Okusoma Akatabo Daniel’s Prophecy
1 Okutandika ne wiiki eya Apuli 17, tujja kuba tusoma akatabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy! mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Bangi bamaze okusoma akatabo kano akabuguumiriza, naye kati tulina omukisa ogw’okufuna emiganyulo egiva mu kwekeneenyeza awamu ebiri mu katabo ako. Ababuulizi, abantu abaagala okuyiga naffe, era n’abaana, bonna baanirizibwa, yee, bakubirizibwa, okubaawo buli wiiki nga twekenneenya ekitabo kya Baibuli ekya Danyeri.—Ma. 31:12, 13.
2 Enteekateeka y’Okukasoma era n’Obulagirizi: Enteekateeka enzijuvu ey’okusoma akatabo kano Daniel’s Prophecy eweereddwa mu lufulumya luno olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kakasa nti ogitereka mu katabo k’onooyigiramu. Enteekateeka eno eraga essuula n’obutundu mu kitabo era n’ennyiriri okuva mu Danyeri ez’okwekenneenyezebwa mu kuyiga okwa buli wiiki. Obugambo obuli wansi bunnyonnyola engeri era na ddi ebimu ku biri mu katabo kano lwe bijja okwekenneenyezebwa. Ku nkomerero y’okuyiga okwa buli wiiki, akubiriza okuyiga asabibwa okwejjukanya n’ekibiina ennyiriri okuva mu Danyeri eziri mu nteekateeka y’okusoma kwa wiiki eyo. Ekiseera bwe kiba kibasobozesa, ennyiriri ezo ziyinza okusomebwa era ne zoogerwako. Ennyiriri ezimu zijja kusomebwa mu wiiki eziddiriŋŋana olw’okuba engeri gye zituukirizibwamu ejja kuba ekyekenneenyezebwa.
3 Weeteekereteekere Bulungi Okuyiga Okwo: Enteekateeka ekoleddwa wabeewo ekiseera ekimala buli wiiki okwekenneenya ekitundu eky’okusoma awatali kwanguyiriza. Amasomo ana mampi. N’olwekyo, ku nkomerero y’okuyiga kwa wiiki eya Jjuuni 5, akubiriza okusoma ayinza okugattako okwejjukanya Danyeri 2:1-40. Mu wiiki eya Jjuuni 26, muyinza okwejjukanya Danyeri 3:1-30. Mu wiiki eya Ssebutemba 4 mwandigasseeko okukubaganya ebirowoozo ku bifaananyi n’ebyawandiikibwa ebiri ku lupapula 139. Ekipande ekiri ku mpapula 188 ne 189 kyandikubaganyiziddwako ebirowoozo mu wiiki eya Okitobba 2.
4 Weeteekereteekere bulungi okuyiga okwa buli wiiki, era kwenyigiremu n’essanyu. Siima enkizo gy’olina ey’okubeera mu ntegeka ya Yakuwa erabika era n’okuganyulwa mu kutegeera okutuweebwa abaafukibwako amafuta abeesigwa. (Dan. 12:3, 4) Kubiriza abalala okubeerawo obutayosa mu kusoma ekitabo. Ka ffenna tusseeyo omwoyo ku kigambo kya Katonda eky’obunnabbi ekyabikkulwa mu kitabo kya Danyeri ekibuguumiriza.—Beb. 10:23-25; 2 Peet. 1:19.