LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 11/15 lup. 28-32
  • Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Mbayise Mikwano Gyange”
  • “Mbateereddewo Ekyokulabirako”
  • Yesu Yabawa Ebiragiro, n’Abatuma
  • “Oyo Awuliriza Okuwabulwa aba wa Magezi”
  • ‘Weetendeke’
  • Abasajja Abakristaayo—Musigire Omwoyo Muluubirire Enkizo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yakuwa Atendeka Abasumba Basobole Okulabirira Endiga Ze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • ‘Oluubirira’ Enkizo mu Kibiina?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Engeri gy’Owabulamu Abalala ‘Esanyusa Omutima’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 11/15 lup. 28-32

Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina

“Buli ayigirizibwa obulungi aliba ng’oyo amuyigiriza.”​—LUK. 6:40.

1. Mu buweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yateekawo atya omusingi ogw’ekibiina Ekikristaayo?

BWE yali akomekkereza ekitabo kye eky’Enjiri, omutume Yokaana yagamba nti: “Mu butuufu, waliwo ebintu ebirala bingi Yesu bye yakola era singa byawandiikibwa byonna, ndowooza nti ensi teyandisobodde kugyamu mizingo egyandiwandiikiddwa.” (Yok. 21:25) Mu bintu ebyo ebingi Yesu bye yakola mu buweereza bwe wano ku nsi mwe mwali okunoonya, okutendeka, n’okuteekateeka abasajja abanditutte obukulembeze mu kibiina ng’amaze okuddayo mu ggulu. We yaddirayo mu ggulu mu 33 E.E., Yesu yali amaze okuteekawo omusingi gw’ekibiina Ekikristaayo, mu kiseera kitono ekyakula ne kibaamu ababuulizi nkumi na nkumi.​—Bik. 2:41, 42; 4:4; 6:7.

2, 3. (a) Lwaki waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okuweereza mu kibiina? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Leero waliwo ababuulizi b’Obwakabaka abasukka mu bukadde musanvu abali mu bibiina ebisukka mu 100,000 okwetooloola ensi. N’olwekyo, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okuweereza mu bibiina ebyo. Ng’ekyokulabirako, waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’ab’oluganda okuweereza ng’abakadde mu bibiina. Abo abafuba okuluubirira enkizo eyo basaanidde okusiimibwa, kubanga ‘beegomba omulimu omulungi.’​—1 Tim. 3:1.

3 Naye waliwo ebisaanyizo ow’oluganda by’asaanidde okusooka okutuukiriza nga tannaweebwa nkizo mu kibiina. Obuyigirize ow’oluganda bw’aba nabwo oba ebintu by’aba ayiseemu mu bulamu n’obusobozi bw’aba nabwo si bye bisinziirwako okuweebwa enkizo mu kibiina. Alina okuba ng’atuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. Ow’oluganda ayinza atya okuyambibwa okutuukiriza ebisaanyizo asobole okuweebwa enkizo mu kibiina? Yesu yagamba nti: “Buli ayigirizibwa obulungi aliba ng’oyo amuyigiriza.” (Luk. 6:40) Mu kitundu kino, tugenda kulabayo ezimu ku ngeri Omuyigiriza Omukulu, Yesu Kristo, gye yatendekamu abayigirizwa be n’engeri gye tuyinza okumukoppa.

“Mbayise Mikwano Gyange”

