LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/00 lup. 3
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Teweerabira Abo Abanafuye mu by’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • “Mudde Gye Ndi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Bayambe Okudda Awatali Kulwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Abo Abaggwaamu Amaanyi Bazzeemu Amaanyi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 11/00 lup. 3

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Omuntu abadde takyabuulira okumala ekiseera ekiwanvu ayinza atya okuyambibwa okuddamu okufuna ebisaanyizo by’okubeera omubuulizi w’amawulire amalungi?

Omuntu abadde takyabuulira bw’awa obukakafu okuviira ddala mu mutima gwe nti ayagala okuweereza Yakuwa, kino kireeta essanyu lingi. (Luk. 15:4-6) Kiyinzika okuba nti omuntu oyo yakkiriza okuziyizibwa oba ebizibu mu bulamu okumulemesa okwesomesa yekka, okubeerawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu buweereza obw’omu nnimiro. Ayinza atya okuweebwa obuyambi asobole okukulaakulana mu by’omwoyo?

Fenna tusaanye okubaako kye tukola okuddamu okumulaga okwagala okwa nnamaddala okw’Ekikristaayo. Abakadde bajja kwanguwa okubaako kye bakola okumuyamba mu by’omwoyo. (Yak. 5:14, 15) Bwe kiba nti abadde takyabuulira okumala ekiseera kitono, ayinza okuyambibwako omubuulizi alina obumanyirivu okusobola okuddamu okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka, bwe kiba nti oyo abadde takyabuulira amaze ekiseera kiwanvu nga takolagana na kibiina, obuyambi obusingawo buyinza okwetaagisa. Okusobola okuzimba okukkiriza kwe n’okusiima, kiyinza okwetaagisa okumuyigiriza Baibuli mu kitabo ekisaanira. Mu mbeera ng’eyo, omulabirizi w’obuweereza ajja kukola enteekateeka omubuulizi alina ebisaanyizo okusoma naye. (Beb. 5:12-14; laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1998.) Singa omanyayo omuntu eyeetaaga obuyambi nga buno, yogera n’omulabirizi w’obuweereza mu kibiina kyo.

Nga tonnayita abadde takyabuulira okumala ekiseera ekiwanvu okwenyigira nate mu buweereza, kiba kya magezi abakadde babiri okusooka okwogerako naye balabe oba ng’alina ebisaanyizo eby’okukola ng’omubuulizi w’Obwakabaka. Bajja kugoberera enkola efaananako n’eyo egobererwa nga boogera n’abappya abaagala okubeera ababuulizi b’amawulire amalungi. (Laba Watchtower aka Noovemba 15, 1988, olupapula 17) Oyo abadde takyabuulira alina okubeera ng’ayagalira ddala okwenyigira mu kubuulira abalala amawulire amalungi. Alina okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu katabo Our Ministry ku lupapula 98-9 era n’okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa.

Okugoberera enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo kijja kuyamba nnyo oyo akomyewo okunyweza era n’okukuuma enkolagana ye ennungi ne Yakuwa era n’okweyongera okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 7:14; Beb. 10:23-25) Singa ‘afuba nnyo’ era n’okukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo ez’omuganyulo ekiseera kyonna, kijja kumuyamba obutaddamu nate ‘kuggwaamu maanyi’ oba okufuuka Omukristaayo ‘atabala bibala.’​—2 Peet. 1:5-8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza