“Abakazi Abakola Ennyo mu Mukama Waffe”
1 N’ebigambo ebyo waggulu, Pawulo yayogera ku Terufayina ne Terufoosa, bannyinaffe babiri abaali bakola ennyo mu kibiina ky’e Rooma. Ng’ayogera ku mulala, ayitibwa Perusi, yagamba: “Yakola emirimu mingi mu Mukama waffe.” Era yayogera bulungi ku Foyibe nga “oyo eyalwanirira abangi.” (Bar. 16:2, 12, NW) Mu Byawandiikibwa, Doluka ayogerwako ng’omuntu ‘eyakolanga ebikolwa ebirungi era eyagabanga ebirabo.’ (Bik. 9:36) Abakazi nga baba ba muwendo nnyo eri ekibiina!
2 Tusiima bannyinaffe abakola ennyo mu kibiina kyaffe? Bakola ekitundu ekisinga obunene eky’omulimu gw’okubuulira, be basomesa abayizi ba Baibuli abasinga obungi, era bayamba abappya bangi. Era bawaayo ebiseera bingi okuyamba abaana okukulaakulana mu by’omwoyo. Abakazi Abakristaayo batuukiriza ekitundu kyabwe mu kukulaakulanya omwoyo gw’okwagala, essanyu, emirembe, n’obunyiikivu mu kibiina. Bawagira abaami baabwe n’ab’omu maka gaabwe abalala mu ngeri nnyingi ne kibasobozesa okukola ekisingawo mu buweereza bwa Yakuwa.
3 Bannyinaffe Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna: Mu abo abakola ennyo mu mulimu gwa Mukama waffe mulimu bannyinaffe abaminsani, nga bangi ku bo bayambye okukulaakulanya omulimu mu nsi engwira. Mu bibiina abaami baabwe mwe baweereza, bakyala b’abalabirizi abatambula bakola nnyo mu buweereza bw’omu nnimiro, nga bazzaamu amaanyi bannyinaffe bangi. Abalala abatalina kubuusibwa maaso be bannyinaffe abakola mu Beseri, abakola n’obunyikiivu emirimu gyabwe nga bawagira entegeka ya Yakuwa. Era bannyinaffe abakola nga bapayoniya ab’enkalakkalira, olw’okufuba kwabwe okw’obwesigwa nga batendereza Katonda, bayamba nkumi na nkumi okuyiga amazima.
4 Abakazi bano abeesigwa bafuna essanyu lingi mu kkubo lyabwe ery’obulamu obw’okwerekereza. (1 Tim. 6:6, 8) Tugwanidde okubeebaza n’okubazzaamu amaanyi era n’okubawagira mu ngeri yonna gye tusobola.
5 Abakazi Abakristaayo ba muwendo nnyo mu ntegeka ya Yakuwa, era bakola emirimu egy’obwesigwa egy’omuganyulo eri bonna. Ka tweyongere okusiima abakazi nga bano era tubasabira emikisa gya Yakuwa nga beeyongera ‘okukola ennyo mu Mukama waffe.’