BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Amadiini gonna gasanyusa Katonda?
Bw’oba otera okuwulira amawulire, oyinza okuba nga wali owuliddeko ebintu ebibi amadiini bye gakola. Amadiini mangi tegasanyusa Katonda. (Matayo 7:15) Mu butuufu, abantu bangi nnyo babuzaabuziddwa.—Soma 1 Yokaana 5:19.
Wadde kiri kityo, Katonda alaba abantu abeesimbu abaagala okukola ebirungi era eby’amazima. (Yokaana 4:23) Katonda ayagala abantu ng’abo bayige amazima agali mu Kigambo kye Bayibuli.—Soma 1 Timoseewo 2:3-5.
Eddiini ey’amazima ogitegeerera ku ki?
Yakuwa Katonda ayamba abantu aba buli ngeri okuba obumu ng’abayigiriza amazima agamukwatako era ng’abayigiriza okwagalana. (Mikka 4:2, 3) N’olwekyo, eddiini ey’amazima y’eyo erimu abantu abafaayo ku bannaabwe era abaagalana.—Soma Yokaana 13:35.
Yakuwa Katonda ayamba abantu aba buli ngeri okuba obumu ng’akozesa eddiini ey’amazima.—Zabbuli 133:1
Abali mu ddiini ey’amazima bye bakkiririzaamu ne bye bakola byesigamiziddwa ku Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16) Bakozesa erinnya lya Katonda. (Zabbuli 83:18) Ate era babuulira nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obujja okugonjoola ebizibu by’abantu. (Danyeri 2:44) Bakoppa Yesu nga baleka ‘ekitangaala kyabwe okwaka,’ kwe kugamba, nga bakolera bantu bannaabwe ebirungi. (Matayo 5:16) N’olwekyo, abo abali mu ddiini ey’amazima bakyalira abantu mu maka gaabwe ne bababuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.—Soma Matayo 24:14; Ebikolwa 5:42; 20:20.