Oganyulwa Otya mu Kuba nti Yakuwa Asonyiwa?
‘Yakuwa ye Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.’—KUV. 34:6, 7.
1, 2. (a) Ngeri ki eza Yakuwa Katonda ezeeyoleka obulungi eri Abaisiraeri? (b) Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
MU KISEERA kya Nekkemiya, Abaleevi abamu bwe baali basaba Yakuwa baagamba nti bajjajjaabwe emirundi mingi ‘baagaana okugondera’ amateeka ga Yakuwa. Kyokka, Yakuwa yabasonyiwanga era ne kyeraga kaati nti Yakuwa ye ‘Katonda asonyiwa, ow’ekisa, ajjudde okusaasira, era alwawo okusunguwala.’ N’Abaisiraeri abaaliwo mu kiseera kya Nekkemiya abaali bakomezeddwawo okuva mu buwaŋŋanguse nabo Yakuwa yabalaga ekisa.—Nek. 9:16, 17.
2 Kati tusaanidde okwebuuza, ‘Okuba nti Yakuwa asonyiwa kituganyula kitya?’ Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegerezeeyo abantu babiri Katonda be yasonyiwa, ng’omu ye Kabaka Dawudi ate ng’omulala ye Kabaka Manase.
EBIBI EBY’AMAANYI DAWUDI BYE YAKOLA
3-5. Bibi ki eby’amaanyi Dawudi bye yakola?
3 Wadde nga Dawudi yali musajja atya Katonda, yakola ebibi eby’amaanyi era nga bibiri ku bibi ebyo byazingiramu Uliya ne mukyala we Basuseba. Mu butuufu ebyavaamu byali bibi nnyo. Naye engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga za Dawudi ng’akoze ebibi ebyo eraga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa. Lowooza ku ebyo ebyaliwo.
4 Dawudi yasindika eggye lya Isiraeri ligende lizingize ekibuga ky’Abamoni ekikulu, Labba. Ekibuga ekyo kyali mayiro nga 50 ebuvanjuba wa Yerusaalemi, emitala w’Omugga Yoludaani. Dawudi yasigala mu lubiri lwe mu Yerusaalemi. Lumu bwe yali ayimiridde waggulu ku nnyumba ye yalengera Basuseba, mukazi wa Uliya, ng’anaaba. Omwami wa Basuseba naye yali mu lutalo. Dawudi yatumya Basuseba ne bamuleeta mu lubiri lwe ne yeegatta naye.—2 Sam. 11:1-4.
5 Dawudi bwe yakimanya nti Basuseba ali lubuto, yalagira bakomyewo Uliya e Yerusaalemi. Dawudi yali asuubira nti Uliya bw’anaakomawo ajja kwegatta ne mukyala we. Naye Uliya yagaana n’okuyingira mu nnyumba ye, wadde nga Dawudi yagezaako nnyo okulaba nti aleetera Uliya okugenda mu nnyumba ye. Dawudi yasalawo okuwandiikira omuduumizi w’eggye lye ebbaluwa n’amulagira ‘ateeke Uliya mu maaso awaali okulwana okw’amaanyi’ era oluvannyuma abasajja abalala abalwanyi bamwabulire. Bw’atyo Uliya yattibwa mu lutalo nga Dawudi bwe yali ayagala. (2 Sam. 11:12-17) Bwe kityo, Dawudi teyakoma ku kwenda ku muka musajja, naye yayongerako n’ekibi ekirala eky’okutta omusajja oyo ataalina musango.
DAWUDI YAKYUSA ENDOWOOZA YE
6. Kiki Katonda kye yakola nga Dawudi akoze ebibi eby’amaanyi, era ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa?
6 Kya lwatu nti ebyo byonna ebyaliwo Yakuwa yabiraba. Tewali kiyinza kubaawo n’atakiraba. (Nge. 15:3) Wadde ng’oluvannyuma Dawudi yawasa Basuseba, ebintu ‘Dawudi bye yali akoze byanyiiza Yakuwa.’ (2 Sam. 11:27) Kiki Yakuwa kye yakola nga Dawudi amaze okukola ebibi ebyo eby’amaanyi? Yasindika nnabbi we Nasani eri Dawudi. Olw’okuba Yakuwa ye Katonda asonyiwa, yali ayagala kulaba obanga Dawudi yali mwetegefu okwenenya asobole okumulaga ekisa. Engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga eyo yali nnungi nnyo. Teyakaka Dawudi kwenenya, naye yagamba Nasani amugerere olugero olwandimuyambye okukiraba nti ebibi bye yali akoze byali bya maanyi nnyo. (Soma 2 Samwiri 12:1-4.) Engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga eyo yaleetera Dawudi okwoleka ekyo kyennyini ekyali mu mutima gwe.
