LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 1/15 lup. 12-16
  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OMULIMU
  • EBY’OKWESANYUSAAMU
  • AB’OMU MAKA GO
  • SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI
  • Eby’Okwesanyusaamu by’Olondawo Bikuganyula?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Salawo mu Ngeri Esanyusa Yakuwa ng’Olonda eby’Okwesanyusaamu
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Engeri Gye Tuyinza Okulondamu eby’Okwesanyusaamu
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • “Onjagala Okusinga Bino?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 1/15 lup. 12-16
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Tokkiriza Kintu Kyonna Kukwawukanya ne Yakuwa

“Mulonde leero gwe munaaweerezanga.”​—YOS. 24:15.

GEZAAKO OKUDDAMU

  • Osobola otya okukakasa nti omulimu gwo tegukwawukanya ne Yakuwa?

  • Oyinza otya obutagwa lubege bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu?

  • Kiki ekiyinza okukuyamba okuguma ng’omu ku b’omu maka go avudde ku Yakuwa?

1-3. (a) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yoswa yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yasalawo? (b) Kiki kye tulina okulowoozaako nga tulina kye tusalawo?

KIKULU nnyo okuba abeegendereza nga tuliko kye tusalawo. Ebyo bye tusalawo bikwata ku bulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi nga waliwo omuntu atambula mu luguudo. Oluvannyuma lw’ekiseera atuuka amakubo we gaawukanira. Anaakwata liruwa? Erimu ku makubo ago limutuusa gy’ayagala okugenda, ate eddala limutwala mu kifo kirala nnyo.

2 Bayibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaali mu mbeera efaananako bw’etyo. Ng’ekyokulabirako, Kayini yalina okusalawo obanga yandifuze obusungu bwe, oba nga yandirese bwo ne bumufuga. (Lub. 4:6, 7) Yoswa yalina okusalawo obanga yandisinzizza Katonda ow’amazima, oba bakatonda ab’obulimba. (Yos. 24:15) Yoswa yalina ekiruubirirwa eky’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era yalondawo okukwata ekkubo eryamusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Kayini teyalina kiruubirirwa ng’ekyo, era yasalawo okukwata ekkubo eryaviirako enkolagana ye ne Yakuwa okwonooneka.

3 Oluusi naffe twetaaga okubaako ebintu ebikulu bye tusalawo okusobola okusigala ku kkubo ettuufu. Naye tusaanidde okukijjukira nti ebintu bye tusalawo biyinza okuweesa Yakuwa ekitiibwa ne kituyamba okunyweza enkolagana yaffe naye oba biyinza okutwawukanya naye. (Soma Abebbulaniya 3:12.) Mu kitundu kino n’ekinaddako, tujja kwekenneenya ebintu musanvu bye tulina okwegendereza bireme kutwawukanya ne Yakuwa.

OMULIMU

4. Lwaki kikulu okukola okusobola okweyimirizaawo?

4 Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa obw’okwerabirira awamu n’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Bayibuli eraga nti omuntu agaana okulabirira ab’omu nnyumba ye aba mubi n’okusinga omuntu atali mukkiriza. (2 Bas. 3:10; 1 Tim. 5:8) Omulimu kintu kikulu mu bulamu bwaffe, naye bwe tuteegendereza guyinza okutwawukanya ne Yakuwa. Gutya?

