LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w19 Jjulaayi lup. 25-29
  • Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo Gye Nnali Sisuubira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo Gye Nnali Sisuubira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NZIVUUNUKA EKIZIBU KY’OKUBA OW’ENSONYI
  • NNAYIGA EKINTU EKIKULU ENNYO MU GIREYAADI
  • KITUNDU KIRUNGI MU KUTENDEKA ABAMINSANI
  • MPEEREZA MU KENYA
  • TUFUNA EMIKISA MINGI MU ETHIOPIA
  • YAKUWA YAKUZA
  • Nfunye Essanyu mu Kuweereza Yakuwa era Njize Ebintu Bingi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Tulina Bingi Bye Tuyigidde ku Muyigiriza Waffe Asingiridde mu Bulamu Bwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
w19 Jjulaayi lup. 25-29
Manfred ne Gail Tonak ku lunaku lwe baagattibwa

EBYAFAAYO

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi Nnyo Gye Nnali Sisuubira

Byayogerwa Manfred Tonak

NNALI nsaanidde okuweereza nga payoniya. Naye nnalimu okubuusabuusa obanga okuweereza nga payoniya kyali kiyinza okundeetera essanyu. Nnali mbeera mu Bugirimaani, era nga njagala nnyo omulimu gwange ogw’okusuubuza eby’okulya mu bitundu eby’ewala mu Afirika, gamba nga mu Dar es Salaam, Elisabethville, ne Asmara. Nnali simanyi nti ekiseera kyandituuse ne mpeereza Yakuwa mu buweereza bw’ekiseera kyonna mu bitundu ebyo ne mu bitundu ebirala bingi mu Afirika!

Bwe nnagwaamu okubuusabuusa, nnatandika okuweereza nga payoniya era ekyo kyanviirako okufuna emikisa mingi nnyo gye nnali sisuubira. (Bef. 3:20) Naye oyinza okwebuuza ekyannyamba. Ka mbabuulire gye byatandikira.

Nnazaalibwa mu kibuga Berlin, mu Bugirimaani, ng’ebula emyezi mitono Ssematalo II atandike mu 1939. Ssematalo oyo bwe yali anaatera okuggwa mu 1945, ekibuga Berlin kyakubibwa nnyo bbomu. Lumu bbomu zaasuulibwa ku mayumba ku luguudo kwe twali tubeera era nze n’ab’awaka twaddukira mu kifo abantu we baddukiranga okuwona okuttibwa bbomu ezo. Oluvannyuma twaddukire e Erfurt, mu kitundu maama gye yazaalibwa.

Manfred Tonak ne bazadde be ne mwannyina mu Bugirimaani, awo nga mu 1950

Nze ne bazadde bange ne mwannyinazemu Bugirimaani awo nga mu 1950

Maama yafuba okunoonya amazima. Yasoma ebitabo by’abafirosoofo era n’anoonyereza ku madiini mangi naye teyafuna kye yali ayagala. Awo nga mu 1948, Abajulirwa ba Yakuwa babiri bajja ewaffe. Maama yabaaniriza era n’ababuuza ebibuuzo bingi. Oluvannyuma lw’essaawa ng’emu, yagamba mwannyinaze omuto nange nti, “Nzudde amazima!” Waayita ekiseera kitono nze, ne maama, ne mwannyinaze omuto ne tutandika okugendanga mu nkuŋŋaana mu Erfurt.

Mu 1950 twaddayo mu Berlin, era twakunŋŋaaniranga mu kibiina ky’e Kreuzberg. Oluvannyuma twava mu kibiina ekyo ne tugenda mu ky’e Tempelhof. Oluvannyuma lw’ekiseera maama yabatizibwa, naye nze nnali ndowooza nti sinnatuuka. Lwaki?

