Ebinaakuyamba Okuba Omusanyufu bw’Oba Wagattululwa
“Nnawulira ng’awanuse waggulu ne ngwa. Obulamu bwo buba butambula bulungi, naye ogenda okulaba ng’embeera ekyuka omulundi gumu.”—MARK,a eyagattululwa omwaka gumu emabega.
“Omwami wange yayenda ku muwala eyali yenkana ne muwala waffe. Bwe twagattululwa, nnafuna obuweerero olw’okuba yali musajja mukambwe, naye ate nnawulira nga nfeebezeddwa era nga si kyali wa mugaso.”—EMMELINE, eyagattululwa emyaka 17 egiyise.
Abantu abamu bagattululwa nga basuubira nti obulamu bwabwe bujja kuba bulungi, ate abalala baba baagala okusigala mu bufumbo bwabwe naye nga munnaabwe asazeewo bagattululwe. Kyokka, kumpi bonna abagattululwa ne bannaabwe mu bufumbo obulamu tebubabeerera bwangu nga bwe baali basuubira. Bw’oba nga waakagattululwa, embeera gy’olimu eyinza okuba nga y’ekyasinze okukubeerera enzibu. N’olwekyo, ka tulabe amagezi agali mu Bayibuli agasobola okukuyamba okwaŋŋanga okusoomoozebwa kw’oyinza okuba ng’oyolekagana nakwo.
OKUSOOMOOZEBWA 1: OKUBA N’ENNEEWULIRA EMBI.
Eby’enfuna n’engeri gy’onoolabiriramu abaana biyinza okukweraliikiriza ennyo, era ekiwuubaalo kiyinza okuba nga kya maanyi. Bangi kibatwalira ebbanga ddene nga bali mu mbeera eyo. Judith Wallerstein eyali omukugu mu nneeyisa z’abantu yakizuula nti wadde nga waba wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okugattululwa, abamu baba bakyawulira nti baaliibwamu olukwe, era nti ‘obulamu tebulina mugaso.’
BY’OYINZA OKUKOLA
Si kikyamu kukaaba. Oyinza okuyisibwa obubi olw’okuba munno gwe wali oyagala tokyali naye. Ne bwe kiba nti obufumbo bwo tebwalimu ssanyu, oyinza okunakuwala olw’okuba tewafuna ssanyu lye wali osuubira. (Engero 5:18) Singa oba owulira ng’oyagala kukaaba, tokwatibwa nsonyi kukaaba.—Omubuulizi 3:1, 4.
Teweeyawula ku balala. Wadde ng’ebiseera ebimu oba weetaaga okubeera wekka, si kirungi kweyawula nnyo ku balala. (Engero 18:1) Bw’oba onyumya ne mikwano gyo, weewale okwemulugunya buli kiseera kw’oyo gwe wagattululwa naye, ne bwe kiba nti ky’oba oyogera kituufu, kubanga ekyo kiyinza okuviirako mikwano gyo okukwewala. Bw’oba olina ekintu ekikulu ky’oyagala okusalawo nga waakagattululwa ne munno, weebuuze ku muntu gwe weesiga.
Faayo ku bulamu bwo. Okweraliikirira ennyo kiyinza okukosa obulamu bwo. Kiyinza okukuviirako okulwala endwadde gamba ng’entunnuunsi oba omutwe ogw’olutentezi. Lya emmere ezimba omubiri, kola dduyiro, era weebake ekimala.—Abeefeso 5:29.
Weggyeko ebintu ebikunakuwaza ng’ojjukidde oyo gwe wagattululwa naye oba by’oteetaaga, naye tereka ebiwandiiko eby’omugaso. Bwe kiba nti ebintu gamba ng’ebifaananyi by’embaga bikuleetera okunakuwala, oyinza okubiteeka mu bookisi n’obiterekera abaana bo.
