LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w18 Febwali lup. 13-17
  • Eri Yakuwa Ebintu Byonna Bisoboka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eri Yakuwa Ebintu Byonna Bisoboka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUKOLA OKUVA KU MAKYA ENNYO OKUTUUKA AKAWUNGEEZI
  • ABAALI BAWAŊŊANGUSIDDWA BALEETA AMAZIMA MU KYRGYZSTAN
  • AMAZIMA GASEMBERA EWAFFE
  • MUKYALA WANGE YATEGEERERAWO AMAZIMA
  • ENKUŊŊAANA N’OKUBATIZIBWA NGA TUWEREDDWA
  • TUKOZESA AKAKISA OKUGAZIYA KU BUWEEREZA BWAFFE
  • OKUKUZA ABAANA N’OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU
  • ENKYUKAKYUKA EZ’AMAANYI
  • Teyejjusa Kye Yasalawo ng’Akyali Muvubuka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
w18 Febwali lup. 13-17
Beishenbai Berdibaev

EBYAFAAYO

Eri Yakuwa Ebintu Byonna Bisoboka

Byayogerwa Beishenbai Berdibaev

“OKUFA tekulibaawo nate, era n’abantu abaafa bajja kuddamu babe balamu.” Mukyala wange, Mairambubu, yawulira ebigambo ebyo ng’ali mu bbaasi. Byamukwatako nnyo era yayagala okumanya ebisingawo. Bbaasi bwe yatuuka ku siteegi abasaabaze ne bavaamu, mukyala wange yayanguwa n’asanga omukyala eyali ayogedde ebigambo ebyo. Omukyala oyo yali ayitibwa Apun Mambetsadykova, era yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mu kiseera ekyo kyalinga kya bulabe okwogera n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye ebyo Apun bye yatuyigiriza byakyusa obulamu bwaffe.

OKUKOLA OKUVA KU MAKYA ENNYO OKUTUUKA AKAWUNGEEZI

Nnazaalibwa mu 1937 ku faamu emu eyaliko abantu abangi, okumpi n’akabuga Tokmok, mu Kyrgyzstan. Ffe tuli ba ggwanga lya Kyrgyz, era olulimi lwe twogera luyitibwa Kyrgyz. Bazadde bange baali bakola ku faamu kwe twabeeranga era baakolanga okuva ku makya ennyo okutuukira ddala akawungeezi. Abakozi ku faamu baaweebwanga emmere obutayosa, naye baasasulwanga omulundi gumu gwokka mu mwaka. Maama yafuba nnyo okundabirira awamu ne mwannyinaze omuto. Oluvannyuma lw’okumala emyaka etaano gyokka mu ssomero nange nnatandika okukola ku faamu.

Mmaapu ya Kyrgyzstan
Ensozi za Teskey Ala-Too

Ensozi z’e Teskey Ala-Too

Mu kitundu mwe nnakulira abantu baali baavu nnyo, era twalinanga okukola ennyo okusobola okweyimirizaawo. Bwe nnali nkyali muto, saalowooza nnyo ku kigendererwa ky’obulamu ne ku biseera byange eby’omu maaso. Saakirowoozanako nti amazima ag’omuwendo agakwata ku Yakuwa Katonda ne ku kigendererwa kye gandikyusizza obulamu bwange. Engeri amazima ago gye gaatuuka era ne gasaasaana mu Kyrgyzstan yeewuunyisa. Gaasookera mu kitundu mwe twali tubeera mu bukiikakkono bwa Kyrgyzstan.

ABAALI BAWAŊŊANGUSIDDWA BALEETA AMAZIMA MU KYRGYZSTAN

Amazima agakwata ku Yakuwa Katonda gaatuuka mu Kyrgyzstan mu myaka gya 1950. Tekyali kyangu abantu abaali bateekeddwamu endowooza z’Ekikomunisiti okuyigirizibwa amazima. Lwaki? Kubanga ensi kati eyitibwa Kyrgyzstan mu kusooka yali kitundu ky’amatwale ga USSR (Union of Soviet Socialist Republics). Abajulirwa ba Yakuwa mu matwale ga USSR gonna baali tebalina ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. (Yok. 18:36) Bwe kityo baali batwalibwa ng’abalabe ba gavumenti era baayigganyizibwanga nnyo. Naye tewali mbeera esobola kulemesa Kigambo kya Katonda kutuuka ku mitima gy’abantu abaagala Katonda. Ekintu ekikulu ennyo kye njize mu bulamu kiri nti, eri Yakuwa “ebintu byonna bisoboka.”​—Mak. 10:27.

