kityo, asobola okukola kyonna ekyetaagisa okusobola okubudaabuda abo abamwagala. Naffe tusobola okubudaabuda bakkiriza bannaffe “mu kubonaabona okwa buli ngeri.” Kino tusobola okukikola “nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.” Tewali muntu n’omu asobola kutubudaabuda bulungi kusinga Yakuwa!

Okwaŋŋanga Ebintu Ebituleetera Ennaku

6. Ebimu ku bintu ebisobola okutuleetera ennaku bye biruwa?

6 Waliwo embeera nnyingi mu bulamu mwe twetaagira okubudaabudibwa. Ekimu ku bintu ebisinga okutuleetera ennaku kwe kufiirwa omwagalwa waffe, naddala omwami, omukyala, oba omwana. Abalala bayinza okwetaaga okubudaabudibwa olw’okuba basosolwa. Ate era obulwadde, obukadde, obwavu, ebizibu mu maka, oba ebizibu ebirala ebiriwo mu nsi eno embi bireetera abantu okuba nga beetaaga okubudaabudibwa.

7. (a) Bwe tuba mu mbeera enzibu, kiki kye tuba twetaaga? (b) Kiki Yakuwa ky’akola okusobola okuwonya omutima “ogumenyese”?

7 Bwe tuba mu mbeera enzibu, tuba twetaaga okubudaabudibwa olw’okuba omutima gwaffe, ebirowoozo byaffe, enneewulira zaffe, obulamu bwaffe, n’embeera yaffe ey’eby’omwoyo biba bikoseddwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mutima. Ekigambo kya Katonda kiraga nti omutima gwaffe gusobola ‘okumenyeka.’ (Zab. 51:17) Naye Yakuwa asobola okutuyamba mu mbeera eyo, kubanga “awonya abalina emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.” (Zab. 147:3) Ne mu mbeera enzibu ennyo, Katonda asobola okubudaabuda omutima gwaffe ogumenyese singa tumusaba nga tulina okukkiriza era ne tufuba okukwata ebiragiro bye.​—Soma 1 Yokaana 3: 19-22; 5:14, 15.

8. Yakuwa atuyamba atya ng’ebirowoozo byaffe bikoseddwa?

8 Olw’okuba tufuna ebizibu bingi, ebirowoozo byaffe oluusi nabyo bikosebwa ne tuba nga twetaaga okubudaabudibwa. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.” (Zab. 94:19) Pawulo yawandiika nti: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga; era emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe okuyitira mu Kristo Yesu.” (Baf. 4:6, 7) Okusoma n’okufumiitiriza ku Byawandiikibwa kisobola okutubudaabuda ng’ebirowoozo byaffe bikoseddwa.​—2 Tim. 3:15-17.

9. Kiki ekiyinza okutuyamba okwaŋŋanga enneewulira ezitali nnungi?

9 Oluusi tuyinza okuggwamu ennyo amaanyi ne tutuuka n’okufuna enneewulira ezitali nnungi. Oboolyawo tuyinza okuwulira nga waliwo obuvunaanyizibwa obumu obutuweebwa mu Byawandiikibwa oba mu kibiina bwe tutasobola kutuukiriza bulungi. Ne mu mbeera eno, Yakuwa asobola okutubudaabuda n’okutuyamba. Ng’ekyokulabirako: Yoswa bwe yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okukulembera Abaisiraeri nga balwana n’amawanga ag’amaanyi, Musa yagamba abantu nti: “Beera n’amaanyi, guma omwoyo, totya so tobatekemukira: kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga.” (Ma. 31:6) Yakuwa yayamba Yoswa n’asobola okukulembera abantu ba Katonda okuyingira mu Nsi Ensuubize n’okuwangula abalabe baabwe bonna. Emabegako, Yakuwa era yali ayambye Musa ku Nnyanja Emmyufu.​—Kuv. 14:13, 14, 29-31.

10. Ebizibu bwe bikosa obulamu bwaffe, biki ebiyinza okutuyamba?

10 Ebizibu bisobola okukosa obulamu bwaffe. Kya lwatu nti okulya obulungi, okuwummula ekimala, okubaako bye tukola okugolola ebinywa, n’okuba abayonjo bisobola okutuyamba. Ate era okufumiitiriza ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso nakyo kisobola okutuyamba. Bwe kityo, bwe tuba tulina ekizibu kyonna kye twolekagana nakyo, kiba kya magezi okujjukira ebigambo bya Pawulo bino: “Tunyigirizibwa mu buli ngeri naye tetubulwa bwekyusizo; tusoberwa naye tuba n’obuddukiro; tuyigganyizibwa naye tetwabulirwa; tusuulibwa wansi naye tetuzikirira.”​—2 Kol. 4:8, 9.

