LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 10/1 lup. 15
  • Sonyiwanga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sonyiwanga
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Sonyiwanga Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yakuwa Katonda y’Asingayo Okusonyiwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • ‘Yakuwa Yabasonyiyira Ddala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yakuwa Awa Emikisa Abo Abasonyiwa Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 10/1 lup. 15

AMAGEZI AG’EDDA AGAKYAKOLA NE LEERO

Sonyiwanga

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Mweyongere . . . okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne. Era nga Yakuwa bwe yabasonyiyira ddala, nammwe mukole bwe mutyo.”​—Abakkolosaayi 3:13.

Abakyala nga bafunye obutakkaanya

Kitegeeza ki? Mu Bayibuli, okukola ekibi kigeraageranyizibwa ku bbanja ate okusonyiwa kugeraanyizibwa ku kusazaamu ebbanja ly’obanja omuntu. (Lukka 11:4) Ekitabo ekimu ekinnyonnyola Ebyawandiikibwa kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okusonyiwa” kitegeeza “okusonyiyira ddala omuntu ebbanja n’otoddamu kumubanja.” N’olwekyo, bwe tusonyiwa omuntu atukoze ekibi, tumusonyiyira ddala. Bwe tusonyiwa omuntu kiba tekitegeeza nti tuwagira ekibi kye yakola oba nti ekibi kye yatukola tekyatuluma. Wabula tusalawo obutamusibira kiruyi wadde nga ‘tulina ensonga’ kwe tusinziira okunyiiga.

Amagezi ago gakyakola? Olw’okuba tetutuukiridde, ffenna tusobya. (Abaruumi 3:23) N’olwekyo, kiba kirungi okusonyiwa abalala, kubanga naffe tusobola okunyiiza omuntu omulala ne tuba nga twetaaga okusonyiyibwa. Okugatta ku ekyo, bwe tusonyiwa abalala, naffe kituganyula. Mu ngeri ki?

Abakyala nga bagwaŋŋana mu kifuba

Bwe tutasonyiwa balala ne tusiba ekiruyi, ffe abakosebwa kubanga kitumalako essanyu era kiyinza n’okukosa obulamu bwaffe. Mu katabo akayitibwa Journal of the American College of Cardiology, Dr. Yoichi Chida ne Profesa Andrew Steptoe, baagamba nti: “Okunoonyereza kulaga nti omuntu bw’aba ow’obusungu era ng’asiba ekiruyi, asobola okulwala obulwadde bw’omutima obuyitibwa CHD [coronary heart disease].”

Ku luuyi olulala, okusonyiwa kulimu emiganyulo mingi. Bwe tusonyiwa abalala, tuba n’enkolagana ennungi nabo era wabaawo emirembe wakati waffe nabo. N’ekisinga obukulu, tuba tukoppa Katonda asonyiwa aboonoonyi ababa beenenyezza. Naffe Katonda atusuubira okusonyiwa abalala.​—Makko 11:25; Abeefeso 4:32; 5:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share