Emil Yantzen

Emil Yantzen

Abajulirwa ba Yakuwa okuyigganyizibwa kwabasobozesa okutuuka mu Kyrgyzstan. Ekyo kyajja kitya? Abantu abaatwalibwanga ng’abalabe ba gavumenti ya USSR, baawaŋŋangusibwanga mu kitundu ky’e Siberia era nakyo ekyali mu matwale ga USSR. Abantu abaali bawaŋŋangusiddwa bwe baateebwa bangi ku bo bajja mu Kyrgyzstan, era abamu ku bo baali bayize amazima. Omu ku bantu abo yali Emil Yantzen, eyali yazaalibwa mu Kyrgyzstan mu 1919. Emil yatwalibwa mu nkambi y’abasibe era eyo gye yasanga Abajulirwa ba Yakuwa. Yakkiriza amazima era yakomawo mu Kyrgyzstan mu 1956. Emil yatandika okubeera okumpi n’akabuga Sokuluk, mu kitundu mwe twali tubeera. Ekibiina ekyasooka mu Kyrgyzstan kyatandikibwawo mu 1958 mu Sokuluk.

Victor Vinter

Victor Vinter

Nga wayise omwaka nga gumu, Victor Vinter naye yajja mu Sokuluk. Ow’oluganda oyo eyali omwesigwa yayigganyizibwa nnyo. Yasibibwa mu kkomera emirundi ebiri nga buli mulundi bamusiba emyaka esatu olw’obutabaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi, era oluvannyuma yasibibwa emyaka kkumi mu kkomera ate era n’atwalibwa mu buwaŋŋangusi gye yamala emyaka etaano. Naye okuyigganyizibwa tekwalemesa mazima kusaasaana.

AMAZIMA GASEMBERA EWAFFE

Eduard Varter

Eduard Varter

Omwaka gwa 1963 we gwatuukira, mu Kyrgyzstan mwalimu Abajulirwa ba Yakuwa nga 160, era bangi ku bo baali nzaalwa za Bugirimaani, Ukraine, ne Russia. Mu bano mwe mwali Eduard Varter, eyaliko mu buwaŋŋanguse era eyali yabatirizibwa mu Bugirimaani mu 1924. Mu myaka gya 1940, Abanazi baamutwala mu nkambi y’abasibe era oluvannyuma lw’emyaka mitono gavumenti ya USSR yamutwala mu buwaŋŋanguse. Mu 1961 ow’oluganda oyo omwesigwa yatandika okubeera mu kabuga akayitibwa Kant, akaliraanye akabuga k’ewaffe.

Elizabeth Fot; Aksamai Sultanalieva

Elizabeth Fot; Aksamai Sultanalieva

Elizabeth Fot, omuweereza wa Yakuwa omwesigwa, naye yali abeera mu Kant. Elizabeth yali akola gwa kutunga ngoye. Olw’okuba yali mutunzi mulungi, abantu abayivu gamba ng’abasawo n’abasomesa baamuwanga emirimu. Omu ku bakasitoma be yali mukyala ayitibwa Aksamai Sultanalieva, eyali mukyala w’omuwaabi wa gavumenti. Lumu Aksamai bwe yagenda ewa Elizabeth okuggyayo engoye ze, yamubuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu ne ku mbeera y’abafu. Elizabeth yaddamu ebibuuzo by’omukyala oyo ng’akozesa Bayibuli. Oluvannyuma Aksamai yafuuka omubuulizi w’amawulire amalungi omunyiikivu.

