LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp16 Na. 5 lup. 3
  • Ffenna Twetaaga Okubudaabudibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ffenna Twetaaga Okubudaabudibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Similar Material
  • Okubudaabudibwa mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Budaabuda Abo Abalina Ennaku
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okubudaabuda Abo Abaakabasanyizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • “Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
wp16 Na. 5 lup. 3

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | ANI AYINZA OKUTUBUDAABUDA?

Ffenna Twetaaga Okubudaabudibwa

Maama abudaabuda mutabani we

Ojjukira lwe wagwa, oba lwe weesala akambe, oba lwe weekoona n’onuubuka, ng’okyali muto. Ojjukira maama wo bwe yakubudaabuda? Ayinza okuba nga yanaaza ekiwundu n’akissaako eddagala. Wakaaba, naye bwe yakusaasira era n’akusitula wawulira bulungi. Mu kiseera ekyo ng’okyali muto wafunanga mangu akubudaabuda.

Naye bwe tugenda tukula, obulamu bweyongera okukaluba. Ebizibu byeyongera, ate nga tekiba kyangu kufuna atubudaabuda. Ebizibu abantu abakulu bye bafuna tebiba byangu bya kugonjoola ng’eby’abaana abato. Lowooza ku byokulabirako bino.

  • Wali ogobeddwako ku mulimu? Julian agamba nti yawulira bubi nnyo ng’agobeddwa ku mulimu. Yeebuuza nti: ‘Nnaggya wa ssente ez’okulabirira ab’omu maka gange? Lwaki kampuni eno kati entwala ng’atalina mugaso ng’ate ngikoledde okumala emyaka mingi?’

  • Kiyinzika okuba ng’obufumbo bwo bw’asattulukuka era ng’ekyo ky’akuyisa bubi nnyo. Raquel agamba nti: “Omwami wange bwe yandekaawo emyezi nga 18 emabega, nnawulira ennaku ya maanyi. Omutima gwange gwali ng’ogufumitiddwa. Nnawulira nga mpeddemu amaanyi, era ng’ebirowoozo bijula okunzita.”

  • Oboolyawo olina obulwadde obw’amaanyi era nga bugaanye okuwona. Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuba ng’oluusi owulira nga Yobu eyagamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.” (Yobu 7:16) Oba oyinza okuba ng’owulira nga Luis, omusajja atemera mu myaka 80, eyagamba nti, “Oluusi mpulira ng’omuntu alindiridde obulindirizi okufa.”

  • Oba oyinza okuba nga wafiirwa omuntu wo era ng’owulira ennaku ey’amaanyi. Robert agamba nti: “Bwe nnawulira nti mutabani wange afiiridde mu kabenje k’ennyonyi, saasooka kukikkiriza. Oluvannyuma nnawulira ng’omuntu gwe bafumise ekitala.​—Lukka 2:35.

Robert, Luis, Raquel, ne Julian baafuna ababudaabuda mu mbeera ezo enzibu. Eyababudaabuda si mulala, wabula Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Katonda abudaabuda atya abantu? Naawe asobola okukubudaabuda?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share