7. Dawudi yawulira atya nga Nasani amaze okumugerera olugero?
7 Dawudi bwe yawulira olugero lwa Nasani, yakiraba nti ekyo omusajja omugagga kye yakola tekyali kya bwenkanya. Dawudi yasunguwala nnyo n’agamba Nasani nti: “Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa.” Ate era Dawudi yagamba nti oyo eyayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya yali alina okuliyirirwa. Oluvannyuma, Nasani yagamba Dawudi nti: ‘Omusajja oyo ye ggwe.’ Era yamugamba nti olw’okuba yali akoze ebibi ebyo eby’amaanyi, “ekitala” tekyandivudde mu nnyumba ye era nti yandifunye emitawaana mingi mu maka ge. Ate era yamugamba nti Yakuwa yali agenda kumuswaza mu maaso g’abantu bonna. Dawudi yakiraba nti yali akoze ebibi eby’amaanyi era yeenenya n’agamba nti: “Nnyonoonye Mukama.”—2 Sam. 12:5-14.
DAWUDI YASABA KATONDA ERA KATONDA YAMUSONYIWA
8, 9. Zabbuli eya 51 eraga etya engeri Dawudi gye yawuliramu ng’akoze ebibi eby’amaanyi, era ebigambo ebigirimu bituyigiriza ki ku Yakuwa?
8 Kabaka Dawudi ye yawandiika Zabbuli eya 51. Ebigambo ebiri mu zabbuli eyo biraga nti Dawudi yawulira bubi nnyo olw’ebibi bye yakola era nti yeenenya mu bwesimbu. Dawudi yali ayagala nnyo okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Yagamba nti: “Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona.” Era yeegayirira Yakuwa nti: “Ontondemu omutima omulongoofu, Ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange. . . . Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo: onnyweze n’omwoyo ogw’eddembe.” (Zab. 51:1-4, 7-12) Naawe bw’obaako ensobi gy’okoze, weegayirira Yakuwa akusonyiwe era n’omubuulira ebyo byonna ebikuli ku mutima?
9 Yakuwa teyaggyawo bizibu ebyava mu bibi Dawudi bye yakola. Mu butuufu, ebbanga lyonna ery’obulamu bwe, Dawudi yayolekagana n’ebizibu ebyava mu bibi bye yakola. Kyokka olw’okuba Dawudi yalina “omutima ogumenyese era oguboneredde,” Yakuwa yamusonyiwa. (Soma Zabbuli 32:5; Zab. 51:17) Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna ategeera bulungi ekyo ekiba kireetedde omuntu okukola ekibi n’engeri gy’awuliramu oluvannyuma lw’okukola ekibi. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa teyaleka balamuzi ba Isiraeri kusalira Dawudi ne Basuseba musango gwa kufa, ng’Amateeka ga Musa bwe gaali gagamba. Mu kifo ky’ekyo, Katonda yennyini ye yalamula Dawudi ne Basuseba era n’abalaga ekisa. (Leev. 20:10) Era Katonda yalonda mutabani waabwe Sulemaani okudda mu bigere bya Dawudi nga kabaka wa Isiraeri.—1 Byom. 22:9, 10.
10. (a) Kintu ki ekirala ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Yakuwa okusonyiwa Dawudi? (b) Kiki kye tulina okukola Yakuwa bw’aba ow’okutusonyiwa?
