LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/1 lup. 6-7
  • Okubonaabona Kunaatera Okukoma!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubonaabona Kunaatera Okukoma!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBINTU EBIRALA KATONDA BY’AJJA OKUKOLA!
  • Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
    Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
  • Obwakabaka Bwa Katonda Kye Bunaakola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
  • Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/1 lup. 6-7
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Okubonaabona Kunaatera Okukoma!

Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi etaliimu kubonaabona kwonna​—etaliimu bumenyi bwa mateeka, ntalo, bulwadde, n’obutyabaga. Era kuba akafaananyi nga buli lw’ozuukuka ku makya teweeraliikirira bya nfuna, kusosolwa, oba kunyigirizibwa. Olowooza ebyo byonna birooto bulooto? Kyo kituufu nti tewali muntu oba ekibiina kyonna eky’abantu ekisobola okuleetawo embeera ng’ezo. Naye Katonda asuubizza okuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona nga mw’otwalidde n’ebyo ebyogeddwako mu kitundu ekivuddeko. Weetegereze ebisuubizo bino ebiri mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli:

WAJJA KUBAAWO GAVUMENTI ENNUNGI

“Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” ​—Danyeri 2:44.

Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu. Yesu Kristo ye mufuzi Katonda gw’alonze ajja okuggyawo gavumenti z’abantu era akakase nti Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. (Matayo 6:9, 10) Tewali gavumenti yonna ey’abantu ejja kuggyawo Obwakabaka bwa Katonda kubanga bwe “bwakabaka obutaliggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo.” Wajja kubaawo emirembe egya nnamaddala.​—2 Peetero 1:11.

AMADIINI AG’OBULIMBA GAJJA KUGGIBWAWO

“Sitaani kennyini yeefuula malayika ow’ekitangaala. N’olwekyo tekyewuunyisa abaweereza be bwe beefuula ng’abaweereza ab’obutuukirivu, naye enkomerero yaabwe ejja kusinziira ku bikolwa byabwe.”​—2 Abakkolinso 11:14, 15.

Kijja kweyoleka kaati nti amadiini ag’obulimba gakozesebwa Sitaani era gajja kuggibwawo ku nsi. Enjawukana ezireeteddwawo amadiini n’okuyiwa omusaayi bijja kuba tebikyaliwo. Kino kijja kusobozesa abo bonna abaagala Katonda “omulamu era ow’amazima” okumusinza “mu mwoyo n’amazima,” era nga bali bumu mu kukkiriza. Kino kijja kuleetawo emirembe n’obumu!​—1 Abassessaloniika 1:9; Abeefeso 4:5; Yokaana 4:23.

ABANTU BAJJA KUBA BATUUKIRIDDE

“Katonda yennyini aliba wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Ebyo Yakuwa Katonda ajja kubikola ng’ayitira mu Mwana we Yesu, eyawaayo obulamu bwe ku lw’abantu bonna. (Yokaana 3:16) Mu bufuzi bwa Yesu, abantu bonna bajja kufuulibwa abatuukiridde. Okubonaabona kwonna kujja kukoma kubanga “Katonda yennyini aliba wamu nabo” era ajja kusangula “buli zziga mu maaso gaabwe.” Obutali butuukirivu bw’abantu n’okubonaabona bijja kufuuka lufumo, era ‘abatuukirivu balisikira ensi, bagibeeremu emirembe gyonna.’​—Zabbuli 37:29.

EMYOYO EMIBI GIJJA KUBA TEGIKYALIWO

“[Yesu] n’akwata ogusota, omusota ogw’edda, Omulyolyomi era Sitaani, n’amusiba okumala emyaka lukumi. N’amusuula mu bunnya, n’aggalawo era n’ateekako akabonero, aleme okubuzaabuza amawanga nate.”​—Okubikkulirwa 20:2, 3.

Sitaani ajja kuba takyabuzaabuza bantu olw’okuba ye ne badayimooni be bajja kuba basibiddwa era nga basuuliddwa mu “bunnya,” ng’obunnya obwo y’embeera mwe banaabeera nga tebalina kye bayinza kukola. Bajja kuba tebakyaleetera bantu kukola bintu bibi. Nga tujja kufuna obuweerero bwa maanyi nga tuli mu nsi etaliimu bikolwa bibi Sitaani ne badayimooni be bye baleetera abantu okukola leero!

“ENNAKU EZ’OLUVANNYUMA” ZIJJA KUGGWAAKO

“Ennaku ez’oluvannyuma” zijja kuggwaako ku nkomerero ‘y’ekibonyoobonyo ekinene.’ Yesu yagamba nti: “Walibaawo ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde nsi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.”​—Matayo 24:21.

Ekibonyoobonyo ekyo kijja kuba kinene kubanga wajja kubaawo okubonaabona okutabangawo. Okubonaabona okwo kujja kukoma ku nkomerero ‘y’olutalo olugenda okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,’ oluyitibwa “Kalumagedoni.”​—Okubikkulirwa 16:14, 16.

Abantu bonna abakola Katonda by’ayagala beesunga okulaba ng’omulembe guno omubi guzikirizibwa. Weetegereze egimu ku mikisa gye banaafuna nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda.

EBINTU EBIRALA KATONDA BY’AJJA OKUKOLA!

“Ekibiina ekinene” eky’abantu bajja kuwonyezebwawo babeere mu nsi empya: Ekigambo kya Katonda kigamba nti “ekibiina ekinene” eky’abantu abatamanyiddwa muwendo bajja kuwonyezebwawo “mu kibonyoobonyo ekinene” babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu. (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14; 2 Peetero 3:13) Bajja kutendereza Yesu Kristo, “Omwana gw’Endiga owa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi,” olw’okubawonyaawo.​—Yokaana 1:29.

Abantu bajja kuganyulwa nnyo mu kuyigirizibwa Katonda: Bayibuli egamba nti: “Ensi erijjula okumanya Mukama.” (Isaaya 11:9) Mu nsi empya, abantu bajja kuyigirizibwa engeri gye basaanidde okuba mu mirembe n’abantu bonna era n’engeri gye basaanidde okulabiriramu obutonde. Katonda agamba nti: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”​—Isaaya 48:17.

Abantu baffe abaafa bajja kuzuukizibwa: Yesu bwe yali ku nsi, yazuukiza mukwano gwe Laazaalo. (Yokaana 11:1, 5, 38-44) Mu kukola bw’atyo, yali alaga ekyo ky’ajja okukola ku kigero ekinene ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga ensi.​—Yokaana 5:28, 29.

Emirembe n’obutuukirivu tebirikoma: Kristo bw’anaaba afuga, obumenyi bw’amateeka bujja kufuuka lufumo. Ekyo tukimanya tutya? Yesu asobola okumanya ekiri mu mitima gy’abantu, era ajja kukozesa obusobozi obwo okulamula abatuukirivu n’ababi. Abo abagaana okuleka ebikolwa byabwe ebibi tebajja kubeera mu nsi ya Katonda empya.​—Zabbuli 37:9, 10; Isaaya 11:3, 4; 65:20; Matayo 9:4.

Tulabye obumu ku bunnabbi obuli mu Bayibuli obulaga nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo. Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, wajja kubaawo ‘emirembe mingi.’ (Zabbuli 37:11, 29) Ebyo byonna ebiviirako abantu okubonaabona bijja kuggibwawo. Katonda kennyini agamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya. . . . Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima.”​—Okubikkulirwa 21:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share