LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp18 Na. 3 lup. 6-7
  • Ddala Katonda Ategeera by’Oyitamu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Katonda Ategeera by’Oyitamu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BYE TUYIGIRA KU BITONDE
  • BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA ATEGEERA BYE TUYITAMU
  • KATONDA MUSAASIZI
  • Katonda Akumanyi Bulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Ddala Katonda Musaasizi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • ‘Twakolebwa mu Ngeri ya Kyewuunyo’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • ‘Ai Yakuwa Ommanyi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
wp18 Na. 3 lup. 6-7
Ekifaananyi ky’omusajja ng’akyali muwere, nga mulenzi, eky’embaga ye, era ng’ali ne mukyala we n’abaana be

“Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange.”—ZABBULI 139:16

Ddala Katonda Ategeera by’Oyitamu?

BYE TUYIGIRA KU BITONDE

Lowooza ku nkolagana ey’oku lusegere ennyo eyinza okubaawo wakati w’abalongo abafaanaganira ddala. Abalongo abo baba baagalana nnyo. Nancy Segal akulira ekitongole ekimu mu Amerika ekinoonyereza ku balongo, era nga naye mulongo, yagamba nti omulongo omu “asobola okubuulira munne ekintu n’akitegeera bulungi nnyo wadde nga takirambuludde.” Omukyala omu omulongo yayogera bw’ati ku nkolagana gy’alina ne muganda we: “Buli omu amanyi buli kimu ekikwata ku munne.”

Kiki ekisobozesa abalongo ng’abo okwagala ennyo? Okunoonyereza kulaga nti wadde ng’embeera mwe bakulidde n’engeri gye bakuziddwamu biyambako, okusingira ddala kiva ku kuba nti obutoffaali bw’emibiri gy’abwe bufaanagana.

LOWOOZA KU KINO: Oyo eyatonda obutoffaali bw’emibiri gyaffe ayinza obutamanya bitukwatako? Kabaka Dawudi yagamba nti: “Wambikkako nga ndi mu lubuto lwa mmange. Amagumba gange tegaakukisibwa bwe nnali nkolebwa mu kyama. . . . Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo.” (Zabbuli 139:13, 15, 16) Olw’okuba Katonda amanyi engeri emibiri gyaffe gye gyakolebwamu, tusobola okuba abakakafu nti atumanyi bulungi, era ategeera byonna bye tuyitamu mu bulamu.

BAYIBULI ERAGA NTI KATONDA ATEGEERA BYE TUYITAMU

Kabaka Dawudi bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Ai Yakuwa onkebedde, era ommanyi. Bwe ntuula era bwe nsituka, omanya. Ebirowoozo byange obimanyira wala. Olulimi lwange bwe luba terunnayogera kigambo, laba! Ai Yakuwa, oba wakitegedde dda.” (Zabbuli 139:1, 2, 4) Katonda amanyi enneewulira yaffe ey’omunda era ‘ategeera byonna bye tulowooza.’ (1 Ebyomumirembe 28:9; 1 Samwiri 16:6, 7) Ennyiriri ezo zituyigiriza ki ku Katonda?

Wadde ng’oluusi bwe tuba tusaba kiyinza okutuzibuwalira okwatula ekyo kyennyini ekiri ku mitima gyaffe, Omutonzi waffe aba alaba era ategeera kye tumusaba. Ate era, amanya ebirungi bye twandyagadde okukola wadde ng’oluusi tulemererwa okubikola. Olw’okuba Katonda yatutonda nga tusobola okwoleka okwagala, kimusanyusa nnyo bw’alaba nga tulina okwagala okwo mu mitima gyaffe.​—1 Yokaana 4:7-10.

Katonda alaba byonna bye tuyitamu wadde ng’abalala bayinza okuba nga tebabiraba, oba nga tebabitegeera

Bayibuli egamba nti

  • “Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe.”​—1 PEETERO 3:12.

  • Katonda atusuubiza nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu. Nja kukubuulirira ng’eriiso lyange likuliko.”​—ZABBULI 32:8.

KATONDA MUSAASIZI

Okukimanya nti Katonda ategeera bye tuyitamu kiyinza okutuyamba okugumira ebizibu. Lowooza ku Anna, abeera mu Nigeria. Agamba nti: “Ebizibu bye nnafuna byandeetera okwebuuza obanga ddala obulamu bulina amakulu. Ndi nnamwandu, ate nnalina okulabirira muwala wange eyalina obulwadde bwa hydrocephalus obuleetera omuntu okuba n’amazzi mangi mu bwongo. Mu kiseera kye kimu, bankebera ne kizuulibwa nti nnina kookolo w’omu mabeere era nga nnina okulongoosebwa. Kyanzibuwalira nnyo okugumira embeera eyo.”

Ana yasobola atya okugumira embeera eyo? Agamba nti: “Nnafumiitirizanga ku byawandiikibwa gamba nga Abafiripi 4:6, 7, awagamba nti ‘emirembe gya Katonda egisingira ewala okutegeera kwonna gijja kukuuma emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.’ Buli lwe nnajjukiranga ekyawandiikibwa ekyo, nneeyongera okwagala Yakuwa, kubanga nnali nkiraba nti ategeera bulungi embeera gye mpitamu. Baganda bange ne bannyinaze Abajulirwa ba Yakuwa nabo banzizaamu nnyo amaanyi.

Agattako nti: “Wadde nga nkyali mulwadde, nkiraba nti embeera yange n’eya muwala wange erongooseemu. Olw’okuba tuli bakakafu nti Yakuwa ali naffe, tetukkiriza bizibu bye tulina kutumalamu maanyi. Ebigambo ebiri mu Yakobo 5:11 bituzzaamu nnyo amaanyi. Wagamba nti: ‘Tubayita basanyufu abo abaagumiikiriza. Mwawulira ku bugumiikiriza bwa Yobu era mwalaba Yakuwa bye yamukolera oluvannyuma, era ne mukiraba nti Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.’” Yakuwa yategeera bulungi embeera Yobu gye yalimu, era naffe tusobola okuba abakakafu nti ategeera bulungi embeera gye tulimu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share