4. Yesu yakiraga atya nti yali mukwano gw’abayigirizwa be?

4 Yesu abayigirizwa be yali abatwala nga mikwano gye. Yabeeranga nabo, yali abeesiga, era ‘yabategeeza ebintu byonna bye yawulira okuva eri Kitaawe.’ (Soma Yokaana 15:15.) Lowooza ku ngeri gye baawuliramu nga Yesu azzeemu ekibuuzo kyabwe kino: “Kabonero ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Mat. 24:3, 4) Era yababuuliranga ebyo bye yabanga alowooza n’ebyo ebyamuli ku mutima. Ng’ekyokulabirako, mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yatwala Peetero, Yakobo, ne Yokaana mu nnimiro y’e Gesusemane, n’asaba Katonda okuviira ddala ku mutima. Wadde ng’abatume abo abasatu bayinza okuba nga tebaawulira ebyo Yesu bye yayogera ng’asaba, bateekwa okuba nga baakiraba nti yali mu kiseera kizibu nnyo. (Mak. 14:33-38) Ate lowooza ne ku ngeri abatume abo gye baakwatibwako emabegako, bwe baalaba Yesu ng’afuusibwa. (Mak. 9:2-8; 2 Peet. 1:16-18) Enkolagana ey’oku lusegere Yesu gye yalina n’abayigirizwa be yabayamba okuba abamalirivu okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe baafuna oluvannyuma.

5. Abakadde bayamba batya bakkiriza bannaabwe?

5 Okufaananako Yesu, n’abakadde leero bakola omukwano ku bakkiriza bannaabwe era bafuba okubayamba. Bakiraga nti babaagala era nti babafaako. Wadde ng’abakadde bamanyi obukulu bw’okukuuma ebyama, tebakola bintu mu nkukutu. Abakadde beesiga baganda baabwe era bababuulira ku bintu bye baba bayize okuva mu Bayibuli. Abakadde tebanyooma baweereza mu kibiina abakyali abato. Mu kifo ky’ekyo, bakimanyi nti ab’oluganda abo basobola okweyongera okukulaakulana era nti bakola omulimu gwa maanyi nnyo mu kibiina.

“Mbateereddewo Ekyokulabirako”

6, 7. Yesu yateerawo atya abayigirizwa be ekyokulabirako ekirungi, era ekyo kyabayamba kitya?

6 Wadde ng’abayigirizwa ba Yesu baali baagala nnyo ebintu eby’omwoyo, emirundi egimu baatwalirizibwanga endowooza n’enneeyisa y’abantu be baakuliramu. (Mat. 19:9, 10; Luk. 9:46-48; Yok. 4:27) Wadde kyali kityo, Yesu teyabavumirira wadde okubanyiigira. Ate era teyabagamba kukola bintu bisukka ku busobozi bwabwe wadde okubagamba okukola ekintu ekimu ng’ate ye akola kirala. Mu kifo ky’ekyo, yabateerawo ekyokulabirako ekirungi.​—Soma Yokaana 13:15.

7 Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abayigirizwa be? (1 Peet. 2:21) Yalina ebintu bitono nnyo mu bulamu bwe, ekintu ekyamusobozesa okukozesa ebiseera bye okuweereza abalala. (Luk. 9:58) Yesu yali mwetoowaze era bye yayigirizanga yabyesigamyanga ku Byawandiikibwa. (Yok. 5:19; 17:14, 17) Yali wa kisa era ng’atuukirikika. Ebintu byonna bye yakolanga byalaga nti yali ayagala nnyo abantu. (Mat. 19:13-15; Yok. 15:12) Ekyokulabirako kya Yesu kyayamba nnyo abayigirizwa be. Ng’ekyokulabirako, kyayamba Yakobo okuba omuvumu n’okusigala nga mwesigwa eri Katonda okutuusa lwe yattibwa. (Bik. 12:1, 2) Era kyayamba Yokaana okutambulira mu bigere bya Yesu okumala emyaka egisukka mu 60.​—Kub. 1:1, 2, 9.

8. Abakadde bayinza batya okuteekawo ekyokulabirako ekirungi eri ab’oluganda abato n’abalala mu kibiina?

8 Abakadde basobola okuteekerawo ab’oluganda abato ekyokulabirako ekirungi nga baba beetoowaze, nga booleka okwagala, era nga beefiiriza ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okuyamba abalala. (1 Peet. 5:2, 3) Ate era abakadde abassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukkiriza, mu kuyigiriza, mu ngeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe, ne mu kubuulira kibasanyusa okulaba abalala nga bakoppa okukkiriza kwabwe.​—Beb. 13:7.