NZIVUUNUKA EKIZIBU KY’OKUBA OW’ENSONYI

Nnalwawo okukulaakulana olw’okuba nnalina ensonyi nnyingi. Wadde nga nnagendanga mu buweereza, nnamala emyaka ebiri nga sirina muntu yenna gwe mbuulidde. Naye bwe nnabeerako awamu ne baganda bange ne bannyinaze abaali beemalidde ku Yakuwa era nga boolese obuvumu obw’ekitalo, kyannyamba okukyuka. Abamu ku bo baali baasibibwako mu nkambi z’Abanazi oba mu makomera g’omu buvanjuba bwa Bugirimaani. Abalala baali batadde obulamu bwabwe mu kabi nga bakukusa ebitabo byaffe okubiyingiza mu buvanjuba bwa Bugirimaani. Ekyokulabirako kyabwe kyankwatako nnyo. Muli nnagamba nti, bwe kiba nti baganda bange bano bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuweereza Yakuwa ne baganda baabwe, nze sisaanidde kufuba nnyo okulaba nti nzivuunuka ekizibu eky’okuba n’ensonyi?

Nnatandika okuggwaamu ensonyi bwe nneenyigira mu kaweefube ow’okubuulira okw’enjawulo okwaliwo mu 1955. Mu bbaluwa gye yawandiika mu katabo akaali kayitibwa Informant,a Ow’oluganda Nathan Knorr yagamba nti kaweefube oyo y’omu ku kaweefubye akyasinzeeyo obunene ekibiina kya Yakuwa gwe kyali kiteeseteese. Yagamba nti singa ababuulizi bonna bamwenyigiramu, ‘omwezi ogwo gujja kuba gwa njawulo nnyo ku bikwata ku mulimu gw’okubuulira.’ Ekyo ddala bwe kyali! Waayita ekiseera kitono ne nneewaayo eri Yakuwa, era mu 1956 nnabatizibwa awamu ne taata ne mwannyinaze. Naye mu kiseera kitono, nnayolekagana n’okusalawo okulala okukulu.

Okumala emyaka, nnali nkimanyi nti nsaanidde okuweereza nga payoniya naye muli nnagambanga nti nja kuweereza nga payoniya mu biseera eby’omu maaso. Nnasalawo okusooka okuyiga okugula n’okutunda ebintu mu nsi ez’ewala. Oluvannyuma nnayagala nkole okumala akaseera nsobole okufuna obumanyirivu n’obukugu mu mulimu ogwo gwe nnali njize. N’olwekyo mu 1961, nnafuna omulimu mu Hamburg, ekimu ku bibuga bya Bugirimaani ebisinga obunene. Omulimu ogwo nnagwagala nnyo era gye nnakoma okugukola, gye nnakoma okwongezaayo okuweereza nga payoniya. Kiki ekyannyamba?

Nneebaza nnyo Yakuwa okuba nti yakozesa ab’oluganda okunnyamba okukiraba nti okuweereza Yakuwa kye kintu ekisinga obukulu. Bangi ku mikwano gyange baali baweereza nga bapayoniya era banteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ate era ow’oluganda Erich Mundt, eyali yasibibwako mu nkambi z’abasibe, yannyamba okuyiga okwesiga Yakuwa. Yagamba nti mu nkambi z’abasibe ab’oluganda abassa obwesige bwabwe mu busobozi bwabwe, oluvannyuma baanafuwa mu by’omwoyo. Naye nti ab’oluganda abeesiga Yakuwa baasigala nga beesigwa era baafuuka mpagi mu kibiina.

Manfred Tonak mu 1963

Bwe nnali nnaakatandika okuweereza nga payoniya mu 1963

Ate era ow’Oluganda Martin Poetzinger, oluvannyuma eyaweerezaako ku Kakiiko Akafuzi, yazzangamu ab’oluganda amaanyi ng’abagamba nti, “Obuvumu kintu kikulu nnyo mu bulamu!” Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku bigambo ebyo, nnalekayo omulimu gwe nnali nkola ne ntandika okuweereza nga payoniya mu Jjuuni 1963. Ekyo kye nnasalawo kyali kirungi nnyo! Nga waakayita emyezi ebiri nga sinnaba na kutandika kunoonya mulimu mulala, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, Yakuwa yampa emikisa gye nnali sisuubira. Nnayitibwa okugenda mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 44.