5. Bintu ki ebikulu bye tulina okulowoozaako nga tuweereddwa omulimu?

5 Ka tugambe nti onoonya mulimu. Bwe kiba nti mu nsi gy’obeera emirimu mizibu okufuna, oyinza okuwulira ng’oli mwetegefu okukkiriza omulimu gwonna oguba gukuweereddwa. Watya singa omulimu ogwo guzingiramu okukola ebintu ebimenya emisingi gya Bayibuli? Watya singa gukwetaagisa okukola essaawa nnyingi oba okutambula ennyo, ne kiba nti tofuna biseera kwenyigira mu bintu eby’omwoyo, oba ne kiba nti omala ekiseera kiwanvu nga toli na ba mu maka go? Wandikkirizza omulimu ogwo, ng’ogamba nti kisingako obutaba na mulimu? Kijjukire nti okusalawo obubi kiyinza okukwawukanya ne Yakuwa. (Beb. 2:1) K’obe ng’onoonya mulimu, oba nga weebuuza obanga ogwo gw’olina gusaana, oyinza otya okusalawo mu ngeri ey’amagezi?

6, 7. (a) Nsonga ki ebbiri eziyinza okuleetera omuntu okukola omulimu? (b) Eruwa ku nsonga ezo esobola okuyamba omuntu okusemberera Yakuwa, era lwaki?

6 Nga bwe kyogeddwako waggulu, lowooza ku nsonga lwaki oyagala okukola omulimu. Weebuuze. ‘Lwaki njagala okukola omulimu guno? Bwe kiba nti oyagala omulimu gukuyambe okweyimirizaawo awamu n’ab’omu maka go nga bwe muweereza Yakuwa, Yakuwa ajja kukuyamba. (Mat. 6:33) Yakuwa tasobola kulemererwa kukuyamba ng’omulimu gukuweddeko oba ng’eby’enfuna bigootaanye. (Is. 59:1) ‘Amanyi okununula abo abamwemalirako bwe baba mu kugezesebwa.’​—2 Peet. 2:9.

7 Watya singa ensonga enkulu ekuleetera okukola kwe kwagala okugaggawala? Oyinza okugaggawala. Naye kijjukire nti kya kabi nnyo okululunkanira eby’obugagga. (Soma 1 Timoseewo 6:9, 10.) Okuluubirira eby’obugagga kisobola okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa.

8, 9. Bwe kituuka ku mirimu, kiki abazadde kye basaanidde okulowoozaako, era lwaki?

8 Bw’oba ng’oli muzadde, lowooza ku ngeri ekyokulabirako ky’ossaawo gye kiyinza okukwata ku baana bo. Kiki kye balaba nti ky’okulembeza mu bulamu bwo? Mulimu gwo oba nkolagana yo ne Yakuwa? Bwe balaba nti okwefunira ettutumu n’eby’obugagga by’okulembeza mu bulamu bwo, olowooza ekyo tekibaleetere okufuna endowooza eyo embi? Kyandiba nti engeri gy’otambuzaamu obulamu bwo eyinza okubaleetera okulekera awo okukuwa ekitiibwa? Omuvubuka omu Omukristaayo agamba nti: “Okuva mu buto bwange mbadde nkiraba nti ekintu taata wange ky’asinga okutwala ng’ekikulu gwe mulimu gwe. Mu kusooka yalabika ng’eyali akola ennyo tusobole okuba obulungi. Naye ennaku zino ndaba nti yeeyongeredde ddala okukola ennyo, ate ng’ebintu by’agula bya kwejalabya bwejalabya. N’ekivuddemu, tumanyiddwa ng’abantu abagagga ennyo, so si ng’abantu abazimba abalala mu by’omwoyo. Nnandibadde musanyufu nnyo singa taata atufaako mu by’omwoyo mu kifo ky’okukola ennyo tusobole okuba n’essente ennyingi.”

9 Abazadde temukkiriza mirimu gyammwe kubaawukanya ne Yakuwa. Bye mukola ka birage abaana bammwe nti okuba abagagga mu by’omwoyo kye mutwala ng’ekikulu okusinga okuba abagagga mu by’omubiri.​—Mat. 5:3.

