LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 2/1 lup. 5-7
  • Oyo Aviirako Entalo n’Okubonaabona

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oyo Aviirako Entalo n’Okubonaabona
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Subheadings
  • Similar Material
  • KABONERO AKALAGA NTI TULI MU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA
  • EBIKOLWA BYA SITAANI BIJJA KUGGIBWAWO
  • Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Obuwumbi n’Obuwumbi bwa Ssente Ezisaasanyiziddwa mu Ntalo Zikoze Ki?
    Ensonga Endala
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 2/1 lup. 5-7

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OLUTALO OLWAKYUSA ENSI

Oyo Aviirako Entalo n’Okubonaabona

Nga Noovemba 11, 1918, Ssematalo Eyasooka yaggwa. Bizineesi zaggalwawo, era abantu beeyiwa ku nguudo okujaganya. Naye okujaganya okwo tekwamala bbanga ddene. Waabalukawo obulwadde obw’omutawaana ennyo.

Obulwadde obwo bwali buyitibwa Spanish flu era mu Jjuuni 1918, bwakwata abajaasi abaali mu ddwaniro mu Bufalansa. Okumanya bwali bwa mutawaana, bwatta abajaasi ba Amerika bangi nnyo n’okusinga abo abaafiira mu lutalo. Olutalo bwe lwaggwa, abajaasi baddayo mu nsi zaabwe nga balina obulwadde obwo, era ekyo kyabuviirako okusaasaana mu nsi yonna.

Olutalo olwo lwakosa nnyo ensi. Olutalo we lwaggwera mu 1918, amawanga mangi mu Bulaaya gaalimu enjala ey’amaanyi. Mu 1923, eby’enfuna bya Bugirimaani byasereba nnyo. Oluvannyuma lw’emyaka mukaaga, eby’enfuna mu nsi yonna byagootaana. Kyokka mu 1939, ssematalo ow’okubiri yatandika. Ssematalo eyasooka yali ng’eyeeyongedde mu maaso. Lwaki wajjawo ebizibu ebyo eby’amaanyi ennyo era eby’okumukumu?

KABONERO AKALAGA NTI TULI MU NNAKU EZ’OLUVANNYUMA

Obunabbi obuli mu Bayibuli butuyamba okumanya ensonga lwaki wazze wabaawo ebintu ebitali bimu, gamba nga Ssematalo I. Yesu yagamba nti ekiseera kyandituuse ‘eggwanga erimu ne lirumba eggwanga eddala’ era nti wandibaddewo enjala n’endwadde ez’amaanyi okwetooloola ensi yonna. (Matayo 24:3, 7; Lukka 21:10, 11) Yagamba abayigirizwa be nti ebintu ng’ebyo byandibadde kabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kitunnyonnyola ebisingawo. Kiraga nti ebizibu ebizze bibaawo ku nsi birina akakwate n’olutalo olwali mu ggulu.​—Laba ebyo ebiri wansi w’omutwe, “Olutalo ku Nsi n’Olutalo mu Ggulu.”

Ate era ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku basajja bana abeebagadde embalaasi. Basatu ku bo bakiikirira ebizibu Yesu bye yayogerako​—entalo, enjala, n’endwadde ez’amaanyi. (Laba ebiri wansi w’omutwe, “Ddala Abeebagazi b’Embalaasi Abana Weebali Leero?”) Awatali kubuusabuusa, ssematalo eyasooka yali ntandikwa butandikwa ey’ebiseera eby’okubonaabona. Bayibuli eraga nti Sitaani ye yaviirako olutalo olwo. (1 Yokaana 5:19) Ebikolwa bya Sitaani biriggibwawo?

Ekitabo ky’Okubikkulirwa era kitukakasa nti Sitaani asigazza “akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:12) Eyo ye nsonga lwaki alina obusungu bungi era aleeseewo okubonaabona kungi ku nsi. Ku luuyi olulala, okubonaabona kwe tulaba kulaga nti ekiseera kya Sitaani kiweddeyo.

EBIKOLWA BYA SITAANI BIJJA KUGGIBWAWO

Ssematalo I ddala lwali lutalo olw’ebyafaayo. Lwe lwali entandikwa y’entalo ezitatadde, obwegugungo, n’abantu obuteesiga bafuzi baabwe. Ate era olutalo olwo bukakafu obulaga nti Sitaani yagobebwa mu ggulu. (Okubikkulirwa 12:9) Omufuzi w’ensi ono atalabika yeeyisa ng’omufuzi nnaakyemalira amanyi nti ennaku ze ez’okufuga zinaatera okuggwaako. Ekiseera kya Sitaani bwe kinaggwaako, okubonaabona kwonna okuzze kubaawo okuviira ddala ku Ssematalo I kujja kukoma.

Nga bwe tulabye nti Obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira, tusobola okuba abakakafu nti Yesu Kristo, Kabaka waffe ow’omu ggulu, anaatera “okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yokaana 3:8) Abantu bukadde na bukadde basaba Obwakabaka bwa Katonda bujje. Naawe osaba bujje? Obwakabaka obwo bwe bunajja, Katonda by’ayagala bye bijja okukolebwa ku nsi, so si Sitaani by’ayagala. (Matayo 6:9, 10) Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, tewajja kubaawo ntalo! (Zabbuli 46:9) Bw’onooyiga ebikwata ku Bwakabaka obwo, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ejja okubaamu emirembe emyereere!​—Isaaya 9:6, 7.