Yesu Yabawa Ebiragiro, n’Abatuma

9. Kiki ekiraga nti Yesu yatendeka abayigirizwa be okukola omulimu gw’okubuulira?

9 Oluvannyuma lw’okumala emyaka ng’ebiri ng’abuulira n’obunyiikivu, Yesu yasindika abatume 12 okugenda okubuulira. Naye bwe yali tannabasindika, yasooka kubawa biragiro. (Mat. 10:5-14) Bwe yali agenda okuliisa ekibiina ky’abantu mu ngeri ey’ekyamagero, Yesu yabuulira abayigirizwa be engeri gye yali ayagala bategekemu abantu n’engeri gye yali ayagala emmere egabanyizibwemu. (Luk. 9:12-17) Kya lwatu nti Yesu yatendeka abayigirizwa be ng’abawa obulagirizi obwali butegeerekeka obulungi. Engeri gye yabatendekamu, awamu n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, byayamba abatume okutegeka omulimu gw’okubuulira ogwatandika mu mwaka gwa 33 E.E.

10, 11. Abakadde n’abalala mu kibiina bayinza batya okutendeka abasajja okuweereza mu kibiina?

10 Omusajja atandika okutendekebwa okuva lw’akkiriza okuyiga Bayibuli. Kiyinza okwetaagisa okumuyigiriza okusoma obulungi. Bwe tugenda tweyongera okusoma naye, tusobola okumuyamba ne mu bintu ebirala. Bw’atandika okujja mu nkuŋŋaana obutayosa, amanya ebyo by’alina okukola okusobola okuyingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda n’okufuuka omubuulizi atali mubatize. Bw’amala okubatizibwa, ayinza okwongera okutendekebwa mu bintu gamba ng’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, abakadde basobola okuyamba ow’oluganda oyo okumanya ekyo ky’alina okukola okusobola okufuuka omuweereza mu kibiina.

11 Abakadde bwe babaako omulimu gwe baba bawadde ow’oluganda omubatize, balina okumunnyonnyola obulungi obulagirizi omuddu omwesigwa bw’awa ku ngeri gye gulina okukolebwamu. Ow’oluganda aba atendekebwa alina okutegeera obulungi ekyo kyennyini ky’alina okukola. Bwe wabaawo by’aba takoze bulungi, abakadde tebakitwala nti ow’oluganda oyo alemereddwa. Mu kifo ky’ekyo, mu ngeri ey’ekisa, baddamu okumulaga engeri y’okukolamu omulimu oguba gumuweereddwa. Abakadde kibasanyusa okuyamba ow’oluganda okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe kubanga bakimanyi nti okuweereza abalala mu kibiina kijja kumuleetera essanyu lingi.​—Bik. 20:35.

“Oyo Awuliriza Okuwabulwa aba wa Magezi”

12. Lwaki engeri Yesu gye yawabulangamu yali ya muganyulo?

12 Yesu era yatendeka abayigirizwa be ng’abawabula nga bwe kyabanga kyetaagisizza. Ng’ekyokulabirako, yanenya Yakobo ne Yokaana olw’okwagala okugamba omuliro guve mu ggulu gwokye abamu ku Basamaliya abaali bagaanye okumuwuliriza. (Luk. 9:52-55) Maama wa Yakobo ne Yokaana bwe yatuukirira Yesu n’amusaba awe batabani be ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka bwe, Yesu yagamba Yakobo ne Yokaana nti: “Eky’okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ogwa kkono si nze nkigaba, wabula kyaweebwa abo Kitange be yakitegekera.” (Mat. 20:20-23) Yesu yawabulanga abayigirizwa be mu ngeri etegeerekeka obulungi, ng’abayamba okumanya ekyo kye baalina okukola, era bulijjo yakozesanga Ekigambo kya Katonda. Yayamba abayigirizwa be okumanya engeri gye baali basobola okukolera ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda. (Mat. 17:24-27) Yesu yali akimanyi nti abayigirizwa be baali tebatuukiridde era nti waaliwo ebintu bye baali batasobola kukola. Yabawabulanga olw’okuba yali abaagala nnyo.​—Yok. 13:1.