10. Kiki omuvubuka ky’asaanidde okulowoozaako ng’asalawo omulimu gw’anaakola?

10 Bw’oba ng’oli muvubuka era ng’olowooza ku mulimu gw’onookola, oyinza otya okusalawo mu ngeri ey’amagezi n’okwata ekkubo ettuufu? Nga bwe tulabye, ebyo by’osalawo bijja kusinziira ku ngeri gy’oyagala okutambuzaamu obulamu bwo. Bwe kiba nti waliwo omulimu gw’oyagala okusomerera, omulimu ogwo gunaakusobozesa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu oba gunaakwawukanya naye? (2 Tim. 4:10) Essanyu ly’abantu abamu lyesigamye ku ssente n’ebintu bye balina. Bwe bikendeera nga nalyo likendeera. Oyagala kuba ng’abantu abo? Oba oyagala kuba nga Dawudi eyagamba nti: “N[n]ali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.” (Zab. 37:25) Kijjukire nti ekkubo erimu lijja kukwawukanya ne Yakuwa, ate eddala lijja kukutuusa mu bulamu obusingayo okuba obulungi. (Soma Engero 10:22; Malaki 3:10.) Onookwata liruwa?a

EBY’OKWESANYUSAAMU

11. Bayibuli eyogera ki ku kwesanyusaamu, naye kiki kye tusaanidde okujjukira?

11 Bayibuli tevumirira kwesanyusaamu, era tegamba nti okwesanyusaamu kuba kumala biseera. Pawulo yawandiikira Timoseewo n’amugamba nti: “Okutendeka omubiri kugasa.” (1 Tim. 4:8) Bayibuli era egamba nti waliwo ‘ekiseera eky’okusekeramu n’ekiseera eky’okuziniramu,’ era etukubiriza n’okuwummulamu. (Mub. 3:4; 4:6) Kyokka bw’oteegendereza, okwesanyusaamu kuyinza okukwawukanya ne Yakuwa. Kutya? Obuzibu buva ku bintu bibiri: engeri gye weesanyusaamu n’ebiseera by’omala nga weesanyusaamu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Okwesanyusaamu okusaana era okutatwala biseera bingi kuganyula

12. Kiki ky’osaanidde okulowoozaako ng’olondawo eby’okwesanyusaamu?

12 Okusooka, lowooza ku ngeri gye weesanyusaamu. Kyo kituufu nti waliwo eby’okwesanyusaamu ebirungi, naye eby’okwesanyusaamu ebisinga obungi leero birimu ebintu Katonda by’akyawa, gamba ng’ettemu, eby’obusamize, n’eby’obugwenyufu. N’olwekyo, osaanidde okulowooza ennyo ku ngeri gye weesanyusaamu. Eby’okwesanyusaamu by’olondawo bikukolako ki? Bikuleetamu omwoyo ogw’okuvuganya, mwoyo gwa ggwanga, oba okwagala ebikolwa eby’ettemu? (Nge. 3:31) Bikumalako ssente? Byesittaza abalala? (Bar. 14:21) Bikuleetera kuba na bantu ba ngeri ki? (Nge. 13:20) Bikuleetera okwagala okukola ebintu ebibi?​—Yak. 1:14, 15.

13, 14. Kiki ky’olina okulowoozaako ng’osalawo ebiseera by’omala nga weesanyusaamu?

13 Lowooza ne ku biseera by’omala nga weesanyusaamu. Weebuuze, ‘Mmala ebiseera bingi nga nneesanyusaamu ne kiba nti sifuna biseera bimala kwenyigira mu bintu eby’omwoyo?’ Ebiseera byo eby’okuwummulamu ebisinga obungi bw’obimalira mu kwesanyusaamu ojja kuganyulwa kitono. Abo abakozesa ebiseera ebisaamusaamu okwesanyusaamu banyumirwa nnyo n’okusinga abo abakozesa ebiseera ebingi. Lwaki? Olw’okuba baba bakimanyi nti basoose kukola ‘bintu ebisinga obukulu,’ omutima gwabwe guba tegubalumiriza.​—Soma Abafiripi 1:10, 11.

