Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ani alina okufuna kabaagi k’olukuŋŋaana lwa district?
Bubaagi bw’olukuŋŋaana olunene buyinza okutuyamba ennyo okumanya baganda baffe era n’okumanyisa olukuŋŋaana olunene. Kyokka, tebulina kumala gagabibwa. Bulaga nti oyo akambadde alina ennyimirira ennungi mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ky’alimu.
Kabaagi kaliko amabanga omuntu w’ayinza okuwandiika erinnya lye era n’erinnya ly’ekibiina kye. N’olwekyo, omuntu oyo alina okuba ng’ali mu kibiina ekyo ekiragiddwa ku kaadi. Sosayate eweereza bubaagi obwo mu buli kibiina. Kyandibadde kisaanira okuwa buli mubuulizi omubatize n’atali mubatize kabaagi ako. Era, n’abaana awamu n’abantu abajja mu nkuŋŋaana obutayosa era nga bakulaakulana okutandika okwenyigira mu buweereza bw’omu nnimiro nabo bayinza okukafuna. Kiba tekisaanira okuwa kabaagi ako omuntu eyagobebwa mu kibiina.
Bubaagi bwe bufunibwa, abakadde basaanidde okukakasa nti bugabibwa okusinziira ku bulagirizi buno.