LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp17 Na. 1 lup. 5-6
  • Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?
  • munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Similar Material
  • Ebisobola Okukuyamba Nga Weesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Kisoboka Okutegeera Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebintu Musanvu Ebinaakuyamba Okuganyulwa mu Kusoma Baibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
wp17 Na. 1 lup. 5-6
Omukazi ng’akozesa ebintu ebinaamuyamba okutegeera by’asoma mu Bayibuli

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?

Biki ebinaakuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli? Ka tulabe ebiyinza okukuyamba okwagala okusoma Bayibuli era n’okunyumirwa okugisoma.

Funa Bayibuli eyeesigika era ennyangu okutegeera. Bw’osoma ekitabo nga kirimu ebigambo ebizibu okutegeera oba by’otomanyi, tonyumirwa kukisoma. N’olwekyo, funa Bayibuli ennyangu okutegeera, by’osoma bisobole okukutuuka ku mutima. Kyokka era Bayibuli eyo esaanidde okuba nga yavvuunulwa n’obwegendereza.a

Kozesa tekinologiya. Leero Bayibuli ez’empapula si ze zokka eziriwo. Osobola okusomera Bayibuli ku Intaneeti oba okugiteeka ku kompyuta, tabuleeti, oba essimu. Mu Bayibuli ezimu eziba ku kompyuta oba ku ssimu, osobola okufuna mu bwangu ekyawandiikibwa ky’onoonya era osobola n’okugeraageranya enkyusa za Bayibuli ez’enjawulo. Osobola n’okuwuliriza obuwuliriza nga Bayibuli esomebwa. Abantu bangi banyumirwa okuwuliriza ng’eno bwe bakola emirimu gyabwe, oba nga bali mu mmotoka baliko gye balaga. Oyinza okukola ekikwanguyira: okugyesomera oba okuwuliriza ng’esomebwa.

Kozesa ebisobola okukuyamba okutegeera by’osoma. Ebintu bingi ebisobola okukuyamba okutegeera obulungi by’osoma mu Bayibuli. Waliwo mmaapu ezisobola okukuyamba okutegeera ebifo ebyogerwako mu Bayibuli we byali. Ate era, waliwo ebitundu ebitera okufulumira mu katabo kano era n’ebyo ebiba ku mukutu jw.org ku muko “Enjigiriza za Bayibuli,” ebisobola okukuyamba okutegeera by’osoma mu Bayibuli.

Kyusakyusa mu ngeri gy’ogisomamu. Bw’owulira nga kikuzibuwalira okusoma Bayibuli okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero yaayo, oyinza okutandika n’ebitabo by’osinga okwagala. Bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku bantu aboogerwako ennyo mu Bayibuli, oyinza okusoma ebitabo bya Bayibuli ebiboogerako. Ng’ekyokulabirako, wansi w’omutwe ogugamba nti, “Manya Ebisingawo Ebikwata ku Bantu Aboogerwako mu Bayibuli” oguli ku lupapula 5 mu katabo kano, waliwo olukalala lw’abantu aboogerwako ennyo mu Bayibuli n’ebitabo mwe boogerwako. Kyokka era oyinza okusoma ebitabo bya Bayibuli okusinziira ku nsonga ze byogerako, oba okusinziira ku ngeri ebyogerwako mu Bayibuli gye byajja biddiriŋŋana. Lwaki togezaako ekimu ku ebyo?

a Abantu bangi banyumirwa nnyo okusoma Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, olw’okuba yavvuunulwa n’obwegendereza era nnyangu okutegeera. Abajulirwa ba Yakuwa be bavvuunula Bayibuli eyo, era eri mu nnimi ezisukka mu 130. Osobola okugiwanula ku mukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org/lg oba oyinza okuwanula programu ya JW Library app n’ogiteeka ku ssimu yo. Oba, Abajulirwa ba Yakuwa bayinza okugikuleetera.

MANYA EBISINGAWO EBIKWATA KU BANTU ABOOGERWAKO MU BAYIBULI

Abamu ku bakazi abaali batya Katonda

Abbigayiri

1 Samwiri essuula 25

Eseza

Eseza essuula 2-5, 7-9

Kaana

1 Samwiri essuula 1-2

Maliyamu

(Maama wa Yesu) Matayo essuula 1-2; Lukka essuula 1-2; laba ne Yokaana 2:1-12; Ebikolwa 1:12-14; 2:1-4

Lakabu

Yoswa essuula 2, 6; laba ne Abebbulaniya 11:30, 31; Yakobo 2:24-26

Lebbeeka

Olubereberye essuula 24-27

Saala

Olubereberye essuula 17-18, 20-21, 23; laba ne Abebbulaniya 11:11; 1 Peetero 3:1-6

Abasajja aboogerwako ennyo mu Bayibuli

Ibulayimu

Olubereberye essuula 11-24; laba ne 25:1-11

Dawudi

1 Samwiri essuula 16-30; 2 Samwiri essuula 1-24; 1 Bassekabaka essuula 1-2

Yesu

Enjiri ya Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana

Musa

Okuva essuula 2-20, 24, 32-34; Okubala essuula 11-17, 20-22, 27, 31; Ekyamateeka essuula 34

Nuuwa

Olubereberye essuula 5-9

Pawulo

Ebikolwa essuula 7-11, 13-28

Peetero

Matayo essuula 4, 10, 14, 16-17, 26; Ebikolwa essuula 1-5, 8-12

EBINTU EBISOBOLA OKUKUYAMBA OKUTEGEERA BAYIBULI EBYATEGEKEBWA ABAJULIRWA BA YAKUWA

  • JW.ORG​—Ku mukutu guno ogwa Intaneeti kuliko ebintu bingi ebisobola okukuyamba okutegeera Bayibuli, gamba ng’ekitundu ekirina omutwe “Ebibuuzo Bayibuli by’Eddamu.” Kuliko n’obulagirizi obukwata ku ngeri gy’oyinza okufunamu programu ya JW Library app

  • “Laba Ensi Ennungi”​—Akatabo kano kalimu mmaapu n’ebifaananyi ebiraga ebifo ebyogerwako mu Bayibuli

  • Insight on the Scriptures​—Ekitabo kino kirimu emizingo ebiri. Kinnyonnyola ebikwata ku bantu, ebifo, n’ebigambo ebiri mu Bayibuli

  • “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial”​—Ekitabo kino kiraga ddi buli kitabo kya Bayibuli lwe kyawandiikibwa, ekifo gye kyawandiikirwa, n’ensonga lwaki kyawandiikibwa. Ate era kiwumbawumbako ebiri mu buli kitabo

  • The Bible​—God’s Word or Man’s?​—Ebiri mu katabo kano byanoonyerezebwako n’obwegendereza, era kalimu obukakafu obulaga nti Katonda ye yaluŋŋamya abantu abaawandiika Bayibuli

  • The Bible​—What Is Its Message?​—Akatabo kano ak’empapula 32 kalaga omulamwa gwa Bayibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share