LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 12/15 lup. 16
  • Okyajjukira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • “Ddala Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Tubuulire, Ebintu Ebyo Biribaawo Ddi?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • “Omuddu” Omwesigwa era nga wa Magezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • “Mujjukirenga Abo Ababakulembera”
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/15 lup. 16

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Ddi Yesu lwe ‘yabuulira emyoyo egiri mu kkomera’? (1 Peet. 3:19)

Kirabika nti bwe waali waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okuzuukira, yagenda n’abuulira emyoyo egyo emibi ekibonerezo ekigenda okugiweebwa.​—6/15, olupapula 23.

Kusoomooza ki okw’emirundi esatu omuntu eyaddamu okufumbirwa oba okuwasa kw’ayinza okwolekagana nakwo?

Ayinza okulowooza ennyo ku bufumbo obwasooka, okuzibuwalirwa okukolagana n’emikwano gye egitamanyi bulungi munne gwe yaakafuna, okuzibuwalirwa okwesiga munne gwe yaakafuna, naddala bwe kiba nti eyasooka teyali mwesigwa.​—7/1, olupapula 9-​10.

Yesu anaalamula ddi abantu nti ndiga oba mbuzi? (Mat. 25:32)

Ekyo kijja kubaawo bw’alijja okulamula abantu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba.​—7/15, olupapula 6.

Abantu abajeemu aboogerwako mu lugero olw’eŋŋaano n’omuddo banaakaaba ddi era ne baluma obujiji? (Mat. 13:36, 41, 42)

Ekyo kijja kubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene bwe banaakiraba nti tebalina ngeri yonna gye bayinza kuwona kuzikirizibwa.​—7/15, olupapula 13.

Ebigambo bya Yesu ebikwata ku muddu omwesigwa era ow’amagezi bituukirira ddi? (Mat. 24:45-​47)

Tebyatandika kutuukirira ku Pentekooti 33 E.E., wabula byatandika kutuukirira oluvannyuma lwa 1914. Mu 1919, omuddu yasigirwa ab’omu nju, nga bano be Bakristaayo bonna abalya emmere ey’eby’omwoyo.​—7/15, olupapula 21-​23.

Yesu asigira ddi omuddu omwesigwa ebintu bye byonna?

Ekyo kijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso, mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene omuddu omwesigwa bw’anaaweebwa empeera ye mu ggulu.​—7/15, olupapula 25.

Okuba nti Bayibuli tetubuulira mannya g’abantu abamu b’eyogerako kiraga nti baali babi oba nti tebaali ba mugaso?

Nedda. Bayibuli eriko abantu abamu abaali abeesigwa n’abantu abamu abaali ababi be tatubuulira mannya gaabwe. (Luus. 4:1-3; Mat. 26:18) Bayibuli eyogera ku mannya ga bamalayika ba Katonda abeesigwa babiri bokka.​—8/1, olupapula 10.

Ng’oggyeko okufuna amaanyi agava eri Katonda, kiki ekirala ekyayamba Abajulirwa ba Yakuwa 230 abaava mu nkambi y’e Sachsenhausen obutafiira mu kkubo?

Wadde nga bonna baali banafuye olw’enjala n’obulwadde ebyali bibaluma, buli omu yazzangamu munne amaanyi.​—8/15, olupapula 18.

Lwaki ebyo ebyaliwo ng’Abaisiraeri basomoka omugga Yoludaani okuyingira mu Nsi Ensuubize bituzzaamu amaanyi?

Wadde ng’amazzi gaali mangi nnyo era nga gadduka ku sipiidi ya waggulu, Yakuwa yagayimiriza abantu be ne basobola okusomoka omugga ogwo. Ekyo kiteekwa okuba nga kyabaleetera okwongera okumwesiga, era ebyo ebyaliwo naffe bituzzaamu nnyo amaanyi.​—9/15, olupapula 16.

Okuba nti Bayibuli eyogera ku langi ezitali zimu kiraga ki?

Kiraga nti Katonda amanyi engeri langi gye zikwata ku nneewulira z’abantu. Langi ziyamba abantu okujjukira ebintu ebitali bimu.​—10/1, olupapula 14-​15.

Obunnabbi obuli mu Mikka 5:5 obukwata ku basumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa butuukirira butya leero?

‘Abasumba omusanvu n’abantu omunaana ab’ekitiibwa’ aboogerwako mu Mikka 5:5 be bakadde mu kibiina abafuba okunyweza abantu ba Katonda mu by’omwoyo okusobola okwetegekera obulumbaganyi obujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso.​—11/15, olupapula 20.

Ezimu ku nsonga lwaki twetaaga Katonda ze ziruwa?

Twetaaga Katonda okutuwa obulagirizi obwesigika n’okutuyamba okutegeera engeri y’okugonjoolamu ebizibu. Ate era Katonda y’asobola okutuyamba okuba n’obulamu obulungi era obw’essanyu, era ekyo ajja kukikola ng’atuukiriza ebisuubizo ebiri mu Kigambo kye.​—12/1, olupapula 4-6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share