LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w19 Jjanwali lup. 31
  • Ow’oluganda Omulala Eyagattibwa ku Kakiiko Akafuzi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ow’oluganda Omulala Eyagattibwa ku Kakiiko Akafuzi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Similar Material
  • Ow’oluganda Alondeddwa Okuweereza ku Kakiiko Akafuzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Ab’Oluganda Abagattiddwa ku Kakiiko Akafuzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ab’Oluganda Babiri Abapya Abaweereza ku Kakiiko Akafuzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa Kye Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa Abantu Bye Batera Okwebuuza
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
w19 Jjanwali lup. 31
Kenneth ne Jamie Cook

Kenneth E. Cook, Jr., ne mukyala we Jamie

Ow’oluganda Omulala Eyagattibwa ku Kakiiko Akafuzi

KU Lwokusatu ku makya, nga Jjanwali 24, 2018, ab’oluganda ku Beseri y’omu Amerika ne Canada baasanyuka nnyo okuwulira ekirango kino: Ow’oluganda Kenneth Cook, Jr., alondeddwa okuba ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ow’oluganda Cook yazaalibwa mu Pennsylvania, America, era eyo gye yakulira. Amazima yagayigira ku muyizi munne eyamubuulira bwe yali anaatera okumaliriza emisomo gye egya siniya, era yabatizibwa nga Jjuuni 7, 1980. Yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga Ssebutemba 1, 1982. Oluvannyuma lw’okumala emyaka ebiri ng’aweereza nga payoniya, yayitibwa okuweereza ku Beseri, era obuweereza bwe obw’oku Beseri yabutandikira Wallkill, New York, nga Okitobba 12, 1984.

Mu myaka 25 egyaddirira, Ow’oluganda Cook yakola emirimu egitali gimu ku Beseri, omwali n’okukola omulimu ogw’okukuba ebitabo byaffe mu kyapa. Yawasa Jamie, mu 1996, era ne batandika okuweerereza awamu ku Beseri e Wallkill. Mu Ddesemba 2009, Ow’oluganda Cook ne mukyala we baasindikibwa okuweereza ku Watchtower Educational Center e Patterson, New York, era eyo Ow’oluganda Cook yaweerereza mu kitongole ekikola ku kuddamu ebibuuzo by’abantu. Mu Apuli 2016, bwe baali baakamala akaseera katono nga bazzeeyo e Wallkill, Ow’oluganda Cook ne mukyala we baasindikibwa okuweerereza e Brooklyn, New York. Nga wayise emyezi etaano, baagenda okuweereza ku kitebe kyaffe ekikulu e Warwick, New York. Mu Jjanwali 2017, Ow’oluganda Cook yalondebwa okuba omuyambi ku Kakiiko Akakola ogw’Okuwandiika akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi.

Kati Akakiiko Akafuzi kaliko ab’oluganda munaana abaafukibwako amafuta:

K. E. Cook, Jr.; S. F. Herd; G. W. Jackson; M. S. Lett; G. Lösch; A. Morris III; D. M. Sanderson; D. H. Splane

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share