SEMBERERA KATONDA
“Musabenga, Muliweebwa”
Omu ku bayigirizwa ba Yesu yamugamba nti: “Mukama waffe tuyigirize engeri y’okusabamu.” (Lukka 11:1) Yesu yabawa ebyokulabirako bibiri ebituyamba okuyiga okusaba mu ngeri Katonda gy’asiima. Bw’oba wali weebuuzizzaako obanga Katonda addamu essaala zo, weetegereze ebyokulabirako bye yabawa.—Soma Lukka 11:5-13.
Ekyokulabirako ekisooka kikwata ku oyo asaba. (Lukka 11:5-8) Mu kyokulabirako ekyo, omusajja afuna omugenyi mu matumbi budde, kyokka talina mmere ya kumuwa. Omusajja oyo awulira ng’ateekwa okufunira omugenyi we eky’okulya. Wadde ng’ekiseera kya matumbi budde, agenda n’akonkona mukwano gwe amuwole omugaati. Mu kusooka, mukwano gwe tayagala kuyimuka, kubanga kiyinza okutaataaganya ab’omu maka ge abeebase. Naye omusajja oyo takoowa, yeeyongera okwegayirira mukwano gwe okutuusa lw’ayimuka n’amuwa omugaati.a
Mu kyokulabirako ekyo, Yesu atuyigiriza ki ku kusaba? Atuyigiriza nti kitwetaagisa okunyiikira okusaba, okunoonya, n’okukonkona. (Lukka 11:9, 10) Lwaki? Yesu ategeeza nti Katonda tayagala kuwulira ssaala zaffe? Nedda. Ategeeza nti obutafaananako musajja oyo eyali tayagala kuwa mukwano gwe mugaati, Katonda mwetegefu okuddamu okusaba kw’abo abamusaba nga balina okukkiriza. Bwe tunyiikira okusaba, tuba twoleka okukkiriza ng’okwo, era tuba tulaga nti twagalira ddala ekyo kye tusaba era nti tukkiriza nti Katonda asobola okukituwa, bwe kiba kituukagana ne by’ayagala.—Makko 11:24; 1 Yokaana 5:14.
Ekyokulabirako eky’okubiri kikwata ku Yakuwa, “Oyo awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2) Yesu abuuza nti: “Taata ki mu mmwe omwana we bw’amusaba ekyennyanja amuwaamu omusota? Oba bw’amusaba eggi amuwaamu enjaba?” Eky’okuddamu ky’eyoleka kaati, tewali taata ayagala abaana be asobola okubawa ebintu ebibi. Oluvannyuma Yesu annyonnyola amakulu g’ekyokulabirako ekyo: Bwe kiba nti bataata abatatuukiridde bawa abaana baabwe “ebirabo ebirungi,” “Kitammwe ow’omu ggulu talisingawo nnyo okuwa omwoyo omutukuvu,” abo abamusaba, era nga kye kirabo ekisingayo obulungi!—Lukka 11:11-13; Matayo 7:11.
Katonda mwetegefu okuddamu okusaba kw’abo abamusaba nga balina okukkiriza
Mu kyokulabirako ekyo, Yesu atuyigiriza ki ku Yakuwa, “Oyo awulira okusaba”? Atuyigiriza nti tusaanidde okutwala Yakuwa nga Kitaffe afaayo era ayagala ennyo okukola ku byetaago by’abaana be. N’olwekyo, abaweereza ba Yakuwa basobola okumusaba ekintu kyonna kye baagala, awatali kutya. Ate era bwe bamanya nti abaagaliza ekisingayo obulungi, baba beetegefu okukkiriza engeri yonna gy’aba azzeemu essaala zaabwe, ne bwe kiba nti tabazzeemu nga bwe babadde basuubira.b
Essuula za Bayibli z’oyinza okusoma mu Apuli:
a Ekyokulabirako kya Yesu ekyo kiraga empisa eyaliwo mu kiseera ekyo. Okusembeza abagenyi kyabanga kikulu nnyo eri Abayudaaya. Ab’omu maka baafumbanga emigaati egimala olunaku, n’olwekyo kyabanga kya bulijjo okwewola emigaati singa giba giweddewo. Ate era, amaka bwe gaabanga amaavu, ab’omu maka bonna baasulanga wansi mu kisenge kimu.
b Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okusabamu osobole okuwulirwa Katonda, laba essuula 17 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.