NNAYIGA EKINTU EKIKULU ENNYO MU GIREYAADI

Ekimu ku bintu ebikulu bye nnayiga, naddala okuva eri ow’oluganda Nathan Knorr ne Lyman Swingle, bwe butayanguwa kulekayo buweereza bwaffe. Baatukubiriza okunywerera mu buweereza bwaffe ne bwe bwandibadde nga si bwangu. Ow’Oluganda Knorr yatubuuza nti: “Biki bye munassaako ebirowoozo? Munaabissa ku nfuufu, ku biwuka, ku bwavu, oba munaabissa ku miti, ku bimuli, ne ku abantu abasanyufu? Muyige okwagala abantu!” Lumu ow’oluganda Swingle bwe yali atubuulira ensonga lwaki ab’oluganda abamu balekayo mangu obuweereza bwabwe yajja ebiyengeyenge mu maaso era n’asooka n’asiriikirira namu. Ekyo kyankwatako nnyo era ne mmalirira okutuukiriza ekyo Kristo ne baganda be abeesigwa kye bansuubiramu.​—Mat. 25:40.

Manfred Tonak, Claude Lindsay, ne Heinrich Dehnbostel nga baweereza ng’abaminsani mu Lubumbashi, Congo, mu 1967

Nze, Claude, ne Heinrich nga tuweereza ng’abaminsani mu Lubumbashi, Congo, 1967

Bwe twategeezebwa ebitundu gye twali tusindikiddwa okuweereza, waliwo Ababeseri abajja ne batubuuza wa gye twali tusindikiddwa. Baayogeranga bulungi ku buli kitundu bayizi bannange kye baababuulira. Naye nze bwe nnabagamba nti nnali nsindikiddwa Congo (Kinshasa), baasiriikiriramu oluvannyuma ne bagamba nti: “Oo, Congo! Yakuwa abeere naawe!” Mu biseera ebyo, Congo (Kinshasa) yali teva mu mawulire, nga galaga nti waaliyo entalo, n’okutiŋŋana kungi. Naye nnafumiitiriza ku ebyo bye nnali njize mu Gireyaadi. Nga waakayita ekiseera kitono nga tumaze okutikkirwa mu Ssebutemba 1967, nze, Heinrich Dehnbostel, ne Claude Lindsay twasitula okugenda e Kinshasa, ekibuga kya Congo ekikulu.

KITUNDU KIRUNGI MU KUTENDEKA ABAMINSANI

Bwe twamala okutuuka mu Kinshasa, twayigirizibwa Olufalansa okumala emyezi esatu. Oluvannyuma twagenda e Lubumbashi, edda ekyayitibwanga Elisabethville, kumpi n’ensalo ya Zambia mu bukiikaddyo bwa Congo. Twasulanga mu nnyumba y’abaminsani eyali wakati mu kibuga ekyo.

Olw’okuba ekitundu ekisinga obunene mu Lubumbashi kyali tekibuulirwangamu, twafuna essanyu lingi okuba nti ffe twasooka okubuulira abantu baayo abasinga obungi amazima agali mu Bayibuli. Mu bbanga ttono twafuna abayizi ba Bayibuli bangi nnyo nga tetusobola na kubayigiriza kubamalawo. Twabuulira n’abakungu ba gavumenti awamu n’abapoliisi. Bangi ku bo baali bassa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda ne mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Olw’okuba abantu okusingira ddala baali boogera Luswayiri, nze ne Claude Lindsay twayiga n’olulimi olwo. Waayita ekiseera kitono ne tusindikibwa mu kibiina ekyogera Oluswayiri.