Nikolai Chimpoesh

Nikolai Chimpoesh

Mu kiseera ekyo, Nikolai Chimpoesh, eyava mu Moldova, yalondebwa okuba omulabirizi w’ekitundu era yakola omulimu ogwo okumala emyaka nga 30. Ng’oggyeeko okukyalira ebibiina, Nikolai era yategeka omulimu gw’okukola kopi z’ebitabo byaffe n’okubibunyisa. Ekyo ab’obuyinza baakimanyaako. Bwe kityo, Ow’oluganda Eduard Varter yagamba Nikolai nti: “Ab’obuyinza bwe bakubuuza ebibuuzo, bagambe butereevu nti ebitabo byaffe tubiggya ku kitebe kyaffe ekikulu mu Brooklyn. Tunuulira omusirikale wa KGB mu maaso. Totya kintu kyonna.”​—Mat. 10:19.

Nga wayise akaseera katono, Nikolai yayitibwa ku kitebe kya KGB mu Kant n’abuuzibwa ebibuuzo. Yagamba nti: “Omusirikale yambuuza gye twali tuggya ebitabo. Nnamugamba nti tubiggya Brooklyn. Yabulwa eky’okunziramu. Yandeka ne ŋŋenda era teyaddamu kumpita.” Abajulirwa ba Yakuwa abavumu ng’abo baayamba mu kubunyisa amawulire amalungi mu kitundu ky’ewaffe mu bukiikakkono bwa Kyrgyzstan. Amazima gaatuuka ewange mu myaka gya 1980, era mukyala wange ye yasooka okugawulirako.

MUKYALA WANGE YATEGEERERAWO AMAZIMA

Mairambubu yazaalibwa mu kitundu ky’e Naryn mu Kyrgyzstan. Lumu mu Agusito 1974, yakyalirako mwannyinaze era eyo gye twasooka okusisinkana. Bwe nnamulaba nnamwagalirawo, era ku olwo lwennyini lwe twafumbiriganwa.

Apun Mambetsadykova

Apun Mambetsadykova

Mu Jjanwali 1981 Mairambubu bwe yali mu bbaasi ng’agenda mu katale, yawulira omukazi ng’ayogera ebigambo bye njogeddeko ku ntandikwa. Mukyala wange yayagala okumanya ebisingawo, era yabuuza omukazi oyo erinnya lye ne gy’abeera. Omukazi oyo yamugamba nti ye Apun, naye yali mwegendereza kubanga mu myaka gya 1980, Abajulirwa ba Yakuwa baali bakyawereddwa mu Kyrgyzstan. Apun mu kifo ky’okubuulira mukyala wange gy’abeera, yagamba mukyala wange ye amubuulire gy’abeera. Mukyala wange yakomawo awaka nga musanyufu nnyo.

Mairambubu yaŋŋamba nti: “Mpulidde ebintu ebisanyusa. Waliwo omukazi aŋŋambye nti mu kiseera ekitali kya wala abantu bajja kuba tebakyafa era nti n’ensolo enkambwe tezijja kuba za bulabe.” Ebigambo ebyo byampulikira ng’olugero obugero. Bwe ntyo nnamugamba nti: “Ka tulinde okutuusa lw’anajja atunnyonnyole ebisingawo.”

Nga wayise emyezi esatu Apun yatukyalira. Yeeyongera okutukyalira era twasisinkana abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’eggwanga lya Kyrgyz abaasooka. Bannyinaffe abo baatuyigiriza bingi ebikwata ku Yakuwa n’ekigendererwa kye eri abantu. Baatusomeranga akatabo From Paradise Lost to Paradise Regained.a Era olw’okuba mu kabuga k’e Tokmok mwalimu kopi y’akatabo ako emu yokka, twakakoppolola n’engalo ne tufunamu kopi endala.

Ekimu ku bintu bye twasooka okuyiga bwe bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15. Obunnabbi obwo bujja kutuukirizibwa okuyitira mu Yesu ng’afuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Amawulire ago malungi nnyo era buli muntu asaanidde okugawulira. Twakiraba nti naffe twalina okubeegattako okulangirira amawulire ago. (Mat. 24:14) Mu kiseera kitono amazima gaatandika okukyusa obulamu bwaffe.