10 Ekintu ekirala ekiyinza okuba nga kyaleetera Yakuwa okusonyiwa Dawudi kwe kuba nti Dawudi yali alaze Sawulo ekisa. (1 Sam. 24:4-7) Yesu yakiraga nti engeri gye tuyisaamu abalala ne Yakuwa gy’atuyisaamu. Yagamba nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe guleme okubasalirwa; kubanga nga bwe musala emisango, nammwe bwe mulisalirwa; ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, nammwe kye balikozesa okubapimira.” (Mat. 7:1, 2) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asobola okutusonyiwa ne bwe tuba nga tukoze ebibi eby’amaanyi ennyo! Kyokka Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa singa naffe tusonyiwa abalala, singa twenenya mu bwesimbu, era singa tukyusa endowooza yaffe ne tutunuulira ebibi byaffe nga Yakuwa bw’abitunuulira. Aboonoonyi bwe beenenya mu bwesimbu, Yakuwa abayamba okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo.—Soma Ebikolwa 3:19.
MANASE YAKOLA EBIBI EBY’AMAANYI NAYE OLUVANNYUMA NE YEENENYA
11. Ebimu ku bibi eby’amaanyi Kabaka Manase bye yakola bye biruwa?
11 Lowooza ku kyokulabirako ekirala ekiraga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa. Nga wayise emyaka egisukka mu 300 bukya Dawudi afa, Manase yafuuka kabaka wa Yuda era n’afugira emyaka 55. Yakola ebibi eby’amaanyi bingi n’anyiiza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Manase yazimbira Baali ebyoto, yasinza “eggye lyonna ery’omu ggulu,” yayisa batabani be mu muliro, era yaleetera abantu okwenyigira mu bikolwa eby’obusamize. Mu butuufu, Manase ‘yakola ebibi bingi nnyo mu maaso ga Yakuwa.’—2 Byom. 33:1-6.
12. Manase yadda atya eri Yakuwa?
12 Oluvannyuma lw’ekiseera, Manase yaggibwa mu nsi ye n’atwalibwa mu Babulooni. Ng’ali eyo mu kkomera, ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Musa bye yagamba Abaisiraeri: “Bw’onooba ng’olabye ennaku, era ebyo byonna nga bikujjidde, mu nnaku ez’enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye.” (Ma. 4:30) Manase yadda eri Yakuwa. Mu ngeri ki? “Yeetoowaza nnyo” era ‘n’asaba’ nnyo Katonda (nga bwe kiragibwa ku lupapula 21). (2 Byom. 33:12, 13) Tetumanyi bigambo byennyini Manase bye yayogera ng’asaba, naye biyinza okuba nga bifaananako ebigambo bya Kabaka Dawudi ebiri mu Zabbuli 51. Ka bibe bigambo ki bye yayogera, kyeyoleka lwatu nti Manase yali akyusizza endowooza ye.
13. Lwaki Yakuwa yasonyiwa Manase?
13 Kiki Yakuwa kye yakola Manase bwe yamusaba era n’amwegayirira amusonyiwe? Bayibuli egamba nti: ‘Yakuwa yawulira okwegayirira kwe.’ Okufaananako Dawudi, Manase naye yakiraba nti ebyo bye yali akoze byali bibi nnyo era ne yeenenya mu bwesimbu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yamusonyiwa era n’amukomyawo e Yerusaalemi ku ntebe ye ey’obwakabaka. “Manase [y]ategeera nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.” (2 Byom. 33:13, NW) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda waffe wa kisa era nti asonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu!
YAKUWA AMALA GASONYIWA?
14. Yakuwa asinziira ku ki okusonyiwa omwonoonyi?
14 Abaweereza ba Katonda abasinga obungi bayinza obutakola bibi bya maanyi ng’ebyo Dawudi ne Manase bye baakola. Naye okuva bwe kiri nti Yakuwa yasonyiwa bakabaka abo ababiri, ekyo kiraga nti Yakuwa mwetegefu okusonyiwa ebibi, ne bwe biba by’amaanyi kwenkana wa, singa omwonoonyi yeenenya mu bwesimbu.