Wadde nga waliwo ebintu bingi ebyatuleetera essanyu, waliwo n’okusoomooza kwe twayolekagana nakwo. Emirundi mingi twalinanga okwaŋŋanga abajaasi abaabanga batamidde ate nga babagalidde emmundu oba abapoliisi abaatusibangako emisango gye tutazza. Lumu ekibinja ky’abapoliisi abaali bakutte emmundu baatulumba nga tuli mu lukuŋŋaana mu maka g’abaminsani ne batutwala ku poliisi ne batutuuza wansi, ne tubeera awo okutuuka ssaawa nga nnya ez’ekiro oluvannyuma ne balyoka batuta.

Mu 1969, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Bwe nnali nkola omulimu ogwo oluusi nnatambulanga eŋŋendo empanvu nga mpita mu makubo agajjudde ebisooto oba agayita mu nsiko, era ng’ekyo kintu kya bulijjo mu Afirika. Mu kyalo ekimu, enkoko yasulanga wansi wa kitanda kyange n’obwana bwayo. Siryerabira nkoko eyo bwe yaleekaananga n’engolokosa ng’obudde tebunakya bulungi. Mpulira essanyu bwe nzijukira ekiseera lwe twatuulanga n’ab’oluganda ne tunyumya ku mazima agali mu Bayibuli ng’eno bwe twota omuliro ekiro.

Okumu ku kusoomooza okusinga okuba okw’amaanyi kwe twayolekagana nakwo be b’oluganda ab’obulimba abaali bawagira ekibiina ekiyitibwa Kitawala.b Abamu ku bo baali bebbiridde ne bayingira mu kibiina era nga balondeddwa n’okuweereza ng’abakadde. Bangi ku bantu abo abaalinga “enjazi eziri wansi mu mazzi” baayanikibwa ab’oluganda ab’amazima. (Yud. 12) Oluvannyuma Yakuwa yalongoosa ebibiina era ekyo ne kisobozesa abantu bangi okuyiga mazima.

Mu 1971, nnayitibwa ku ofiisi y’ettabi mu Kinshasa, gye nnakolera mu bitongole eby’enjawulo gamba ng’Ekitongole ekikola ku mabaluwa, ekikola ku bitabo, n’ekyo ekikola ku mulimu gw’okubuulira. Bwe nnali mpeereza ku Beseri nnayiga okuteekateeka omulimu gwaffe mu nsi ennene ng’ebintu byayo gamba ng’eby’empuliziganya, eby’entambula, n’ebirala tebikola bulungi. Oluusi amabaluwa ge twawandiikanga kyagatwaliranga emyezi egiwera okutuuka eri ebibiina bye twabanga tuwandiikidde. Amabaluwa ago gaatikkulwanga ku nnyonyi ne gateekebwa ku maato, era amaato ne gamala wiiki eziwerako ku nnyanja nga gaziyiziddwa ekiddo. Wadde kyali kityo, omulimu gwagenda mu maaso.

Nneewuunyanga nnyo engeri ab’oluganda gye baateekateekanga ekifo kye twafunirangamu enkuŋŋaana ennene wadde nga tebaalina ssente nnyingi. Baatemanga ebiswa ne babitereeza ne bikola nga pulatifoomu, baatemanga ebisagazi ne babyeyambisa okukola ebisenge, ate ebirala ne babizinga bulungi ne bikola ng’emitto egy’okutuulako. Amabanda ge baakozesanga ng’empagi, ate ne baluka emmuli ne bazikolamu akasolya. Era baatemaatemanga obuti ne babukozesa ng’emisumaali. Nnatunuuliranga ab’oluganda abo ne nneewuunya engeri gye baakozesangamu ebintu ebitali bimu okusobola okuvvuunuka obuzibu bwonna obwabangawo. Ab’oluganda abo nnabaagala nnyo. Nnabasaalirwa nnyo bwe nnasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala!