13, 14. (a) Ani yeetaaga okuwabulwa? (b) Ezimu ku mbeera abakadde mwe beetaagira okuwabula ab’oluganda ze ziruwa?

13 Omusajja yenna ayagala okuweebwa enkizo mu kibiina Ekikristaayo aba yeetaaga okuwabulwa oba okuweebwa amagezi agava mu Byawandiikibwa. Engero 12:15 (NW) wagamba nti: “Oyo awuliriza okuwabulwa aba wa magezi.” Ow’oluganda omu omuto yagamba nti, ‘Nnali mpulira nga sirina bisaanyizo kuweereza balala. Naye omukadde yannyamba okukiraba nti kyali tekinneetaagisa kuba nga ntuukiridde okusobola okuweereza abalala.’

14 Abakadde bwe bakiraba nti ow’oluganda alina omuze omubi ogumulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo, basaanidde okumutereeza mu mwoyo omukkakkamu. (Bag. 6:1) Ebiseera ebimu, abakadde baba beetaaga okuyamba ow’oluganda okutereeza endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, singa abakadde bakiraba nti ow’oluganda yeesaasira nnyo bwe kituuka ku kubuulira, bayinza okumuyamba okufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu. Yesu yabuulira n’obunyiikivu era yakubiriza abagoberezi be okukoppa ekyokulabirako kye. (Mat. 28:19, 20; Luk. 8:1) Singa abakadde bakiraba nti ow’oluganda atandise okwenoonyeza obukulu mu kibiina, bayinza okumulaga nti Yesu yakubiriza abayigirizwa be okwewala okwenoonyeza obukulu. (Luk. 22:24-27) Ate kiri kitya singa ow’oluganda tayagala kusonyiwa balala? Ekyokulabirako ky’omuddu eyagaana okusonyiwa munne obusente obutono bwe yali amubanja wadde nga ye yali asonyiyiddwa ssente nnyingi kisobola okumuyamba. (Mat. 18:21-35) Abakadde bwe bakiraba nti waliwo ow’oluganda eyeetaaga okuwabulwa, basaanidde okumuwabula amangu ddala nga bwe kisoboka.​—Soma Engero 27:9.

‘Weetendeke’

15. Ab’omu maka g’ow’oluganda bayinza batya okumuyamba okuweereza abalala?

15 Abakadde bafuba okutendeka ab’oluganda okuweereza mu kibiina, naye n’abalala basobola okubayambako. Ng’ekyokulabirako, ab’omu maka g’ow’oluganda basobola okumuyamba okutuukiriza ebisaanyizo asobole okuweebwa enkizo mu kibiina. Ate ow’oluganda bw’aba nga mukadde, ab’omu maka ge basobola okumuyamba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe. Basaanidde okuba abeetegefu okumukkiriza okukozesa ebimu ku biseera bye yandimaze nabo okukola emirimu gy’ekibiina. Omwoyo ogw’okwefiiriza ab’omu maka gwe booleka guleetera ow’oluganda oyo awamu n’abalala mu kibiina essanyu.​—Nge. 15:20; 31:10, 23.

16. (a) Ani alina okulaga nti ayagala okuweereza abalala mu kibiina? (b) Biki ow’oluganda ayagala okuweebwa enkizo mu kibiina by’alina okukola?