Fuba okweggyamu endowooza enkyamu. Olga, eyagattululwa n’omwami we ng’omwami we ayenze, yagamba nti: “Buli kiseera nneebuuzanga nti, ‘Omukazi oyo yamwagalako ki nze kye sirina?’” Naye oluvannyuma Olga yakiraba nti okulowooza ennyo ku bintu ebitali birungi kyali kimuleetera buleetezi kwennyamira.—Engero 18:14.
Abantu bangi bakisanze nti okuwandiika ebintu bye batera okulowoozaako ennyo kibayambye okufuga ebirowoozo byabwe n’okweggyamu endowooza enkyamu. Bw’oba osazeewo okukola bw’otyo, gezaako okuwandiika ebintu ebipya ebiyinza okukwerabiza ebintu ebitali birungi by’otera okulowoozaako. (Abeefeso 4:23) Lowooza ku byokulabirako bino:
Ekikadde: Munnange okwenda yali nsobi yange.
Ekipya: Wadde nga waliwo ensobi ze nnakola, ekyo kyali tekimuwa bbeetu kwenda.
Ekikadde: Ebiseera byange nnabyonoonera ku musajja omukyamu.
Ekipya: Nja kuba musanyufu singa ndowooza ku biseera eby’omu maaso mu kifo ky’okulowooza ku byayita.
Tossaayo mwoyo ku bigambo ebikumalamu amaanyi. Mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo bayinza okwogera ebintu ebikulumya oba ebitali bituufu. Okugeza bayinza okugamba nti: ‘Yali takusaanira’ oba ‘Katonda akyawa okugattululwa.’b Bayibuli egamba nti: “Tossaayo mwoyo eri ebigambo byonna ebyogerwa.” (Omubuulizi 7:21) Martina, eyagattululwa emyaka ebiri egiyise agamba nti: “Mu kifo ky’okulowooza ennyo ku bigambo ebirumya, ngezaako okutunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira. Ebirowoozo bye bisinga ebyaffe.”—Isaaya 55:8, 9.
Saba Katonda. Ayagala abo abamusinza ‘okumukwasa byonna ebibeeraliikiriza,’ nnaddala nga bennyamivu.—1 Peetero 5:7.
GEZAAKO KINO: Wandiika ebyawandiikibwa ebikuzzaamu amaanyi, obitimbe mu kifo w’osobola okubirabira amangu. Ng’oggyeko ebyawandiikibwa bye tumaze okulaba, abantu bangi abaagattululwa baganyuddwa nnyo mu kusoma ebyawandiikibwa bino: Zabbuli 27:10; 34:18; Isaaya 41:10; ne Abaruumi 8:38, 39.
Ekigambo kya Katonda kisobola okukuyamba okwaŋŋanga embeera eyo enzibu
OKUSOOMOOZEBWA 2: ENKOLAGANA YO N’OYO GWE WAGATTULULWA NAYE.
Juliana, eyali yaakamala emyaka 11 mu bufumbo agamba nti: “Nneegayirira nnyo mwami wange tuleme kugattululwa. Bwe twagattululwa, nnamunyiigira nnyo n’omukazi gwe yafuna.” Bangi ababa bagattuluddwa basigala banyiigidde bannaabwe okumala emyaka mingi. So ng’ate oluusi kiba kibeetaagisa okwogera ku nsonga ezitali zimu, nnaddala bwe baba nga balina abaana.
BY’OYINZA OKUKOLA
Kolagana bulungi n’eyali munno mu bufumbo. Yogera naye ku nsonga enkulu, era tuukira ku nsonga. Bangi bakisanze nti ekyo kibayambye okukuuma emirembe.—Abaruumi 12:18.
Weewale okukozesa ebigambo ebimulumya. Bw’aba ayogedde ebikunyiiza, kozesa amagezi gano agali mu Bayibuli: “Aziyiza ebigambo bye alina okumanya.” (Engero 17:27) Bwe kiba nti mulemeddwa okukkaanya ku nsonga gye mwogerako, oyinza okumugamba nti: “Nneetaaga okusooka okukirowoozaako, oluvannyuma tujja kuddamu twogere.”