MPEEREZA MU KENYA

Mu 1974, nnasindikibwa okugenda okuweereza ku ofiisi y’ettabi e Nairobi, Kenya. Twalina eby’okukola bingi kubanga ofiisi y’ettabi ly’e Kenya ye yali alabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ezaali zigyetoolodde era nga mu zimu ku zo omulimu gwaffe gwali gwawerebwa. Emirundi egiwerako nnatumibwa okukyalira ab’oluganda mu nsi ezo nnaddala mu Ethiopia, baganda baffe gye baali bayigganyizibwa era nga boolekagana n’ebigezo eby’amaanyi. Bangi ku bo baatulugunyizibwa oba baasibibwa mu makomera ate abamu battibwa. Naye baagumiikiriza, kubanga baali balina enkolagana ennungi ne Yakuwa era nabo bennyini baali baagalana nnyo.

Mu 1980, nneeyongera okufuna essanyu mu bulamu bwe nnawasa Gail Matheson, enzaalwa ya Canada, era twali naye mu ssomero lya Gireyaadi. Twali tumaze ekiseera nga tuwuliziganya okuyitira mu mabaluwa. Gail yali aweereza ng’omuminsani mu Bolivia. Nnaddamu okusisinkana Gail mu New York nga wayise emyaka 12. Waayita ekiseera kitono ne tufumbiriganwa mu Kenya. Nsiima nnyo Gail olw’okubeera omuntu ow’eby’omwoyo era atawankawanka. N’okutuusa kati, Gail annyamba nnyo era ampagira nnyo.

Mu 1986, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina ate nga mu kiseera kye kimu ndi ne ku Kakiiko k’Ettabi. Nga nkola omulimu ogwo nnalina okukyalira n’ensi ezaali wansi w’Ettabi ly’e Kenya.

Manfred Tonak ng’awa emboozi ku lukuŋŋaana olunene mu Asmara (mu Eritrea), mu 1992

Nga mpa emboozi ku lukuŋŋaana olunene mu Asmara, 1992

Nzijukira bwe twesunga nga tweteekateeka okugenda mu lukuŋŋaana olw’ennaku essatu mu Asmara (mu Eritrea) mu 1992, ng’omulimu gwaffe tegunnawerebwa mu kitundu ekyo. Eky’ennaku, bwe twatuuka mu kifo awaali wagenda okubeera olukuŋŋaana, twasanga ekiyumba ekirabika obubi kungulu ne munda nga kye twali tugenda okufuniramu olukuŋŋaana. Ku lunaku olukuŋŋaana lwe lwatandika, nneewuunya nnyo engeri ab’oluganda gye baali bakyusizzaamu endabika y’ekiyumba ekyo munda, nga kati kigwana okubeera ekifo eky’okusinzizaamu Yakuwa. Ab’oluganda okuva mu maka agatali gamu baali baleese engoye ezirabika obulungi nga bazikozesezza okutimba ekifo n’okubikka buli wonna awaali watalabika bulungi. Twanyumira nnyo olukuŋŋaana olwo era abantu 1,279 be baaluliko.

Ekyukakyuka ey’amaanyi gye twafuna nga tutandise okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina yali ekwata ku bya nsula, kubanga buli wiiki twasulanga mu kifo kya njawulo nnyo. Lumu twasula mu nnyumba amatiribona eyalimu buli kimu era ng’eri kumpi n’ennyanja; ate olulala ne tusula mu kayumba ak’ebibaati, nga kaabuyonjo yeesudde fuuti ezisukka mu 300 okuva we kali. Naye ka wabe wa we twasulanga, kye tusinga okujjukira ze nnaku ze twamalanga nga tubuulirira wamu ne bapayoniya n’ababuulizi abanyiikivu. Bwe twasindikibwa okuweereza mu kitundu ekirala twaleka ab’emikwano bangi be twasaalirwa ennyo.

TUFUNA EMIKISA MINGI MU ETHIOPIA

Ng’emyaka gya 1980 ginaatera okuggwaako ne ku ntadikwa y’emyaka gya 1990 omulimu gwaffe gwakkirizibwa mu mateeka mu nsi eziwerako azaali wansi w’ettabi ly’e Kenya. Ekyo kyaviirako ofiisi z’amatabi ezitali zimu n’obukiiko bw’ensi okutandikibwawo. Mu 1993, twasindikibwa okuweerereza ku ofiisi y’ettabi mu Addis Ababa, Ethiopia, omulimu gwaffe gye gwali gumaze ekiseera nga gukolebwa mu nkukutu, era nga kati gwali gukkiriziddwa mu mateeka.