16 Wadde ng’abalala basobola okumuyamba n’okumuwagira, ow’oluganda kennyini y’alina okukiraga nti ayagala okuweereza abalala mu kibiina. (Soma Abaggalatiya 6:5.) Kya lwatu nti ow’oluganda tekimwetaagisa kusooka kufuuka mukadde oba muweereza okusobola okuyamba abalala mu kibiina n’okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Kyokka, ow’oluganda bw’aba ow’okuweebwa enkizo mu kibiina, aba alina okusooka okutuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. (1 Tim. 3:1-13; Tit. 1:5-9; 1 Peet. 5:1-3) N’olwekyo, ow’oluganda bw’aba ayagala okufuuka omuweereza oba omukadde mu kibiina, aba yeetaaga okwekenneenya ebisaanyizo ebyo n’alaba wa w’asaanidde okulongoosaamu. Kino kiba kimwetaagisa okusoma n’okwesomesa Bayibuli obutayosa, okufumiitiriza ku by’asoma, okusaba okuviira ddala ku mutima, n’okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Bw’akola ebintu ebyo, aba akolera ku kubuulirira kuno Pawulo kwe yawa Timoseewo: “Beera n’ekiruubirirwa eky’okwetendeka mu kwemalira ku Katonda.”​—1 Tim. 4:7.

17, 18. Kiki ow’oluganda ky’ayinza okukola singa aba alimu okutya, nga yeenyooma, oba ng’awulira nti tayagala kuweereza balala?

17 Ate kiri kitya singa ow’oluganda aba alimu okutya oba nga yeenyooma? Kiba kirungi okulowooza ku ngeri Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo gye batuyambamu. Mu butuufu, Yakuwa “atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku.” (Zab. 68:19) N’olwekyo, Kitaffe ow’omu ggulu asobola okuyamba ow’oluganda yenna okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bumuweereddwa mu kibiina. Ate era kiba kirungi ow’oluganda atannafuuka muweereza oba mukadde okukijjukira nti waliwo obwetaavu bwa maanyi obw’abasajja abakuze mu by’omwoyo okuweereza mu kibiina kya Katonda. Okulowooza ku bintu ng’ebyo kisobola okumuyamba okulekera awo okwenyooma. Era asobola okusaba Katonda amuwe omwoyo gwe omutukuvu gumuyambe okukulaakulanya engeri ennungi, gamba ng’emirembe n’okwefuga. Ekyo kisobola okumuyamba okugwamu okutya. (Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23) Ate era asaanidde okukijjukira nti Yakuwa awa emikisa abo bonna abafuba okuluubirira enkizo mu kibiina nga balina ebiruubirirwa ebirungi.

18 Ate kiri kitya singa ow’oluganda awulira nga tayagala kuweereza balala? Kiki ekiyinza okumuyamba? Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda y’akolera mu mmwe olw’ekyo ekimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.” (Baf. 2:13) Katonda y’ayamba omuntu okwagala okuweereza abalala, era omwoyo gwe omutukuvu gusobola okuwa omuntu amaanyi ageetaagisa okukola Yakuwa by’ayagala. (Baf. 4:13) Ate era, Omukristaayo asobola okusaba Katonda amuyambe okukola ekituufu.​—Zab. 25:4, 5.

19. Ebigambo ebikwata ku kuyimusa ‘abasumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa’ bitegeeza ki?

19 Yakuwa awa omukisa abakadde abafuba okutendeka abalala. Era awa n’omukisa ab’oluganda abaagala okuweereza abalala mu kibiina. Ebyawandiikibwa bitukakasa nti abantu ba Yakuwa bandibadde ‘n’abasumba musanvu n’abantu munaana ab’ekitiibwa,’ ekitegeeza nti wandibaddewo abasajja abamala abandyetisse obuvunaanyizibwa mu kibiina. (Mi. 5:5) Leero waliwo ab’oluganda bangi abaagala okuweereza abalala era abatendekebwa okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina. Kino kiweesa Yakuwa ekitiibwa era naffe kituganyula nnyo!

Wandizzeemu Otya?

• Yesu yatendeka atya abayigirizwa be?

• Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu nga batendeka ab’oluganda okuweereza mu kibiina?

• Ab’omu maka g’ow’oluganda bayinza batya okumuyamba okuweereza abalala mu kibiina?

• Ow’oluganda ayinza atya okulaga nti aluubirira enkizo mu kibiina?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Oyinza otya okutendeka omuyizi wo owa Bayibuli asobole okukulaakulana?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Abasajja bayinza batya okulaga nti baluubirira enkizo mu kibiina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share