LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 1 lup. 4-5
  • Akabi Akali mu Butaba Mwesigwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akabi Akali mu Butaba Mwesigwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBUTABA BEESIGWA KYONOONA ENKOLAGANA YAFFE N’ABALALA
  • KIVIIRAKO ABALALA OBUTABA BEESIGWA
  • Emiganyulo Egiri mu Kubeera Omwesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Oli Mwetegefu Okwolekera Amazima mu Bulamu Bwo?
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Beera Mwesigwa mu Bintu Byonna
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 1 lup. 4-5
Abakyala nga banyumya

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?

Akabi Akali mu Butaba Mwesigwa

“Wabaawo embeera eyeetaagisa obutaba mwesigwa okusobola okugiyitamu.”​—Samantha, ow’omu South Africa.

Naawe bw’otyo bw’olowooza? Okufaananako Samantha, ffenna oluusi twesanga mu mbeera enzibu. Engeri gye tweyisaamu nga twesanze mu mbeera eyinza okutuleetera obutaba beesigwa, eraga ekyo kye tuli. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala nnyo okusanyusa abalala, tuyinza okukitwala nti oluusi kyetaagisa obutaba beesigwa. Kyokka amazima bwe gazuuka, ebivaamu tebiba birungi n’akamu. Lowooza ku bino:

OBUTABA BEESIGWA KYONOONA ENKOLAGANA YAFFE N’ABALALA

Enkolagana ennungi ebaawo wakati waffe n’abalala eba yeesigamye ku bwesige bwe batulinamu. Kitwala ekiseera abantu okwesigaŋŋana n’okufuuka ab’omukwano. Abantu bwe baba ab’okwesigaŋŋana, buli omu alina okuba ng’ayogera amazima eri munne, era nga buli omu akolera munne ebirungi. Kyokka, ekikolwa kimu ekitali kya bwesigwa kiyinza okwonoona enkolagana ennungi, era kitwala ekiseera kiwanvu okugizzaawo.

Wali olimbiddwako omuntu gwe wali otwala nga mukwano gwo? Bwe kiba bwe kityo, wawulira otya? Oteekwa okuba nga wawulira bubi nnyo. Awatali kubuusabuusa, obutali bwesigwa busobola okwawukanya abantu abadde ab’omukwano nfanfe.

KIVIIRAKO ABALALA OBUTABA BEESIGWA

Okunoonyereza okwakolebwa Profesa Robert Innes, ow’omu yunivasite ya California kwalaga nti “obutali bwesigwa buleetera abalala obutaba beesigwa.” N’olwekyo, obutali bwesigwa busobola okugeraageranyizibwa ku kawuka akaleeta obulwadde​​—⁠bw’obeera n’omuntu atali mwesigwa, naawe osobola okufuuka atali mwesigwa.

Oyinza otya okwewala obutaba mwesigwa? Bayibuli esobola okukuyamba. Soma ekitundu ekiddako olabe ebimu ku byawandiikibwa ebisobola okukuyamba.

Obutali Bwesigwa Buzingiramu Ki?

Okulimba

Omusajja nga yggyako empeta ye

KYE KI? Okwogera ekintu ekitali kituufu eri omuntu gw’oteekeddwa okubuulira amazima. Okulimba kuzingiramu okunyoolanyoola amazima osobole okubuzaabuza omuntu, obutayogera mazima gonna, n’okusavuwaza ng’oyagala akuwuliriza afune ekifaananyi ekikyamu.

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa, naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) “Kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne.”​—Abeefeso 4:25.

Okuwaayiriza

Omusajja akuba munne akaama nga munnaabwe ayingira

KYE KI? Okwogera ebintu eby’obulimba ku muntu ng’oyagala okwonoona erinnya lye.

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omuntu ow’effujjo aleeta enjawukana, n’oyo awaayiriza ayawukanya ab’omukwano.” (Engero 16:28) “Bwe wataba nku, omuliro guzikira, bwe watabaawo awaayiriza, okuyomba kuggwaawo.”​—Engero 26:20.

Obukumpanya

Omusajja ng’asonze ku ssaawa eziri mu kkooti ye

KYE KI? Okulimbalimba omuntu n’omutwalako ssente ze oba ekintu kye.

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Tolyazaamaanyanga omukozi akolera empeera ali mu bwetaavu era omwavu.” (Ekyamateeka 24:14, 15) “Omuntu akumpanya omunaku anyiiza eyamutonda, naye asaasira omwavu agulumiza Katonda.”​—Engero 14:31.

Okubba

Omuntu ng’abba walet ya munne

KYE KI? Okutwala ekintu ky’omuntu nga takuwadde lukusa.

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Omubbi alekere awo okubba, wabula afube okukola emirimu, ng’akola emirimu emirungi n’emikono gye asobole okubaako ky’ayinza okuwa omuntu ali mu bwetaavu.” (Abeefeso 4:28) “Temubuzaabuzibwanga. . . . Ababbi, ab’omululu, abatamiivu, abavumi, n’abanyazi, tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda”​—1 Abakkolinso 6:9, 10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share