Weewale okumuyingiza mu nsonga zo era yawula ebintu byo ku bibye nga mw’otwalidde ebiwandiiko, eby’omugaso gamba ng’ebyo ebikwata ku by’enfuna
GEZAAKO KINO: Lw’onaddamu okwogera n’oyo gwe wagattululwa naye omu ku mmwe n’atandika okwewolereza oba okukalambira ku nsonga, oyinza okumusaba ensonga eyo ne mugyogerako mu kiseera ekirala oba nga muweerezeganya obubaka.—Engero 17:14.
OKUSOOMOOZEBWA 3: OKUYAMBA ABAANA BO OKUGUMIRA EMBEERA ERIWO.
Maria ajjukira engeri abaana be gye baayisibwamu nga yaakagattululwa n’omwami we. Agamba nti: “Muwala wange omuto yali akaaba buli kiseera era yaddamu okuba n’omuze ogw’okufuka ku buliri. Ate era wadde nga muwala wange omukulu yagezaako nnyo okwegumya, nnakiraba nti embeera ye yali ekyuse.” Eky’ennaku, oyinza okuwulira nti tolina biseera na maanyi kuyamba baana bo lwe baba basinga okukwetaaga.
BY’OYINZA OKUKOLA
Abaana bo bakubirize okukubuulira ekibali ku mitima, ne bwe kiba nti bayinza okwogera ebintu ebitakusanyusa.—Yobu 6:2, 3.
Tobattika buvunaanyizibwa butali bwabwe. Wadde ng’oyinza okuba nga weetaaga okubudaabudibwa era nga n’omwana wo mwetegefu okukikola, si kirungi kumuyingiza mu nsonga ezandibadde zigonjoolwa omuntu omukulu. (1 Abakkolinso 13:11) Weewale okweyabiza omwana wo buli kiseera oba okumutumaatuma eri oyo gwe wagattululwa naye.
Weeyongere okuyamba abaana bo okukula obulungi. Kiba kirungi okunywerera ku nteekateeka yammwe eya bulijjo n’obutasengukasenguka, n’ekisingira ddala obukulu kwe kunywerera ku nteekateeka yammwe ey’eby’omwoyo, nga mw’otwalidde okusoma Bayibuli n’okusinziza awamu ng’amaka.—Ekyamateeka 6:6-9.
GEZAAKO KINO: Funayo akadde wiiki eno abaana bo obakakase nti obaagala nnyo era nti si be baabaviirako okugattululwa. Bwe bakubuuza ku bikwata ku kugattululwa kwammwe, weewale okulaga nti omuzadde oli omulala ye yavaako obuzibu.
Osobola okufuna essanyu ne bw’oba wagattululwa. Melissa, eyali yaakamala emyaka 16 mu bufumbo agamba nti, “Bwe twagattululwa, nnayisibwa bubi kubanga nnali saagala kintu ng’ekyo kintuukeko.” Naye kati Melissa musanyufu. Agamba nti, “Kati ndi musanyufu olw’okuba nnalekera awo okulowooza ennyo ku by’emabega.”
a Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.
b Katonda tayagalira ddala bantu bakuusakuusa basobole okugattululwa ne bannaabwe. Naye singa omu ku bafumbo ayenda, Katonda akkiriza oyo atalina musango okusalawo okugattululwa oba obutagattululwa. (Malaki 2:16; Matayo 19:9) Laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Bayibuli ky’Egamba—Kugattululwa kwa Ngeri Ki Katonda kw’Akyawa?” ekiri mu Awake! eya Febwali 8, 1994, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
WEEBUUZE . . .
Bwe mba mu nnaku ey’amaanyi olw’okuba twagattululwa, kinkwasa ensonyi okukaaba wadde nga kinannyamba okufuna obuweerero?
Kiki ekiyinza okunnyamba okulekera awo okusibira ekiruyi oyo gwe nnagattululwa naye?