Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Kiki kye tulina okujjukira nga tukozesa obusimu obw’omu ngalo?
Obusimu buno butusobozesa okwogera n’abalala nga tusinziira kumpi mu buli kifo. Weewaawo kino kiyinza okuba eky’omuganyulo, naye tuteekwa okwegendereza obutakozesa busimu obwo mu biseera ebitasaanira, buleme okutuwugula nga tuli mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo oba mu kubuulira. Ekyo kiyinza kubaawo kitya?
Fumiitiriza ku ekyo ekiyinza okubaawo singa akasimu ako kavuga nga tuli mu kubuulira. Gwe tubuulira anaalowooza ki? Kifaananyi ki ky’anaafuna singa tusaza mu bye tubadde twogera okusobola okuddamu essimu? Mazima ddala tetwandyagadde kukola kintu kyonna kiyinza kuziyiza balala kuwulira mawulire ga Bwakabaka. (2 Kol. 6:3) N’olwekyo, bwe tubeera n’akasimu, tulabe nti tekatuwugula era n’abalala nga tubuulira.
Watya ate nga tulindirira bannaffe nga bawa obujulirwa? Bwe tuba tusazeewo okuwaayo obudde okubuulira, tetwanditadde ebirowoozo byaffe ku mulimu ogwo mu kiseera ekyo? Olw’okussa ekitiibwa mu buweereza bwaffe, twandikoze ku nsonga zaffe mu kiseera ekirala. (Bar. 12:7) Kino tekitegeeza nti tetuyinza kukozesa ssimu okwongera okuwa obujulirwa oba okukola entegeka oz’okuwa obujulirwa.
Okusingira ddala tulina okwegendereza okukozesa obusimu buno nga tuvuga ebidduka, kubanga okunoonyereza okumu kumaze okulaga nti ekyo kiviirako nnyo obubenje. Tulina okukwata butiribiri amateeka gonna agakugira omuntu okukozesa akasimu ng’avuga ekidduka.
Tujja mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo okusinza Yakuwa n’okuyigirizibwa. Okusiima obutukuvu bw’enkuŋŋaana ezo tekwanditukubirizza okuggyako obusimu buno buleme okuwugula abalala? Bwe wabaawo ensonga ey’amangu ennyo erina okukolwako, tulina okufuluma wabweru w’olukuŋŋaana. Ensonga zaffe tulina kuzikolako mu biseera ebitali bya nkuŋŋaana.—1 Kol. 10:24.
Ka engeri gye tukozesaamu obusimu oba ekintu ekirala kyonna ekigwa mu ttuluba eryo erage nti tulumirirwa abalala era nti tussa nnyo ekitiibwa mu bintu by’omwoyo.