Mujjukire Bannamukadde Abeesigwa
1 Wadde yali nnamwandu era ng’aweza emyaka 84, Anna ‘teyavanga mu Yeekaalu.’ Obwesige bwe, bwaviirako Yakuwa okumuwa omukisa ogw’enjawulo. (Luk. 2:36-38) Leero, baganda baffe ne bannyinnaffe bangi booleseza omwoyo ng’ogwa Ana wadde nga boolekaganye n’embeera enzibu. Abalinga abo bwe balwalalwala oba bwe balemererwa okukola ebintu ebimu olw’obukadde, bayinza okuggwaamu amaanyi. Ka twetegereze ezimu ku ngeri ze tuyinza okubazzaamu amaanyi n’okubayamba okugoberera enteekateeka y’eby’omwoyo ennungi.
2 Enkuŋŋaana n’Obuweereza: Abalala bwe bayamba bannamukadde abo ku by’entambula, kibanguyira okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa. Ekyo kizimba mu by’omyoyo bannamukadde abo abaludde nga baweereza Katonda era ne kiganyula n’ekibiina. Wali weenyigiddeko mu mulimu guno omulungi?—Beb. 13:16.
3 Okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa kireetera Abakristaayo ab’amazima essanyu n’okumatira. Naye ekyo kiyinza obutayanguyira bannamukadde n’abalwadde. Oyinza ‘okukolera awamu’ n’omu ku balinga abo mu buweereza bw’ennimiro? (Bar. 16:3, 9, 21) Oboolyawo oyinza okumusaba okugenda naawe okuyigiriza omuntu Baibuli oba okuddiŋŋana. Nnamukadde oyo bw’aba tasobola kuva waka, omuyizi wo ayinza okugendanga mu maka ga nnamukadde ne musomera eyo?
4 Okusoma n’Okubeera Awamu: Abamu batera okuyita bannamukadde oba abalwadde okubaawo mu kusoma kwabwe okw’amaka oba n’okusomera mu maka g’abantu abo. Maama omu yatwala abaana be babiri mu maka ga mwannyinaffe nnamukadde okusoma Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, era bonna bazzibwamu amaanyi. Abantu abo era basiima nnyo okubayita ku kijjulo oba mu kwesanyusaamu okulala kwonna. Abalwadde bwe baba tebasobola kumala kiseera kiwanvu ku bugenyi, ggwe oyinza okubakyalirako n’obaako ky’obasomerayo, n’osaba nabo, oba n’obanyumiza ebintu ebizzaamu amaanyi.—Bar. 1:11, 12.
5 Yakuwa atwala bannamukadde nga ba muwendo nnyo. (Beb. 6:10, 11) Tusobola okumukoppa nga tulaga bannamukadde abo nti ba mugaso era nga tubayamba okugoberera enkola y’eby’omwoyo ennungi.