Olutalo ku Nsi n’Olutalo mu Ggulu

Ebyasa nga 19 emabega nga Ssematalo I tannabaawo, Sitaani yasuubiza Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi.” (Matayo 4:8, 9) Yesu yaziyiza ekikemo ekyo, era oluvannyuma yagamba nti Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi.’ (Yokaana 14:30) Omutume Yokaana naye yakikakasa bwe yawandiika nti “ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”​—1 Yokaana 5:19.

Olw’okuba Sitaani y’afuga ensi, tuba batuufu okugamba nti ye yaviirako ssematalo eyasooka n’ebizibu ebirala ebyaddirira. Mu butuufu, ekitabo kya Bayibuli eky’Okubikkulirwa kiraga nti Sitaani y’aleeta ebizibu ebizze bibaawo ku nsi okuviira ddala mu 1914. Ka tulabe mu bufunze ebyo ebyogerwako mu Okubikkulirwa essuula 12:

  • Olunyiriri 7 Wabaawo olutalo mu ggulu wakati wa Mikayiri (Yesu Kristo) n’ogusota (Sitaani).

  • Olunyiriri 9 Sitaani, oyo ‘abuzaabuza ensi yonna,’ asuulibwa ku nsi.

  • Olunyiriri 12 “Zisanze ensi n’ennyanja, kubanga Omulyolyomi asse gye muli, ng’alina obusungu bungi ng’amanyi nti alina akaseera katono.”

Ebyo ebiri mu Bayibuli n’ebizze bibaawo ku nsi biraga nti olutalo olwo olwali mu ggulu lwaliwo ng’Obwakabaka bwa Katonda bumaze okussibwawo mu ggulu mu 1914.a N’olwekyo mu mwaka ogwo, waaliwo olutalo ku nsi n’olutalo mu ggulu.

a Laba essuula 8 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Ddala Abeebagazi b’Embalaasi Abana Weebali Leero?

Embalaasi enjeru ne kabaka ow’omu ggulu agituddeko

Embalaasi enjeru, oyo eyali agituddeko ye kabaka ow’omu ggulu. Kabaka Yesu Kristo kennyini, ye yeebagadde embalaasi eno era alwana olutalo olw’obutuukirivu. (Zabbuli 45:4) Kye yasooka okukola kwe kugoba Sitaani ne badayimooni be mu ggulu.​—Okubikkulirwa 6:2; 12:9.

Embalaasi emyufu n’abajaasi mu lutalo

Embalaasi emmyufu, oyo eyali agituddeko yaweebwa obuyinza “okuggyawo emirembe ku nsi.” (Okubikkulirwa 6:4) Okuva mu 1914, wazze wabaawo entalo. Nga wayiseewo emyaka 21 gyokka oluvannyuma lwa ssematalo eyasooka, waabalukawo ssematalo ow’okubiri era abantu abaalufiiramu baali bangi nnyo okusinga abo abaafiira mu ssematalo eyasooka. Kiteeberezebwa nti abantu abaafiira mu ssematalo ow’okubiri baali obukadde nga 60. Okuva mu 1945, wazze wabaawo entalo ez’amaanyi mu mawanga agatali gamu. Bannabyafaayo abamu bagamba nti abantu abasukka mu bukadde kikumi be baafiira mu ntalo mu kyasa eky’amakumi abiri kyokka.

Embalaasi enzirugavu n’abaana abakozimbye olw’enjala

Embalaasi enzirugavu, oyo eyali agituddeko yalina minzaani mu mukono gwe, ekiraga enjala. (Okubikkulirwa 6:5, 6) Mu ssematalo eyasooka, amagye ag’omukago gaggala ensalo za Bugirimaani ne kiviirako abantu nga 750,000 okufa enjala mu Bugirimaani. Mu 1921, abantu abasukka mu bukadde bubiri nabo baafa enjala mu Russia, era ne mu nsi endala abantu bangi baafa enjala. Kigambibwa nti okutwalira awamu, abantu obukadde nga 70 be baafa enjala mu kyasa eky’amakumi abiri. Abaana abali wansi w’emyaka etaano abasukka mu bukadde busatu be bafa buli mwaka olw’endya embi.

Embalaasi ensiiwuufu n’abalwadde

Embalaasi ensiiwuufu, oyo eyali agituddeko aleeta endwadde ez’omutawaana. (Okubikkulirwa 6:8) Spanish flu bwe bulwadde obwasinga okutta abantu mu kyasa eky’amakumi abiri. Okunoonyereza okumu kulaga nti obulwadde obwo bwatta abantu obukadde nga 50. Ekitabo ekiyitibwa Man and Microbes kigamba nti: “Obulwadde obwo bwe bumu ku bintu ebikyasinze okuba eby’omutawaana mu byafaayo,” era kigattako nti: ‘Bwe bukyasinze okutta abantu abangi mu kaseera akatono ennyo.’ Olukusense, omusujja gw’ensiri, n’akafuba ze zimu ku ndwadde endala ezatta abantu bukadde na bukadde mu kyasa eky’amakumi abiri.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share