LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp19 Na. 3 lup. 10-11
  • Okufa Kunaggibwawo Kutya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufa Kunaggibwawo Kutya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUFA KUJJA KUGGIBWAWO OKUYITIRA MU KINUNULO
  • OKUFA KUNAGGIBWAWO DDI?
  • Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Katonda ky’Akoze Okulokola Olulyo lw’Omuntu
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Yakuwa Akola Enteekateeka ‘y’Ekinunulo ku lw’Abangi’
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 3 lup. 10-11
Yesu; Yesu akomereddwa ku muti era ali wakati w’abamenyi b’amateeka babiri

Okufa Kunaggibwawo Kutya?

WADDE ng’obujeemu bwa bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, bwaleetera abantu bonna ekibi n’okufa, tebwakyusa kigendererwa Katonda ky’alina eri abantu. Okuyitira mu Kigambo kye Bayibuli, Katonda atukakasa nti ekigendererwa kye tekinnakyuka.

  • “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:29.

  • “Alimirira ddala okufa emirembe gyonna, era Yakuwa Mukama Afuga Byonna alisangula amaziga mu maaso gonna.”​—Isaaya 25:8.

  • “Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.”​—1 Abakkolinso 15:26.

  • “Okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—Okubikkulirwa 21:4.

Katonda ‘anaamira atya okufa’ oba anaakuggyawo atya? Nga bwe kiragiddwa waggulu, Bayibuli egamba nti ‘abatuukirivu bajja kubeera mu nsi emirembe gyonna.’ Naye era Bayibuli egamba nti: “Tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi ebyereere n’atayonoona.” (Omubuulizi 7:20) Ekyo kitegeeza nti Katonda okujjawo okufa kijja kumwetaagisa okuva ku mitindo gye? Nedda. Ekyo tasobola kukikola, kubanga ‘Katonda tayinza kulimba.’ (Tito 1:2) Kati olwo, kiki Katonda ky’anaakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda abantu?

KATONDA “ALIMIRIRA DDALA OKUFA EMIREMBE GYONNA.”​—ISAAYA 25:8

OKUFA KUJJA KUGGIBWAWO OKUYITIRA MU KINUNULO

Yakuwa Katonda yakola enteekateeka okununula abantu okuva mu kibi n’okufa ng’awaayo ekinunulo. Ekinunulo ky’ekyo ekiweebwayo okusobola okununula omuntu oba ekintu, oba ekyo ekiweebwayo okusasulira ekintu. Olw’okuba abantu bonna boonoonyi era nga baasalirwa gwa kufa, Bayibuli egamba nti: “Tewali n’omu ku bo ayinza kununula muganda we wadde okumuweerayo eri Katonda ekinunulo, (omuwendo ogusobola okununula obulamu bwabwe munene nnyo ne kiba nti tebasobola kugwesasulira).”​—Zabbuli 49:7, 8. 

Omuntu atatuukiridde bw’afa, aba asasulidde bibi bye; tasobola kwenunula wadde okununula omuntu omulala yenna. (Abaruumi 6:7) Twali twetaaga omuntu atuukiridde era atalina kibi okusobola okuwaayo obulamu bwe ku lw’ebibi byaffe.​—Abebbulaniya 10:1-4.

Ekyo kyennyini Katonda kye yakola. Yatuma ku nsi Omwana we Yesu, n’azaalibwa ng’omuntu atuukiridde era atalina kibi. (1 Peetero 2:22) Yesu yagamba nti yajja ku nsi “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Makko 10:45) Yafa asobole okuggyawo okufa tube balamu emirembe gyonna.​—Yokaana 3:16.

OKUFA KUNAGGIBWAWO DDI?

Ebiriwo leero biraga nti tuli mu ‘biseera ebizibu’ ebyayogerwako mu Bayibuli, ekiraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero.” (2 Timoseewo 3:1) Ennaku ez’enkomerero zijja kukomekkereza ‘n’olunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.’ (2 Peetero 3:3, 7) Naye abantu abatya Katonda bajja kuwonawo era bafune ‘obulamu obutaggwaawo.’​—Matayo 25:46.

Abantu ab’emyaka egy’enjawulo era nga ba mawanga ga njawulo

Yesu yajja “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.”​—Makko 10:45

Abantu abalala bukadde na bukadde abaafa bajja kuzuukizibwa nabo bafune obulamu obutaggwaawo. Yesu bwe yali mu kabuga akayitibwa Nayini, yazuukiza omuntu. Omwana omu yekka nnamwandu gwe yalina bwe yafa, Yesu ‘yamukwatirwa ekisa’ n’amuzuukiza. (Lukka 7:11-15) Omutume Pawulo yagamba nti: “Nnina essuubi mu Katonda . . . nti wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” Ekyo kiraga nti Katonda ayagala nnyo abantu.​—Ebikolwa 24:15.

Obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kubeerawo emirembe gyonna. Bayibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Mu kiseera ekyo, bajja kuba basobola okwogera ebigambo bino omutume Pawulo bye yawandiika emyaka nga 2,000 emabega: “Ggwe Okufa, obuwanguzi bwo buli wa? Ggwe Okufa, obulumi bwo buli wa?” (1 Abakkolinso 15:55) Omulabe w’omuntu lukulwe ajja kuba aggiddwawo!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share