LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Jjuuni lup. 21
  • “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Similar Material
  • Abbigayiri ne Dawudi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yali Mukazi Mutegeevu
    Koppa Okukkiriza Kwabwe
  • “Omuntu Omutegeevu Alwawo Okusunguwala”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Abakazi abaasanyusa Omutima gwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Jjuuni lup. 21
Abbigayiri

“Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”

EBIGAMBO ebyo Dawudi yabyogera ng’atendereza omukazi omu gwe yasisinkana. Omukazi oyo yali ayitibwa Abbigayiri. Lwaki Dawudi yatendereza omukazi oyo, era kiki kye tuyinza okuyigira ku mukazi oyo?

Dawudi yasisinkana omukazi oyo mu kiseera bwe yali ng’adduka Kabaka Sawulo. Abbigayiri yali yafumbirwa omusajja omugagga ennyo eyali ayitibwa Nabbali, eyalundiranga ebisibo bye mu kitundu eky’ensozi mu bukiikaddyo bwa Yuda. Dawudi n’abasajja be “baali nga bbugwe” eri ebisibo bya Nabbali n’eri abasajja abaabirundanga. Oluvannyuma Dawudi yatuma ababaka eri Nabbali abaweeyo ku by’okulya. (1 Sam. 25:8, 15, 16) Dawudi n’abasajja be baali bagwana okuweebwa eby’okulya ebyo, naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti ye n’abasajja be baali bakuumye ebisibo bya Nabbali n’abasajja be.

Naye Nabbali yeeyisa mu ngeri etuukana n’erinnya lye eritegeeza “Atalina magezi” oba “Omusirusiru.” Ababaka ba Dawudi, Nabbali yabaddamu bubi nnyo era n’agaana okubaako ky’abawa. N’ekyavaamu, Dawudi yasalawo okugenda okubonereza Nabbali olw’enneeyisa ye embi. Nabbali n’ab’omu nju ye baali bagenda kubonerezebwa olw’obusirusiru bwa Nabbali.​—1 Sam. 25:2-13, 21, 22.

Abbigayiri bwe yategeera akabi akandivudde mu ekyo Dawudi kye yali agenda okukola, yakola mangu enteekateeka okugenda okumusisinkana. Abbigayiri bwe yasisinkana Dawudi, yamwegayirira aleme kukola ekyo kye yali agenda okukola, era n’amuyamba okulowooza ku nkolagana ye ne Yakuwa. Ate era Abbigayiri yawa Dawudi n’abasajja be eby’okulya ebibamala. Dawudi yasiima omukazi oyo era n’agamba nti Yakuwa ye yali amukozesezza okumuyamba obutabaako musango gwa kuyiwa musaayi. Dawudi yagamba Abbigayiri nti: “Katonda akuwe omukisa olw’obutegeevu bwo, era akuwe omukisa olw’okunziyiza olwa leero okubaako omusango gw’okuyiwa omusaayi.”​—1 Sam. 25:18, 19, 23-35.

Tetwagala kubeera nga Nabbali, ataasiima bintu birungi bye baamukolera. Ate era, bwe tukiraba nti ekintu ekimu kiyinza okuvaamu obuzibu, tusaanidde okubaako kye tukolawo okwewala obuzibu obwo. Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, naffe tusaanidde okusaba Katonda nti: “Njigiriza mbe n’amagezi n’okumanya.”​—Zab. 119:66.

Naawe bwe weeyisa mu ngeri ey’amagezi, abalala bakiraba. Era okufaananako Dawudi, nabo basobola okukyatula oba okukyogerera mu mitima gyabwe nti: “Katonda Akuwe Omukisa olw’Obutegeevu Bwo!”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share