LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 1 lup. 14-15
  • Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBUFUZI OBULUNGI
  • OBULAMU OBULUNGI
  • EMIREMBE EMINGI
  • ENSI EJJA KUJJULA ABANTU ABALUNGI
  • ENSI YONNA EJJA KUFUUKA OLUSUKU LWA KATONDA
  • Essuubi
    Zuukuka!—2018
  • Ddala Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Obwakabaka bwa Katonda Bufuga!
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 1 lup. 14-15
Abantu banyumirwa obulamu mu nsi empya

Amazima Agakwata ku Biseera eby’Omu Maaso

Wali weebuuzizzaako ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Bayibuli etubuulira ebintu ebikulu ebinaatera okubaawo era ebijja okukwata ku bantu bonna.

Yesu yatubuulira engeri gye twanditegeddemu nti “Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” (Lukka 21:31) Yagamba nti wandibaddewo entalo, musisi, enjala, n’endwadde, era ebyo bye bintu bye tulaba leero.​—Lukka 21:10-17.

Bayibuli eraga nti mu “nnaku ez’enkomerero” ez’obufuzi bw’abantu, abantu bandibadde beeyisa bubi. Osobola okusoma ku ngeri gye bandibadde beeyisaamu mu 2 Timoseewo 3:1-5. Awatali kubuusabuusa, bw’olaba ng’abantu beeyisa bwe batyo, okiraba nti obunnabbi bwa Bayibuli obwo butuukirizibwa leero.

Ekyo kiba kiraga ki? Ekiseera kinaatera okutuuka Obwakabaka bwa Katonda buleetewo enkyukakyuka ez’amaanyi ezijja okutereeza obulamu bw’abantu ku nsi. (Lukka 21:36) Mu Bayibuli, Katonda asuubiza okutereeza ensi n’okukolera abantu abanaagibeerako ebintu ebirungi. Bino bye bimu ku by’ajja okukola.

OBUFUZI OBULUNGI

“[Yesu] n’aweebwa obufuzi, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu b’amawanga gonna n’ennimi zonna bamuweerezenga. Obufuzi bwe bwe bufuzi obw’emirembe n’emirembe obutalivaawo, era obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.”​—DANYERI 7:14.

Kye kitegeeza: Ojja kunyumira obulamu ng’ofugibwa gavumenti ya Katonda ejja okufuga ensi yonna era ng’Omwana wa Katonda ye mufuzi waayo.

OBULAMU OBULUNGI

Omuwala avudde mu kagaali k’abalema n’atambula

“Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde’”​—ISAAYA 33:24.

Kye kitegeeza: Tojja kulwala oba kufuna bulemu bwonna; ojja kuba osobola okubeerawo emirembe gyonna.

EMIREMBE EMINGI

Emmundu emenyesemenyese

“Amalawo entalo mu nsi yonna.”​—ZABBULI 46:9.

Kye kitegeeza: Tewajja kuddamu kubeerawo ntalo na kubonaabona.

ENSI EJJA KUJJULA ABANTU ABALUNGI

“Ababi tebalibaawo . . . Abawombeefu balisikira ensi.”​—ZABBULI 37:10, 11.

Kye kitegeeza: Tewajja kubaawo bantu babi naye abo bokka abagondera Katonda be bajja okubeera ku nsi.

ENSI YONNA EJJA KUFUUKA OLUSUKU LWA KATONDA

“Balizimba ennyumba ne bazibeeramu, era balisimba ennimiro z’emizabbibu ne balya ebibala byamu.”​—ISAAYA 65:21, 22.

Kye kitegeeza: Ensi yonna ejja kufuulibwa ekifo ekirabika obulungi. Katonda ajja kutuukiriza ekyo kye tusaba nti by’ayagala bikolebwe “ku nsi.”​—Matayo 6:10.

Abantu banyumirwa obulamu mu nsi empya
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share