11. Kiki kye tusobola okukola bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi mu by’omwoyo?

11 Ebizibu ebimu bisobola okukosa embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Ne mu mbeera eno, Yakuwa asobola okutuyamba. Ekigambo kye kigamba nti: “Mukama awanirira abagwa bonna, era ayimiriza abakutama bonna.” (Zab. 145:14) Bwe tuwulira nga tunafuye mu by’omwoyo, tusobola okutuukirira abakadde mu kibiina batuyambe. (Yak. 5:14, 15) Era okufumiitiriza ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo kisobola okutuzzaamu amaanyi nga twolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwaffe.​—Yok. 17:3.

Ebyokulabirako by’Abantu Katonda Be Yabudaabuda

12. Yakuwa yabudaabuda atya Ibulayimu?

12 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, kubanga [ggwe Yakuwa] wansuubiza. Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.” (Zab. 119:49, 50) Ekigambo kya Katonda kirimu ebyokulabirako bingi eby’abantu Katonda be yabudaabuda. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu ayinza okuba nga yeeraliikira bwe yakitegeera nti Yakuwa yali agenda kuzikiriza Sodomu ne Ggomola. Ibulayimu yabuuza Katonda nti: “Olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?” Yakuwa yabudaabuda Ibulayimu ng’amugamba nti yali tasobola kuzikiriza Sodomu bwe mwandibaddemu abantu abatuukirivu 50. Naye Ibulayimu yeeyongera okubuuza Yakuwa emirundi emirala etaano, ng’agamba nti: Watya singa mubaamu abantu abatuukirivu 45? 40? 30? 20? 10? Ku buli gumu ku mirundi egyo, mu ngeri ey’ekisa era ey’obugumiikiriza, Yakuwa yamugamba nti yali tasobola kuzikiriza Sodomu. Wadde nga mu kitundu ekyo mwali temuwera wadde abantu abatuukirivu ekkumi, Yakuwa yawonyawo Lutti ne bawala be.​—Lub. 18:22-32; 19:15, 16, 26.

13. Kaana yalaga atya nti yali yeesiga Yakuwa?

13 Mukyala wa Erukaana, Kaana, yali ayagala azaaleyoko ku mwana. Naye yali mugumba, era ekyo kyamunakuwazanga nnyo. Yasaba Yakuwa n’amutegeeza ku nsonga eyo, era Kabona Asinga Obukulu Eri yamugamba nti: “Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by’omusabye.” Ekyo kyabudaabuda nnyo Kaana, era n’alekera awo okweraliikirira. (1 Sam. 1:8, 17, 18) Kaana yeesiga Yakuwa, era n’aleka ensonga eyo mu mikono gye. Wadde nga yali tamanyi byandivuddemu, Kaana yafuna emirembe mu mutima. Oluvannyuma lw’ekiseera, Yakuwa yaddamu okusaba kwe. Yafuna olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma erinnya Samwiri.​—1 Sam. 1:20.

14. Lwaki Dawudi yali yeetaaga okubudaabudibwa era ani gwe yasaba okumubudaabuda?

14 Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda y’omu ku bantu Katonda be yabudaabuda. Yakuwa “atunuulira mutima.” Bwe kityo, we yalondera Dawudi okuba kabaka wa Isiraeri, yali akimanyi nti Dawudi yali ayagala okukola ekituufu era nti yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima. (1 Sam. 16:7; 2 Sam. 5:10) Kyokka, oluvannyuma, Dawudi yayenda ku Basuseba era n’agezaako okubikka ku kibi kye ng’atta bbaawe. Dawudi bwe yakimanya nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo, yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Mu bungi obw’okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna. Onnaalize ddala mu bubi bwange, onnongoose mu kwonoona kwange. Kubanga njatula ebyonoono byange; n’ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.” (Zab. 51:1-3) Dawudi yeenenya mu bwesimbu era Yakuwa n’amusonyiwa. Wadde kyali kityo, Dawudi yalina okwolekagana n’ebizibu ebyava mu kibi kye yakola. (2 Sam. 12:9-12) Naye Dawudi yabudaabudibwa olw’ekisa Yakuwa kye yamulaga.

15. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, Yakuwa yamuyamba atya?

15 Bwe yali ku nsi, Yesu yayolekagana n’embeera enzibu nnyingi. Katonda yakkiriza Yesu agezesebwe, era Yesu yakuuma obugolokofu bwe. Yesu yali muntu atuukiridde eyeesiganga Yakuwa era eyakkirizanga obufuzi bwe. Bwe yali anaatera okuliibwamu olukwe era attibwe, Yesu yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.” Mu kiseera ekyo malayika yalabikira Yesu n’amuzzaamu amaanyi. (Luk. 22:42, 43) Katonda yabudaabuda Yesu, n’amuzzaamu amaanyi, era n’amuwa obuyambi bwe yali yeetaaga mu kiseera ekyo.