15. Kiki ekiraga nti Yakuwa tamala gasonyiwa boonoonyi?
15 Kya lwatu nti Yakuwa tamala gasonyiwa boonoonyi. Kino okusobola okukitegeera obulungi, ka tulabe engeri Dawudi ne Manase gye baali ab’enjawulo ku bantu b’omu Isiraeri ne Yuda abaali abajeemu. Dawudi bwe yayonoona, Katonda yamusindikira Nasani n’amuwa akakisa okwenenya. Dawudi yeenenya mu bwesimbu. Manase bwe yali mu nnaku ey’amaanyi, naye yeenenya mu bwesimbu. Kyokka, abantu b’omu Isiraeri ne Yuda baagaana okwenenya wadde ng’enfunda n’enfunda Yakuwa yabasindikira bannabbi be okubakubiriza okwenenya. Bwe kityo, Yakuwa teyabasonyiwa. (Soma Nekkemiya 9:30.) Abaisiraeri bwe baakomawo ku butaka okuva e Babulooni, Yakuwa yeeyongera okubasindikira ababaka be, gamba nga kabona Ezera ne nnabbi Malaki. Abantu bwe baakolanga Yakuwa by’ayagala, baafunanga essanyu lingi.—Nek. 12:43-47.
16. (a) Kiki ekyatuuka ku ggwanga lya Isiraeri bwe lyajeema ne ligaana okwenenya? (b) Kakisa ki Yakuwa k’awadde abantu kinoomu ab’eggwanga lya Isiraeri?
16 Bwe yali ku nsi, Yesu yalaga engeri Yakuwa gye yali atunuuliramu Yerusaalemi bwe yagamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumiddwa gy’ali,—mirundi emeka gye nnayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo! Naye temwakyagala. Laba! ennyumba yammwe ebalekeddwa ng’ekifulukwa.” (Mat. 23:37, 38) Eggwanga lya Isiraeri lyajeema era ne ligaana okwenenya. Bwe kityo, Yakuwa yasalawo okulonda Isiraeri ow’omwoyo okudda mu kifo kyalyo. (Mat. 21:43; Bag. 6:16) Naye singa abantu okuva mu ggwanga lya Isiraeri beenenya, Yakuwa asobola okubasonyiwa? Yee, Yakuwa mwetegefu okubasonyiwa n’okubalaga ekisa singa bakkiririza mu Katonda ne mu ssaddaaka ya Yesu Kristo, eyadda mu kifo kya ssaddaaka z’ensolo Abaisiraeri ze baawangayo. (1 Yok. 4:9, 10) N’abantu abaafa nga tebafunye kakisa kwenenya bibi byabwe, bwe banaazuukizibwa mu nsi empya, nabo Yakuwa ajja kuba mwetegefu okubasonyiwa n’okubalaga ekisa.—Yok. 5:28, 29; Bik. 24:15.
ENGERI GYE TUGANYULWA MU KUBA NTI YAKUWA ASONYIWA
17, 18. Kiki kye tulina okukola Yakuwa okusobola okutusonyiwa?
17 Bwe tuba tukoze ekibi, kiki kye tusaanidde okukola Yakuwa okusobola okutusonyiwa? Tusaanidde okukola ekyo Dawudi ne Manase kye baakola. Tusaanidde okukkiriza ensobi yaffe, ne twenenya, ne twegayirira Yakuwa atusonyiwe, era ne tumusaba atutondemu omutima omulongoofu. (Zab. 51:10) Ekibi kye tuba tukoze bwe kiba eky’amaanyi, tusaanidde okutuukirira abakadde batuyambe. (Yak. 5:14, 15) Ebibi byaffe ka bibe bya maanyi kwenkana wa, kituzzaamu amaanyi okukijjukira nti Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.”—Kuv. 34:6, 7.
18 Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti bwe bandyenenyezza, yali ajja kubasonyiyira ddala ebibi byabwe. Yabagamba nti wadde ng’ebibi byabwe byali “ng’olugoye olumyufu,” yali ajja kubifuula “byeru ng’omuzira.” (Soma Isaaya 1:18.) Kati olwo okuba nti Yakuwa asonyiwa kituganyula kitya? Kituganyula mu ngeri nti bwe twenenya mu bwesimbu, Yakuwa atusonyiyira ddala.
19. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
19 Bwe kituuka ku kusonyiwa abalala, tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? Kiki ekinaatuyamba okuba abeetegefu okusonyiwa abo ababa beenenyezza mu bwesimbu, wadde nga baba baakola ebibi eby’amaanyi? Ekitundu ekiddako kijja kutuyamba okulaba kye tuyinza okukola okusobola okweyongera okuba nga Kitaffe, Yakuwa, ‘omulungi era ayanguwa okusonyiwa.’—Zab. 86:5.