ENKUŊŊAANA N’OKUBATIZIBWA NGA TUWEREDDWA

Ow’oluganda omu mu Tokmok yatuyita ku mbaga. Nze ne mukyala wange twakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa beeyisa mu ngeri ya njawulo. Ku mbaga eyo tekwaliko mwenge era buli kimu kyali kitegekeddwa bulungi. Embaga eyo yali ya njawulo nnyo ku mbaga endala ze twali tubaddeko, kubanga ku mbaga ezo abantu baanywanga omwenge ne batamiira, beeyisanga bubi, era nga bamokkola agagambo.

Era twagendanga mu zimu ku nkuŋŋaana z’ekibiina mu Tokmok. Enkuŋŋaana ezo twazifuniranga mu kibira embeera y’obudde bwe yabanga ennungi. Ab’oluganda ne bannyinaffe baali bakimanyi nti abapoliisi batulondoola, bwe kityo baateekangawo ab’oluganda okutulabula nga waliwo obuzibu. Mu biseera by’obutiti twakuŋŋaaniranga mu nju. Emirundi egiwerako, abasirikale bajjanga mu nnyumba mwe twabanga tukuŋŋaanidde ne batubuuza kye twabanga tukola. Nze ne Mairambubu twabatizibwa mu Jjulaayi 1982 mu Mugga Chüy, era twalina okuba abeegendereza ennyo. (Mat. 10:16) Ab’oluganda bajja batonotono, ne tukuŋŋaanira mu kibira. Twayimba ennyimba z’Obwakabaka era ne tuwuliriza emboozi ekwata ku kubatizibwa.

TUKOZESA AKAKISA OKUGAZIYA KU BUWEEREZA BWAFFE

Mu 1987 ow’oluganda omu yaŋŋamba okugenda okulaba omuntu eyali abeera mu kibuga Balykchy eyali ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli. Okuva ewaffe okutuukayo kyatutwaliranga essaawa nnya nga tukozesa eggaali y’omukka. Oluvannyuma lw’okubuulira mu Balykchy enfunda eziwerako twakiraba nti abantu bangi mu kitundu ekyo baali baagala okuyiga Bayibuli. Mu butuufu twali tufunye akakisa okugaziya ku buweereza bwaffe.

Nze ne Mairambubu twateranga okugenda e Balykchy. Wiikendi ezisinga twazimalanga eyo, twabuuliranga, era twabanga n’enkuŋŋaana. Abantu baatandika okwettanira ennyo ebitabo byaffe. Ebitabo twabiggyanga Tokmok era twabitwaliranga mu kutiya. Buli mwezi twatwalanga ekutiya z’ebitabo bbiri era ebitabo ebyo kumpi byalinga tebimala. Ne bwe twabanga mu ggaali y’omukka nga tugenda e Balykchy oba nga tukomawo, twabuuliranga abasaabaze.

Mu 1995 ekibiina kyatandikibwawo mu Balykchy, nga wayise emyaka munaana bukyanga tutandika okugendayo. Emyaka gye twamala nga tugenda e Balykchy twasaasaanyanga ssente nnyingi. Tetwalina ssente nnyingi; kati olwo ssente ezaatutwalangayo zaavanga wa? Waliwo ow’oluganda eyatuwanga ssente okutuyamba mu by’entambula. Yakuwa yakiraba nti twali twagala okugaziya ku buweereza bwaffe bw’atyo n’atuggulirawo “emiryango gy’eggulu.” (Mal. 3:10) Tewali kubuusabuusa nti eri Yakuwa ebintu byonna bisoboka.

OKUKUZA ABAANA N’OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU

Mu 1992, nnalondebwa okuba omukadde, era nze mukadde ow’eggwanga lya Kyrgyz eyasooka mu Kyrgyzstan. Mu kibiina kyaffe eky’e Tokmok wajjawo emikisa egy’okwenyigira mu buweereza obw’engeri endala. Twafuna abayizi ba Bayibuli bangi ab’eggwanga lya Kyrgyz abaali basomera mu matendekero aga waggulu. Omu ku bayizi abo be twayigiriza kati ali ku Kakiiko k’Ettabi, ate abalala babiri baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo. Ate era twafuba n’okuyamba abalala mu kibiina kyaffe. Ku ntandikwa y’emyaka gya 1990, ebitabo byaffe n’enkuŋŋaana zaffe byali mu Lulasa. Naye abantu bangi mu kibiina kyaffe baali boogera Kyrgyz. Bwe kityo nnabataputiranga ne basobola okwanguyirwa okutegeera amazima.

