LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 1/1 lup. 6-7
  • Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “OMUNTU BW’AFA ALIBA MULAMU NATE?”
  • ABAFU BALIZUUKIRA DDI?
  • Abantu Abaafa—Bajja Kuzuukira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Essuubi Ekkakafu Erikwata ku Baagalwa Bo Abaafa
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Essuubi Ekkakafu
    Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 1/1 lup. 6-7
Yesu yazuukiza Laazaalo ng’amuyita okuva mu ntaana.

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OMUNTU BW’AFA EBIBYE BIBA BIKOMYE?

Omuntu bw’Afa Ebibye Biba Tebikomye!

Bessaniya kyali kyalo kitonotono nga kiri mayiro nga bbiri okuva e Yerusaalemi. (Yokaana 11:18) Ekizibu eky’amaanyi kyagwa ku kyalo ekyo ng’ebula wiiki ntono Yesu attibwe. Laazaalo, omu ku mikwano gya Yesu egy’oku lusegere yalwala nnyo era n’afa.

Yesu bwe yakitegeera, yagamba abayigirizwa be nti Laazaalo yeebase era nti yali agenda kumuzuukusa. (Yokaana 11:11) Naye abayigirizwa be tebaategeera kye yali ategeeza, Yesu kwe kubagamba kaati nti: “Laazaalo afudde.”​—Yokaana 11:14.

Oluvannyuma lw’ennaku nnya nga bamaze okuziika Laazaalo, Yesu yatuuka e Bessaniya okubudaabuda Maliza, mwannyina w’omugenzi. Maliza yagamba Yesu nti: “Singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” (Yokaana 11:17, 21) Yesu yamuddamu nti: “Nze kuzuukira n’obulamu. Oyo anzikiriza ne bw’aliba ng’afudde, aliba mulamu.”​—Yokaana 11:25.

“Laazaalo, fuluma ojje!”

Okumukakasa nti kye yali amugambye kituufu, Yesu yagenda awaali entaana n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Laazaalo, fuluma ojje!” (Yokaana 11:43) Era bonna abaaliwo kyabeewuunyisa nnyo okulaba omusajja eyali afudde ng’ava mu ntaana.

Emabegako, Yesu yali azuukizza abantu babiri. Omu ku abo be yazuukiza yali muwala wa Yayiro. Yesu bwe yali tannamuzuukiza, yagamba nti omuwala oyo yali yeebase.​—Lukka 8:52.

Weetegereze nti Yesu bwe yali ayogera ku kufa kwa Laazaalo n’okwa muwala wa Yayiro, yakugeraageranya ku kwebaka. Lwaki okufa yakugeraageranya ku kwebaka? Okufaananako omuntu eyeebase, oyo aba afudde aba tamanyi kigenda mu maaso, aba tawulira bulumi, era aba tabonaabona. (Omubuulizi 9:5; laba ebiri wansi w’omutwe, “Okufa Kuli ng’Okwebaka.”) Abayigirizwa ba Yesu baali bamanyi embeera abafu gye balimu. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia of Religion and Ethics kigamba nti: “Abagoberezi ba Yesu baali bakitwala nti okufa kuli ng’okwebaka, era nti entaana kifo kya kuwummuliramu . . . eri abo abaafa nga bakkiriza.”a

Kitubudaabuda okukimanya nti abafu beebase mu ntaana era tebabonaabona. Bwe tumanya embeera omuntu gy’abaamu ng’afudde, tuba tetukyatya kufa.

“OMUNTU BW’AFA ALIBA MULAMU NATE?”

Ffenna tunyumirwa nnyo okwebaka ekiro. Naye waliwo eyandyagadde okwebakira ddala nga tazuukuka? Waliwo essuubi lyonna nti abafu abeebase mu ntaana bajja kuzuukira, nga Laazaalo ne muwala wa Yayiro bwe baazuukira?

Yobu omuweereza wa Katonda eyali omwesigwa yeebuuza ekibuuzo ekyo kyennyini bwe yalaba ng’anaatera okufa. Yeebuuza nti, “Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?”​—Yobu 14:14.