14 Wadde ng’okumala ebiseera ebingi nga weesanyusaamu kirabika ng’ekirungi, kiyinza okukwawukanya ne Yakuwa. Ekyo mwannyinaffe Kim ow’emyaka 20 akkiriziganya nakyo. Agamba nti: “Nnagendanga ku bubaga bungi. Buli wiikendi nnabangako gye ŋŋenda, ku Lw’okutaano, ku Lw’omukaaga, ne ku Ssande. Naye kati nkiraba nti waliwo ebintu bingi ebikulu bye nneetaaga okukola. Ng’ekyokulabirako, ndi payoniya era nzuukuka ssaawa 12 ez’oku makya okweteekateeka okugenda okubuulira. N’olwekyo, sisobola kubeera ku bubaga kutuusa ssaawa musanvu oba munaana ogw’ekiro. Nkimanyi nti obubaga si bubi, naye busobola okutuwugula. Nga bwe kirina okuba mu bintu ebirala byonna, tulina okwegendereza ebiseera bye tumala ku bubaga.”

15. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwesanyusaamu mu ngeri eneebaganyula?

15 Abazadde balina okukola ku byetaago byabwe n’eby’abaana baabwe eby’omubiri, eby’eby’omwoyo, ssaako n’ebyo ebikwata ku mu nneewulira. Kino kizingiramu okufunayo ekiseera eky’okwesanyusaamu. Bw’oba ng’oli muzadde, tokitwala nti okwesanyusaamu kwonna kubi. Naye osaanidde okwewala eby’okwesanyusaamu ebitali birungi. (1 Kol. 5:6) Bw’owaayo ekiseera okulowooza ku by’okwesanyusaamu ebitali bimu, osobola okufuna eby’okwesanyusaamu ebirungi ebisobola okuganyula ab’omu maka go.b Bw’onookola bw’otyo, ggwe n’abaana bo mujja kuba mulonzeewo okukwata ekkubo erinaabasobozesa okunyweza enkolagana yammwe ne Yakuwa.

AB’OMU MAKA GO

16, 17. Kizibu ki abazadde bangi kye boolekagana nakyo, era tumanya tutya nti Yakuwa ategeera obulumi bwe balimu?

16 Omukwano ogubaawo wakati w’omuzadde n’omwana guba gwa maanyi nnyo ne kiba nti Yakuwa yakozesa ekyokulabirako ky’omukwano ogwo okulaga okwagala kw’alina eri abantu be. (Is. 49:15) N’olwekyo tekyewuunyisa nti kituluma nnyo omu ku b’omu maka gaffe bw’ava ku Yakuwa. Mwannyinaffe omu alina muwala we eyagobebwa mu kibiina agamba nti: “Kyankuba wala nnyo! Muli nneebuuza nti, ‘Lwaki avudde ku Yakuwa?’ Nnawulira nti ensobi yali yange era omutima gwannumirizanga nnyo.”

17 Yakuwa ategeera obulumi bw’owulira. Naye kennyini ‘yanakuwala mu mutima gwe’ omwana we gwe yasooka okutonda ku nsi, awamu n’abalala bangi abaaliwo ng’amataba tegannabaawo, bwe baamujeemera. (Lub. 6:5, 6) Abo abatalina muntu waabwe yali agobeddwa mu kibiina bayinza obutategeera bulumi bw’olimu. Wadde kiri kityo, tekiba kya magezi kwawukana ne Yakuwa olw’oyo eyakwata ekkubo ekkyamu. Kati olwo kiki ekiyinza okukuyamba okugumira obulumi bw’obaamu ng’omu ku b’omu maka go avudde ku Yakuwa?