16. Yakuwa ayinza atya okutuyamba ng’obulamu bwaffe buli mu kabi olw’okukkiriza kwaffe?

16 Ne mu mbeera enzibu ng’obulamu bwaffe buli mu kabi olw’okukkiriza kwaffe, Yakuwa asobola era ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Era essuubi ery’okuzuukira litubudaabuda. Ate era twesunga nnyo okulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo bino: “Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.” (1 Kol. 15:26) Abaweereza ba Katonda abeesigwa abaafa, awamu n’abantu abalala abaafa, Yakuwa abajjukira era ajja kubazuukiza. (Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15) Okukkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku kuzuukira kitubudaabuda nnyo nga twolekagana n’okuyigganyizibwa.

17. Yakuwa atubudaabuda atya nga tufiiriddwa omwagalwa waffe?

17 Nga kitubudaabuda nnyo okukimanya nti mu nsi empya abaagalwa baffe abali mu magombe bajja kuzuukizibwa baddemu okuba abalamu mu nsi omutajja kuba bizibu ebiriwo leero! Era ng’ejja kuba nkizo y’amaanyi eri abaweereza ba Yakuwa ‘ab’ekibiina ekinene’ abajja okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno embi ezikirizibwa okwaniriza n’okuyigiriza abo abanaazuukizibwa!​—Kub. 7:9, 10.

Emikono gya Katonda Egitaggwaawo Gikuwanirira

18, 19. Katonda yabudaabuda atya abaweereza be nga bayigganyizibwa?

18 Musa yagamba Abaisiraeri nti: “Katonda ataggwaawo kye kifo [ky’okwekwekamu], era emikono egitaggwaawo gikuwanirira.” (Ma. 33:27) Nga wayiseewo emyaka mingi, nnabbi Samwiri yagamba Abaisiraeri nti: “Temukyamanga obutagoberera Mukama, naye muweerezenga Mukama n’omutima gwammwe gwonna. . . . Mukama taayabulirenga bantu be olw’erinnya lye ekkulu.” (1 Sam. 12: 20-22) Kasita tweyongera okunywerera ku kusinza okw’amazima, Yakuwa tajja kutwabulira. Ajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga.

19 Katonda ayamba era abudaabuda abantu be mu nnaku zino ez’oluvannyuma enzibu. Okumala emyaka egisukka mu kikumi, baganda baffe bangi okwetooloola ensi yonna babadde bayigganyizibwa era nga basibibwa mu makomera olw’okuweereza Yakuwa. Ebyo bye baayitamu biraga bulungi nti Yakuwa abudaabuda abantu be mu biseera ebizibu. Ng’ekyokulabirako, omu ku baganda baffe mu Soviet Union yasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka 23 olw’okukkiriza kwe. Ne bwe yali mu kkomera, yeeyongera okufuna emmere ey’eby’omwoyo, era ekyo kyamuzzaamu nnyo amaanyi era ne kimubudaabuda. Yagamba nti: “Mu myaka egyo, nnayiga okwesiga Yakuwa era yanzizaamu nnyo amaanyi.”​—Soma 1 Peetero 5:6, 7.

20. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa tasobola kutwabulira?

20 Ka bibe bizibu ki bye tuyinza okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso, bulijjo ka tukuumire ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli bino mu birowoozo byaffe: “Mukama talisuula bantu be.” (Zab. 94:14) Wadde nga twetaaga okubudaabudibwa, naffe tusobola okubudaabuda abalala. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tusobola okubudaabuda abo abali mu nnaku mu nsi eno ejjudde ebizibu.

Wandizzeemu Otya?

• Ebimu ku bintu ebisobola okutuleetera ennaku bye biruwa?

• Yakuwa abudaabuda atya abaweereza be?

• Kiki ekisobola okutubudaabuda ng’obulamu bwaffe buli mu kabi?

[Akasanduuko​/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

ENGERI GYE TUYINZA OKWOLEKAGANA N’EBINTU EBISOBOLA OKUKOSA . . .

▪ omutima gwaffe Zab. 147:3; 1 Yok. 3:19-22; 5:14, 15

▪ ebirowoozo byaffe Zab. 94:19; Baf. 4:6, 7

▪ enneewulira zaffe Kuv. 14:13, 14; Ma. 31:6

▪ obulamu bwaffe 2 Kol. 4:8, 9

▪ embeera yaffe ey’eby’omwoyo Zab. 145:14; Yak. 5:14, 15

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share