Manfred ne Gail Tonak mu Ethiopia, mu 1996

Nga tukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina mu Ethiopia mu 1996

Yakuwa awadde omukisa omulimu gwaffe mu Ethiopia. Ab’oluganda bangi baatandika okuweereza nga bapayoniya. Buli mwaka okuva mu 2012 ababuulizi abasukka mu 20 ku buli kikumi baweerezza nga bapayoniya ab’enjawulo. Okugatta ku ekyo, amasomero g’ekibiina agatali gamu gayambye ab’oluganda okufuna okutendekebwa okwetaagisa, era Ebizimbe by’Obwakabaka ebisukka mu 120 bye bizimbiddwa. Mu 2004, Ababeseri baayingira ebizimbe ebipya, era n’ekizimbe ekituuza enkuŋŋaana ennene nakyo kyazimbibwa okumpi awo.

Nze ne Gail twafuna emikwano mingi mu baganda baffe abali mu Ethiopia. Tubaagala nnyo kubanga ba kisa nnyo era balina okwagala kungi. Gye buvuddeko awo, obulwadde bwatandika okututawaanya ne kituviirako okusindikibwa ku Beseri ya Central Europe. Ku Beseri eno batulabirira bulungi nnyo, naye era tukyasalirwa nnyo mikwano gyaffe abali mu Ethiopia.

YAKUWA YAKUZA

Tulabye engeri Yakuwa gy’akuzaamu omulimu gwe. (1 Kol. 3:6, 9) Ng’ekyokulabirako, we nnasookera okubuulira Abanyarwanda abaali bazze mu Congo okusima ekikomo, e Rwanda tewaaliwo mubuulizi n’omu. Naye kati mu Rwanda eriyo ababuulizi abasukka mu 30,000. Mu 1967, Congo (Kinshasa) yalimu ababuulizi nga 6,000. Naye kati mu Congo eriyo ababuulizi nga 230,000, era abantu abasukka mu kakadde be baaliwo ku Kijjukizo mu 2018. Omuwendo gw’ababuulizi abali mu nsi zonna ezaali zirabirirwa ettabi ly’e Kenya gweyongedde, era kati basukka mu 100,000.

Manfred ne Gail Tonak leero

Emyaka egisukka mu 50 emabega, Yakuwa yakozesa ab’oluganda ab’enjawulo okunnyamba okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Wadde nga nkyalinamu ensonyi, njize okwesiga Yakuwa mu bujjuvu. Bye mpiseemu mu Afirika binnyambye okuyiga okuba omugumiikiriza n’okuba omumativu. Nze ne Gail tukwatibwa nnyo okulaba ab’oluganda abooleka omwoyo ogw’okusembeza abagenyi, abagumira ebizibu eby’amaanyi, era abeesiga Yakuwa. Nsiima nnyo Yakuwa olw’ekisa eky’ensusso ky’andaze. Mazima ddala Yakuwa ampadde emikisa mingi nnyo gye nnali sisuubira.​—Zab. 37:4.

a Oluvannyuma kaayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, naye kati mu kifo kyako waddawo akatabo, Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe.

b Ekigambo “Kitawala” kiva mu kigambo ky’Oluswayiri ekitegeeza “okukulira oba okufuga.” Ekigendererwa ky’ekibiina kino kyali kya kulaba nti ensi ya Congo efuna obwetwaze okuva ku Bubirigi. Abawagizi b’ekibiina kya Kitawala baafunanga ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, baabisomanga, baabigabiranga abantu, era baanyoolanyoolanga enjigiriza za Bayibuli okusobola okuwagira endowooza zaabwe ez’eby’obufuzi, obulombolombo bwabwe, n’enneeyisa yaabwe ey’obugwenyufu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share