TEKYALI kigendererwa kya Yakuwa abantu okukaddiwa. Yakuwa yali ayagala abantu babeere mu lusuku lwe era nga balamu bulungi. Naye kati “ebitonde [byonna] bisindira wamu era birumirwa wamu.” (Bar. 8:22) Olowooza Katonda awulira atya bw’alaba ng’abantu babonaabona olw’ebizibu ebyava ku kibi kya Adamu ate nga ne bannamukadde bangi tebafiibwako mu kiseera we beetaagira ennyo okuyambibwa?—Zab. 39:5; 2 Tim. 3:3.
2. Lwaki bannamukadde abali mu kibiina tubatwala nga ba muwendo?
2 Bannamukadde abali mu kibiina tubatwala nga ba muwendo nnyo. Tuganyulwa nnyo mu bumanyirivu bwe balina era ne mu kyokulabirako ekirungi kye bateekawo mu kwoleka okukkiriza. Abamu ku ffe bannamukadde abali mu kibiina tubalinako oluganda. Kyokka, ka tube nga tubalinako oluganda oba nedda, tusaanidde okufuba okulaba nti balabirirwa bulungi. (Bag. 6:10; 1 Peet. 1:22) N’olw’ensonga eyo, tugenda kwetegereza endowooza Katonda gy’alina ku bannamukadde. Era tugenda kulaba ekyo ab’eŋŋanda zaabwe n’ab’oluganda mu kibiina kye bayinza okukola okusobola okulaba nti balabirirwa bulungi.
3 Omuwandiisi wa Zabbuli 71:9 yasaba Katonda ng’agamba nti: “Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.” Kirabika Dawudi ye yawandiika ebigambo ebyo. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa obulamu bwe bwonna, era Yakuwa yamukozesa okukola ebintu bingi. (1 Sam. 17:33-37, 50; 1 Bassek. 2:1-3, 10) Wadde kyali kityo, Dawudi yakiraba nti kyali kimwetaagisa okusaba Yakuwa amuyambe ng’akaddiye.—SomaZabbuli 71:17, 18.
4 Leero, waliwo bakkiriza bannaffe bangi abalinga Dawudi. Wadde nga bakaddiye era nga bali mu ‘nnaku embi,’ beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa okusinziira ku busobozi bwabwe. (Mub. 12:1-7) Bangi ku bo ebintu ebimu bye baakolanga edda mu buweereza bwabwe eri Yakuwa tebakyasobola kubikola bulungi. Bakkiriza bannaffe ng’abo nabo basobola okusaba Yakuwa ayongere okubawa emikisa era abalabirire. Tewali kubuusabuusa nti Katonda mwetegefu okuddamu okusaba kwabwe. Ekyo kiri kityo, kubanga Yakuwa yaluŋŋamya Dawudi okuwandiika essaala gye yasaba ng’agamba Katonda okumuyamba ng’akaddiye.
5. Yakuwa atwala atya abaweereza be abakaddiye?
5 Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa atwala abaweereza be abakaddiye nga ba muwendo era ayagala naffe tubatwale nga ba muwendo. (Zab. 22:24-26; Nge. 16:31; 20:29) Eby’Abaleevi 19:32 wagamba nti: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.” Yakuwa yali yeetaagisa abaweereza be ab’edda okussa ekitiibwa mu bannamukadde era bwe kityo bwe kiri ne leero. Ate bwe kituuka ku kulabirira bannamukadde, ani asaanidde okwetikka obuvunaanyizibwa obwo?
OBUVUNAANYIZIBWA AB’EŊŊANDA BWE BALINA
6. Bwe kituuka ku kulabirira bazadde baffe, kyakulabirako ki ekirungi Yesu kye yatuteerawo?
6 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Kuv. 20:12; Bef. 6:2) Yesu yalaga obukulu bw’okukolera ku kiragiro ekyo ng’anenya Abafalisaayo n’abawandiisi olw’okulagajjalira bazadde baabwe. (Mak. 7:5, 10-13) Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bwe yali awanikiddwa ku muti, Yesu yagamba Yokaana, omuyigirizwa gwe yali ayagala ennyo, okulabirira maama we. Mu kiseera ekyo maama wa Yesu ayinza okuba nga yali nnamwandu.—Yok. 19:26, 27.
7. (a) Musingi ki Pawulo gwe yayogerako ogusobola okutuyamba bwe kituuka ku kulabirira bazadde baffe? (b) Mu kwogera ku musingi ogwo, kiki Pawulo kye yali ayogerako?
7 Mu bbaluwa gye yawandiikira Timoseewo, omutume Pawulo yagamba nti Omukristaayo asaanidde okulabirira ab’omu nnyumba ye. (Soma1 Timoseewo 5:4,8,16.) Pawulo yayogera ku musingi ogwo bwe yali ayogera ku abo ekibiina be kisaanidde okuwa obuyambi. Yalaga nti abaana Abakristaayo, abazzukulu, n’ab’eŋŋanda abalala be basaanidde okuwoma omutwe mu kulabirira ab’eŋŋanda zaabwe abakaddiye. Ekyo kiyamba mu kwewala okutikka ekibiina omugugu. Mu ngeri y’emu leero, Abakristaayo basobola okukiraga nti ‘beemalidde ku Katonda’ nga balabirira ab’eŋŋanda zaabwe abali mu bwetaavu.