Ng’ayogera ne Katonda Omuyinza w’Ebintu byonna, Yobu yeddiramu ekibuuzo kye ng’agamba nti: “Olimpita, nange ndikuyitaba. “Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.” (Yobu 14:15, NW) Yobu yali mukakafu nti Yakuwa yeesunga nnyo okumuzuukiza. Kyandiba nti Yobu yali aloota buloosi? Nedda.

Eky’okuba nti Yesu yazuukiza abafu, kitukakasa nti Katonda yamuwa obuyinza ku kufa. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti Yesu kati alina “ebisumuluzo by’okufa.” (Okubikkulirwa 1:18) N’olwekyo, nga bwe yazuukiza Laazaalo, ajja okuzuukiza abantu mu biseera eby’omu maaso.

Bayibuli eyogera ku ssuubi ery’okuzuukira enfunda eziwera. Malayika yakakasa nnabbi Danyeri nti: ‘Oliwummula, era oliyimirira oweebwe omugabo gwo, ennaku bwe zirikoma.’ (Danyeri 12:13) Yesu yagamba Abasaddukaayo, abakulembeze b’Abayudaaya abaali batakkiririza mu kuzuukira nti: “Mwakyama kubanga temumanyi Byawandiikibwa wadde amaanyi ga Katonda.” (Matayo 22:23, 29) Omutume Pawulo yagamba nti: “Nnina essuubi eri Katonda . . . nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.”​—Ebikolwa 24:15.

ABAFU BALIZUUKIRA DDI?

Abatuukirivu n’abatali batuukirivu balizuukira ddi? Malayika yagamba Danyeri nti aliyimirira “ennaku bwe zirikoma.” Maliza naye yali akkiriza nti Laazaalo ‘yandizuukidde mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.’​—Yokaana 11:24.

Bayibuli eraga nti olunaku luno “olw’enkomerero” lulina akakwate n’obufuzi bwa Yesu Kristo. Pawulo yawandiika nti: “Kubanga [Kristo] alina okufuga nga kabaka okutuusa nga Katonda amaze okussa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Era omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.” (1 Abakkolinso 15:25, 26) Eyo ye nsonga lwaki tusaanidde okusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje era ne Katonda by’ayagala bikolebwe ku nsi.b

Nga Yobu bwe yagamba, Katonda ayagala nnyo okuzuukiza abafu. Olunaku olwo bwe lunaatuuka, okufa kujja kuggibwawo. Era wajja kuba tewakyaliwo n’omu yeebuuza nti, ‘Omuntu bw’afa ebibye biba bikomye?’

a Ekigambo “amalaalo” mu Luyonaani kitegeeza “ekifo eky’okwebakamu.”

b Okumanya ebisingawo ku Bwakabaka bwa Katonda, laba essuula 8 mu katabo Kiki Ddala Bayibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola okukafuna ne ku mukutu, www.pr418.com.

Okufa Kuli ng’Okwebaka

  • “N’abagamba nti: ‘Mulekere awo okukaaba, kubanga tafudde naye yeebase.’ Awo ne batandika okumusekerera, kubanga baali bamanyi nti afudde.”​—Lukka 8:52, 53.

  • “‘Laazaalo mukwano gwaffe yeebase, naye ŋŋenda gy’ali mmuzuukuse.’ Abayigirizwa ne bamugamba nti: ‘Mukama waffe, bw’aba yeebase, ajja kuba bulungi.’ Naye Yesu yali ayogera ku kufa kwe.”​—Yokaana 11:11-13.

  • “Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abeebaka mu kufa.”​—1 Abakkolinso 15:20.

  • “Twagala mumanye ebikwata ku abo abeebaka mu kufa; muleme kunakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.”​—1 Abassessaloniika 4:13.

Abafu Bajja Kuzuukira

  • “Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe.”​—Isaaya 26:19.

  • “Bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey’oku nsi balizuukuka.”​—Danyeri 12:2.

  • “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.”​—Yokaana 5:28, 29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share