18. Omwana bw’ava ku Yakuwa, lwaki abazadde tebasaanidde kwesalira musango?

18 Teweesalira musango. Abantu bonna Yakuwa abawadde eddembe ery’okwesalirawo, era buli muntu eyeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa ateekwa ‘okwetikka omugugu gwe.’ (Bag. 6:5) Yakuwa omusango tagusalira ggwe wabula oyo aba ayonoonye. (Ez. 18:20) Ate era tonenya balala. Ssa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’okukangavvula aboonoonyi. Mu kifo ky’okunenya bakadde abafuba okulaba nti ekibiina kisigala nga kiyonjo, fuba okuziyiza Omulyolyomi.​—1 Peet. 5:8, 9.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Tekiba kikyamu kuba na ssuubi nti omwana wo ajja kudda eri Yakuwa

19, 20. (a) Abazadde abalina abaana abaagobebwa mu kibiina bayinza kukola ki okugumira obulumi bwe balimu? (b) Abazadde abo bayinza kuba na ssuubi ki?

19 Bw’osalawo okunyiigira Yakuwa, ojja kwonoona enkolagana gy’olina naye. Omuntu wo aba agobeddwa mu kibiina yeetaaga okukiraba nti oli mumalirivu okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwo, era nti enkolagana yo ne Yakuwa esinga enkolagana gy’olina n’ab’omu maka go. Okusobola okugumira embeera eyo, fuba okulaba nti osigala ng’oli munywevu mu by’omwoyo. Teweeyawula ku Bakristaayo banno abeesigwa. (Nge. 18:1) Yogera ne Yakuwa omubuulire bw’owulira. (Zab. 62:7, 8) Teweekwasa busongasonga osobole okukolagana n’oyo eyagobebwa, gamba ng’oyogera naye ku ssimu oba ng’omuweereza bummesegi. (1 Kol. 5:11) Ebiseera byo bimalire ku bintu eby’omwoyo. (1 Kol. 15:58) Mwannyinaffe ayogeddwako waggulu agamba nti: “Nkiraba nti nnina okuba omunyiikivu mu buweereza era n’okufuba okuba omunywevu mu by’omwoyo. Bwe nkola bwe ntyo mba nja kusobola okuyamba muwala wange singa lukya n’akomawo eri Yakuwa.”

20 Bayibuli egamba nti okwagala “kusuubira ebintu byonna.” (1 Kol. 13:4, 7) Tekiba kikyamu okuba n’essuubi nti luliba olwo omwagalwa wo n’adda eri Yakuwa. Buli mwaka abaagobebwa bangi beenenya ne bakomawo mu kibiina kya Yakuwa. Bwe beenenya Yakuwa tasigala ng’abanyiigidde. Mu butuufu ‘ayanguwa okusonyiwa.’​—Zab. 86:5.

SALAWO MU NGERI EY’AMAGEZI

21, 22. Omaliridde kukozesa otya eddembe lyo ery’okwesalirawo?

21 Yakuwa yawa abantu eddembe ery’okwesalirawo. (Soma Ekyamateeka 30:19, 20.) Naye tuvunaanyizibwa ku ngeri gye tukozesaamu eddembe eryo. Buli Mukristaayo asaanidde okwebuuza: ‘Nkutte kkubo ki? Nzikirizza omulimu, eby’okwesanyusaamu, oba ab’omu maka gange okunjawukanya ne Yakuwa?’

22 Okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu be tekukyuka. Tusaanidde okujjukira nti tewali kintu kyonna kisobola kutwawukanya ne Yakuwa okuggyako nga ffe tusazeewo okukwata ekkubo ekkyamu. (Bar. 8:38, 39) Naye ekyo tetulina kukikkiriza kubaawo! Tokkiriza kintu kyonna kukwawukanya ne Yakuwa. Mu kitundu ekinaddako tujja kwekenneenya ebintu ebirala bina bye tutalina kukkiriza kutwawukanya ne Yakuwa.

a Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okulondamu omulimu, laba essuula 38 ey’akatabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2.

b Laba Awake! eya Noovemba 2011 olupapula 17-19.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share