Beishenbai Berdibaev ne mukyala we awamu n’abaana baabwe munaana

Nze ne mukyala wange n’abaana baffe munaana mu 1989

Mairambubu nange twalina omulimu omunene ogw’okukuza abaana baffe. Twatwalanga abaana baffe okubuulira ne mu nkuŋŋaana. Muwala waffe Gulsayra, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 12 gyokka, yali anyumirwa nnyo okubuulira abantu ku nguudo ebikwata ku Bayibuli. Ate era abaana baffe baanyumirwanga nnyo okukwata ebyawandiikibwa mu mutwe. Ekyo kiyambye abaana baffe ne bazzukulu baffe okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ku baana baffe 9 ne bazzukulu baffe 11 abakyaliwo, 16 ku bo baweereza Yakuwa oba babaawo mu nkuŋŋaana ne bazadde baabwe.

ENKYUKAKYUKA EZ’AMAANYI

Singa ab’oluganda ne bannyinnaffe abaatandika omulimu gwa Yakuwa mu kitundu kyaffe mu myaka gya 1950 bakyaliwo leero, bandibadde beewuunya nnyo enkyukakyuka ezizze zibaawo. Ng’ekyokulabirako, okuva mu myaka gya 1990, tubadde n’eddembe ly’okubuulira n’okuba n’enkuŋŋaana ennene.

Beishenbai Berdibaev ne mukyala we awamu n’abaana baabwe munaana

Nga mbuulira ne mukyala wange

Mu 1991 nze ne mukyala wange twagenda mu Kazakhstan ku lukuŋŋaana lwaffe olunene olwasooka mu Alma-Ata, kati ekiyitibwa Almaty. Ate 1993 ab’oluganda baategeka olukuŋŋaana lwa disitulikiti olwasooka mu Kyrgyzstan mu kisaawe ky’e Spartak mu kibuga Bishkek. Ababuulizi baamala wiiki nnamba nga bayonja ekisaawe ekyo. Maneja w’ekisaawe ekyo yakwatibwako nnyo era n’atukkiriza okukikozesa ku bwereere.

Mu 1994 twatuuka ku kintu ekirala ekikulu bwe twafuna ekitabo ekyasooka okuvvuunulwa mu Kyrgyz. Kati tulina abavvuunuzi ab’enkalakkalira ku ofiisi y’ettabi mu Bishkek abavvuunula ebitabo byaffe mu Kyrgyz. Mu 1998 omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwakkirizibwa mu mateeka mu Kyrgyzstan. Omuwendo gw’ababuulizi mu Kyrgyzstan gweyongedde era kati tuli ababuulizi abasukka mu 5,000. Ate era tulina ebibiina 83 n’ebibinja 25 eby’Olukyayina, Olungereza, Kyrgyz, Olulasa, Olulimi lwa bakiggala olw’omu Russia, Olutuluuki, Uighur, ne Uzbek. Ab’oluganda ne bannyinnaffe abo bonna ab’amawanga ag’enjawulo baweereza Yakuwa nga bali bumu. Yakuwa y’asobozesezza ekyukakyuka ezo zonna okubaawo.

Yakuwa era akyusizza nnyo obulamu bwange. Nnakulira mu maka maavu era nnamala emyaka etaano gyokka mu ssomero. Wadde kiri kityo, Yakuwa ansobozesezza okuweereza ng’omukadde, n’okuyigiriza Bayibuli abantu abansinga obuyigirize. Mazima ddala Yakuwa akola ebyewuunyisa. Ebyo byempiseemu bindeetera okwongera okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa oyo aleetera ebintu byonna okuba nga bisoboka.​—Mat. 19:26.

a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tekakyakubibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share